‘Laba! Ono Ye Katonda Waffe’
Ebiri mu bitundu bino ebibiri eby’okusoma byesigamiziddwa ku katabo Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa, akaafulumizibwa mu nkuŋŋaana za disitulikiti ezaategekebwa okwetooloola ensi yonna mu 2002/03.—Laba ekitundu “Kaakola ku Ekyo Omutima Gwange kye Gwali Gwetaaga,” ekiri ku lupapula 29.
‘Laba! ono ye Katonda waffe; twamulindiriranga, era alitulokola: ono ye Mukama.’—ISAAYA 25:9.
1, 2. (a) Yakuwa yayogera atya ku Ibulayimu, jjajja w’abakkiriza, era ekyo kiyinza kutuleetera kwebuuza kibuuzo ki? (b) Baibuli etukakasa etya nti kisoboka okubeera mikwano gya Katonda?
“MUKWANO gwange.” Bw’atyo Yakuwa, Omutonzi w’eggulu n’ensi, bwe yayogera ku Ibulayimu jjajja wa bakkiriza. (Isaaya 41:8) Kifumiitirizeeko—omuntu obuntu okubeera mukwano gwa Mukama Afuga byonna! Oyinza okuba weebuuza, ‘Nsobola okubeera n’enkolagana ng’eyo ne Katonda?’
2 Baibuli etukakasa nti tusobola okubeera n’enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda. Ibulayimu yali mukwano gwa Katonda kubanga ‘yakkiririza mu Yakuwa.’ (Yakobo 2:23) N’olwa leero, Yakuwa ‘asobola okubeera mukwano gw’abantu abagolokofu.’ (Engero 3:32) Mu Yakobo 4:8 (NW), Baibuli etukubiriza: “Funa enkolagana ennungi ne Katonda, naye anaabeera mukwano gwo.” Kya lwatu, singa tubaako kye tukolawo okufuna enkolagana ennungi ne Yakuwa, naye ajja kubaako ky’akolawo. Mu butuufu, ajja kubeera mukwano gwaffe. Naye ebigambo bino ebyaluŋŋamizibwa bitegeeza nti ffe, abantu aboonoonyi era abatatuukiridde, ffe tulina okusooka okubaako kye tukola? N’akatono. Tusobola okuba mikwano gya Katonda kubanga alina ebintu bibiri ebikulu ennyo by’akoze okutusobozesa okubeera mikwano gye.—Zabbuli 25:14.
3. Bintu ki ebibiri Yakuwa by’akoze okutusobozesa okubeera mikwano gye?
3 Okusooka, Yakuwa yakola enteekateeka Yesu ‘aweeyo obulamu bwe ng’ekinunulo ku lw’abangi.’ (Matayo 20:28) Ekinunulo ekyo kitusobozesa okufuna enkolagana ennungi ne Katonda. Baibuli egamba: “Ffe twagala, kubanga ye yasooka okutwagala.” (1 Yokaana 4:19) Yee, olw’okuba Katonda ‘ye yasooka okutwagala,’ yatuteerawo omusingi ogutusobozesa okubeera mikwano gye. Eky’okubiri, Yakuwa atutegeezezza ebimukwatako. Omukwano gwonna okusobola okubeera ogw’oku lusegere, kyesigama ku kumanyira ddala omuntu oyo, n’okusiima engeri ze. Lowooza ku kino kye kitegeeza. Singa Yakuwa yali Katonda eyeekwese era atasobola kumanyibwa, tetwandisobodde kuba mikwano gye egy’oku lusegere. Naye, mu kifo ky’okwekweka, Yakuwa ayagala tumumanye. (Isaaya 45:19) Mu Kigambo kye, Baibuli, atutegeeza ebimukwatako mu ngeri gye tusobola okutegeera obulungi, ekiraga nti atwagala nnyo era nti ayagala tumumanye era tumwagale nga Kitaffe ow’omu ggulu.
