Gondera Abo Katonda b’Awadde Obuyinza
“Mukama ye mulamuzi waffe, Mukama ye muteesi w’amateeka gye tuli, Mukama ye kabaka waffe.”—ISAAYA 33:22.
1. Bintu ki ebyafuula eggwanga lya Isiraeri ery’edda okuba ery’enjawulo mu mawanga?
MU 1513 B.C.E., eggwanga lya Isiraeri lyatandikibwawo. Mu kiseera ekyo, teryalina kibuga kikulu, teryalina nsi yaalyo, era teryalina kabaka alabika. Abatuuze baalyo baali baakava mu buddu. Kyokka, eggwanga eryo eppya lyali lya njawulo mu ngeri endala. Yakuwa Katonda ye yali Omulamuzi waalyo, Omuteesi w’Amateeka era Kabaka waalyo atalabika. (Okuva 19:5, 6; Isaaya 33:22) Tewali ggwanga ddala lyonna eryali nga lyo.
2. Ku bikwata ku ngeri Isiraeri gye yategekebwamu, kibuuzo ki ekijjawo, era lwaki eky’okuddamu kikulu nnyo gye tuli?
2 Okuva Yakuwa bw’ali Katonda ow’enteekateeka ennungi era ow’emirembe, twandisuubidde nti eggwanga lyonna lye yandifuze lyandibadde ttegeke bulungi. (1 Abakkolinso 14:33) Mazima ddala bwe kityo bwe kyali ku bikwata ku ggwanga lya Isiraeri. Naye kyasoboka kitya, ekibiina ky’abantu abali ku nsi, okukulemberwa Katonda atalabika? Kya muganyulo okwekenneenya engeri Yakuwa gye yakulemberamu eggwanga eryo ery’edda, naddala twetegereze obukulu bw’okugondera abo Katonda b’awadde obuyinza.
Engeri Isiraeri ey’Edda Gye Yakulemberwamu
3. Nteekateeka ki ennungi Yakuwa ze yateekawo okusobola okuwa abantu be obulagirizi?
3 Wadde nga Yakuwa ye yali Kabaka wa Isiraeri atalabika, yalonda abasajja abeesigwa okumukiikirira. Waaliwo abaami, abakulu b’amayumba, wamu n’abakadde abaawanga abantu obulagirizi era ne babalamula. (Okuva 18:25, 26; Ekyamateeka 1:15) Kyokka, tetwandisuubidde nti awatali bulagirizi bwa Katonda, abasajja abo bandisobodde okulamula abantu obulungi. Baali tebatuukiridde, era nga tebayinza kumanya kiri mu mitima gy’abasinza bannaabwe. Wadde kyali kityo, abalamuzi abatya Katonda baali basobola okuwa basinza bannaabwe obulagirizi obulungi kuba baabwesigamya ku Mateeka ga Yakuwa.—Ekyamateeka 19:15; Zabbuli 119:97-100.
4. Bintu ki abalamuzi abeesigwa ab’Abaisiraeri bye baalina okwewala, era lwaki?
4 Kyokka, okumanya obumanya Amateeka si kye kyokka ekyali kyetaagisa, omuntu okusobola okubeera Omulamuzi. Olw’okuba baali tebatuukiridde, abasajja abo abakadde baali balina okuba obulindaala okwewala ebintu nga okwefaako bokka, okusosola n’omulugube—ebyandibaleetedde okugwa olubege mu kusala emisango. Musa yabagamba: ‘Temusalirizanga bwe munaasalanga emisango; munaawuliranga abato n’abakulu okubenkanyankanya; temutyanga maaso ga muntu; kubanga omusango gwa Katonda.’ Yee, abalamuzi ba Isiraeri baali balamula ku bwa Katonda. Nga yali nkizo ya maanyi nnyo!—Ekyamateeka 1:16, 17.
