Ssaddaaka ez’Okutendereza Ezisanyusa Yakuwa
‘Muweeyo emibiri gyammwe ssaddaaka ennamu, entukuvu, esanyusa Katonda.’—ABARUUMI 12:1.
1. Kiki Baibuli ky’eyogera ku muganyulo gwa ssaddaaka wansi w’Amateeka ga Musa?
“OKUVA Amateeka bwe galina ekisiikirize eky’ebirungi ebyali bigenda okujja, so si kifaananyi kyabyo kyennyini, ssaddaaka abantu ze baawangayo buli mwaka, teziyinza ennaku zonna okufuula abaziwaayo abatuukiridde.” (Abaebbulaniya 10:1, NW) Awo, mu bigambo ebyo, omutume Pawulo akakasa nti ssaddaaka zonna ezaaweebwangayo wansi w’Amateeka ga Musa tezaalina muganyulo gwa lubeerera ku bikwata ku bulokozi bw’omuntu.—Abakkolosaayi 2:16, 17.
2. Lwaki si kufuba kwa bwereere okugezaako okutegeera kalonda yenna ali mu Baibuli akwata ku biweebwayo ne ssaddaaka mu Mateeka?
2 Kino kitegeeza nti ebiri mu Bitabo Ebitaano Ebisooka mu Baibuli ebikwata ku biweebwayo ne ssaddaaka tebirina makulu gonna eri Abakristaayo leero? Mu butuufu, gye buvuddeko awo, mu bbanga erisukka mu mwaka, abeewandiisa mu Ssomero ly’Obuweereza bwa Teyokulase mu bibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa okwetooloola ensi yonna, baasoma ebitabo ebitaano ebisooka mu Baibuli. Abamu bafubye nnyo okusoma n’okutegeera kalonda yenna abikwatako. Okufuba kwabwe kwonna kubadde kwa bwereere? Mazima ddala tekiyinza kubeera bwe kityo kubanga, “byonna ebyawandiikibwa edda, byawandiikibwa kutuyigiriza ffe, tulyoke tubeerenga n’okusuubira olw’okugumiikiriza n’olw’okusanyusa [“okubudaabudibwa,” NW] kw’ebyawandiikibwa.” (Abaruumi 15:4) N’olwekyo, ekibuuzo kiri nti, ‘Kuyigirizibwa’ ki era ‘kubudaabudibwa’ kwa ngeri ki bye tuyinza okufuna mu biri mu Mateeka ebikwata ku biweebwayo ne ssaddaaka?
Olw’Okuyigirizibwa n’Okubudaabudibwa
3. Kintu ki ekikulu kye twetaaga ennyo?
3 Wadde tekyetaagisa kuwaayo ssaddaaka mu ngeri eyalagirwa mu Mateeka, tukyetaaga nnyo ekyo ssaddaaka kye zaakolera Abaisiraeri, kwe kugamba, tusobole okusonyiyibwa ebibi byaffe n’okusiimibwa Katonda. Okuva bwe tetukyawaayo ssaddaaka ez’engeri eyo, tuyinza tutya okufuna emiganyulo ng’egyo? Oluvannyuma lw’okwogera ku kkomo lya ssaddaaka z’ensolo, Pawulo agamba: “[Yesu bw’ajja] mu nsi, kyava ayogera nti Ssaddaaka n’ebiweebwayo tewabyagala, naye wanteekerateekera omubiri; tewasiima ebyokebwa ebiramba n’ebiweebwayo olw’ebibi; ne ndyoka njogera nti Laba, nzize (mu muzingo gw’ekitabo ekyampandiikwako) okukola by’oyagala, ai Katonda.”—Abaebbulaniya 10:5-7.
