Okusoma Baibuli—Kuganyula era Kuleeta Essanyu
“Oteekwa . . . okukisoma emisana n’ekiro.”—YOSWA 1:8, NW.
1. Miganyulo ki egiva mu kusoma okutwalira awamu era n’okusoma Baibuli?
OKUSOMA ebintu ebizimba kiruubirirwa ekiganyula. Montesquieu, omufalansa omukugu mu by’obufuzi yawandiika bw’ati: “Nze okuyiga kunyambye okwaŋŋanga ebizibu mu bulamu. Tewali kizibu kyanzijjira, ekitaamalibwawo oluvannyuma lw’okusomera ebbanga lya ssaawa emu.” Mu ngeri emu, bwe kiri ku bikwata ku kusoma Baibuli. Omuwandiisi wa Zabbuli eyaluŋŋamizibwa yagamba: “Etteeka lya Mukama lyatuukirira, erikomyawo emmeeme: okutegeeza kwa Mukama kunywevu, okuwa abasirusiru amagezi. Okuyigiriza kwa Mukama kwa butuukirivu, okusanyusa omutima.”—Zabbuli 19:7, 8.
2. Lwaki Yakuwa akuumye Baibuli mu biseera ebizze biyitawo, era asuubira abantu be kugikola ki?
2 Ng’eyawandiisa Baibuli, Yakuwa Katonda agikuumye okuyita mu byasa omubadde okuziyizibwa okw’amaanyi ennyo okuva eri abalabe, ab’eddiini n’abatali ba ddiini. Okuva bw’ayagala ‘abantu aba buli kika okulokolebwa n’okufuna okumanya okutuufu okw’amazima,’ akakasizza nti Ekigambo kye kituuka ku buli muntu. (1 Timoseewo 2:4, NW) Kibalirirwa nti abantu nga 80 ku buli 100 abali ku nsi bayinza okutuukibwako ng’okozesa ennimi 100. Baibuli yonna efunika mu nnimi 370, era n’ebitundu by’Ebyawandiikibwa biyinza okusomebwa mu nnimi endala 1,860. Yakuwa ayagala abantu be okusoma Ekigambo kye. Awa omukisa abaweereza be abassaayo omwoyo eri Ekigambo kye, yee, abakisoma buli lunaku.—Zabbuli 1:1, 2.
Abalabirizi Kibeetaagisa Okusoma Baibuli
3, 4. Kiki Yakuwa kye yali yeetaaza bakabaka ba Isiraeri, era nsonga ki ezamwetaazisa kino ezikwata ku bakadde Abakristaayo leero?
3 Ng’ayogera ku kiseera ekyo eggwanga lya Isiraeri bwe lyandifunye kabaka, Yakuwa yagamba: “Olulituuka bw’atuula ku ntebe y’obwakabaka bwe, alyewandiikira etteeka lino mu kitabo, ng’aliggya mu ekyo ekiri mu maaso ga bakabona Abaleevi: era kinaabeeranga gy’ali, era anaakisomanga ennaku zonna ez’obulamu bwe: ayige okutya Mukama Katonda we, okwekuumanga ebigambo byonna eby’etteeka lino n’ebiragiro bino okubikolanga: omutima gwe gulemenga okugulumizibwa ku baganda be, era alemenga okukyama okuva mu kiragiro okugenda ku mukono ogwa ddyo newakubadde ogwa kkono.”—Ekyamateeka 17:18-20.
4 Weetegereze ensonga lwaki Yakuwa yeetaaza bonna abandifuuse bakabaka ba Isiraeri okusoma ekitabo omwali amateeka ga Katonda buli lunaku: (1) “ayige okutya Mukama Katonda we, okwekuumanga ebigambo byonna eby’etteeka lino n’ebiragiro bino okubikolanga”; (2) “omutima gwe gulemenga okugulumizibwa ku baganda be”; (3) “alemenga okukyama okuva mu kiragiro okugenda ku mukono ogwa ddyo newakubadde ogwa kkono.” Abalabirizi Abakristaayo leero tekibeetaagisa okutya Yakuwa, okugondera amateeka ge, okwewala okwegulumiza ku baganda be, era n’obutakyama okuva ku mateeka ga Yakuwa? Mazima ddala okusoma Baibuli buli lunaku kikulu nnyo gye bali nga bwe kyali eri bakabaka ba Isiraeri.
5. Gye buvuddeko awo, Akakiiko Akafuzi kaawandiika ki eri abali ku Bukiiko bw’Amatabi ku bikwata ku kusoma Baibuli, era lwaki abakadde Abakristaayo bonna bandigoberedde okubuulirira okwo?