5. Ng’oggyeko abalamuzi, nteekateeka ki endala Yakuwa ze yakola okulabirira abantu be?
5 Era Yakuwa yakola enteekateeka endala okukola ku bwetaavu bw’abantu be obw’eby’omwoyo. Nga tebannaba na kutuuka mu Nsi Ensuubize, yabagamba okuzimba eweema we bandikuŋŋaanidde okumusinza. Era yateekawo bakabona okuyigiriza Amateeka, okuwangayo ebiweebwayo eby’ensolo, wamu n’okwoterezanga obubaane ku makya n’olw’eggulo. Katonda yalonda mukulu wa Musa, Alooni, okuba kabona omukulu ow’Abaisiraeri eyasooka, era n’alonda batabani ba Alooni okuyamba ku kitaabwe okutuukiriza emirimu gye.—Okuva 28:1; Okubala 3:10; 2 Ebyomumirembe 13:10, 11.
6, 7. (a) Nkolagana ki eyaliwo wakati wa bakabona Abaleevi n’abo abataali bakabona? (b) Okuba nti Abaleevi baakolanga emirimu egy’enjawulo, tukiyigirako ki? (Abakkolosaayi 3:23)
6 Okukola ku bwetaavu obw’eby’omwoyo obw’obukadde n’obukadde bw’abantu gwali mulimu munene nnyo, ate nga bakabona baali batono. N’olwekyo, enteekateeka zaakolebwa bayambibweko abantu abalala okuva mu kika ky’Abaleevi. Yakuwa yagamba Musa: “Onoowa Alooni n’abaana be Abaleevi: baweereddwa ddala ye ku lw’abaana ba Isiraeri.”—Okubala 3:9.
7 Abaleevi baali bategekeddwa bulungi. Baayawulibwamu ebibinja bisatu okusinziira ku nnyiriri zaabwe ez’obuzaale—Abagerusoni, Abakokasi, n’Abamerali nga buli kibinja kirina omulimu ogw’okukola. (Okubala 3:14-17, 23-37) Emirimu egimu giyinza okuba nga gyalabika ng’egisinga ku ginaagyo obukulu, naye gyonna gyali gya mugaso. Emirimu gy’Abaleevi ab’enju ya Kokasi gyabeetaagisanga okusitula essanduuko y’endagaano entukuvu wamu n’ebintu ebirala ebitukuvu eby’omu weema. Kyokka, buli Muleevi yenna, k’abeere nga yali Mukokasi oba nedda, yalina enkizo ez’amaanyi. (Okubala 1:51, 53) Eky’ennaku, abamu tebaasiima nkizo zaabwe. Mu kifo ky’okugondera abo Katonda b’awadde obuyinza, tebaamatira era ne bafuna amalala, n’obuggya. Omuleevi ayitibwa Koola yali omu ku bo.
“Munoonya n’Obwakabona?”
8. (a) Koola yali ani? (b) Kiki ekiyinza okuba nga kye kyaviirako Koola okutunuulira obwakabona mu ngeri y’obuntu?
8 Koola si ye yali omukulu w’ennyumba ya Leevi, era si ye yali omukulu w’Abakokasi. (Okubala 3:30, 32) Wadde kyali kityo, yali mwami assibwamu ekitiibwa mu Isiraeri. Kirabika emirimu gya Koola gyamusobozesanga okukolagana ne Alooni era ne batabani be. (Okubala 4:18, 19) Olw’okuba yalabanga obutatuukiridde bw’abasajja abo, Koola ayinza okuba nga yalowooza bw’ati: ‘Bakabona bano tebatuukiridde, kyokka nze nsuubirwa okubagondera! Ebbanga si ddene nnyo emabega, Alooni yakola akayana aka zaabu. Abantu baffe bwe baasinza akayana ako baagwa mu mutego gw’okusinza ebifaananyi. Kaakano Alooni, muganda wa Musa, aweereza nga kabona omukulu! Ng’okwo kusosola kwa maanyi! Ate batabani ba Alooni, Nadabu ne Abiku? Tebaasiima nkizo yaabwe ey’obuweereza, era Yakuwa yabazikiriza!’a (Okuva 32:1-5; Eby’Abaleevi 10:1, 2) Ka kibe ki Koola kye yalowooza, kyeyoleka lwatu nti yatandika okutunuulira obwakabona mu ngeri ey’obuntu. Ekyo kyamuviirako okujeemera Musa ne Alooni, era bw’atyo n’ajeemera Yakuwa kennyini.—1 Samwiri 15:23; Yakobo 1:14, 15.