4. Pawulo akozesa atya Zabbuli 40:6-8 ku Yesu Kristo?
4 Ng’ajjuliza Zabbuli 40:6-8, Pawulo agamba nti Yesu teyajja kunyweza “ssaddaaka n’ebiweebwayo,” “ebyokebwa ebiramba n’ebiweebwayo olw’ebibi,” byonna ebyali bitakyasiimibwa Katonda mu kiseera Pawulo we yawandiikira. Wabula, Yesu yajja n’omubiri ogutegekeddwa Kitaawe ow’omu ggulu, ogwali gwenkanankana mu ngeri zonna ogwo Katonda gwe yateekateeka bwe yatonda Adamu. (Olubereberye 2:7; Lukka 1:35; 1 Abakkolinso 15:22, 45) Ng’Omwana wa Katonda atuukiridde, Yesu yali mu kifo ‘eky’ezzadde’ ly’omukazi, nga bwe kyalagulwa mu Olubereberye 3:15. Yandibaddeko ky’akola ‘okubetenta omutwe gwa Setaani,’ wadde nga Yesu kennyini ‘yandibetenteddwa ekisinziiro.’ Mu ngeri eno, Yesu yafuuka ekyo Yakuwa kye yateekawo okuleetera abantu obulokozi, abantu abaalina okukkiriza bwe baali beesunga okuva mu kiseera kya Abbeeri.
5, 6. Ngeri ki esingawo obukulu ey’okutuukiriramu Katonda Abakristaayo gye balina?
5 Ng’ayogera ku kifo kino eky’enjawulo Yesu kye yalina, Pawulo agamba: “Ataamanya kibi, [Katonda] yamufuula ekibi ku lwaffe; ffe tulyoke tufuuke obutuukirivu bwa Katonda mu ye.” (2 Abakkolinso 5:21) Ebigambo “yamufuula ekibi” era biyinza okuvvuunulwa nga ‘yafuulibwa ekiweebwayo olw’ekibi.’ Omutume Yokaana agamba: “N’oyo gwe mutango olw’ebibi byaffe; so si lwa bibi byaffe fekka, era naye n’olw’ensi zonna.” (1 Yokaana 2:2) Bwe kityo, wadde Abaisiraeri baalina engeri etaali yalubeerera ey’okutuukiriramu Katonda nga bawaayo ssaddaaka, Abakristaayo balina kye basinziirako ekisingawo obukulu okusobola okutuukirira Katonda—ssaddaaka ya Yesu Kristo. (Yokaana 14:6; 1 Peetero 3:18) Singa tukkiririza mu ssaddaaka y’ekinunulo eyateekebwawo Katonda era ne tumugondera, naffe tuyinza okusonyiyibwa ebibi byaffe era ne tufuna okusiimibwa kwa Katonda n’emikisa gye. (Yokaana 3:17, 18) Ekyo tekitubudaabudda nnyo? Kyokka, tuyinza tutya okulaga nti tukkiririza mu ssaddaaka y’ekinunulo?
6 Oluvannyuma lw’okunnyonnyola nti Abakristaayo balina kye basinziirako ekisingawo obukulu okusobola okutuukirira Katonda, omutume Pawulo, mu Abaebbulaniya 10:22-25 ayogera ku ngeri satu mwe tuyinza okulagira okukkiriza kwaffe n’okusiima eri enteekateeka ya Katonda eyo ey’okwagala. Wadde ebigambo bya Pawulo okusingira ddala byayolekezebwa eri abo ‘abayingira mu kifo ekitukuvu’—kwe kugamba, Abakristaayo abaafukibwako amafuta abalina okuyitibwa okw’omu ggulu—mazima ddala abantu bonna beetaaga okussaayo omwoyo eri ebigambo bya Pawulo ebyaluŋŋamizibwa singa baagala okuganyulwa mu ssaddaaka ya Yesu.—Abaebbulaniya 10:19.
Waayo Ssaddaaka Ennyonjo era Ezitaliiko Bbala
7. (a) Abaebbulaniya 10:22 lulaga lutya ekyakolebwanga ku kuwaayo ssaddaaka? (b) Kiki ekyalina okukolebwa okukakasa nti ssaddaaka esanyusa Katonda?