5 Abakadde Abakristaayo leero bakola nnyo, ne kifuula okusoma Baibuli buli lunaku ekintu ekisoomooza. Ng’ekyokulabirako, abali ku Kakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa n’abali ku Bukiiko bw’Amatabi okwetooloola ensi yonna bonna bantu abakola ennyo. Kyokka, ebbaluwa Akakiiko Akafuzi gye kaawandiikira Obukiiko bw’Amatabi gye buvuddeko awo, yaggumiza obukulu bw’okusoma Baibuli buli lunaku n’enkola ennungi ey’okuyiga. Kino, ebbaluwa yagamba, kijja kwongera okwagala kwaffe eri Yakuwa era n’eri amazima, era “kijja kutuyamba okunyweza okukkiriza kwaffe, okukuuma essanyu lyaffe, n’okusigala nga tuli bagumiikiriza okutuukira ddala ku nkomerero.” Abakadde bonna mu bibiina bya Abajulirwa ba Yakuwa balina endowooza y’emu. Okusoma Ebyawandiikibwa buli lunaku kujja kubayamba “okweyisa n’amagezi.” (Yoswa 1:7, 8, NW) Naddala gye bali, okusoma Baibuli “kiganyula mu kuyigiriza, okunenya, okutereeza, n’okutendeka mu butuukirivu.”—2 Timoseewo 3:16, Revised Standard Version.
Kyetaagisibwa eri Abato n’Abakulu
6. Lwaki Yoswa yasoma mu ddoboozi eriwulikika amateeka ga Yakuwa mu maaso g’ebika bya Isiraeri ne bannaggwanga abaali bakuŋŋaanye?
6 Mu biseera eby’edda, kopi z’Ebyawandiikibwa kinnekimu tezaaliwo okusobola okukozesebwa abantu kinnoomu, n’olwekyo okusoma Baibuli kwakolebwanga mu maaso g’ekibiina. Oluvannyuma lwa Yakuwa okuwa Yoswa obuwanguzi ku kibuga kya Ai, Yoswa yakuŋŋaanya ebika bya Isiraeri mu maaso g’Olusozi Ebbali n’Olusozi Gerizimu. Awo nno ebyawandiikibwa bitugamba: “N’asoma ebigambo byonna eby’amateeka, omukisa n’okukolimira, nga byonna bwe biri ebyawandiikibwa mu kitabo eky’amateeka. Tewali kigambo mu byonna Musa bye yalagira, Yoswa ky’ataasoma mu maaso ag’ekkuŋŋaaniro lyonna erya Isiraeri, n’abakazi, n’abaana abato, ne bannaggwanga abaatambulanga mu bo.” (Yoswa 8:34, 35) Abato n’abakulu, bannansi ne bannaggwanga, baali beetaaga okumanya mu mitima gyabwe ne mu birowoozo byabwe enneeyisa eyandibaleetedde okufuna emikisa gya Yakuwa n’eyandibaviiriddeko obutasiimibwa. Okusoma Baibuli obutayosa kijja kutuyamba mu nsonga eno.
7, 8. (a) Baani leero abalinga “bannaggwanga,” era lwaki beetaaga okusoma Baibuli buli lunaku? (b) Mu ngeri ki “abaana abato” abali mu bantu ba Yakuwa gye bayinza okugobereramu ekyokulabirako kya Yesu?
7 Leero, obukadde n’obukadde bw’abaweereza ba Yakuwa balinga “bannaggwanga” abo mu ngeri ey’eby’omwoyo. Olumu, baagobereranga emitindo gy’ensi, naye kati bakyusizza obulamu bwabwe. (Abaefeso 4:22-24; Abakkolosaayi 3:7, 8) Buli kiseera balina okujjukira emitindo gya Yakuwa egikwata ku kirungi n’ekibi. (Amosi 5:14, 15) Okusoma Ekigambo kya Katonda buli lunaku kubayamba okukola ekyo.—Abaebbulaniya 4:12; Yakobo 1:25.
