ESSUULA 22
Lwaki Tetusaanidde Kulimba?
WATYA singa omuwala agamba maama we nti: “Nja kukomawo mangu awaka nga baakatusiibula ku ssomero.” Kyokka n’asigalayo ng’azannya ne mikwano gye, oluvannyuma n’agamba maama we nti: “Omusomesa y’andwisizaayo ku ssomero.” Kyandibadde kituufu okwogera bw’atyo?—
Oba singa omulenzi agamba taata we nti: “Nedda taata, sinnasambira mupiira mu nnyumba.” Naye watya nga ddala yakikoze? Kiba kituufu okugamba nti teyakikoze?—
Omuyigiriza Omukulu yatulaga ekintu ekituufu kye tusaanidde okukola. Yagamba nti: “Ekigambo kyammwe Yee, kibeerenga Yee, n’ekigambo kyammwe Nedda, kibeerenga Nedda; ekisingako awo kiva eri omubi.” (Matayo 5:37) Yesu okwogera ebigambo ebyo, yali ategeeza ki?— Yali ategeeza nti tusaanidde okutuukiriza ebyo bye twogera.
Waliwo ekyokulabirako mu Bayibuli ekiraga engeri gye kiri ekikulu ennyo okwogera amazima. Kikwata ku bantu ababiri abaali beeyita abayigirizwa ba Yesu. Ka tulabe ekyaliwo.
Nga tewannayita myezi ebbiri oluvannyuma lw’okufa kwa Yesu, abantu bangi baava mu bitundu eby’ewala ne bajja e Yerusaalemi okukwata embaga enkulu ey’Abayudaaya eyali eyitibwa Pentekoote. Omutume Peetero yawa emboozi ennungi ennyo eyayamba abantu okutegeera ebikwata ku Yesu, Yakuwa gwe yali azuukiza mu bafu. Bangi ku abo abaali baze e Yerusaalemi ogwo gwe gwali omulundi gwabwe ogusooka okuyiga ebikwata ku Yesu, era baali baagala okumanya ebisingawo. Kati kiki kye baakola?
Tebaddayo mangu waabwe nga bwe baali basuubira. Era oluvannyuma lw’ekiseera, abamu ssente zaabaggwaako ne baba nga beetaaga obuyambi okugula emmere. Abayigirizwa abaali babeera mu Yerusaalemi baayagala okubayamba. N’olwekyo, bangi ku bayigirizwa abo baatunda ebintu byabwe ssente ne baziwa abatume ba Yesu. Oluvannyuma ssente ezo abatume baaziwa abo abaali mu bwetaavu.
Ananiya ne mukyala we, Safira, ab’omu kibiina Ekikristaayo eky’omu Yerusaalemi, baatunda ennimiro yaabwe. Tewali yabalagira kugitunda. Bo bennyini be beesalirawo okugitunda. Naye ekyo tebaakikola lwa kuba nti baali baagala abayigirizwa ba Yesu abapya. Wabula, Ananiya ne Safira baali baagala abalala balowooze nti balungi nnyo. N’olwekyo baasalawo bagambe nti ssente zonna bagenda kuziwaayo okuyamba abalala. Naye ekituufu kiri nti baali bagenda kuwaayo kitundu bagambe nti bawaddeyo ssente zonna. Olowooza ekyo kyali kirungi?—
Ananiya yatwalira abatume ssente ezo. Naye Katonda yali akimanyi nti tawaddeyo ssente zonna. N’olwekyo Katonda yasobozesa Peetero okukitegeera nti Ananiya yali alimba.
Peetero yamubuuza nti: ‘Ananiya, lwaki wakkirizza Sitaani okukuleetera okukola kino? Ennimiro yali yiyo. Wali tolina kugitunda. Era bwe wandigitunze, ssente ezandivuddemu ggwe wandisazeewo eky’okuzikolera. Naye kati lwaki ogamba nti owaddeyo ssente zonna ng’ate owaddeyo kitundu? Tolimbye ffe, wabula olimbye Katonda.’