7 Okusooka, Pawulo akubiriza Abakristaayo: “Tusemberenga n’omwoyo ogw’amazima olw’okukkiriza okutuukiridde, emitima gyaffe nga gimansirwako okuggyamu omwoyo omubi, n’emibiri gyaffe nga ginaazibwa n’amazzi amalungi.” (Abaebbulaniya 10:22) Ebigambo ebikozeseddwa wano biraga ekyakolebwanga nga ssaddaaka eweebwayo okusinziira ku Mateeka. Kino kituukirawo bulungi kubanga ssaddaaka okusobola okukkirizibwa, yalina okuweebwayo n’ekiruubirirwa ekituufu era nga nnyonjo era nga teriiko bala. Ensolo ey’okuwaayo nga ssaddaaka yaggibwa mu nte oba embuzi, kwe kugamba, okuva mu nsolo ennyonjo, era nga ‘teriiko bulema bwonna,’ etaliiko kamogo konna. Singa ssaddaaka yaggibwa mu binyonyi, yalina okuva mu bukaamukuukulu oba amayiba amato. Singa ebintu ebyo byakolebwa, ‘yandikkiriziddwa okumutangirira.” (Eby’Abaleevi 1:2-4, 10, 14; 22:19-25) Ekiweebwayo eky’obutta tekyalimu kizimbulukusa, ekikiikirira okwonoonebwa; era tekyandibaddemu mubisi gwa njuki, kirabika nga kitegeeza omubisi gw’ebibala, oguyinza okukireetera okukaatuuka. Ssaddaaka—ey’ensolo oba ey’obutta—bwe zaaweebwangayo ku kyoto, omunnyo, ogugikuuma nga nnungi, gwagiteekebwangamu.—Eby’Abaleevi 2:11-13.
8. (a) Kiki ekyali kyetaagisibwa omuntu awaayo ekiweebwayo? (b) Tuyinza tutya okukakasa nti okusinza kwaffe kusiimibwa Yakuwa?
8 Ate omuntu eyawaangayo ekiweebwayo? Amateeka gagamba nti omuntu yenna eyajjanga mu maaso ga Yakuwa yalina okuba omuyonjo era ataliiko bbala. Omuntu eyafuna ebbala olw’ensonga yonna yalina okusooka okuwaayo ekiweebwayo olw’ekibi oba olw’omusango okuzzaawo ennyimirira ye ennyonjo mu maaso ga Yakuwa ekiweebwayo kye ekyokebwa oba ekiweebwayo olw’emirembe kisobole okukkirizibwa gy’ali. (Eby’Abaleevi 5:1-6, 15, 17) N’olwekyo, tulaba obukulu bw’okukuumanga ennyimirira ennyonjo mu maaso ga Yakuwa? Singa twagala okusinza kwaffe okukkirizibwa mu maaso ga Katonda, tuteekwa okuba abangu okutereeza kyonna kye tusobeza mu Mateeka ga Katonda. Twandibadde bangu okweyambisa enteekateeka za Katonda ez’okutuyamba—‘abakadde mu kibiina’ ne ‘omutango gw’ebibi byaffe,’ Yesu Kristo.—Yakobo 5:14; 1 Yokaana 2:1, 2.
9. Njawulo ki enkulu eriwo wakati wa ssaddaaka eziweebwayo eri Yakuwa n’ezo eziweebwayo eri bakatonda ab’obulimba?
9 Okussa essira ku kwewala ebbala erya buli kika, mu butuufu, ye yali enjawulo enkulu wakati wa ssaddaaka ezaaweebwangayo eri Yakuwa n’ezo abantu b’omu mawanga ageetoolodde Isiraeri ze baawangayo eri bakatonda ab’obulimba. Nga kyogera ku kintu kino eky’enjawulo ekikwata ku ssaddaaka mu Mateeka ga Musa, ekitabo ekimu kigamba: “Tuyinza okukyetegereza nti tewaliiwo kakwate konna n’obulaguzi; kavuyo mu ddiini, okwetulugunya, oba obwenzi, n’emikolo egy’obugwenyufu ebyali biwereddwa ddala; abantu tebaaweebwangayo nga ssaddaaka; ssaddaaka tezaaweebwangayo ku lw’abafu.” Bino byonna biggumiza ekintu kimu: Yakuwa mutukuvu, era takkiriza oba tasemba kibi oba okwonoonebwa okw’engeri yonna. (Kaabakuuku 1:13) Okusinza ne ssaddaaka ebimuweebwa biteekwa okuba ebiyonjo era nga tebiriiko bbala—mu mubiri, mu mpisa ne mu by’omwoyo.—Eby’Abaleevi 19:2; 1 Peetero 1:14-16.