4. Tunaawulira tutya bwe tuneeyongera okumanya engeri za Yakuwa?
4 Wali olabye omwana omuto ng’alaga mikwano gye kitaawe era n’abagamba nga yeenyumiriza nti, “oyo ye taata wange”? Abantu abasinza Yakuwa nabo bwe batyo bwe bamwenyumiririzaamu. Baibuli eyogera ku kiseera abantu abeesigwa lwe baligamba: “Laba, ono ye Katonda waffe.” (Isaaya 25:8, 9) Gye tukoma okutegeera engeri za Yakuwa, gye tujja okukoma okumanya nti tulina Kitaffe asingirayo ddala obulungi era Mukwano gwaffe asingayo okuba ow’oku lusegere. Yee, bwe tutegeera engeri za Yakuwa, kitusobozesa okubeera mikwano gye egy’oku lusegere. N’olwekyo, ka twekenneenye engeri Baibuli gy’ebikkulamu engeri za Yakuwa ezisinga obukulu—amaanyi, obwenkanya, amagezi n’okwagala. Mu kitundu kino, tujja kwekenneenya engeri ssatu ku ezo.
‘Asinga Bonna Amaanyi’
5. Lwaki Yakuwa y’asaanidde okuyitibwa “Katonda Omuyinza w’ebintu byonna,” era ngeri ki gy’akozesaamu amaanyi ge ag’ekitalo?
5 Yakuwa ‘y’asinga bonna amaanyi.’ (Yobu 37:23) Yeremiya 10:6 wagamba: “Tewali afaanana ggwe, ai Mukama; ggwe mukulu, n’erinnya lyo kkulu mu buyinza.” Okwawukana ku bitonde byonna, Yakuwa alina amaanyi agataliiko kkomo. N’olw’ensonga eyo, ye yekka ayitibwa “Omuyinza w’ebintu byonna.” (Okubikkulirwa 15:3) Yakuwa akozesa amaanyi ge amangi ennyo okutonda, okuzikiriza, okukuuma, n’okuzza obuggya. Lowooza ku byokulabirako bibiri byokka—amaanyi ge yakozesa okutonda n’amaanyi g’akozesa okukuuma.
6, 7. Enjuba yenkana wa amaanyi, era etuyigiriza ki?
6 Bw’oyimirira ebweru mu kasana akeememula, kiki ky’owulira ku lususu lwo? Ebbugumu eriva ku njuba. Mu butuufu, awo oba owulira ebiva mu maanyi Yakuwa ge yakozesa okutonda. Enjuba ya maanyi kwenkana wa? Mu makkati gaayo, enjuba erimu ebbugumu eriri ku kipimo kya 15,000,000°C. Singa wali osobola okusokoola mu makkati g’enjuba akatundu akenkana omutwe gwa ppini n’okaleeta ku nsi, tewandisobodde kuyimirira mu bbanga lya mayiro 90 okuva we kali n’otatuukibwako kabi konna! Buli katikitiki, enjuba efulumya amaanyi agenkanankana aga bbomu za nukuliya bukadde na bukadde. Wadde kiri kityo, ensi yeetooloola enjuba evaamu ebbugumu eryenkanidde awo ng’egyesudde ebbanga ettuufu. Singa enjuba yali kumpi nnyo, amazzi gonna agali mu nsi gandibadde gakalira; ate singa yali wala nnyo, gandibadde gakwata bbalaafu. N’olwekyo, singa ensi yagiri kumpi oba wala okusingako weeri, ensi teyandisobodde kubeerako kiramu kyonna.
7 Abantu abasinga obungi enjuba tebagitwala ng’ekintu ekikulu ennyo, wadde ng’obulamu bwabwe kwe bwesigamye. Bwe kityo, tebategeera njuba ky’etuyigiriza. Zabbuli 74:16 woogera bwe wati ku Yakuwa: “Wakola omusana n’enjuba.” Yee, enjuba etendereza Yakuwa, “eyakola eggulu n’ensi.” (Zabbuli 146:6) Ate era, y’emu ku bintu ebyatondebwa ebyoleka amaanyi ga Yakuwa amangi ennyo. Gye tukoma okuyiga ebikwata ku maanyi Yakuwa ge yakozesa okutonda, gye tukoma n’okumussaamu ekitiibwa.
