Ekyamateeka
6 “Bino bye biragiro n’amateeka Yakuwa Katonda wammwe bye yampa okubayigiriza musobole okubikwata nga muli mu nsi gye mugenda okutwala nga musomose, 2 olyoke otye Yakuwa Katonda wo era okwatenga amateeka ge gonna n’ebiragiro bye byonna bye nkuwa (ggwe n’abaana bo ne bazzukulu bo),+ ennaku zonna ez’obulamu bwo, era olyoke owangaale.+ 3 Kale wuliriza ggwe Isirayiri era ofube okubikwata, osobole okuba obulungi era oyale nnyo mu nsi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki nga Yakuwa Katonda wa bajjajjaabo bwe yakusuubiza.
4 “Wulira ggwe Isirayiri: Yakuwa Katonda waffe ye Yakuwa omu.+ 5 Oyagalanga Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna n’obulamu bwo bwonna+ n’amaanyi go gonna.+ 6 Ebigambo bino bye nkulagira leero binaabanga ku mutima gwo, 7 era onoonyiikiranga okubiyigiriza abaana bo,+ era onoobyogerangako bw’onootuulanga mu nnyumba yo, bw’onootambulanga mu kkubo, bw’onoogalamiranga, era bw’onoogolokokanga.+ 8 Onoobisibanga ku mukono gwo ng’eky’okujjukiza era binaabanga ng’eky’okwesiba ku kyenyi kyo.*+ 9 Onoobiwandiika ku myango gy’ennyumba yo ne ku nzigi z’ekibuga kyo.
10 “Era Yakuwa Katonda wo bw’alikutuusa mu nsi gye yalayirira bajjajjaabo, Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo okugikuwa,+ ensi omuli ebibuga ebinene era ebirabika obulungi by’otaazimba,+ 11 n’ennyumba ezijjude ebintu ebirungi ebya buli ngeri by’otaakolerera, n’enzizi z’otaasima, n’ennimiro z’emizabbibu n’emizeyituuni gy’otaasimba, n’olya n’okutta,+ 12 fuba okulaba nti teweerabira Yakuwa+ eyakuggya mu nsi ya Misiri, mu nnyumba ey’obuddu. 13 Yakuwa Katonda wo gw’obanga otya,+ era ye gw’obanga oweereza,+ era mu linnya lye mw’obanga olayirira.+ 14 Togobereranga bakatonda balala, bakatonda bonna ab’amawanga agakwetoolodde,+ 15 kubanga Yakuwa Katonda wo ali wakati mu mmwe ye Katonda ayagala abantu okumwemalirako.+ Bw’onoobagoberera, obusungu bwa Yakuwa Katonda wo bujja kukubuubuukira+ akusaanyeewo okuva ku nsi.+
16 “Temugezesanga Yakuwa Katonda wammwe+ nga bwe mwamugezesa e Masa.+ 17 Mufubenga okukwata ebiragiro bya Yakuwa Katonda wammwe n’ebyo by’abajjukiza n’amateeka ge, by’abawadde. 18 Era mukolenga ekituufu era ekirungi mu maaso ga Yakuwa, musobole okuba obulungi era musobole okuyingira n’okutwala ensi ennungi Yakuwa gye yalayirira bajjajjammwe,+ 19 nga mugoba abalabe bammwe bonna mu maaso gammwe nga Yakuwa bwe yasuubiza.+
20 “Mu biseera eby’omu maaso omwana wo bw’akubuuzanga nti, ‘Okujjukiza n’amateeka n’ebiragiro Yakuwa Katonda waffe bye yabawa bitegeeza ki?’ 21 omwana wo omugambanga nti, ‘Twali baddu ba Falaawo mu Misiri naye Yakuwa n’atuggyayo n’omukono ogw’amaanyi. 22 Yakuwa yaleeta obubonero n’ebyamagero eby’amaanyi era eby’omutawaana ku Misiri+ ne ku Falaawo ne ku nnyumba ye yonna+ nga tulaba. 23 Era yatuggyayo eyo atuleete eno atuwe ensi gye yalayirira bajjajjaffe.+ 24 Bw’atyo Yakuwa n’atulagira okukwatanga amateeka gano gonna n’okutyanga Yakuwa Katonda waffe ku lw’obulungi bwaffe bulijjo,+ tusobole okubeeranga abalamu+ nga bwe kiri leero. 25 Bwe tunaafubanga okukwata ebiragiro bino byonna nga tugondera Yakuwa Katonda waffe nga bwe yatulagira,+ tujja kutwalibwa ng’abatuukirivu.’