Baliraanwa Abalungi ba Mugaso
“Muliraanwa wo akuli okumpi akira ow’oluganda akuli ewala.”—Engero 27:10.
OMUYIGIRIZA w’amateeka mu kyasa ekyasooka C.E. yabuuza Yesu nti: “Muliraanwa wange y’ani?” Yesu bwe yali amuddamu, teyamugamba nti muliraanwa wo ye gundi, wabula yamubuulira muliraanwa owa nnamaddala kyalina okubeera. Oboolyawo omanyi olugero lwa Yesu olukwata ku Musamaliya omulungi oluli mu Njiri ya Lukka. Bw’ati Yesu bwe yalugera:
“Waaliwo omuntu eyali ava e Yerusaalemi ng’aserengeta e Yeriko; n’agwa mu batemu, ne bamwambula, ne bamukuba emiggo, ne bagenda ne bamuleka ng’abulako katono okufa. Awo kabona yali ng’aserengetera mu kkubo eryo nga tamanyiridde; kale bwe yamulaba, n’amwebalama n’ayitawo. N’Omuleevi bw’atyo bwe yatuuka mu kifo ekyo, n’amulaba, n’amwebalama n’ayitawo. Naye Omusamaliya bwe yali ng’atambula, n’ajja w’ali: awo bwe yamulaba n’amukwatirwa ekisa, n’amusemberera, n’amusiba ebiwundu bye, ng’afukamu amafuta n’omwenge; n’amussa ku nsolo ye, n’amuleeta mu kisulo ky’abagenyi, n’amujjanjaba. Awo bwe bwakya ekya n’atoola eddinaali bbiri, n’aziwa nnannyini nnyumba n’amugamba nti Mujjanjabe; n’ekintu kyonna ky’oliwaayo okusukkawo, bwe ndikomawo ndikusasula. Kale olowooza otya, aluwa ku abo abasatu, eyali muliraanwa w’oyo eyagwa mu batemu?”—Lukka 10:29-36.
Omuyigiriza w’amateeka yategeera bulungi amakulu agaali mu lugero. Awatali kulwa yalaga ani eyali muliraanwa w’omusajja eyagwa mu batemu. Yaddamu nti: “Eyamukolera eby’ekisa.” Awo Yesu n’amugamba nti: “Naawe genda okole bw’otyo.” (Lukka 10:37) Olugero luno nga lulaga bulungi nnyo muliraanwa owa nnamaddala kyalina okuba! Olugero lwa Yesu era luyinza okutuleetera okwebuuza nti: ‘Ndi muliraanwa wa kika ki? Langi yange n’eggwanga lyange bye nsinziirako okusalawo ani anaabeera muliraanwa wange? Ebintu ng’ebyo binkugira okuyamba abantu be ndaba nti bali mu bizibu? Nkola kyonna kye nsobola okubeera muliraanwa omulungi?’
Tutandikire Wa?
Bwe tuba tuwulira nti twetaaga okulongoosaamu, tuteekwa okutandikira ku ndowooza yaffe. Okusingira ddala twandifuddeyo nnyo ku ngeri gye tuyinza okubeera baliraanwa abalungi. Kino era kijja kutusobozesa okubeera ne baliraanwa abalungi. Emyaka nga nkumi bbiri emabega, mu Kwogera kwe okw’Oku Lusozi okumanyiddwa ennyo, Yesu yaggumiza omusingi omukulu ogukwata ku nkolagana wakati w’abantu. Yagamba: “Kale byonna bye mwagala abantu okubakolanga mmwe, nammwe mubakolenga bo bwe mutyo.” (Matayo 7:12) Okussa mu balala ekitiibwa n’okubalaga ekisa, nabo kibakubiriza okukuyisa mu ngeri y’emu.
Munnamawulire era omuwandiisi w’ebitabo ayitibwa Lise Funderburg yawandiika ekitundu ekyafulumira mu magazini eyitibwa The Nation Since 1865, ekyalina omutwe “Okwagala Muliraanwa Wo.” Mu kitundu ekyo yayogera ku bintu ebyangu ebiyinza okukolebwa okusobola okubeera muliraanwa omulungi. Yawandiika: ‘Njagala baliraanwa bakolagane nga bayitira mu bikolwa eby’ekisa ebingi buli omu by’ayinza okukolera munne—gamba ng’okukuuma abaana ba baliraanwa bo nga batambuddeko, oba okuguliza muliraanwa ekintu ku dduuka. Njagala enkolagana ng’eyo ebeewo mu nsi eno omuli abatafaayo ku balala era etaliimu butebenkevu olw’obumenyi bw’amateeka.’ Era yagattako: “Olina okubaako ne w’otandikira. Era kyandiba nti ojja kutandikira ku muliraanwa wo akuli okumpi.”
