Okukuza Abaana mu Nsi Ekkiriza Buli Omu Okweyisa nga bw’Ayagala
WALI olabye omwana nga yeegayirira okumugulira ekintu banne kye balina naye nga ye muzadde tayagala kukimugulira? Oba wali olabye omwana ayagala okugenda okuzannya ng’ate muzadde we amugambye nti, “Sikulaba ng’ovuddewo”? Mu mbeera nga zino kyeyoleka bulungi nti omuzadde aba agezaako kukola ekinaaganyula omwana we. Wadde kiri kityo, emirundi mingi omwana bw’apeeka omuzadde we ekintu, omuzadde alwa ddaaki amukolera oba amukkiriza okukola ky’ayagala.
Abazadde bangi balowooza nti okukuza obulungi abaana kitegeeza kubawa buli kye baagala. Ng’ekyokulabirako, mu Amerika waaliwo okunoonyereza okwakolebwa ku baana 750 abali wakati w’emyaka 12 ne 17. Bwe baabuuzibwa kiki kye bakola nga bazadde baabwe babagaanyi okukola kye baagala, kumpi 60 ku buli kikumi baagamba nti tebalekaayo kubasaba. Abaana 55 ku buli kikumi baagamba nti akakodyo kano kakola. Bazadde bayinza okulowooza nti bwe baleka abaana baabwe okukola buli kye baagala baba babalaga kwagala. Naye ddala ekyo kituufu?
Lowooza ku lugero luno olw’omu Baibuli: “Omuntu bw’aginya omuweereza we okuva nga muto, bw’akula afuuka omuntu atasiima.” (Engero 29:21, NW) Kituufu nti omwana si muweereza, naye tokkiriza nti omusingi guno gukwata ku nkuza y’abaana? Okuginya omwana ng’omuwa buli ky’ayagala kiyinza okumufuula “atasiima”—ayonooneka era aba wa kyejo.
Okwawukana ku ekyo, Baibuli ekubiriza omuzadde nti: “Manyiiza omwana omuto mu kkubo erimugwanira okutambuliramu.” (Engero 22:6) Abazadde ab’amagezi bagoberera obulagirizi buno nga bateerawo abaana amateeka agategeerekeka, agasaanira, era nga bafuba okulaba nti gagobererwa. Bakimanyi nti okuleka omwana okukola buli ky’ayagala si ye ngeri entuufu ey’okumulagamu okwagala; era tebawa baana bye baagala olw’okuba babakaabiridde, babapeese oba benyiizizza. Mu kifo ky’ekyo, bakkiriziganya n’ebigambo bya Yesu bino eby’amagezi: “Ebigambo byammwe bibeerenga nti Weewaawo, weewaawo; si weewaawo, si weewaawo.” (Matayo 5:37) Kati olwo okutendeka abaana kizingiramu ki? Lowooza ku kyokulabirako kino ekirungi.
‘Ng’Obusaale mu Mukono’
Baibuli ekozesa ekyokulabirako ekiraga nti omwana yeetaaga obulagirizi bwa muzadde we. Zabbuli 127:4, 5 wagamba nti: “Ng’obusaale bwe buli mu mukono gw’omuzira, abaana ab’omu buvubuka bwe bali bwe batyo. Alina omukisa omuntu omufuko gwe bwe gujjula abo.” Wano abaana bafaananyizibwa obusaale, ate ye omuzadde afaananyizibwa omusajja omuzira. Ng’omuntu aba akuba akasaale bw’akimanyi nti akasaale tekasobola kukuba ky’ayagala mu butanwa, n’abazadde abaagala abaana baabwe bakimanyi nti abaana tebasobola kukula bulungi awatali bulagirizi. Baagala abaana baabwe batuuke ku “sabbaawa”—kwe kukula nga basanyufu era nga baabuvunaanyizibwa. Baagala abaana baabwe babe nga basobola okusalawo obulungi, babe ba magezi, beewale ebizibu, era obulamu bube bwa makulu. Naye okusobola okutuuka ku bintu ng’ebyo, abazadde kibeetaagisa okufuba ennyo nga bakuza abaana baabwe.
Akasaale bwe kaba ak’okukuba sabbaawa, kiki ekirina okukolebwa? Akasaale kalina okukolebwa obulungi, okukuumibwa, era keetaaga okukuba n’amaanyi. Mu ngeri y’emu, abaana bwe baba ab’okukula obulungi, beetaaga okuteekebwateekebwa, okukuumibwa, n’okuweebwa obulagirizi. Ka twetegereze buli kimu ku bintu bino ebisatu ebizingirwa mu kukuza abaana obulungi.
Okukola Obulungi Akasaale
Obusaale obwakozesebwanga mu biseera bya Baibuli bwakolebwanga n’obwegendereza. Akati k’akasaale kaabanga kaalina okuba akawewufu era nga katereevu bulungi. Akafumu kaabanga kalina okuba akasongovu ennyo. Emabega ku kati kwateekebwangako ebyoya biyambe akasaale obutawugulibwa mpewo.