9, 10. Kiki Koola ne bakyewaggula banne kye baavunaana Musa, naye lwaki tebandikoze bwe batyo?
9 Olw’okuba Koola yali musajja mwatiikirivu, tekyamuzibuwalira kusendasenda balala bwe baali bafaananya endowooza okumwegattako. Koola, Dasani ne Abiraamu, baakuŋŋaanya abasajja 250 bwe baali bafaananya endowooza, ate nga bonna bakulu ba bika mu kibiina. Bonna wamu baatuukirira Musa ne Alooni ne babagamba: “Ekibiina kyonna kitukuvu, buli muntu ku bo, era Mukama ali mu bo: kale mwegulumiriza ki okusinga ekibiina kya Mukama?”—Okubala 16:1-3.
10 Bakyewaggula abo bandibadde tebawakanya buyinza bwa Musa. Emabegako, Alooni ne Miryamu baagezaako okukola ekyo kyennyini. Mu butuufu, nabo baalina endowooza ng’eya Koola! Okusinziira ku Okubala 12:1, 2, baabuuza: “Mazima Mukama yayogera ne Musa yekka? [E]ra teyayogera naffe?” Yakuwa yali abawulira. N’olwekyo, yalagira Musa, Alooni, ne Miryamu bakuŋŋaanire ku mulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu asobole okubalaga oyo gwe yali alonze okubakulembera. Awo mu ngeri etegeerekeka obulungi, Yakuwa n’agamba: “[Bwe] munaabanga mu mmwe nnabbi, nze Mukama [n]neetegeezanga gy’ali mu kwolesebwa, [n]naayogereranga naye mu kirooto. Omuddu wange Musa si bw’ali bw’atyo; oyo [mmukwasizza e]nnyumba yange yonna.” Ekyaddirira ekyo, Yakuwa yakuba Miryamu ebigenge okumala ekiseera.—Okubala 12:4-7, 10.
11. Musa yakola atya ku nsonga ezikwata ku Koola?
11 Koola n’abo abaamwegattako bateekwa okuba nga baali bamanyi ekintu ekyo ekyaliwo. Tebaalina nsonga ntuufu eyandibaleetedde okwewaggula. Wadde kyali kityo, Musa yagezaako okubannyonnyola obulungi ensonga mu bugumiikiriza. Yabakubiriza okweyongera okusiima enkizo zaabwe ng’agamba: “Kitono gye muli Katonda wa Isiraeri okubaawula mu kibiina kya Isiraeri, okubasembeza gy’ali?” Nedda tekyali “kitono”! Abaleevi baali balina enkizo nnyingi nnyo. Kati olwo kiki ekirala kye baali beetaaga? Ebigambo bya Musa ebiddirira byayanika ekyo ekyali mu mitima gyabwe: “Era munoonya n’obwakabona?”b (Okubala 12:3; 16:9, 10) Kati, Yakuwa yakolawo ki ku abo abaajeemera abo be yawa obuyinza?
Omulamuzi wa Isiraeri Ayingira mu Nsonga
12. Isiraeri okweyongera okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda kyali kyesigamye ku ki?
12 Yakuwa bwe yawa Abaisiraeri Amateeka, yabagamba nti bwe bandibadde abawulize, bandifuuse “eggwanga ettukuvu,” era nti bandisigadde nga batukuvu bwe bandyeyongedde okugondera enteekateeka ya Yakuwa. (Okuva 19:5, 6) Naye, kati ng’obwewagguzi busitudde enkundi, ekiseera kyali kituuse Omulamuzi wa Isiraeri era Omuwi w’Amateeka okuyingira mu nsonga! Musa yagamba Koola: “Ggwe n’ekibiina kyo kyonna mubeere mu maaso ga Mukama, ggwe nabo ne Alooni, enkya: muddire buli muntu ekyoterezo kye, mubiteekeko obubaane, muleete mu maaso ga Mukama buli muntu ekyoterezo kye, ebyoterezo ebikumi bibiri mu ataano; naawe ne Alooni, buli muntu ekyoterezo kye.”—Okubala 16:16, 17.
13. (a) Lwaki bakyewaggula baali beetulinkiriza bwe baayotereza Yakuwa obubaane? (b) Yakuwa yakola ki bakyewaggula?