8 Era waliwo “n’abaana abato” bangi mu bantu ba Yakuwa abayigiriziddwa bazadde baabwe emitindo gya Yakuwa naye abeetaaga okukakasa bo bennyini obutuufu bw’ebyo by’ayagala. (Abaruumi 12:1, 2) Ekyo bayinza kukikola batya? Mu Isiraeri, bakabona n’abakadde baalagirwa nti: “Onoosomeranga amateeka gano mu maaso ga Isiraeri yenna mu matu gaabwe. Okuŋŋanyanga abantu, abasajja n’abakazi n’abaana abato, ne munnaggwanga wo ali munda w’enzigi zo, bawulire, era bayige, era batye Mukama Katonda wammwe, era bakwatenga ebigambo byonna eby’amateeka gano okubikola; era abaana baabwe, abatannamanya, bawulire era bayige okutyanga Mukama Katonda wammwe.” (Ekyamateeka 31:11-13) Ng’ali wansi w’Amateeka, Yesu yayagala nnyo okutegeera amateeka ga Kitaawe wadde y’alina emyaka 12 egy’obukulu. (Lukka 2:41-49) Oluvannyuma, yali mpisa ye okuwulirizanga n’okwenyigira mu kusoma Ebyawandiikibwa mu kuŋŋaaniro. (Lukka 4:16; Ebikolwa 15:21) Abato leero bakubirizibwa okugoberera ekyokulabirako kya Yesu nga basoma Ekigambo kya Katonda buli lunaku era nga toyosa kugenda mu nkuŋŋaana Baibuli gy’esomerwa era gy’eyigibwa.
Okusoma Baibuli—Kikulu Nnyo
9. (a) Lwaki twetaaga okwegendereza bye tulondawo okusoma? (b) Kiki eyatandikawo ka magazini kano kye yayogera ku bituyamba okuyiga Baibuli?
9 Kabaka Sulemaani ow’amagezi yawandiika: “Labuka: okukola ebitabo ebingi tekuliiko gye kukoma; n’okuyiga ennyo kukooya omubiri.” (Omubuulizi 12:12) Omuntu ayinza okugamba nti okusoma ebitabo ebingi ebikubibwa leero tekikooya mubiri kyokka, naye kya kabi eri endowooza yaffe. N’olwekyo kikulu nnyo okwegendereza bye tulondawo. Okugatta ku kuyiga ebitabo ebinnyonnyola Baibuli, twetaaga okusoma Baibuli yennyini. Eyatandikawo magazini eno yawandiika bw’ati eri abasomi be: “Teweerabiranga nti Baibuli gye Tusinziirako era nti ebituyamba okugiyiga ka bibe nga biva eri Katonda, ‘bituyamba buyambi’ era tebiyinza kudda mu kifo kya Baibuli.”a N’olwekyo, wadde nga tetubuusa maaso ebitabo ebyesigamiziddwa ku Baibuli, twetaaga okusoma Baibuli yennyini.
10. ‘Omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ aggumizza atya obukulu bw’okusoma Baibuli?
10 Nga bamanyi obwetaavu buno, okumala emyaka egiwerako kati, ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ atadde okusoma Baibuli mu nteekateeka y’Essomero ly’Obuweereza bwa Teyokulase mu buli mu kibiina. (Matayo 24:45) Enteekateeka y’okusoma Baibuli eriwo esobozesa okusoma Baibuli mu bbanga lya myaka musanvu. Enteekateeka eno ya muganyulo eri bonna naye naddala eri abappya abatasomangako Baibuli mu bulambirira. Abo abagenda mu Ssomero lya Watchtower erya Baibuli ery’e Giriyadi erya abaminsani n’Essomero ery’Okutendekebwa mu Buweereza awamu n’abappya abayingira mu Beseri, beetaagisibwa okusoma Baibuli yonna mu mwaka gumu. K’obe ng’ogoberera nteekateeka ki kinnoomu oba ng’amaka, okuginywererako kyetaagisa okutwala okusoma Baibuli ng’ekintu ekikulu.
Enkola Yo ey’Okusoma Eyoleka Ki?
11. Mu ngeri ki era lwaki twandiyizze ebigambo bya Yakuwa buli lunaku?
11 Bw’oba olina obuzibu okunywerera ku nteekateeka yo ey’okusoma Baibuli, kiba kisaanira okwebuuza: ‘Enkola yange ey’okusoma oba n’okulaba ttivvi bikola ki ku kusoma kwange okw’Ekigambo kya Yakuwa?’ Jjukira Musa kye yawandiika—era Yesu n’akiddamu—nti “omuntu taba mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Katonda.” (Matayo 4:4; Ekyamateeka 8:3) Nga bwe twetaaga okulya emmere buli lunaku okusobola okubeesaawo omubiri gwaffe, mu ngeri y’emu twetaaga okuyiga ebirowoozo bya Yakuwa buli lunaku okusobola okubeera n’embeera ennungi ey’eby’omwoyo. Tuyinza okufuna endowooza ya Katonda buli lunaku nga tusoma Ebyawandiikibwa.