Abazadde baagala abaana baabwe babe ng’obusaale obwo obutereevu obulungi—nga bagolokofu, era nga tebawuguka. N’olwekyo, abazadde ab’amagezi tebabuusa maaso bunafu abaana baabwe bwe baba nabwo, wabula babayamba okubuvvuunuka. Omuzadde alina okufuba ennyo okuyamba buli mwana mu nsonga eno kubanga “obusirusiru busibibwa mu mutima gw’omwana omuto.” (Engero 22:15) Baibuli ky’eva ekubiriza abazadde okukangavvula abaana baabwe. (Abaefeso 6:4) Mu butuufu, okukangavvula kukola kinene mu kugolola omwana n’okutereeza endowooza ye.
Engero 13:24 wagamba nti: “Atakwata muggo gwe akyawa omwana we: naye oyo amwagala amukangavvula ebiro nga bikyali.” Mu lunyiriri luno, omuggo gutegeeza engeri yonna eyeeyambisibwa okugolola omwana. Omuzadde bw’akangavvula omwana we mu kwagala, aba ayagala kumugolola ave mu nsobi eziyinza okumuleetera ebizibu eby’amaanyi ng’akuze. Mu butuufu, omuzadde atakangavvula mwana we aba tamulaze kwagala.
Omuzadde ayagala omwana we amuyamba n’okutegeera ensonga lwaki alina okukwata amateeka agamuweebwa. N’olwekyo okukangavvula tekukoma ku kuwa biragiro na kubonereza kyokka, wabula n’ekisinga obukulu, kuzingiramu okuyamba omwana okutegeera ky’alina okukola. Baibuli egamba nti: “Omwana omutegeevu akwata amateeka.”—Engero 28:7, NW.
Ebyoya omukubi w’akasaale by’ateeka ku kasaale ke bikayamba obutawugulibwa mpewo ng’amaze okukakuba. Mu ngeri y’emu, enjigiriza za Baibuli eziva ew’Oyo eyatandikawo amaka ziganyula nnyo abaana naddala nga bavudde mu maka g’abazadde baabwe. (Abaefeso 3:14, 15) Naye abazadde bayinza kukola ki okukakasa abaana baabwe batambulira ku njigiriza ng’ezo obulamu bwabwe bwonna?
Weetegereze Katonda kye yabuulirira abazadde Abaisiraeri mu biseera bya Musa: “Ebigambo bino bye nkulagira leero binaabanga ku mutima gwo: era onoonyiikiranga okubiyigiriza abaana bo.” (Ekyamateeka 6:6, 7) N’olwekyo, abazadde balina okukola ebintu bibiri. Ekisooka, bo kennyini balina okuyiga n’okussa mu nkola Ekigambo kya Katonda, ne balaga nti ddala baagala amateeka ga Katonda. (Zabbuli 119:97) Olwo no baba basobola okussa mu nkola ekitundu eky’okubiri mu kyawandiikibwa ekyo—‘okuyigiriza’ abaana baabwe amateeka ga Katonda. Ekyo kibeetaagisa okuyigiriza abaana okulaba omugaso oguli mu mateeka ng’ago era nga kino kikolebwa enfunda n’enfunda.
Kyeyoleka bulungi nti na buli kikyetaagisa okuyigiriza abaana emisingi gya Baibuli n’okubaakangavvula mu kwagala nga bakoze ensobi ez’amaanyi. Kikulu nnyo okukola ebintu ebyo okuteekateeka “obusaale” obwo busobole okukula obulungi nga tebuwuguliddwa.
Okukuuma Obulungi Akasaale
Ka tuddemu twetegereze ekyokulabirako ekiri mu Zabbuli 127:4, 5. Jjukira nti omukubi w’akasaale ‘yajjuzanga omufuko gwe’ n’obusaale. Bwe yamalanga okubukola, yalinanga okubukuuma obulungi. Bw’atyo yabutekanga mu mufuko, gye bwali butayinza kumala goonooneka oba kumenyeka. Baibuli eyogera ku Masiya ng’akasaale akazigule Kitaawe ke ‘yakweka mu mufuko gwe.’ (Isaaya 49:2) Yakuwa Katonda, omuzadde asingayo okuba omulungi, yakuuma Omwana we omwagalwa, Yesu, obutatuukibwako kabi konna okutuusa ekiseera lwe kyatuuka Masiya n’attibwa nga bwe kyali kyalagulwa. Wadde nga yattibwa, Katonda yakuuma Omwana we mu ngeri nti yamuzuukiza n’amuwa obulamu obutaggwawo mu ggulu.
Mu ngeri y’emu, abazadde abalungi baagala okukuuma abaana baabwe, ensi eno embi ereme kubakolako kabi konna. Abazadde bayinza okugaana abaana baabwe okukola ebintu ebimu ebiyinza okubaleetera ebizibu. Ng’ekyokulabirako, abazadde ab’amagezi batwala omusingi guno nga mukulu nnyo: “Emikwano emibi gyonoona empisa ennungi.” (1 Abakkolinso 15:33, NW) Okugaana abaana okukola omukwano n’abantu abatassa kitiibwa mu mitindo gya Baibuli egy’empisa kibayamba okwewala okukola ebintu ebiyinza okuteeka obulamu bwabwe mu kabi.