8, 9. (a) Kyakulabirako ki ekirungi ennyo ekitulaga nti Yakuwa ayagala okukuuma n’okulabirira abantu abamusinza? (b) Omusumba ow’omu biseera bya Baibuli yalabiriranga atya endiga ze, era kino kituyigiriza ki ku Musumba waffe ow’Ekitalo?
8 Era Yakuwa akozesa amaanyi ge amangi ennyo okukuuma n’okulabirira abaweereza be. Baibuli ekozesa ebyokulabirako ebirungi era ebituuka ku mutima okulaga engeri Yakuwa gy’asuubiza okutuwaamu obukuumi. Ng’ekyokulabirako, weekenneenye Isaaya 40:11. Mu kyawandiikibwa kino, Yakuwa yeegeraageranya ku musumba, ate abantu be n’abageraageranya ku ndiga. Tusoma nti: “Aliriisa ekisibo kye ng’omusumba, alikuŋŋaanya abaana b’endiga mu mukono gwe, n’abasitula mu kifuba kye, aliyitiriza mpola ezo eziyonsa.” Oyinza okukuba ekifaananyi ku kyogerwako mu lunyiriri luno?
9 Nsolo ntono nnyo ezeetaaga obukuumi obw’amaanyi ng’endiga. Omusumba ow’omu biseera bya Baibuli yalinanga okubeera omuvumu okusobola okukuuma endiga ze okuva ku misege, amalubu n’empologoma. (1 Samwiri 17:34-36; Yokaana 10:10-13) Naye emirundi egimu okukuuma endiga kyali kyetaagisa okuzikwata n’obwegendereza. Ng’ekyokulabirako, endiga bwe yazaaliranga ewala okuva ku kisibo, omusumba yasobolanga atya okukuuma akaliga akaali kaakazaalibwa? Oboolyawo yakasituliranga “mu kifuba” kye okumala ennaku nnyingi. Naye, akaana k’endiga kajja katya okubeera “mu kifuba” ky’omusumba? Kayinza okusemberera omusumba ne kakomberera ne ku kigere kye. Kyokka, omusumba yalina okukutama, n’asitula akaliga ako n’akateeka mu kifuba kye. Ekyo nga kyoleka bulungi nnyo Omusumba waffe ow’Ekitalo bw’ali omwetegefu okukuuma n’okulabirira abaweereza be!
10. Bukuumi ki Yakuwa bw’atuwa leero, era lwaki obukuumi ng’obwo bukulu nnyo?
10 Yakuwa tatusuubiza busuubiza bukuumi. Mu biseera bya Baibuli yayoleka mu ngeri ey’ekyamagero nti asobola ‘okulokola abantu abamutya okuva mu kigezo.’ (2 Peetero 2:9) Naye ate leero? Tukimanyi nti takozesa maanyi ge okutukuuma obutatuukibwako mitawaana gyonna. Kyokka, atuwa ekintu ekisingayo obukulu, nga buno bwe bukuumi mu by’omwoyo. Katonda waffe omwagazi atukuuma ne tutatuukibwako kabi mu by’omwoyo ng’atuwa bye twetaaga okusobola okugumira ebigezo era n’okukuuma enkolagana yaffe ey’omuwendo gye tulina naye. Ng’ekyokulabirako, Lukka 11:13 wagamba: “Kale oba nga mmwe ababi mumanyi okuwa abaana bammwe ebirabo ebirungi, talisinga nnyo Kitammwe ali mu ggulu okuwa Omwoyo Omutukuvu abamusaba.” Amaanyi ago gayinza okutusobozesa okukola ku kigezo oba ekizibu kyonna kye tuyinza okwolekagana nakyo. (2 Abakkolinso 4:7) Mu ngeri eyo, Yakuwa akuuma obulamu bwaffe si kumala myaka mitono kyokka naye emirembe gyonna. Nga tulina essuubi eryo mu birowoozo byaffe, tusobola okutunuulira okubonaabona kwonna okuliwo mu nteekateeka eno nga ‘okw’akaseera obuseera.’ (2 Abakkolinso 4:17) Tetusikirizibwa kubeera mukwano gwa Katonda ng’oyo akozesa amaanyi ge ku lwaffe?