12, 13. (a) Omutume Peetero awa kyakulabirako ki ku ngeri gye twandyegombyemu Ekigambo kya Katonda? (b) Pawulo akozesa atya ekyokulabirako ky’amata mu ngeri eyawukana ku ya Peetero?
12 Singa tusiima Baibuli, ‘si ng’ekigambo ky’abantu naye nga bwe kiri ekigambo kya Katonda,’ tujja kusikirizibwa gye kiri ng’omwana bw’ayaayaanira amata ga maama we. (1 Abasessaloniika 2:13) Omutume Peetero yakozesa ekyokulabirako ng’ekyo, ng’awandiika nti: “Ng’abaana abawere abaakajja bazaalibwe, mwegombenga amata ag’omwoyo agataliimu bulimba, galyoke gabakuze okutuuka ku bulokovu. Oba nga mwalega ku Mukama waffe bw’ali omulungi [“ow’ekisa,” NW].” (1 Peetero 2:2, 3) Bwe tuba nga ddala twalegako, okuyitira mu ebyo ebitutuuseeko, nti ‘Mukama waffe wa kisa,’ tujja kukulaakulanya okuyaayaanira okusoma Baibuli.
13 Oyinza okukyetegereza nti mu bigambo bino Peetero yakozesa ekyokulabirako ky’amata mu ngeri eyawukana ku y’omutume Pawulo. Omwana omuwere, afuna byonna bye yeetaaga mu mata. Ekyokulabirako kya Peetero kiraga nti Ekigambo kya Katonda kirimu byonna bye twetaaga ‘okukula okutuuka ku bulokozi.’ Ku luuyi olulala, Pawulo akozesa amata okulaga enkola embi ey’okweriisa ey’omuntu eyeeyita omukulu mu by’omwoyo. Mu bbaluwa ye eri Abakristaayo Abebbulaniya, Pawulo yawandiika bw’ati: “Kubanga bwe kibagwanira okubeeranga abayigiriza olw’ebiro ebyayita, mwetaaga nate omuntu okubayigiriza ebisookerwako eby’olubereberye eby’ebigambo bya Katonda; era mufuuse abeetaaga amata, so si mmere nkalubo. Kubanga buli anywa amata nga tannamanya kigambo kya butuukirivu; kubanga mwana muto. Naye emmere enkalubo ya bakulu, abalina amagezi agayigirizibwa olw’okugakoza okwawulanga obulungi n’obubi.” (Abaebbulaniya 5:12-14) Okussaayo omwoyo ku kusoma Baibuli kirina kinene kye kiyinza okukola mu kukulaakulanya obusobozi bwaffe obw’okulowooza era n’okutwagazisa ebintu eby’eby’omwyo.
Engeri y’Okusomamu Baibuli
14, 15. (a) Nkizo ki Eyawandiisa Baibuli gy’atuwa? (b) Tuyinza tutya okuganyulwa mu magezi ga Katonda? (Waayo ebyokulabirako.)
14 Okusoma Baibuli okw’omuganyulo, kutandika na kusaba so si kusoma. Okusaba nkizo ya kitalo. Kifaananako okusaba eyawandiisa ekitabo okukuwa obuyambi okutegeera ebyo by’ogenda okusoma mu kitabo ekyo. Ng’ekyo kiba kya muganyulo nnyo! Eyawandiisa Baibuli, Yakuwa, akuwa enkizo eyo. Omu eyali ku kakiiko akafuzi mu kyasa ekyasooka yawandiika bw’ati eri baganda be: “Naye oba ng’omuntu yenna ku mmwe aweebuuka mu magezi, asabenga Katonda atamma awa bonna so takayuka; era galimuweebwa. Naye asabenga mu kukkiriza, nga taliiko ky’abuusabuusa.” (Yakobo 1:5, 6) Akakiiko Akafuzi ak’omu kiseera kyaffe buli kiseera katukubiriza okusoma Baibuli awamu n’okusaba.
15 Amagezi kwe kuteeka mu nkola okumanya. N’olwekyo, nga tonnabikkula Baibuli yo, saba Yakuwa okukuyamba okulaba ensonga mu kusoma kwo ze weetaaga okukozesebwa mu bulamu bwo. Kwataganya ebippya by’oyiga ne by’omanyi eby’emabega. Bigatte ku ‘bigambo eby’obulamu’ by’otegedde. (2 Timoseewo 1:13) Fumiitiriza ku byaliwo mu bulamu bw’abaweereza ba Yakuwa mu biseera ebyayita, era weebuuze kye wandikoze ng’oli mu mbeera ezifaananako ezo ze baalimu.—Olubereberye 39:7-9; Danyeri 3:3-6, 16-18; Ebikolwa 4:18-20.