Abaana bayinza obutasiima bukuumi obubaweebwa bazadde baabwe. Oluusi bayinza n’okunyiiga, kubanga emirundi mingi kyetaagisa okubagaana okukola bye baagala. Omuwandiisi omu ow’ebitabo ebikwata ku kukuza abaana agamba nti: “Wadde ng’oluusi tebakiraga era nga bayinza obutakwebaza mu kiseera ekyo, abaana kibasanyusa bazadde baabwe bwe babawa obulagirizi. Ekyo tuyinza okukikola nga tubateerawo amateeka era nga tukozesa bulungi obuyinza bwaffe ng’abazadde.”
Yee, emu ku ngeri enkulu mw’osobola okulagira nti oyagala abaana bo kwe kubakuuma eri ekintu kyonna ekiyinza okubamalako emirembe oba okwonoona enkolagana yaabwe ne Katonda. Bwe banaakula, bajja kutegeera ensonga lwaki wabateerangawo amateeka, era bajja kusiima obukuumi bwe wabawa.
Okulasa Obulungi Akasaale
Weetegereze nti Zabbuli 127:4, 5 egeraageranya omuzadde ku muntu “omuzira.” Ekigambo “omuzira” kiraga nti kyali kyetaagisa amaanyi agawerako okusika omutego okusobola okukuba akasaale. Mu biseera bya Baibuli, emitego gy’obusaale egimu gyabanga gya kikomo ku ngulu, era kyagambibwanga nti omuserikale ‘yanaanuulanga omutego [mu Lwebbulaniya, ‘yalinnyanga ku mutego’]’—era osanga yagulinnyangako n’ebigere asobole okuguleega. (Yeremiya 50:14, 29) N’olwekyo okusika omutego n’okuba akasaale kyali kyetaagisa amaanyi mangi!
Mu ngeri y’emu, okukuza obulungi abaana kyetaagisa okufuba okw’amaanyi. Abaana tebasobola kwekuza bokka, nga n’akasaale bwe katasobola kwekuba kokka. Eky’ennaku, abazadde bangi leero bagayaalirira okukola ekyo ekyetaagisa okukuza obulungi abaana. Bakola ekyo kye bawulira nti kye kibanguyira. Baleka kuleka ttivi, amasomero, n’abaana abalala bibe nga bye biyigiriza abaana baabwe ebikwata ku mpisa. Baleka abaana baabwe okukola buli kye baagala. Abazadde bwe bawulira nti bazibuwalirwa okugaana abaana okukola kye baagala, babakkiriza bukkiriza—beewolereza nti tebaagala kunyiiza baana baabwe. Kyokka ekituufu kiri nti abaana bwe balekebwa okukola kye baagala, boonooneka bwonoonesi.
Okukuza abaana si mulimu mwangu. Okukola omulimu ogwo n’omutima gwonna ng’ogoberera obulagirizi obuli mu Kigambo kya Katonda kyetaagisa okufuba okw’amaanyi, naye muvaamu ebirungi ntoko. Magazini eyitibwa Parents yagamba nti: ‘Kizuuliddwa nti abaana abakuzibwa abazadde ababaagala naye nga babateerawo amateeka, bakola bulungi nnyo ku ssomero, bakolagana bulungi n’abalala, era baba basanyufu okusinga abaana abakuzibwa abazadde ababaginya oba abo abakambwe ennyo.’
Waliwo n’ekirala ekisingako awo obulungi. Mu kusooka twetegerezza ekitundu ekisooka mu Engero 22:6 awagamba nti: “Manyiiza omwana omuto mu kkubo erimugwanira okutambuliramu.” Olunyiriri olwo lweyongera ne lugamba nti: “Awo newakubadde nga mukadde talirivaamu.” Ebigambo ebyo ebyaluŋŋamizibwa bitegeeza nti omwana tasobola kuva mu kkubo ttuufu? Nedda. Omwana wo alina eddembe ery’okwesalirawo, era bw’anaakula ajja kulikozesa. Naye olunyiriri luno luwa abazadde essuubi. Mu ngeri ki?
Bw’otendeka abaana bo ng’ogoberera obulagirizi bwa Baibuli, ebinaavaamu bijja kuba birungi nnyo—bajja kukula nga basanyufu era nga ba buvunaanyizibwa. (Engero 23:24) N’olwekyo, kola kyonna ekisoboka okuteekateeka “obusaale” obwo obw’omuwendo, okubukuuma, era n’okubulasa obulungi. Ekyo togenda kukyejjusa.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 13]
Kiba kikolwa kya kwagala abazadde okuleka abaana baabwe okukola buli kye baagala?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
Omuzadde ayagala abaana be abannyonnyola lwaki balina okukwata amateeka g’abawa
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
Abazadde abalungi bakuuma abaana baabwe ensi eno embi ereme kubakolako kabi
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]
Okukuza obulungi abaana si mulimu mwangu, naye kivaamu ebirungi bingi nnyo