10. Okusinziira ku kubuulirira kwa Pawulo okuli mu Abaruumi 12:1, 2, twandyekebedde mu ngeri ki?
10 Olw’ensonga eno, tuteekwa okwekebera mu mbeera zonna ez’obulamu okukakasa nti obuweereza bwaffe eri Yakuwa bukkirizibwa gy’ali. Tetulowoozanga nti kasita tubaako kye tukola mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo ne mu buweereza, tuyinza okweyisa nga bwe tulaba mu bulamu bwaffe. Era tetusaanidde kulowooza nti okwenyigira mu mirimu gy’Ekikristaayo mu ngeri emu kituwa ebbeetu obutagondera mateeka ga Katonda mu bifo ebirala mu bulamu. (Abaruumi 2:21, 22) Tetuyinza kusuubira mikisa gya Katonda n’okusiimibwa kwe singa tukkiriza ekintu kyonna ekitali kiyonjo oba ekiriko ebbala mu maaso ga Katonda okwonoona endowooza yaffe n’ebikolwa byaffe. Jjukira ebigambo bya Pawulo: “Kyenvudde mbeegayirira ab’oluganda, olw’okusaasira kwa Katonda, okuwangayo emibiri gyammwe, ssaddaaka ennamu, entukuvu, esanyusa Katonda, kwe kuweereza kwammwe okw’magezi. So temufaananyizibwanga ng’emirembe gino: naye mukyusibwenga olw’okufuula amagezi gammwe amaggya, mulyoke mukemenga bwe biri Katonda by’ayagala, ebirungi, ebisanyusa, ebituufu.”—Abaruumi 12:1, 2.
Waayo Ssaddaaka ez’Okutendereza n’Omutima Gwonna
11. Biki ebizingirwa mu bigambo “okwatula mu lujjudde,” ebiri mu Abaebbulaniya 10:23?
11 Mu kuwandiika eri Abaebbulaniya, Pawulo addako n’ayogera ku nsonga enkulu ey’okusinza okw’amazima: “Tunyweze okwatulanga [mu lujjudde] essuubi lyaffe obutasagaasagana; kubanga eyasuubiza mwesigwa.” (Abaebbulaniya 10:23) Ebigambo ‘okwatula mu lujjudde’ bitegeeza “okwenenya,” era Pawulo ayogera ku “ssaddaaka ey’ettendo.” (Abaebbulaniya 13:15) Kino kitujjukiza ekika kya ssaddaaka abasajja nga Abbeeri, Nuuwa, ne Ibulayimu kye baawaayo.
12, 13. Kiki Omuisiraeri kye yakkiriza bwe yawangayo ekiweebwayo ekyokebwa era kiki kye tuyinza okukola okwoleka omwoyo gwe gumu?
12 Omuisiraeri bwe yawangayo ssaddaaka eyokebwa, yakikolanga ‘kyeyagalire mu maaso ga Yakuwa.’ (Eby’Abaleevi 1:3) Mu kuwaayo ssaddaaka ng’eyo, kyeyagalire yalangirira mu lujjudde, oba yakkiriza nti Yakuwa awa abantu be emikisa mingi era n’abalaga n’ekisa. Jjukira nti ekintu eky’enjawulo ku kiweebwayo ekyokebwa kyali nti ekiweebwayo kyonna kyayokebwanga ku kyoto—akabonero akatuukirawo obulungi akalaga okwemalira ku Yakuwa n’okwewaayo gy’ali mu bujjuvu. Mu ngeri y’emu, twoleka okukkiriza mu ssaddaaka y’ekinunulo n’okusiima kwe tulina eri enteekateeka eyo bwe tuwaayo eri Yakuwa ‘ssaddaaka y’ettendo, kwe kugamba ebibala eby’emimwa,’ kyeyagalire era n’omutima gwaffe gwonna.
13 Wadde Abakristaayo tebawaayo ssaddaaka—ey’ensolo oba ey’ekirime—balina obuvunaanyizibwa okuwa obujulirwa ku mawulire amalungi ag’Obwakabaka n’okufuula abantu abayigirizwa ba Yesu Kristo. (Matayo 24:14; 28:19, 20) Weeyambisa emikisa gy’ofuna okulangirira mu lujjudde amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda abantu bangi basobole okutegeera ebintu eby’ekitalo Katonda by’ategekedde abantu abawulize? Kyeyagalire owaayo ebiseera n’amaanyi okuyigiriza abaagala okuyiga era n’okubayamba okufuuka abayigirizwa ba Yesu Kristo? Okubeera abanyiikivu mu buweereza, okufaananako evvumbe ery’ekiweebwayo ekyokebwa, kisanyusa Katonda.—1 Abakkolinso 15:58.
