ESSOMO 35
Engeri gy’Oyinza Okusalawo mu Ngeri ey’Amagezi
Ffenna tuba n’ebintu bye tulina okusalawo. Bingi ku ebyo bye tusalawo birina kinene kye bikola ku bulamu bwaffe ne ku nkolagana yaffe ne Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, kiyinza okutwetaagisa okusalawo wa we tunaabeera, mulimu ki gwe tunaakola okweyimirizaawo, oba okusalawo obanga tunaayingira obufumbo. Bwe tusalawo obulungi, tuba basanyufu era tusanyusa ne Yakuwa.
1. Bayibuli eyinza etya okukuyamba okusalawo obulungi?
Nga tonnasalawo ku kintu kyonna, sooka osabe Yakuwa akuyambe era onoonyereze mu Bayibuli olabe endowooza gy’alina ku ekyo ky’oyagala okusalawo. (Soma Engero 2:3-6.) Ebimu ku ebyo bye tuba twagala okusalawo biriko amateeka amalambulukufu Yakuwa ge yatuteerawo. Bwe kiba kityo, kiba kya magezi okugondera amateeka ago.
Naye watya singa mu Bayibuli temuliimu tteeka likwata ku ekyo kye tuba twagala okusalawo? Ne mu mbeera eyo, Yakuwa atuyamba okumanya ‘ekkubo lye tusaanidde okukwata.’ (Isaaya 48:17) Atya? Mu Bayibuli mulimu emisingi egituyamba okusalawo obulungi. Emisingi gya Bayibuli bwe bulagirizi obutakyukakyuka obuva eri Katonda kwe tusinziira okumanya endowooza gy’alina ku bintu ebitali bimu. Oluusi tumanya endowooza Yakuwa gy’alina ku kintu, bwe tusoma ku bintu ebimu ebyogerwako mu Bayibuli. Bwe tumanya endowooza Yakuwa gy’alina ku kintu, tuba tusobola okusalawo mu ngeri emusanyusa.
2. Biki by’osaanidde okusooka okulowoozaako nga tonnasalawo?
Bayibuli egamba nti: “Omuntu ow’amagezi afumiitiriza ku buli ky’agenda okukola.” (Engero 14:15) Ekyo kiraga nti tusaanidde okusooka okufumiitiriza ennyo nga tetunnasalawo. Ng’olowooza ku ngeri ez’enjawulo z’oyinza okusalawo, weebuuze: ‘Misingi ki egya Bayibuli egisobola okunnyamba? Kiruwa ekinampa emirembe mu mutima? Ekyo kye nnaasalawo kinaakwata kitya ku balala? N’ekisingira ddala obukulu, kinaasanyusa Yakuwa?’—Ekyamateeka 32:29.
Yakuwa y’alina okutubuulira ekirungi n’ekibi. Bwe tutegeera obulungi amateeka ge n’emisingi gye era ne tuba bamalirivu okubikolerako, tuba tutendeka omuntu waffe ow’omunda. Omuntu ow’omunda bwe busobozi bwe tulina obw’okwawulawo ekituufu n’ekikyamu. (Abaruumi 2:14, 15) Bwe tutendeka obulungi omuntu waffe ow’omunda, atuyamba okusalawo obulungi.
YIGA EBISINGAWO
Laba engeri emisingi gya Bayibuli n’omuntu ow’omunda gye bituyamba ennyo nga tulina bye tusalawo.
3. Leka Bayibuli ekuwe obulagirizi
Emisingi gya Bayibuli gituyamba gitya nga tulina bye tusalawo? Laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino wammanga.
Kirabo ki eky’omuwendo Yakuwa kye yatuwa?
Lwaki Yakuwa yatuwa eddembe ery’okwesalirawo?
Kiki kye yatuwa ekisobola okutuyamba okusalawo obulungi?
Okusobola okulabayo ekyokulabirako ekimu eky’emisingi egiri mu Bayibuli, soma Abeefeso 5:15, 16. Oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku ‘ngeri gy’oyinza okukozesaamu obulungi ebiseera byo’ okusobola . . .
okusoma Bayibuli buli lunaku.
okuba omwami oba omukyala omulungi, omuzadde omulungi, oba omwana omulungi.
okubangawo mu nkuŋŋaana.
4. Tendeka omuntu wo ow’omunda osobole okusalawo obulungi
Bwe wabaawo etteeka erirambulukufu mu Byawandiikibwa erikwata ku nsonga etwetaagisa okusalawo, kiba kyangu okumanya ekituufu eky’okukola. Naye watya singa tewaliiwo tteeka lirambulukufu lyogera ku nsonga eyo? Laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino wammanga.