Magazini eyitibwa Canadian Geographic nayo yayogera ku nsonga eyinza okuyamba ab’omuliraano okukulaakulanya endowooza ennungi eri bannaabwe. Omuwandiisi Marni Jackson yagamba: “Nga bwe tutayinza kulondawo ani anaabeera muzadde waffe oba muganda waffe, era tetuyinza kulondawo ani anaabeera muliraanwa waffe. Okuba n’enkolagana ennungi ne baliraanwa bo, kyetaagisa obukujjukujju, obuntu bulamu n’obugumiikiriza.”
Baliraanwa Abalungi Baba Bagabi
Kituufu nti, bangi ku ffe kiyinza okutubeerera ekizibu okutuukirira baliraanwa baffe. Kyanditubeerera ekyangu ennyo okwewala oba okweyawula ku baliraanwa baffe. Kyokka, Baibuli egamba nti “mu kugaba mulimu essanyu okusinga mu kufuna.” (Ebikolwa 20:35, NW) N’olwekyo, muliraanwa omulungi afuba okumanya abantu abamwetoolodde. Wadde ng’ayinza okuba tayagala kukola mikwano gya ku lusegere nabo, afuba okunyumyangamu katonotono ne baliraanwa, n’abakubira ka jjambo oba ng’abateerako akamwenyumwenyu.
Nga bwe kyayogeddwako waggulu, ekintu ekikulu mu kutandika n’okukuuma enkolagana ennungi ne baliraanwa, ‘by’ebintu ebyangu ebiyinza okukolebwa.’ N’olwekyo, kirungi okulowooza ku bikolwa ebitonotono eby’ekisa by’oyinza okukolera baliraanwa, kubanga ekyo kijja kubaleetera okukolagana obulungi n’okusiŋŋanamu ekitiibwa. Ate era, bwe tukola bwe tutyo, tuba tugoberedde okubuulirira okuli mu Baibuli: “Tommanga birungi abo abagwanira, bwe [kiba] kiri mu buyinza bw’omukono gwo okubikola.”—Engero 3:27; Yakobo 2:14-17.
Baliraanwa Abalungi Basiima
Kyandibadde kirungi nnyo singa abantu bonna basiima obuyambi n’ebirabo bye bafuna. Eky’ennaku, emirundi mingi kino si bwe kiri. Ebirabo bingi wamu n’obuyambi biweereddwa abantu mu mwoyo omulungi naye ne bitasiimibwa, era ekyo ne kiviirako ababigaba okugamba nti, ‘Guno gwe mulundi ogusembye okukikola!’ Emirundi egimu, ne bwogezaako ennyo okukola omukwano ne baliraanwa bo, ng’obabuuza bulungi era ng’obakubira ne bujjambo, bayinza obutammuka.
Kyokka, emirundi mingi omuntu ayinza obutaba mubi, wadde nga kungulu ayinza okulabika ng’atasiimye. Oboolyawo abamu ekibaleetera okweyisa bwe batyo, y’engeri gye baakuzibwamu mu buwangwa bwabwe. Ku luuyi olulala, mu nsi eno etaliimu kusiima, abantu abamu bayinza okwewuunya lwaki weeyisa mu ngeri ey’enjawulo, oba bayinza n’okwekengera lwaki obakolako olukwanokwano. Kiyinza okukwetaagisa okubannyonnyola nti tolina kiruubirirwa kibi. N’olwekyo, kitwala obudde n’obugumiikiriza okuba n’enkolagana ennungi ne baliraanwa. Kyokka, baliraanwa bwe bayiga okugaba n’okusiima, kiviirako omuliraano ogujjudde emirembe n’essanyu.