13 Okusinziira ku Mateeka ga Katonda, bakabona bokka be baalina okwotereza obubaane. Abaleevi abataali bakabona okusabibwa okwotereza obubaane eri Yakuwa, kyandireetedde abeewagguzi abo okulowooza obulungi ku nsonga. (Okuva 30:7; Okubala 4:16) Naye si bwe kyali eri Koola n’abawagizi be! Enkeera ‘yakuŋŋaanya ekibiina kyonna okuwakanya Musa ne Alooni ku mulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu.’ Ebyawandiikibwa bigamba: “Mukama n’agamba Musa ne Alooni nti Mweyawule wakati mu kibiina kino ndyoke mbazikirize mangu ago.” Naye Musa ne Alooni ne beegayirira Yakuwa obutazikiriza ggwanga. Yakuwa n’awuliriza okusaba kwabwe. Naye Koola n’ekibiina kye “omuliro ne guva eri Mukama ne gwokya abasajja ebibiri mu ataano abaawaayo obubaane.”—Okubala 16:19-22, 35.c
14. Lwaki Yakuwa yabonereza abajeemu mu kibiina ky’abaana ba Isiraeri?
14 Ekyewuunyisa kiri nti Abaisiraeri abaalaba engeri Yakuwa gye yazikirizaamu bakyewaggula tebalina kye baayiga. “Ku [lunaku olwaddako] ekibiina kyonna eky’abaana ba Isiraeri ne beemulugunyiza Musa ne Alooni nga boogera nti Mwasse abantu ba Mukama.” Abaisiraeri baali bazze ku ludda lwa bakyewaggula. Mu nkomerero obugumiikiriza bwa Yakuwa bwatuuka we bukoma. Tewali n’omu eyali ayinza okuwolereza abantu, k’abeere Musa oba Alooni. Yakuwa yaleetera abajeemu kawumpuli, era ‘abo abaafa kawumpuli baali omutwalo gumu mu enkumi nnya mu lusanvu, obutassaako abo abaafa olw’ebigambo bya Koola.’—Okubala 16:41-49.
15. (a) Nsonga ki ezandireetedde Abaisiraeri okukkiriza obukulembeze bwa Musa ne Alooni? (b) Ebyo ebyaliwo bikuyigirizza ki ku Yakuwa?
15 Abantu abo bonna bandisobodde okuwonya obulamu bwabwe. Kye baalina okukola kwe kufumiitiriza obulungi ku nsonga. Bandyebuuzizza ebibuuzo nga bino: ‘Baani abaateeka obulamu bwabwe mu kabi ne batuukirira Falaawo? Baani abaasaba Abaisiraeri bateebwe? Ani eyayitibwa okulinnya Olusozi Korebu oluvannyuma lw’Abaisiraeri okununulibwa ayogere ne malayika wa Katonda maaso ku maaso?’ Awatali kubuusabuusa ebikwata ku Musa ne Alooni byalaga lwatu nti baali beesigwa eri Yakuwa era nti baali baagala abantu. (Okuva 10:28; 19:24; 24:12-15) Yakuwa teyasanyukira kutta bakyewaggula abo. Kyokka, bwe yalaba nti abantu baali bamaliridde okujeema, yabaako ky’akolawo. (Ezeekyeri 33:11) Bino byonna bya makulu gye tuli leero. Lwaki?
Okuzuula Omukutu Leero
16. (a) Bujulizi ki obwandikakasizza Abayudaaya ab’omu kyasa ekyasooka nti Yesu ye yali akiikirira Yakuwa? (b) Lwaki Yakuwa yaggyawo obwakabona bw’Abaleevi, era mu kifo kyabwo yateekawo ki?