16. Birowoozo ki ebiganyula ebiweereddwa ebituyamba okufuula okusoma Baibuli okw’omuganyulo era okuyamba mu ngeri esingawo?
16 Tosoma busomi omaleko empapula ezigerekeddwa. Waayo ebiseera byo. Weemalire ku by’osoma. Ensonga emu bw’ekukwata omubabiro, kebera ebyawandiikibwa ebigikwatako ebiri mu muwaatwa gwa Baibuli singa Baibuli yo eba ebirina. Singa era ensonga oba togitegeera bulungi, ginoonyerezeeko oluvannyuma. Ng’osoma, lamba ebyawandiikibwa by’oyagala okujjukira oba bikoppe. Era oyinza okuwandiika ensonga ezimu n’ebyawandiikibwa by’oyinza okujulizaako ku mabbali g’olupapula. Ku bikwata ku byawandiikibwa by’oyinza okukozesa mu mulimu gw’okubuulira n’okuyigiriza, weetegereze ekigambo ekikulu ekirimu era okikebere mu index y’ebigambo bya Baibuli eri emabega mu Baibuli yo.b
Fuula Okusoma Baibuli Okusanyusa
17. Lwaki twandisanyuse okusoma Baibuli?
17 Omuwandiisi wa Zabbuli yayogera ku musajja omusanyufu ‘asanyukira mu mateeka ga Mukama era agalowoozaako emisana n’ekiro.’ (Zabbuli 1:2) Okusoma kwaffe okwa Baibuli okwa buli lunaku tekwandibadde mugugu naye okw’essanyu ddala. Engeri ey’okukufuulamu okw’essanyu kwe kumanya omuganyulo gw’ebintu ebiyigibwa. Kabaka Sulemaani ow’amagezi yawandiika: “Aweereddwa omukisa omuntu alaba amagezi . . . Amakubo gaago makubo ga kusanyukiramu, n’eŋŋendo zaago zonna mirembe. Ago gwe muti ogw’obulamu eri abo abagakwata: era alina omukisa buli muntu abeera nago.” (Engero 3:13, 17, 18) Okufuba okwetaagisa okufuna amagezi mazima ddala si kwa bwereere, kubanga amakubo gaago malungi, ga mirembe, ga ssanyu, era mu nkomerero ga bulamu.
18. Kiki ekyetaagisa ekirala ng’oggyeko okusoma Baibuli, era kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?
18 Yee, okusoma Baibuli kuganyula era kusanyusa. Naye ekyo kimala? Abagoberezi b’amakanisa ga Kristendomu babadde basoma Baibuli okumala ebyasa n’ebyasa, ‘nga bayiga buli kiseera naye nga tebafuna kumanya kutuufu okw’amazima.’ (2 Timoseewo 3:7) Okusoma Baibuli okusobola okuvaamu ebibala, tuteekwa okukukola nga tulina ekigendererwa eky’okukozesa okumanya kwe tufuna mu bulamu bwaffe era ne mu mulimu gwaffe ogw’okubuulira n’okuyigiriza. (Matayo 24:14; 28:19, 20) Kino kyetaagisa okufuba n’engeri ennungi ez’okuyiga, nabyo ebiyinza okuleeta essanyu era ne bivaamu emiganyulo, nga bwe tujja okulaba mu kitundu ekiddako.
[Obugambo obuli wansi]
a Laba ekitabo Jehovah’s Witnesses—Proclaimers of God’s Kingdom, ekyakubibwa Watchtower Bible and Tract Society of New York, Inc., olupapula 241.
b Laba The Watchtower aka Maayi 1, 1995, empapula 16-17, “Ebirowoozo Ebinaakuyamba Okwongera Amaanyi mu Kusoma Kwo Okwa Baibuli.”
Ebibuuzo Eby’Okwejjukanya
• Kubuulira ki okwaweebwa bakabaka ba Isiraeri okukwata ku balabirizi leero, era lwaki?
• Baani leero abalinga “bannaggwanga” era “abaana abato,” era lwaki beetaaga okusoma Baibuli buli lunaku?
• Mu ngeri ki eziganyula ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ mw’atuyambidde okusoma Baibuli obutayosa?
• Tuyinza tutya okuganyulwa ddala era n’okufuna essanyu mu kusoma kwaffe okwa Baibuli?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]
Yali mpisa ya Yesu okwenyigira mu kusoma Ebyawandiikibwa mu kuŋŋaaniro
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 19]
Naddala abakadde, beetaaga okusoma Baibuli buli lunaku