EKKUBO ERIREETA ESSANYU
Okuba Omumativu n’Okuba Omugabi
EMIRUNDI EMEKA GY’OWULIDDE NG’ABANTU BAGAMBA NTI SSENTE OBA EBY’OBUGAGGA BYE BIREETA ESSANYU? Endowooza eyo ereetedde abantu bangi okumala ebiseera bingi ku mirimu nga bakola nnyo okusobola okufuna ssente ennyingi. Naye ssente n’ebintu bireeta essanyu erya nnamaddala? Obukakafu bulaga ki?
Magazini eyitibwa Journal of Happiness Studies egamba nti bwe tumala okufuna ebintu bye twetaaga, ssente endala ze tuba nazo zikola kitono nnyo ku kwongera ku ssanyu lye tuba nalyo. Naye obuzibu tebuli ku ssente. Magazini eyitibwa Monitor on Psychology egamba nti: “Okululunkanira [ssente] kye kireetera omuntu obutaba musanyufu.” Ebigambo ebyo bikwatagana n’ebigambo bino ebyawandiikibwa mu Bayibuli emyaka nga nkumi bbiri emabega: ‘Okwagala ssente ye nsibuko y’ebibi ebya buli ngeri era olw’okuzaagala abamu beereetedde obulumi bungi.’ (1 Timoseewo 6:9, 10) Obulumi obwo buzingiramu ki?
OKWERALIIKIRIRA N’OKUBULWA OTULO OLW’OKWAGALA OKUKUUMA EBY’OBUGAGGA. Bayibuli egamba nti: “Otulo tw’omuntu akolera abalala tumuwoomera, k’abe ng’alya bitono oba bingi, naye ebintu ebingi omugagga by’aba nabyo tebimuganya kwebaka.”—Omubuulizi 5:12.
OKUGGWAAMU AMAANYI NG’ESSANYU ERYALI LISUUBIRWA TERIFUNIDDWA. Ekyo kiri kityo, kubanga omuntu ayagala ennyo ssente tayinza kuzikkuta. Bayibuli egamba nti: “Omuntu ayagala ennyo ssente tayinza kumatira ssente, n’omuntu ayagala ennyo eby’obugagga tayinza kuba mumativu n’ebyo by’afuna.” (Omubuulizi 5:10) Ate era omuntu ayagala ennyo okugaggawala atuuka n’okulagajjalira ebintu ebisinga obukulu ebireeta essanyu, gamba ng’okubeerako awamu n’ab’omu maka ge awamu ne mikwano gye oba okufunangayo akadde okusinza Katonda.
OBULUMI N’ENNAKU EBIFUNIBWA NG’EBY’OBUGAGGA BIWEDDEWO OBA NGA TEBIKYALINA MUGASO. Bayibuli egamba nti: “Teweekooya kunoonya bya bugagga. Lekera awo era yoleka amagezi. Bw’obitunuulira, tebibaawo, kubanga byefunira ebiwaawaatiro ng’empungu ne bibuuka.”—Engero 23:4, 5.
EBIREETA ESSANYU
OKUBA ABAMATIVU. Bayibuli egamba nti: “Tetwaleeta kintu kyonna mu nsi era tetulina kye tuyinza kuggyamu. N’olwekyo, bwe tunaabanga n’eby’okulya n’eby’okwambala tunaabanga bamativu n’ebyo.” (1 Timoseewo 6:7, 8) Abantu abamativu tebatera kwemulugunya, era okuba abamativu kibayamba obutakwatirwa balala nsaalwa. Ate era olw’okuba tebeegomba bintu bye batasobola kwetuusaako, ekyo kibayamba obuteeraliikirira kiteetaagisa.
OKUBA ABAGABI. Bayibuli egamba nti: “Okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.” (Ebikolwa 20:35) Abantu abagabi baba basanyufu kubanga baagala okusanyusa abalala, ne bwe kiba nti ekyo kyokka kye basobola okuwa abalala bye biseera ebitonotono oba maanyi gaabwe. Naye bye bafuna olw’okugaba bingi nnyo era tewali ssente zisobola kubigula. Ng’ekyokulabirako, baagalibwa, bassibwamu ekitiibwa, bafuna emikwano egya nnamaddala era nagyo egibagabira ku byagyo.—Lukka 6:38.
OKUKULEMBEZA ABANTU SO SI EBINTU. Bayibuli egamba nti: “Okulya enva endiirwa awali okwagalana kisinga okulya ennyama y’ente ensava awali okukyawagana.” (Engero 15:17) Makulu ki agali mu lunyiriri olwo? Abantu okubeera nga baagalana kya muwendo nnyo okusinga eby’obugagga. Ate era nga bwe tujja okulaba, okwagala kye kimu ku bintu ebireeta essanyu.
Omukyala omu ayitibwa Sabina yalaba emiganyulo egiri mu kukolera ku magezi agali mu Bayibuli. Omwami we yamulekawo, era Sabina tekyamubeerera kyangu kweyimirizaawo wamu ne bawala be ababiri. Yakolanga emirimu ebiri era nga buli lunaku azuukuka ssaawa kkumi ez’ekiro. Wadde nga Sabina yalina eby’okukola bingi yasalawo okuyiga Bayibuli. Kiki ekyavaamu?
Embeera ye ey’eby’enfuna kyenkana yasigala y’emu. Naye engeri gye yali atunuuliramu ebintu yakyuka nnyo. Ng’ekyokulabirako, yafuna essanyu eriva mu kumanya ebikwata ku Katonda. (Matayo 5:3) Yafuna n’emikwano egya nnamaddala mu bakkiriza banne. Era yafuna essanyu eriva mu kugaba bwe yatandika okubuulirako abalala ku bye yali ayize.
Bayibuli eraga nti ebyo ebiva mu kukolera ku magezi bye biraga obanga malungi. (Matayo 11:19) N’olwekyo, kyeyoleka kaati nti okuba abamativu, okugaba, n’okukulembeza abantu mu kifo ky’ebintu kireeta essanyu!