16 Leero, waliwo “eggwanga” eppya nga Yakuwa ye Mulamuzi waalyo, y’Aliwa Amateeka, era nga ye Kabaka waalyo. (Matayo 21:43) “Eggwanga” eryo lyatandikibwawo mu kyasa ekyasooka C.E. Mu kiseera ekyo, yeekaalu erabika obulungi ennyo eyali mu Yerusaalemi era ng’Abaleevi baali bakyakoleramu emirimu gyabwe, ye yali ezze mu kifo kya weema eyaliwo mu kiseera kya Musa. (Lukka 1:5, 8, 9) Kyokka, mu mwaka 29 C.E., waliwo yeekaalu endala eyajjawo, ng’eno ya bya mwoyo, era nga Yesu Kristo ye yali Kabona Omukulu. (Abaebbulaniya 9:9, 11) Ensonga ekwata ku kugondera abo Katonda b’awadde obuyinza yabalukawo nate. Baani Yakuwa be yali agenda okukozesa okukulembera “eggwanga” eryo eppya? Yesu yeeraga okuba omwesigwa ennyo eri Katonda. Yali ayagala nnyo abantu. Era yakola eby’amagero bingi. Kyokka, okufaananako bajjajjaabwe abaali abakakanyavu, Abaleevi abasinga obungi tebakkiriza Yesu. (Matayo 26:63-68; Ebikolwa 4:5, 6, 18; 5:17) Mu nkomerero, Yakuwa yaggyawo obwakabona obw’Abaleevi, mu kifo kyabwo n’ateekawo obwakabona obw’enjawulo ennyo—omuli bakabona ng’ate baweereza nga bakabaka. Obwakabona obwo bukyaliwo n’okutuusa leero.
17. (a) Leero, be baani abaweereza nga bakabona era bakabaka? (b) Yakuwa akozesa atya bakabona abo era bakabaka?
17 Baani abali mu bwakabona obwo? Omutume Peetero addamu ekibuuzo ekyo mu bbaluwa ye eyasooka eyaluŋŋamizibwa. Peetero yawandiika bw’ati eri abo abali ekitundu ky’omubiri gwa Kristo abaafukibwako amafuta: “Mmwe muli ggwanga ddonde, bakabona ba kabaka, kika kitukuvu, bantu ba nvuma, mulyoke mubuulirenga ebirungi by’oyo eyabayita okuva mu kizikiza okuyingira mu kutangaala kwe okw’ekitalo.” (1 Peetero 2:9) Okusinziira ku bigambo ebyo, kyeyoleka lwatu nti abagoberezi ba Kristo abaafukibwako amafuta, bonna awamu, be ‘bakabona abo era bakabaka,’ era beebo Peetero be yayita “[e]kika ekitukuvu.” Abagoberezi abo abaafukibwako amafuta gwe mukutu Yakuwa mw’ayitira okuyigiriza abantu be awamu n’okubawa obulagirizi mu by’omwoyo.—Matayo 24:45-47.
18. Kakwate ki akaliwo wakati w’abo abalondeddwa okuweereza ng’abakadde ne bakabona era bakabaka?
18 Abakiikirira bakabona abo era abaweereza nga bakabaka be bakadde abalondebwa okuweerereza mu bifo eby’obuvunaanyizibwa mu bibiina by’abantu ba Yakuwa okwetooloola ensi. Abakadde bano twetaaga okubawa ekitiibwa wamu n’okubawagira ka babe nga baafukibwako amafuta oba nedda. Lwaki? Kubanga Yakuwa alonze abakadde abo okuweerereza mu bifo ebyo ng’akozesa omwoyo gwe omutukuvu. (Abaebbulaniya 13:7, 17) Ekyo kisoboka kitya?
19. Mu ngeri ki abakadde gye balondebwa omwoyo omutukuvu?
19 Abakadde bano batuukiriza ebyetaago ebiragibwa mu Kigambo kya Katonda, ekyaluŋŋamizibwa omwoyo gwe. ( Timoseewo 3:1-7; Tito 1:5-9) Mu ngeri eyo, kiyinza okugambibwa nti balondeddwa omwoyo omutukuvu. (Ebikolwa 20:28) Abakadde bateekwa okuba nga bamanyi bulungi ebiri mu Kigambo kya Katonda. Era okufaananako Omulamuzi Omukulu eyabalonda, abakadde bateekwa okwewalira ddala kyekubiira nga basala emisango.—Ekyamateeka 10:17, 18.