“Yakuwa Ayagala Obwenkanya”
11, 12. (a) Lwaki obwenkanya bwa Yakuwa butusikiriza gy’ali? (b) Dawudi yategeera ki ku bikwata ku bwenkanya bwa Yakuwa, era ebigambo ebyo ebyaluŋŋamizibwa bisobola bitya okutuzzaamu amaanyi?
11 Yakuwa buli kiseera akola eby’obutuukirivu era eby’obwenkanya. Obwenkanya bwa Yakuwa si ngeri etasikiriza, wabula ngeri esanyusa etwagazisa okufuna enkolagana ennungi naye. Baibuli ennyonnyola bulungi engeri eyo eya Yakuwa. Ka tulabe engeri ssatu Yakuwa mw’alagira obwenkanya bwe.
12 Okusooka, obwenkanya bwa Yakuwa bumuleetera okuba eyeesigika eri abaweereza be. Dawudi, omuwandiisi wa Zabbuli, yasiima engeri eno ey’obwenkanya bwa Yakuwa. Okusinziira ku byamutuukako awamu ne bye yayiga ku ngeri Katonda gy’akolamu ebintu, Dawudi yategeera ki? Yagamba: “Yakuwa ayagala obwenkanya, era talireka abamwesiga. Balikuumibwa emirembe gyonna.” (Zabbuli 37:28, NW) Ng’ebigambo ebyo bizzaamu nnyo amaanyi! Katonda waffe tayinza kwabulira abo abamwesiga. N’olwekyo, tuyinza okuba abakakafu nti ajja kutulabirira. Olw’okuba mwenkanya, tuli bakakafu ku kino!—Engero 2:7, 8.
13. Amateeka Yakuwa ge yawa Isiraeri gaalaga gatya nti afaayo ku banaku?
13 Eky’okubiri, obwenkanya bwa Katonda bumuleetera okubaako ky’akolawo ku byetaago by’abo abali mu nnaku. Amateeka Katonda ge yawa Isiraeri gooleka bulungi nti afaayo ku banaku. Ng’ekyokulabirako, Amateeka ago gaalimu enteekateeka esobozesa bamulekwa ne bannamwandu okulabirirwa. (Ekyamateeka 24:17-21) Olw’okuba yali amanyi engeri obulamu gye bwandizibuwaliddemu abantu ng’abo, Yakuwa kennyini yafuuka Omulamuzi waabwe era Omukuumi waabwe. (Ekyamateeka 10:17, 18) Yalabula Abaisiraeri nti singa bayisa bubi abakazi n’abaana abatalina mwasirizi, yandiwulidde okukaaba kw’abantu ng’abo. Yagamba bw’ati mu Okuva 22:22-24: “Obusungu bwange bulyaka nnyo.” Wadde ng’obusungu si ngeri ya Yakuwa enkulu, asunguwala singa abanaku n’abatalina buyambi bayisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya.—Zabbuli 103:6.
14. Bujulizi ki obw’enkukunala obulaga nti Yakuwa tasosola?
14 Eky’okusatu, mu Ekyamateeka 10:17, Baibuli etukakasa nti Yakuwa ‘tasosola era talya nguzi.” Okwawukana ku bantu bangi abalina obuyinza, Yakuwa tatunuulira bya bugagga omuntu by’alina wadde endabika ye ey’okungulu. Teyeekubiira era tasosola n’akamu. Obujulizi obw’enkukunala obulaga nti Yakuwa tasosola bwe buno: Omukisa ogw’okufuuka abasinza be ab’amazima, abalina essuubi ery’obulamu obutwaggwaawo, teguweebwa bantu batono abalondemu. Wabula, Ebikolwa by’Abatume 10:34, 35 wagamba: “Katonda tasosola mu bantu: naye mu ggwanga lyonna amutya n’akola obutuukirivu amukkiriza.” Essuubi lino ery’ekitalo liyinza okufunibwa buli muntu k’abe mu mbeera ki, wa kika ki, oba ggwanga ki. Obwo si bwenkanya obuli ku kigero ekya waggulu ennyo? Mazima ddala, okutegeera obulungi obwenkanya bwa Yakuwa kitusikiriza gy’ali!