Ensonga eyo teyali ntono. Ananiya yali alimba! Ekyo kye yali ayogera si kye yali akoze. Kyokka ye yalaga nti ky’akoze. Bayibuli etubuulira ekyaddirira. Egamba nti: ‘Ananiya bwe yawulira ebigambo bya Peetero, n’agwa wansi n’afa.’ Katonda yatta Ananiya! Oluvannyuma, omulambo gwe gwatwalibwa ne guziikibwa.
Nga wayiseewo essaawa nga ssatu, ne Safira yajja. Yali tamanyi kituuse ku bba. N’olwekyo Peetero yamubuuza nti: ‘Ennimiro mwagitunda ssente zino ze mutuwadde?’
Safira yaddamu nti: ‘Yee, ennimiro twagitunda ssente ezo.’ Naye yali alimba! Baali tebawaddeyo ssente zonna ze baali batunze mu nnimiro. N’olwekyo Katonda yatta ne Safira.—Ebikolwa 5:1-11.
Ekyo ekyatuuka ku Ananiya ne Safira kituyigiriza ki?— Kituyigiriza nti Katonda tayagala balimba. Ayagala twogere amazima buli kiseera. Naye abantu bangi bagamba nti okulimba si kibi. Olowooza abantu abo batuufu?— Obadde okimanyi nti okulwala, obulumi, n’okufa ebiriwo mu nsi by’ava ku bulimba?—
Jjukira nti Omulyolyomi yalimba omukazi eyasooka ayitibwa Kaawa. Yamugamba nti teyandifudde singa ajeemera Katonda n’alya ekibala Katonda kye yali amugaanye okulya. Kaawa yakkiriza ebyo Omulyolyomi bye yamugamba n’alya ekibala. Kaawa yasendasenda Adamu naye n’alya. Awo baafuuka boonoonyi, era n’abaana baabwe bonna bandizaaliddwa nga boonoonyi. Eyo ye nsonga lwaki abaana ba Adamu bonna baabonaabona era ne bafa. Obuzibu obwo bwonna bwava ku ki?— Bwava ku kulimba.
Tekyewuunyisa nti Yesu yagamba nti Omulyolyomi “mulimba era kitaawe w’obulimba”! Ye yasooka okulimba. Omuntu yenna bw’alimba, aba akola ekyo Omulyolyomi kye yakola ku lubereberye. Tusaanidde okulowooza ku kino buli lwe twesanga mu mbeera eyinza okutuleetera okwagala okulimba.—Yokaana 8:44.
Mbeera ki eyinza okukuleetera okwagala okulimba?— Si ng’okoze ekikyamu?— Oyinza okwonoona ekintu wadde nga togenderedde. Singa bakubuuza eyakyonoonye, onoogamba nti muganda wo oba mwannyoko? Oba oneebuzaabuza ng’ataliiko ky’omanyi?—
Watya singa ku ssomero bakuwa eby’okukolera awaka naye n’otabimaliriza? Onoogamba nti wabikoze byonna, ng’ate tewabimalirizza?— Tusaanidde okujjukira Ananiya ne Safira. Tebaayogerera ddala mazima. Era Katonda yabatta okulaga nti ekyo kye baali bakoze kyali kibi nnyo.
N’olwekyo, ka tube nga tukoze ki, kiba kibi nnyo okulimba, era tusaanidde okwogerera ddala amazima. Bayibuli egamba nti: “Mwogere amazima.” Era egamba nti: “Temulimbagananga.” Bulijjo Yakuwa ayogera amazima, era atusuubira okukola kye kimu.—Abeefeso 4:25; Abakkolosaayi 3:9.
Bulijjo tusaanidde okwogera amazima. Ensonga eno eragibwa mu Okuva 20:16; Engero 6:16-19; 12:19; 14:5; 16:6; ne Abebbulaniya 4:13.