Sanyuka ng’Oli Wamu ne Katonda n’Abantu
14. Ebigambo bya Pawulo mu Abaebbulaniya 10:24, 25 bikwatagana bitya n’endowooza y’ekiweebwayo olw’emirembe?
14 Mu nkomerero, Pawulo ayogera ku nkolagana gye tulina ne Bakristaayo bannaffe nga tusinza Katonda. “Tulowoozaganenga fekka na fekka okukubirizanga okwagala n’ebikolwa ebirungi; obutalekanga kukuŋŋaana wamu, ng’abalala bwe bayisa, naye nga tubuulirira [“tuziŋŋanamu amaanyi,” NW]; era nga tweyongeranga okukola ebyo bwe tutyo, nga bwe mulaba olunaku luli nga lunaatera okutuuka.” (Abaebbulaniya 10:24, 25) Ebigambo “okukubirizanga okwagala n’ebikolwa ebirungi,” ‘okukuŋŋaana awamu,’ ne ‘okuziŋŋanamu amaanyi’ bitujjukiza ekyo ekiweebwayo olw’emirembe mu Isiraeri kye kyakolera abantu ba Katonda.
15. Kufaanagana ki okuliwo wakati w’ekiweebwayo olw’emirembe n’enkuŋŋaana z’Ekikristaayo?
15 Ebigambo “ebiweebwayo olw’emirembe” emirundi egimu bivvuunulwa nga “ebiweebwayo eby’emirembe.” Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekikyusibwa “emirembe” wano kiri mu bungi, oboolyawo nga kitegeeza nti okuwaayo ssaddaaka ng’ezo kiviirako emirembe ne Katonda n’emirembe ne basinza bannaffe. Ku bikwata ku kiweebwayo olw’emirembe, omwekenneenya omu agamba: “Mazima ddala kino kyali kiseera kya ssanyu eky’okubeera awamu ne Katonda ow’Endagaano, ekiseera mwe yakkiririza okufuuka Omugenyi wa Isiraeri ku kijjulo ekya ssaddaaka, ng’era bwe Yabakyazanga.” Kino kitujjukiza ekisuubizo kya Yesu: “We baba ababiri oba basatu nga bakuŋŋanye mu linnya lyange, nange ndi awo wakati waabwe.” (Matayo 18:20) Buli lwe tubaawo mu lukuŋŋaana lw’Ekikristaayo, tuganyulwa mu luganda oluzimba, okuyigiriza okuzzaamu amaanyi, era n’okumanya nti Mukama waffe Yesu Kristo ali naffe. Mazima ddala ekyo kifuula olukuŋŋaana lw’Ekikristaayo olw’essanyu era olunyweza okukkiriza.
16. Nga tulina ekiweebwayo olw’emirembe mu birowoozo, kiki naddala ekifuula enkuŋŋaana z’Ekikristaayo okuba ez’essanyu?
16 Mu kiweebwayo olw’emirembe, amasavu gonna—ageetoolodde ebyenda, ensigo, ekibumba, ekiwato, awamu n’omukira gw’endiga ogw’amasavu—byaweebwangayo eri Yakuwa nga byokebwa, ne binyooka omuka ku kyoto. (Eby’Abaleevi 3:3-16) Amasavu gaatwalibwa okuba ekitundu ky’ensolo ekisingayo obulungi. Okugawaayo ku kyoto kyategeeza okuwa Yakuwa ekisingayo obulungi. Ekifuula enkuŋŋaana z’Ekikristaayo okuba ez’essanyu kiri nti tetukoma ku kuyigirizibwa kyokka naye era tutendereza Yakuwa. Kino tukikola nga tuzenyigiramu—nga tufuba nga bwe tusobola—okuyimba okuva mu mutima, nga tuwuliriza n’obwegendereza, era nga tubaako bye tuddamu. “Mutendereze Ya, mwe abantu!” bw’atyo omuwandiisi wa Zabbuli bwe yagamba. “Muyimbire Yakuwa oluyimba oluggya, mumutendereze mu kibiina ky’abeesigwa.”—Zabbuli 149:1, NW.