Emitawaana Bwe Gigwawo
Muliraanwa omulungi abeera wa mugaso nnyo bwe wagwawo akatyabaga. Mu budde obwa kazigizigi, w’olabira muliraanwa omulungi. Emirundi mingi baliraanwa bayambye bannaabwe mu biseera ng’ebyo. Bwe wagwawo akatyabaga nga bonna bazingirwamu, baliraanwa batera okuyambagana n’okukolera awamu. N’abo abatafaananya ndowooza, ku olwo bakolera wamu.
Ng’ekyokulabirako, olupapula lw’amawulire The New York Times lwagamba nti musisi ddeka busa bwe yayita mu Butuluuki mu 1999, abantu abaali bamaze ebbanga eddene ennyo nga bali kabwa na ngo, ku olwo baakolera wamu ng’ab’omuliraano. “Tuyigiriziddwa okukyawa Abatuluuki okumala ebbanga ddene. Naye obulumi obutagambika bwe balimu tebutuleetera ssanyu n’akatono. Bwe twalaba emirambo gy’abaana abato, twakaaba nnyo era ne tunyolwa, nga tulinga abeerabidde empalana gye twalina okuva edda n’edda,” bw’atyo munnamawulire Omuyonaani Anna Stergious bwe yawandiika mu lupapula lw’amawulire olufulumira mu kibuga Asene. Kaweefube ow’okutaakiriza abantu bwe yayimirizibwa mu butongole, abadduukirize okuva mu Buyonaani baagaana okulekera awo okunoonya bakaawonawo.
Okwenyigira mu kaweefube ow’okutaakiriza obulamu bw’abantu oluvannyuma lw’akatyabaga okugwawo, kikolwa kya buzira era kirungi nnyo. Naye, okuwonya obulamu bwa muliraanwa ng’omulabula ng’akatyabaga tekannagwawo, mazima ddala kiba kikolwa kya mugaso nnyo n’okusingawo. Eky’ennaku, ebyafaayo biraga nti abo abalabula baliraanwa baabwe ku katyabaga akaba kagenda okugwaawo, emirundi mingi tebasiimibwa, kubanga mu kiseera ekyo, abantu baba tebalengera katyabaga akabindabinda. Abo abawa okulabula, emirundi mingi bye boogera abantu tebabikkiriza. Kyetaagisa obunyiikivu bw’amaanyi n’okwefiiriza okusobola okuyamba abo ababa tebamanyi kabi kagenda kubatuukako.
Ekikolwa eky’Okuba Muliraanwa Omulungi Ekikyasinzeeyo
Leero, waliwo eky’amaanyi ennyo ekigenda okutuuka ku lulyo lw’omuntu n’okusinga akatyabaga k’omu butonde. Kye kikolwa kya Katonda ayinza byonna ekyalagulwa, eky’okumalawo obumenyi bw’amateeka n’obubi bwonna ku nsi. (Okubikkulirwa16:16; 21:3, 4) Ekikolwa ekyo tekiteeberezebwa buteeberezebwa, wabula kikakafu okubaawo. Abajulirwa ba Yakuwa baagala okubuulira abantu bangi nga bwe kisoboka ekyetaagisa okukola okusobola okusimattuka akatyabaga ako ddeka busa akabindabinda. Y’ensonga lwaki banyiikivu nnyo mu mulimu gwabwe ogumanyiddwa ennyo ogw’okubuulira mu nsi yonna. (Matayo 24:14) Kino bakikola kyeyagalire, olw’okwagala kwe balina eri Katonda ne baliraanwa baabwe.
N’olwekyo, tokkiriza busosoze oba busungu kukuziyiza kuwuliriza Bajulirwa ba Yakuwa bwe baba nga bazze ewuwo oba bwe bakusanga mu kifo ekirala. Bagezaako okubeera baliraanwa abalungi. N’olw’ensonga eyo, kkiriza okuyiga nabo Baibuli. Ojja kutegeera nti Ekigambo kya Katonda kitukakasa nti ekiseera kisembedde abantu okubeera awamu mu ssanyu. Mu kiseera ekyo, obusosoze mu langi, mu ddiini, oba mu by’enfuna tebujja kuddamu kumalawo nkolagana nnungi abasinga obungi ku ffe gye twegomba ennyo.
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 5]
Kirungi okukola ebikolwa eby’ekisa mu kitundu kyo
[Ensibuko y’ekifaananyi]
Globe: Mountain High Maps® Copyright © 1997 Digital Wisdom, Inc.