Okwogera Amazima
“Mwogerenga amazima buli omu eri munne.”—ZEK. 8:16.
1, 2. Kintu ki ekisinze okukosa abantu, era ani yatandikawo ekintu ekyo?
ESSIMU, amasannyalaze, emmotoka, ne firiiji bye bimu ku bintu abantu bye bavumbudde ebyongedde okulongoosa embeera y’obulamu. Kyokka ebintu ebimu abantu bye bavumbudde, gamba ng’emmundu, bbomu, ne ssigala, bya bulabe eri obulamu bw’omuntu. Naye waliwo ekintu ekyabisookawo byonna ekikosezza ennyo abantu. Kintu ki ekyo? Bwe bulimba! Okulimba kwe kwogera ekintu ky’omanyi nti si kituufu ng’olina ekigendererwa eky’okubuzaabuza abalala. Ani yasooka okulimba? Yesu yagamba nti “Omulyolyomi” ye “kitaawe w’obulimba.” (Soma Yokaana 8:44.) Ddi Sitaani lwe yasooka okulimba?
2 Ekyo kyaliwo emyaka nkumi na nkumi emabega mu lusuku Edeni. Adamu ne Kaawa, abantu abaasooka, baali banyumirwa obulamu mu Lusuku Omutonzi waabwe mwe yali abatadde. Sitaani yali akimanyi nti Katonda yali alagidde Adamu ne Kaawa obutalya ku ‘muti ogw’okumanya ekirungi n’ekibi,’ era nti bwe bandijeemedde etteeka eryo bandifudde. Wadde kyali kityo, Sitaani, ng’ayitira mu musota, yagamba Kaawa nti: “Okufa temujja kufa [obulimba obwasooka]. Kubanga Katonda amanyi nti olunaku lwe muligulyako, amaaso gammwe lwe galizibuka ne muba nga Katonda, nga mumanyi ekirungi n’ekibi.”—Lub. 2:15-17; 3:1-5.
3. Lwaki tuyinza okugamba nti Sitaani okulimba Kaawa kyali kikolwa kya ttima, era biki ebyavaamu?
3 Obulimba obwo Sitaani bwe yayogera bulaga nti wa ttima nnyo kubanga yali akimanyi nti Kaawa bwe yandibukkirizza n’alya ku kibala, yandifudde. Kaawa ne Adamu baajeemera Yakuwa era oluvannyuma baafa. (Lub. 3:6; 5:5) Ate era okuyitira mu kibi ekyo, ‘okufa kwabuna ku bantu bonna.’ Mu butuufu, “okufa kwafuga nga kabaka . . . , era kwafuga n’abo abataayonoona mu ngeri y’emu nga Adamu.” (Bar. 5:12, 14) Kati mu kifo ky’abantu okubeerawo emirembe gyonna nga basanyufu nga Katonda bwe yali ateeseteese mu kusooka, bawangaala “emyaka 70, oba 80, omuntu bw’aba omugumu ennyo.” Wadde kiri kityo, emirundi mingi giba “gijjudde ebizibu n’ennaku.” (Zab. 90:10) Obulimba bwa Sitaani nga bwatuleetera ennaku nnyingi!
4. (a) Bibuuzo ki bye tugenda okwekenneenya? (b) Okusinziira ku Zabbuli 15:1, 2, baani bokka abasobola okuba mikwano gya Yakuwa?
4 Ng’ayogera ku Mulyolyomi, Yesu yagamba nti: “Teyanywerera mu mazima kubanga amazima tegaamuliimu.” Ne leero Sitaani amazima tegamuliimu, kubanga akyeyongera ‘okulimbalimba ensi yonna.’ (Kub. 12:9) Tetwagala kulimbibwalimbibwa Sitaani. Kati ka tulabe eby’okuddamu mu bibuuzo bino ebisatu: Sitaani alimbalimba atya abantu? Lwaki abantu batera okulimba? Ate era tuyinza tutya okukiraga nti ‘twogera amazima’ ekiseera kyonna, tuleme kufiirwa nkolagana yaffe ne Yakuwa nga Adamu ne Kaawa bwe baagifiirwa?—Soma Zabbuli 15:1, 2.