Emikisa Mingi Nnyo Okuva eri Yakuwa Gitulindiridde
17, 18. (a) Ssaddaaka ki Sulemaani gye yawaayo ku kutongoza yeekaalu mu Yerusaalemi? (b) Mikisa ki abantu gye baafuna ku mukolo ogw’okutongoza yeekaalu?
17 Mu kutongoza yeekaalu mu Yerusaalemi, mu mwezi ogw’omusanvu mu mwaka 1026 B.C.E., Kabaka Sulemaani yawaayo “ssaddaaka mu maaso ga Mukama,” ng’erimu “ekiweebwayo ekyokebwa n’ekiweebwayo eky’obutta n’amasavu g’ebyo ebiweebwayo olw’emirembe.” Okugatta ku ebyo ebyaweebwayo mu biweebwayo eby’obutta, ente 22,000 n’endiga 120,000 zaaweebwayo nga ssaddaaka ku mukolo ogwo.—1 Bassekabaka 8:62-65.
18 Oyinza okuteebereza essente n’omulimu ebyazingirwamu ku mukolo ng’ogwo omunene? Kyokka, emikisa Isiraeri gye yafuna gy’asingira wala ssente ezaakozesebwa. Ku nkomerero y’omukolo, Sulemaani “n’asindika abantu, ne basabira kabaka omukisa, ne bagenda mu weema zaabwe nga basanyuka era nga bajaguza mu mitima gyabwe olw’obulungi bwonna Mukama bwe yali alaze Dawudi omuddu we ne Isiraeri abantu be.” (1 Bassekabaka 8:66) Mazima ddala, nga Sulemaani bwe yayogera, “omukisa gwa Mukama gwe gugaggawaza, so tagatta buyinike bwonna wamu nagwo.”—Engero 10:22.
19. Kiki kye tuyinza okukola okufuna emikisa okuva eri Yakuwa kaakati n’emirembe gyonna?
19 Tuli mu kiseera nga ‘ekifaananyi ky’ebyo kyennyini’ kizze mu kifo kya ‘ekisiikirize eky’ebirungi ebyali bigenda okujja.’ (Abaebbulaniya 10:1) Yesu Kristo, ng’ali mu kifo kya Kabona Omukulu ow’akabonero, amaze okuyingira mu ggulu lyennyini era n’awaayo omuwendo gw’omusaayi gwe okutangirira ebibi by’abo bonna abakkiririza mu ssaddaaka. (Abaebbulaniya 9:10, 11, 24-26) Okusinziira ku ssaddaaka eyo enkulu era nga tuwaayo eri Katonda ssaddaaka z’okutendereza ennyonjo, ezitaliimu bbala, n’omutima gwaffe gwonna, naffe tuyinza ‘okusanyuka n’okujjaguza mu mitima gyaffe’ nga tulindirira emikisa emingi ennyo okuva eri Yakuwa.—Malaki 3:10.
Wandizzeemu Otya?
• Kuyigiriza ki era kubudaabuda kwa ngeri ki bye tuyinza okufuna okuva mu biri mu Mateeka ebikwata ku biweebwayo ne ssaddaaka?
• Kiki ekisooka ekyetaagisa ssaddaaka okusobola okukkirizibwa, era kino kirina makulu ki gye tuli?
• Kiki kye tuyinza okuwaayo ekifaananako ekiweebwayo ekyokebwa ekiweebwayo kyeyagalire?
• Mu ngeri ki enkuŋŋaana z’Ekikristaayo gye ziyinza okugeraageranyizibwa ku kiweebwayo olw’emirembe?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 14]
Obuweereza bwaffe okusobola okukkirizibwa Yakuwa, tuteekwa obutabaako bala ery’ekika kyonna
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
Twoleka obulungi bwa Yakuwa mu bujjuvu bwe twenyigira mu buweereza
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]
Ssaddaaka ya Yesu ey’ekinunulo yateekebwawo Yakuwa abantu bafune obulokozi