‘Amagezi ga Katonda nga Tegakoma!’
15. Amagezi kye ki, era Yakuwa agoolesa atya?
15 Omutume Pawulo yayogera bw’ati mu Abaruumi 11:33: ‘Okutegeera kwa Katonda nga tekukoma!’ Yee, bwe tulowooza ku magezi ga Katonda amangi ennyo, tuwuniikirira. Naye, tusobola tutya okunnyonnyola engeri eno? Amagezi gateeka mu nkola okumanya n’okutegeera. Olw’okuba Yakuwa alina okumanya kungi n’okutegeera, buli kiseera asalawo mu ngeri esingayo obulungi, era n’atuukiriza by’asazeewo mu ngeri esingirayo ddala obulungi.
16, 17. Ebitonde bya Yakuwa biraga bitya amagezi amangi g’alina? Waayo ekyokulabirako.
16 Ebimu ku ebyo ebiraga amagezi ga Yakuwa amangi bye biruwa? Zabbuli 104:24 wagamba: “Ai Mukama, emirimu gyo nga gya ngeri nnyingi! Wagikola gyonna mu magezi: ensi ejjudde obugagga bwo.” Mazima ddala, gye tukoma okuyiga ku bintu Yakuwa bye yatonda, gye tukoma okuwuniikirira olw’amagezi ge. Lowooza ku bintu ebingi ennyo bannasayansi bye bayize okuva ku ebyo Yakuwa bye yatonda! Waliwo n’essomo lya sayansi erikwata ku kukoppa ebintu ebyatondebwa.
17 Ng’ekyokulabirako, oyinza okuba weewuunya nnyo bw’olaba ennyumba ya nnabbubi. Mazima ddala yakolebwa mu ngeri ya kitalo. Bwe biba bigeraageranyiziddwa mu ngeri entuufu, wuzi ezikola ennyumba eyo ezirabika ng’ennafu, ziba ngumu okusinga ekyuma, era za maanyi okusinga wuzi eziba mu kyambalo ekitayitamu masasi. Ekyo kitegeeza ki? Teeberezaamu ng’ennyumba ya nnabbubi egaziyiziddwa okwenkana akatimba akakozesebwa okuvuba. Ennyumba eyo eba ngumu nnyo ne kiba nti eyinza okuziyiza ennyonyi y’abasaabaze ng’etambula mu bbanga! Yee, Yakuwa akoze ebintu ebyo byonna mu ‘magezi ge.’
18. Yakuwa yayoleka atya amagezi ge bwe yakozesa abantu okuwandiika Ekigambo kye, Baibuli?
18 Obujulizi obusingirayo ddala obulaga amagezi ga Yakuwa busangibwa mu Kigambo kye, Baibuli. Mazima ddala, okubuulirira okw’amagezi okusangibwa mu Baibuli kutulaga engeri esingayo obulungi ey’okutambuzaamu obulamu bwaffe. (Isaaya 48:17) Kyokka era, amagezi ga Yakuwa agatageraageranyizika gayinza okulabibwa mu ngeri Baibuli gye yawandiikibwamu. Mu ngeri ki? Mu magezi ge, Yakuwa yasalawo okukozesa abantu okuwandiika Ekigambo kye. Singa yali akozesezza bamalayika okuwandiika Ekigambo kye ekyaluŋŋamizibwa, Baibuli yandibadde esikiriza mu ngeri y’emu? Kyo kituufu nti, bamalayika bandisobodde okuwandiika ebikwata ku Yakuwa nga basinziira ku ngeri eya waggulu ennyo gye bamumanyiimu era ne bakiraga nti bamwagala nnyo. Naye twandisobodde okutegeera obulungi ebiwandiikiddwa ebitonde eby’omwoyo ebituukiridde, ebirina okumanya, obumanyirivu n’amaanyi ebisingira ewala ennyo bye tulina?—Abaebbulaniya 2:6, 7.