ENGERI SITAANI GY’ALIMBALIMBAMU ABANTU
5. Sitaani alimbalimba atya abantu leero?
5 Omutume Pawulo yali akimanyi nti tusobola okwewala okulimbibwalimbibwa Sitaani “kubanga tumanyi ebiruubirirwa bye.” (2 Kol. 2:11; obugambo obuli wansi) Tukimanyi nti ensi yonna, nga mw’otwalidde amadiini ag’obulimba, eby’obufuzi ebijjudde ebikolwa ebibi, awamu n’eby’obusuubuzi ebijjudde omululu, eri mu buyinza bwa Sitaani. (1 Yok. 5:19) N’olwekyo tekyewuunyisa nti Sitaani ne badayimooni be basobola okuleetera abantu abatutumufu mu nsi ‘okwogera eby’obulimba.’ (1 Tim. 4:1, 2) Ekyo tukirabira ku bantu abalina bizineesi ennene abatunda ebintu eby’obulabe eri obulamu bw’abantu era abalimba abantu okuyitira mu bulango.
6, 7. (a) Lwaki abakulu b’amadiini abayigiriza eby’obulimba baliko omusango munene? (b) Bulimba ki bwe wali owulidde ng’abakulu b’amadiini bayigiriza?
6 Abakulu b’amadiini abayigiriza eby’obulimba baliko omusango munene kubanga bateeka mu kabi obulamu bw’abantu abakkiriza obulimba bwabwe. Omuntu bw’akkiriza enjigiriza ez’obulimba era n’akola ekintu Katonda ky’atayagala, kisobola okumuviirako obutafuna bulamu butaggwaawo. (Kos. 4:9) Yesu yali akimanyi nti abakulembeze b’eddiini abaaliwo mu kiseera kye baaliko omusango olw’okulimbalimba abantu. Yabagamba nti: “Zibasanze mmwe abawandiisi n’Abafalisaayo, bannanfuusi! kubanga muyita ku nnyanja ne ku lukalu ne mugenda okukyusa omuntu omu, era bwe mumala okumukyusa mumufuula agwanira Ggeyeena [okuzikirizibwa okw’emirembe n’emirembe] emirundi ebiri okusinga mmwe.” (Mat. 23:15; obugambo obuli wansi) Yesu yavumirira nnyo abakulembeze b’eddiini abo abaali bayigiriza ebintu eby’obulimba. Mazima ddala Omulyolyomi ‘kitaawe w’obulimba era omussi’ ye yali kitaabwe.—Yok. 8:44.
7 Ne leero waliwo abakulembeze b’amaddiini bangi, era abamu bayitibwa bapasita, balabbi, bafaaza, abaawule, n’abalala. Okufaananako bannaabwe abaaliwo mu kyasa ekyasooka, ‘balemesa abantu okumanya amazima’ agali mu Kigambo kya Katonda era babaleetera ‘okukkiriza obulimba mu kifo ky’amazima ga Katonda.’ (Bar. 1:18, 25) Bayigiriza abantu ebintu eby’obulimba. Ng’ekyokulabirako, bagamba nti abantu ababi bookebwa mu muliro ogutazikira, nti waliwo ekiwonawo ng’omuntu afudde, nti omuntu ne bw’ajja nga bw’ali n’atakyusa makubo ge Katonda amusiima, era nti Katonda akkiriza ekikolwa eky’okulya ebisiyaga oba eky’abantu abafaanaganya ekikula okufumbiriganwa.
8. Bulimba ki bwe tusuubira bannabyabufuzi okwogera mu maaso awo, era tusaanidde kubutwala tutya?
8 Bannabyabufuzi boogera obulimba okubuzaabuza abantu. Obumu ku bulimba obw’amaanyi bannabyabufuzi bwe banaatera okwogera kwe kulangirira nti basobodde okuleetawo ‘emirembe n’obutebenkevu!’ Naye mu kiseera ekyo ‘okuzikiriza okw’amangu kujja kubajjira.’ Tetusaanidde kukkiriza kulimbibwalimbibwa bannabyabufuzi abo! Tukimanyi “bulungi nti olunaku lwa Yakuwa lugenda kujja ng’omubbi bw’ajja ekiro.”—1 Bas. 5:1-4.
ENSONGA LWAKI ABANTU BATERA OKULIMBA
9, 10. (a) Lwaki abantu batera okulimba, era biki ebivaamu? (b) Kiki kye tusaanidde okujjukira ku Yakuwa?
9 Ekintu ekipya bwe kikolebwa abantu bangi ne bakyagala, oluvannyuma kifulumizibwa mu bungi. Bwe kityo bwe kibadde ne ku bulimba. Leero abantu bangi, omuli abatutumufu n’abatali batutumufu, balimba. Mu kitundu ekimu ekirina omutwe ogugamba nti “Ensonga Lwaki Tulimba,” omusajja ayitibwa Bhattacharjee yagamba nti: “Obulimba busensedde nnyo abantu.” Abantu batera okulimba olw’okwagala okukuuma erinnya lyabwe oba okwewaako ekifaananyi ekirungi. Balimba okusobola okukweka ensobi zaabwe oba okufuna ssente n’ebintu ebirala. Ng’ekitundu ekyo bwe kyalaga, abantu abamu “banguyirwa okulimba mu bintu ebinene ne mu buntu obutono. Balimba abantu be batamanyi, bakozi bannaabwe, mikwano gyabwe, n’ab’eŋŋanda zaabwe.”
