1 Peetero
2 Kale, mweggyeeko ebikolwa ebibi byonna+ n’obulimba n’obunnanfuusi n’obuggya n’okugeya okwa buli ngeri. 2 Okufaananako abaana abaakazaalibwa,+ mwegombenga amata amalongoofu ag’ekigambo kya Katonda, gabasobozese okukula okutuuka ku bulokozi,+ 3 bwe muba nga mutegedde* nti Mukama waffe wa kisa.
4 Bwe mujja gy’ali, ejjinja eddamu abantu lye baagaana+ naye Katonda lye yalonda, era ery’omuwendo ennyo gy’ali,+ 5 mmwe amayinja amalamu, mujja kuzimbibwamu ennyumba ey’eby’omwoyo+ musobole okuba bakabona abatukuvu ab’okuwaayo ssaddaaka ez’eby’omwoyo+ ezisiimibwa Katonda okuyitira mu Yesu Kristo.+ 6 Kubanga Ebyawandiikibwa bigamba nti: “Laba! Nteeka mu Sayuuni ejjinja ery’omusingi ery’oku nsonda, eryalondebwa era ery’omuwendo, era tewali n’omu alikkiririzaamu aliswala.”+
7 N’olwekyo, wa muwendo gye muli kubanga muli bakkiriza; naye eri abo abatakkiriza, “ejjinja abazimbi lye baagaana+ lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda,”*+ 8 era “ejjinja eryesittalwako n’olwazi oluviirako okugwa.”+ Beesittala kubanga bajeemera ekigambo. Eno ye nkomerero ebalindiridde. 9 Naye mmwe muli “ggwanga ddonde, bakabona abaweereza nga bakabaka, eggwanga ettukuvu,+ ekintu kya Katonda ekiganzi,+ musobole okulangirira obulungi”+ bw’Oyo eyabayita okuva mu kizikiza okuyingira mu kitangaala kye eky’ekitalo.+ 10 Mu kusooka temwali ggwanga, naye kati muli ggwanga lya Katonda;+ mwali abo abatasaasirwa, naye kati musaasiddwa.+
11 Abaagalwa, mbabuulirira ng’abagwira era abatuuze ab’akaseera obuseera+ mwewale ebyo omubiri bye gwegomba+ ebibalwanyisa.+ 12 Mubeerenga n’empisa ennungi mu b’amawanga,+ kibe nti, wadde nga babayita abakozi b’ebintu ebibi, bwe balaba ebikolwa byammwe ebirungi+ bagulumize Katonda ku lunaku olw’okukebererwako.
13 Ku lwa Mukama waffe, mugonderenga abo bonna abali mu buyinza:+ bw’aba kabaka,+ mumugondere olw’okuba alina obuyinza bungi, 14 oba bagavana, mubagondere kubanga b’aba atumye okubonereza abakola ebintu ebibi n’okutendereza abakola ebirungi.+ 15 Kubanga Katonda ayagala mukolenga ebirungi musobole okusirisa okwogera okw’obusirusiru okw’abantu abasirusiru.+ 16 Mubeere bantu ba ddembe,+ naye eddembe lyammwe temulikozesa ng’ekyekwaso okukola ebintu ebibi,+ wabula mulikozese ng’abaddu ba Katonda.+ 17 Muwenga abantu aba buli ngeri ekitiibwa,+ mwagalenga baganda bammwe bonna,+ mutyenga Katonda,+ muwenga kabaka ekitiibwa.+
18 Abaweereza bagonderenga bakama baabwe nga babawa ekitiibwa ekibagwanira,+ si abo bokka abalungi era abatali bakakanyavu, naye n’abo abazibu okusanyusa. 19 Omuntu bw’agumira embeera enzibu era n’abonaabona awatali nsonga olw’okuba aba ayagala okuba n’omuntu ow’omunda omuyonjo mu maaso ga Katonda, ekyo kisiimibwa.+ 20 Kirungi ki ekiba mu kugumiikiriza nga mukubibwa olw’okukola ebintu ebibi?+ Naye bwe mugumiikiriza nga mubonaabona olw’okukola ebirungi, ekyo kye kisiimibwa mu maaso ga Katonda.+
21 Mu butuufu, kino kye mwayitirwa, kubanga ne Kristo yabonaabona ku lwammwe,+ n’abalekera ekyokulabirako mulyoke mutambulirenga mu bigere bye.+ 22 Teyakola kibi,+ era obulimba tebwalabika mu kamwa ke.+ 23 Bwe yavumibwa+ ye teyavuma.+ Bwe yali abonaabona+ teyatiisatiisa, naye ensonga yazirekera Oyo asala omusango+ mu butuukirivu. 24 Yeetikka ebibi byaffe+ mu mubiri gwe ku muti,+ tusobole okuggibwako ebibi era tube balamu tusobole okukola eby’obutuukirivu. Era “mwawonyezebwa olw’ebiwundu bye.”+ 25 Kubanga mwali ng’endiga ezibula;+ naye kaakano mukomyewo eri omusumba+ era omulabirizi w’obulamu bwammwe.