Mu vidiyo eyo, kiki mwannyinaffe kye yakola okusobola okutendeka omuntu we ow’omunda n’amuyamba okusalawo mu ngeri esanyusa Yakuwa?
Lwaki tetusaanidde kusaba balala kutusalirawo? Soma Abebbulaniya 5:14, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
Wadde nga kiyinza okutubeerera ekyangu okusaba abalala okutusalirawo, kiki kye tusaanidde okuba nga tusobola okwawulawo?
Bintu ki by’osobola okukozesa okutendeka omuntu wo ow’omunda n’akuyamba okusalawo obulungi?
5. Ssa ekitiibwa mu muntu ow’omunda ow’abalala
Abantu basobola okusalawo mu ngeri za njawulo ku kintu kye kimu. Tuyinza tutya okukiraga nti tussa ekitiibwa mu muntu ow’omunda ow’abalala? Lowooza ku mbeera zino ez’emirundi ebiri:
Embeera 1: Mwannyinaffe ayagala okwekolako ennyo, agenda mu kibiina omuli bannyinaffe abakitwala nti si kirungi kwekolako nnyo.
Soma Abaruumi 15:1 ne 1 Abakkolinso 10:23, 24, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
Okusinziira ku nnyiriri ezo, kiki mwannyinaffe oyo ky’ayinza okusalawo? Kiki ky’oyinza okukola ng’oli n’omuntu alina omuntu ow’omunda amugaana okukola ekintu ekimu, kyokka nga ggwe omuntu wo ow’omunda akukkiriza okukikola?
Embeera 2: Ow’oluganda omu akimanyi nti Bayibuli tetugaana kunywa mwenge gwa kigero, naye ye asalawo obutagunywa. Ayitibwa ku kabaga akamu, era alaba ab’oluganda nga banywa omwenge.
Soma Omubuulizi 7:16 ne Abaruumi 14:1, 10, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
Okusinziira ku nnyiriri ezo, kiki ow’oluganda oyo ky’ayinza okusalawo? Kiki ky’onookola bw’olaba ng’omuntu omulala akola ekintu omuntu wo ow’omunda ky’atakukkiriza kukola?
Ebinaakuyamba okusalawo obulungi
1. Saba Yakuwa akuyambe okusalawo eky’okukola.—Yakobo 1:5.
2. Noonyereza mu Bayibuli ne mu bitabo ebyesigamiziddwa ku Bayibuli, olabe emisingi gy’osobola okukolerako. Oyinza n’okwebuuza ku Bakristaayo abakulu mu by’omwoyo.
3. Lowooza ku ngeri ekyo ky’oyagala okusalawo gye kinaakwata ku muntu wo ow’omunda ne ku muntu ow’omunda ow’abalala.
ABAMU BAGAMBA NTI: “Nnina eddembe okukola kyonna kye njagala. Abalala kye balowooza tekinkwatako.”
Lwaki tusaanidde okulowooza ku ngeri Katonda gy’awuliramu awamu n’abantu abalala?
MU BUFUNZE
Bwe tumanya engeri Yakuwa gy’atwalamu ekintu, era ne tufumiitiriza ku ngeri ekyo kye twagala okusalawo gye kinaakwata ku balala, kituyamba okusalawo mu ngeri ennungi.
Okwejjukanya
Oyinza otya okusalawo mu ngeri esanyusa Yakuwa?
Oyinza otya okutendeka omuntu wo ow’omunda?
Oyinza otya okukiraga nti ossa ekitiibwa mu muntu ow’omunda ow’abalala?
LABA EBISINGAWO
Oyinza otya okusalawo mu ngeri ekuyamba okunyweza enkolagana yo ne Katonda?
“Salawo mu Ngeri Eweesa Katonda Ekitiibwa” (Omunaala gw’Omukuumi, Apuli 15, 2011)
Weeyongere okumanya engeri Yakuwa gy’atuwaamu obulagirizi.
Laba ebyayamba omusajja omu okusalawo ekintu ekitaali kyangu.
Manya ebisingawo ku ngeri gy’oyinza okusanyusaamu Yakuwa ng’osalawo ku nsonga etaliiko tteeka lirambulukufu ligyogerako.
“Buli Kiseera Weetaaga Etteeka Okuva mu Bayibuli Okusobola Okumanya eky’Okukola?” (Watchtower, Ddesemba 1, 2003)