10 Biki ebiva mu bulimba obwo? Abantu balekera awo okwesigaŋŋana era enkolagana gye balina n’abalala efa. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ngeri omusajja gy’awuliramu nga mukyala we ayenze ate n’agezaako okumulimba okusobola okukweka ekikolwa ekyo ky’aba akoze. Oba lowooza ku ngeri omukyala gy’awuliramu ng’omwami we amutulugunya ye n’abaana be, kyokka nga bw’atuuka mu bantu yeefuula omwami omulungi. Naye abantu ng’abo tebalina kye basobola kukweka Yakuwa kubanga “ebintu byonna byeruliddwa era birabibwa” mu maaso ge.—Beb. 4:13.
11. Kiki kye tuyigira ku Ananiya ne Safira? (Laba ekifaananyi ku lupapula 6.)
11 Ng’ekyokulabirako, Bayibuli eyogera ku ngeri ‘Sitaani gye yawagamu’ omwami omu ne mukyala we abaaliwo mu kyasa ekyasooka okulimba Katonda. Ananiya ne Safira baamalirira mu mitima gyabwe okulimba abatume. Baatunda ekibanja kyabwe naye ne baleetako kitundu kya ssente ne bazikwasa abatume. Ananiya ne Safira baayagala okwewaako ekifaananyi ekirungi mu kibiina nga beefuula ng’abaali bawaddeyo ekinene ennyo. Naye Yakuwa yali alabye kye baali bakoze era yababonereza.—Bik. 5:1-10.
12. Kiki ekigenda okutuuka ku balimba abateenenya, era lwaki?
12 Yakuwa atwala atya okulimba? Bayibuli egamba nti Sitaani n’abalimba bonna abateenenya bajja kusuulibwa mu “nnyanja ey’omuliro.” (Kub. 20:10; 21:8; Zab. 5:6) Lwaki? Kubanga abalimba be bamu ku abo abali mu kiti ky’abantu “abakola ebikolwa ebyenyinyaza mu maaso ga Katonda.”—Kub. 22:15, obugambo obuli wansi.
13. Kiki kye tumanyi ku Yakuwa, era ekyo kitukubiriza kukola ki?
13 Tukimanyi nti Yakuwa “si muntu nti asobola okulimba.” Mu butuufu, “Katonda tayinza kulimba.” (Kubal. 23:19; Beb. 6:18) ‘Yakuwa akyawa olulimi olulimba.’ (Nge. 6:16, 17) Okusobola okusiimibwa mu maaso ge tulina okwogera amazima. Eyo ye nsonga lwaki ‘tetulimbagana.’—Bak. 3:9.
‘BOOGERA AMAZIMA’
14. (a) Ekimu ku bintu ebitwawulawo ku bantu abali mu madiini ag’obulimba kye kiruwa? (b) Nnyonnyola omusingi oguli mu Lukka 6:45.
14 Ekimu ku bintu ebyawulawo Abakristaayo ab’amazima ku bantu abali mu madiini ag’obulimba kye kiruwa? ‘Boogera amazima.’ (Soma Zekkaliya 8:16, 17.) Pawulo yagamba nti: “Tukiraga nti tuli baweereza ba Katonda, . . . mu kwogera amazima.” (2 Kol. 6:4, 7) Yesu yagamba nti: ‘Ebijjula mu mutima gw’omuntu akamwa ke bye koogera.’ (Luk. 6:45) N’olwekyo omuntu bw’aba ow’amazima mu mitima gwe, ayogera amazima. Ayogera amazima mu bintu ebinene ne mu bintu ebitono, k’abe ng’ayogera n’abantu b’atamanyi, bakozi banne, mikwano gye, n’ab’eŋŋanda ze. Lowooza ku bintu ebimu bye tuyinza okukola okukiraga nti tufuba okuba abeesigwa mu bintu byonna.
15. (a) Lwaki si kya magezi n’akamu okutambulira mu bulamu obw’emirundi ebiri? (b) Kiki ekisobola okuyamba abavubuka okwewala okutwalirizibwa enneeyisa embi eya bavubuka bannaabwe? (Laba obugambo obuli wansi.)
