Abaggalatiya
1 Nze Pawulo, omutume ataalondebwa bantu wadde okuyitira mu bantu, wabula eyalondebwa Yesu Kristo+ ne Katonda Kitaffe+ eyamuzuukiza mu bafu, 2 mpandiikira ebibiina eby’omu Ggalatiya nga ndi wamu n’ab’oluganda bonna abali nange:
3 Ekisa eky’ensusso n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bibeere nammwe. 4 Kristo yeewaayo olw’ebibi byaffe+ asobole okutununula okuva mu nteekateeka y’ebintu eno* embi,+ nga Katonda waffe era Kitaffe bwe yayagala.+ 5 Katonda oyo aweebwe ekitiibwa emirembe n’emirembe. Amiina.
6 Nneewuunyizza nnyo nti mu kaseera katono mutandise okuva ku Oyo eyabayita n’ekisa kya Kristo eky’ensusso ne muwuliriza amawulire amalungi amalala.+ 7 Si nti eriyo amawulire amalungi amalala; naye waliwo ababatawaanya+ nga baagala okunyoolanyoola amawulire amalungi agakwata ku Kristo. 8 Kyokka, ka kibe nti wabaawo omu ku ffe, oba malayika ava mu ggulu n’ababuulira amawulire amalungi agaawukana ku ago ge twababuulira, akolimirwe. 9 Nga bwe twayogera okusooka, nziramu nate okukyogera nti, Buli ababuulira amawulire amalungi agaawukana ku ago ge mwakkiriza, akolimirwe.
10 Kaakano njagala kusiimibwa bantu oba Katonda? Oba, njagala kusanyusa bantu? Singa mbadde nkyasanyusa bantu sandibadde muddu wa Kristo. 11 Ab’oluganda, njagala mukitegeere nti amawulire amalungi ge nnababuulira tegaasibuka mu bantu;+ 12 kubanga saagafuna kuva eri muntu yenna era teganjigirizibwa, wabula Yesu Kristo ye yagambikkulira.
13 Awatali kubuusabuusa, mwawulira engeri gye nneeyisangamu edda nga ndi mu ddiini y’Ekiyudaaya,+ nti nnayigganyanga nnyo ekibiina kya Katonda nga njagala okukizikiriza;+ 14 era okukulaakulana kwange mu ddiini y’Ekiyudaaya kwali kwa maanyi nnyo okusinga okw’abalala bangi ab’eggwanga lyange bwe twali twenkanya emyaka, kubanga nnali munyiikivu nnyo mu kugoberera obulombolombo bwa bajjajjange.+ 15 Naye Katonda eyansobozesa okuzaalibwa era eyampita olw’ekisa kye eky’ensusso+ bwe yakiraba nga kirungi 16 okumanyisa ebikwata ku Mwana we okuyitira mu nze, nsobole okubuulira amawanga amawulire amalungi agamukwatako,+ seebuuza mangu ago ku muntu mulala yenna;* 17 era saagenda Yerusaalemi eri abo abansooka okufuuka abatume, naye nnagenda mu Buwalabu, era oluvannyuma ne nkomawo mu Ddamasiko.+
18 Oluvannyuma lw’emyaka esatu nnagenda e Yerusaalemi+ okukyalira Keefa,*+ era nnabeera naye okumala ennaku 15. 19 Naye sirina mutume mulala gwe nnalaba okuggyako Yakobo+ muganda wa Mukama waffe. 20 Mbakakasa mu maaso ga Katonda nti ebintu bino bye mbawandiikira si bya bulimba.
21 Oluvannyuma lw’ekyo, nnagenda mu bitundu by’e Busuuli ne Kirikiya.+ 22 Naye ebibiina by’omu Buyudaaya ebyali obumu ne Kristo byali tebimmanyi. 23 Baawuliranga buwulizi nti: “Omusajja eyali atuyigganya+ kaakano abuulira amawulire amalungi agakwata ku nzikiriza gye yali agezaako okusaanyaawo.”+ 24 Awo ne batandika okugulumiza Katonda ku lwange.