19. Kyakulabirako ki ekiraga nti olw’okuba abantu be baakozesebwa okuwandiika Baibuli kigireetera okuba ng’esikiriza?
19 Olw’okuba abantu be baakozesebwa okuwandiika Baibuli kigireetera okuba ng’esikiriza. Abaagiwandiika baali bantu abaalina enneewulira nga ezaffe. Olw’okuba baali tebatuukiridde, baayolekagana n’okugezesebwa era n’okupikirizibwa ebifaananako n’ebyo ebitutuukako. Emirundi egimu baawandiika ku nneewulira zaabwe n’ebizibu bye baalina. (2 Abakkolinso 12:7-10) N’olwekyo, baawandiika ebigambo malayika yenna bye yali tasobola kuwandiika. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku bigambo bya Dawudi ebisangibwa mu Zabbuli 51. Okusinziira ku bugambo obuli waggulu, Dawudi yawandiika Zabbuli eyo oluvannyuma lw’okukola ekibi eky’amaanyi. Yayogera byonna ebyamuli mu mutima, n’alaga ennaku ey’amaanyi gye yalina era n’asaba Katonda okumusonyiwa. Mu lunyiriri 2 ne 3 tusoma: “Onnaalize ddala mu bubi bwange, onnongoose mu kwonoona kwange. Kubanga njatula ebyonoono byange; n’ekibi kyange kiri mu maaso gange bulijjo.” Weetegereze olunyiriri 5: “Laba, nze natondebwa mu bubi; ne mu kwonoona mmange mwe yanzaalira.” Olunyiriri 17 lugattako: “Ssaddaaka za Katonda ye mmeeme emenyese: omutima ogumenyese era oguboneeredde, ai Katonda, toogugayenga.” Olaba ennaku y’omuwandiisi wa Zabbuli? Omuntu atatuukiridde si y’ayinza okwoleka enneewulira ng’eyo?
20, 21. (a) Lwaki kiyinza okugambibwa nti wadde ng’abantu be baakozesebwa okuwandiika Baibuli, erimu amagezi ga Katonda? (b) Kiki ekijja okukubaganyizibwako ebirowoozo mu kitundu ekiddako?
20 Mu kukozesa abantu ng’abo abatatuukiridde, Yakuwa yatuwa ekyo kye twetaaga—ebyawandiikibwa ‘ebyaluŋŋamizibwa Katonda,’ kyokka nga biri mu ngeri abantu gye basobola okutegeera. (2 Timoseewo 3:16) Yee, abawandiisi abo baaluŋŋamizibwa omwoyo omutukuvu. Bwe kityo, baawandiika magezi ga Yakuwa so si gaabwe. Amagezi ago geesigika ddala. Amagezi ago ga waggulu nnyo okusinga agaffe ne kiba nti Katonda atukubiriza bw’ati: “Weesigenga Mukama n’omutima gwo gwonna. So teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe: Mwatulenga mu makubo go gonna, kale anaaluŋŋamyanga olugendo lwo.” (Engero 3:5, 6) Bwe tugoberera amagezi ago amalungi, tweyongera okunyweza enkolagana yaffe ne Katonda waffe ow’amagezi amangi ennyo.
21 Engeri ya Yakuwa esinga zonna obulungi n’okusikiriza kwe kwagala. Engeri Yakuwa gy’alazeemu okwagala ejja kukubaganyizibwako ebirowoozo mu kitundu ekiddako.
Osobola Okujjukira?
• Biki Yakuwa by’akoze okutuyamba okubeera n’enkolagana ennungi naye?
• Byakulabirako ki ebimu ebiraga amaanyi ga Yakuwa ag’okutonda n’ag’okukuuma?
• Yakuwa alaga atya obwenkanya bwe?
• Amagezi ga Yakuwa galabikira gatya mu bitonde bye era ne mu Baibuli?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20
Okufaananako omusumba asitula akaliga mu kifuba, Yakuwa afaayo ku ndiga ze mu ngeri ey’ekisa
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 22]
Amagezi ga Yakuwa galabikira mu ngeri Baibuli gye yawandiikibwamu