15 Watya singa oli muvubuka era ng’oyagala nnyo okusanyusa bavubuka banno? Weewale okutambulira mu bulamu obw’emirundi ebiri ng’abamu bwe bakola. Balabika nga bampisa nnungi nga bali wamu n’ab’eŋŋanda zaabwe oba n’ab’oluganda mu kibiina, naye bwe baba ne bavubuka bannaabwe oba nga bali ku mikutu emigatta bantu baba ba njawulo nnyo. Bayinza okuba nga bakozesa olulimi olubi, nga bambala bubi, nga bawuliriza ennyimba ezitasaana, nga bakozesa bubi omwenge, nga bakozesa ebiragalalagala, nga boogerezeganya mu kyama, oba nga bakola ebintu ebirala ebibi. Obulamu bwabwe babutambuliza mu bulimba nga bagezaako okubuzaabuza bazadde baabwe, bakkiriza bannaabwe, ne Katonda. (Zab. 26:4, 5) Yakuwa akimanya bwe tuba nga ‘tumussaamu ekitiibwa kya ku mimwa, naye ng’emitima gyaffe gimuli wala.’ (Mak. 7:6) Nga kiba kya magezi okukolera ku kubuulirira kuno: “Omutima gwo ka guleme okukwatirwanga aboonoonyi ensaalwa, naye tyanga Yakuwa olunaku lwonna.”—Nge. 23:17.a
16. Tuyinza tutya okwogera amazima nga twagala okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna?
16 Watya singa oyagala okuweereza nga payoniya owa bulijjo oba okwenyigira mu buweereza obulala bwonna obw’ekiseera kyonna, gamba ng’okuweereza ku Beseri. Bw’oba ojjuzaamu foomu, kikulu nnyo okwogera amazima ng’oddamu ebibuuzo ebikwata ku mbeera y’obulamu bwo, ku by’okwesanyusaamu by’olondawo, ne ku mpisa zo. (Beb. 13:18) Watya singa weenyigira mu bikolwa ebibi naye abakadde ne batakimanyaako? Tuukirira abakadde bakuyambe osobole okuweereza Katonda ng’olina omuntu ow’omunda omulungi.—Bar. 9:1; Bag. 6:1.
17. Kiki kye tusaanidde okukola ng’abo abatuyigganya batubuuza ebikwata ku baganda baffe?
17 Kiki kye wandikoze singa ab’obuyinza baweera omulimu gwaffe mu nsi yammwe era ne bakuyita okubaako bye bakubuuza ku b’oluganda? Wandibabuulidde buli kimu ky’omanyi? Kiki Yesu kye yakola, gavana Omuruumi bwe yamubuuza ebibuuzo ng’amuwozesa? Ng’akolera ku musingi ogugamba nti waliwo “ekiseera eky’okusirika n’ekiseera eky’okwogera,” ebibuuzo ebimu Yesu yabiddamu ate ebirala n’asalawo okusirika! (Mub. 3:1, 7; Mat. 27:11-14) Bwe twesanga mu mbeera ng’eyo kyetaagisa okukozesa amagezi tuleme okussa baganda baffe kabi.—Nge. 10:19; 11:12.
18. Kiki kye tusaanidde okukola nga tuliko bye tubuulira abakadde ebikwata ku baganda baffe?
18 Watya singa waliwo omuntu mu kibiina akoze ekibi eky’amaanyi era n’okimanyaako? Olw’okuba abakadde balina obuvunaanyizibwa obw’okukuuma ekibiina nga kiyonjo, bayinza okubaako bye bakubuuza ku nsonga eyo. Kiki ky’onookola nnaddala singa omuntu gwe bakubuuzaako mukwano gwo ow’oku lusegere oba akulinako oluganda? “Omujulizi omwesigwa ayogera mazima.” (Nge. 12:17; 21:28) N’olwekyo, osaanidde okubuulira abakadde amazima gonna. Tobabuulirako bimu na bimu era togezaako kunyoolanyoola bintu. Abakadde baba beetaaga okumanya ekituufu basobole okulaba engeri esingayo obulungi ey’okuyambamu omwonoonyi asobole okuddamu okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa.—Yak. 5:14, 15.
19. Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?
19 Dawudi yasaba Yakuwa n’amugamba nti: “Osanyukira amazima agali mu mutima.” (Zab. 51:6) Dawudi yali akimanyi nti okuba ab’amazima kiva mu mitima. Mu mbeera zonna ez’obulamu, Abakristaayo ab’amazima balina ‘okwogeranga amazima buli omu eri munne.’ Engeri endala gye tuyinza okulagamu nti tuli baweereza ba Katonda kwe kuyigiriza abalala amazima nga tubuulira. Ekitundu ekiddako kijja kutuyamba okulaba engeri ekyo gye tuyinza okukikolamu.
a Laba essuula eya 15 n’eya 16 mu katabo Questions Young People Ask—Answers That Work, Omuzingo 2.