20. Kiki ky’osiima ennyo ku bakadde abakola n’amaanyi?
20 Mazima ddala, mu kifo ky’okunyooma obuyinza bwabwe, tusiima abakadde bano abakola ennyo! Olw’okuweereza mu bwesigwa, ng’emirundi egimu bakikoze okumala emyaka mingi, kituleetera okubeesiga. Beeteekerateekera enkuŋŋaana z’ekibiina era ne bazikubiriza, babuulira wamu naffe “amawulire amalungi ag’Obwakabaka,” era batuwa obulagirizi obwesigamiziddwa ku Byawandiikibwa bwe tuba nga tubwetaaga. (Matayo 24:14; Abaebbulaniya 10:23, 25; 1 Peetero 5:2) Batukyalira nga tuli balwadde era ne batubudaabuda nga tuli banakuwavu. Beesigwa ku bikwata ku Bwakabaka era babiwagira awatali kwerowoozaako. Balina omwoyo gwa Yakuwa; era abasiima.—Abaggalatiya 5:22, 23.
21. Abakadde banditegedde ki, era lwaki?
21 Kya lwatu, abakadde tebatuukiridde. Olw’okuba bamanyi obunafu bwabwe, tebakajjala ku kisibo, ‘obusika bwa Katonda.’ Mu kifo ky’ekyo, ‘bakolera wamu nabo ne kireetera baganda baabwe essanyu.’ (1 Peetero 5:3; 2 Abakkolinso 1:24) Abakadde abawombeefu era abakola ennyo baagala Yakuwa. Bakimanyi nti gye bakoma okukoppa Yakuwa, gye bajja okukoma okuganyula ekibiina. Nga balina kino mu birowoozo, bafuba buli kiseera okukoppa Katonda nga bakulaakulanya engeri ze nga okwagala, okufaayo n’obugumiikiriza.
22. Okwekenneenya ebikwata ku Koola, kinywezezza kitya okukkiriza kwo mu ntegeka ya Yakuwa erabika?
22 Nga tuli basanyufu nnyo okubeera ne Yakuwa ng’Omufuzi waffe atalabika, okuba ne Yesu Kristo nga Kabona waffe Asinga Obukulu, okuba n’abo abakola nga bakabona era bakabaka ng’abayigiriza baffe, era n’abakadde Abakristaayo abatuwa obulagirizi! Wadde nga teri kibiina kikubirizibwa bantu ekiyinza okukola ebintu mu ngeri etuukiridde, tuli basanyufu okuweerereza awamu Katonda ne bakkiriza bannaffe, abagondera abo Katonda b’awadde obuyinza!
[Obugambo obuli wansi]
a Batabani ba Alooni abalala ababiri, Eriyazaali ne Isamaali, bo baali beesigwa mu buweereza bwabwe eri Yakuwa.—Eby’Abaleevi 10:6.
b Dasani ne Abiraamu, abeekobaana ne Koola baali ba mu kika kya Lewubeeni. Olw’okuba mu kika ekyo, baali tebanoonya bwakabona. Bo baali beetamiddwa obukulembeze bwa Musa era n’okuba nti okutuuka mu kiseera ekyo baali tebannatuuka mu Nsi Nsuubize.—Okubala 16:12-14.
c Mu biseera bya bajjajja b’eggwanga lya Isiraeri, buli mutwe gw’amaka yakiikiriranga mukazi we n’abaana eri Katonda, ng’awaayo n’ebiweebwayo ku lwabwe. (Olubereberye 8:20; 46:1; Yobu 1:5) Kyokka, Amateeka bwe gaateekebwawo, Yakuwa yalonda abasajja ab’omu maka ga Alooni okuweereza nga bakabona era nga be bandiyitiddwamu okuwaayo ebiweebwayo. Kirabika bakyewaggula 250 baali tebaagala kugoberera nkola eno empya.
Kiki ky’Oyize?
• Nteekateeka ki Yakuwa ze yassaawo okuwa Abaisiraeri obulagirizi?
• Lwaki Koola teyalina nsonga yonna ntuufu okwewaggula?
• Kiki kye tuyigira ku ngeri Yakuwa gye yayisaamu bakyewaggula?
• Tuyinza tutya okulaga nti tusiima enteekateeka za Yakuwa leero?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]
Otwala buli mulimu mu buweereza bwa Yakuwa ng’enkizo?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]
‘Lwaki mwegulumiriza ku kibiina kya Yakuwa?’
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]
Abakadde bakiikirira abo abaweereza nga bakabona era bakabaka