Weesigenga Yakuwa
“Ggwe . . . ssuubi lyange, ai Mukama Katonda: ggwe gwe nneesiga okuva mu buto bwange.”—ZABBULI 71:5.
1. Kigezo ki Dawudi omuvubuka omusumba kye yayolekagana nakyo?
GOLIYAASI yali musajja muwanvu ng’aweza ffuuti ezisukka mu mwenda. N’olw’ensonga eyo, tekyewuunyisa okuba nti abaserikale bonna Abaisiraeri baali batya okwolekagana naye! Buli nkya na buli olweggulo, okumala wiiki eziwera, Goliyaasi Omufirisuuti ow’amaanyi yasoomoozanga eggye ly’Abaisiraeri ng’abagamba nti baleete nnatameggwa waabwe amulwanyise. Ku nkomerero, waliwo eyakkiriza okwolekagana naye. Kyokka, ono teyali muserikale, wabula yali muvubuka buvubuka. Dawudi omuvubuka omusumba yali mutono nnyo ng’omugeraageranyizza ku Goliyaasi eyali omuwagguufu ennyo. Mu butuufu, kirabika obuzito bwa Dawudi bwali tebwenkana na byakulwanyisa bya Goliyaasi! Wadde kyali kityo, omuvubuka oyo yayaŋŋanga omusajja oyo omuwagguufu era bw’atyo n’atuteerawo ekyokulabirako eky’obuvumu.—1 Samwiri 17:1-51.
2, 3. (a) Lwaki Dawudi yasobola okwaŋŋanga Goliyaasi n’obuvumu? (b) Bintu ki ebibiri bye tugenda okwekenneenya ebinaatusobozesa okwesiga Yakuwa?
2 Dawudi yaggya wa obuvumu obwo? Weetegereze ebimu ku bigambo ye kennyini bye yawandiika nga wayiseewo emyaka: “Ggwe oli ssuubi lyange, ai Mukama Katonda: ggwe gwe nneesiga okuva mu buto bwange.” (Zabbuli 71:5) Yee, ng’omuvubuka, Dawudi yeesigira ddala Yakuwa. Yalumba Goliyaasi ng’agamba: “Ojja gye ndi n’ekitala n’olunyago n’effumu: naye nze njija gy’oli mu linnya lya Mukama ow’eggye, Katonda w’eggye lya Isiraeri, ly’osoomozezza.” (1 Samwiri 17:45) Wadde nga Goliyaasi yeesiga maanyi ge amangi n’eby’okulwanyisa, ye Dawudi yeesiga Yakuwa. Nga Katonda omuyinza w’ebintu byonna ali ku ludda lwe, Dawudi teyanditidde muntu yenna ka kibeere nti omuntu oyo yalina eby’okulwanyisa bingi nnyo.
3 Bw’osoma ebikwata ku Dawudi, muli owulira nti wandyagadde okwesiga Yakuwa mu ngeri esingawo? Awatali kubuusabuusa, ekyo ffenna kye twandyagadde. N’olwekyo, ka twekenneenye ebintu bibiri ebiyinza okutuyamba okwesiga Yakuwa. Ekisooka, tulina okuvvuunuka ekitera okulemesa abantu okwesiga Yakuwa. Eky’okubiri, twetaaga okutegeera ekyo ekizingirwa mu kwesiga Yakuwa.
Okuvvuunuka Ekitera Okulemesa Abantu Okwesiga Yakuwa
4, 5. Lwaki abantu bangi bakisanga nga kizibu okwesiga Katonda?
4 Kiki ekiremesa abantu okwesiga Yakuwa? Emirundi egisinga, abantu tebategeera nsonga lwaki ebintu ebibi bibaawo. Bangi bayigiriziddwa nti Katonda yavunaanyizibwa olw’okubonaabona okuliwo. Omuntu bw’afa, abakulu b’amadiini bagamba nti Katonda “amututte” okubeera naye mu ggulu. Era, abakulu b’amadiini bangi bayigiriza nti Katonda yateekateeka dda buli ekibaawo—nga mw’otwalidde na buli katyabaga n’ebintu ebirala ebibi ebibaawo mu nsi. Kyandibadde kizibu nnyo okwesiga Katonda ng’oyo atalumirirwa balala. Setaani, aziba amaaso g’abatakkiriza, mwetegefu okutumbula ‘enjigiriza ng’ezo eza badayimooni.’—1 Timoseewo 4:1; 2 Abakkolinso 4:4.
5 Setaani ayagala abantu balekere awo okwesiga Yakuwa. Omulabe wa Katonda ono tayagala tutegeere nsibuko yennyini ey’okubonaabona kw’abantu. Era, bwe tuba nga tutegedde okuva mu Byawandiikibwa ensonga eziviirako okubonaabona, Setaani ayagala tuzeerabire. N’olwekyo, buli luvannyuma lw’ekiseera kiba kirungi okwejjukanya ensonga satu eziviirako okubonaabona okuli mu nsi. Bwe tukola bwe tutyo, tuba bakakafu nti Yakuwa si ye nsibuko y’okubonaabona kwe twolekagana nakwo mu bulamu.—Abafiripi 1:9, 10.
6. Okusinziira ku 1 Peetero 5:8 kiki ekiviirako abantu okubonaabona?
6 Ensonga esooka lwaki waliwo okubonaabona eri nti Setaani tayagala baweereza ba Yakuwa babeere beesigwa. Yagezaako okulemesa Yobu okuba omwesigwa. Setaani yalemererwa, naye talekuliranga. Ng’omufuzi w’ensi eno, agezaako ‘okulya’ abaweereza ba Yakuwa abeesigwa. (1 Peetero 5:8) Naffe tukwatibwako! Setaani ayagala tulekere awo okuweereza Yakuwa. N’olw’ensonga eyo, enfunda n’enfunda aleetawo okuyigganyizibwa. Wadde ng’okubonaabona okwo kuleetawo obulumi, tulina ensonga ennungi okugumiikiriza. Bwe tugumiikiriza, tulaga nti Setaani mulimba era ne tusanyusa Yakuwa. (Yobu 2:4; Engero 27:11) Yakuwa bw’atuwa amaanyi okugumiikiriza okuyigganyizibwa, obwesige bwe tumulinamu bweyongera.—Zabbuli 9:9, 10.
7. Nsonga ki eviirako okubonaabona eragiddwa mu Abaggalatiya 6:7?
7 Ensonga ey’okubiri eviirako okubonaabona tugisanga mu musingi guno: “Omuntu kyonna ky’asiga era ky’alikungula.” (Abaggalatiya 6:7) Emirundi egimu abantu basiga nga basalawo mu bukyamu era ne bakungula okubonaabona. Bayinza okuvuga emmotoka n’ekimama ne kibaviirako okufuna akabenje. Abamu banywa sigala, ne kibaviirako okufuna obulwadde bw’omutima oba kookolo ow’omu mawuggwe. Abo abeenyigira mu bukaba bayinza okufiirwa enkolagana yaabwe ennungi n’ab’omu maka gaabwe, okuweebuuka, okufuna endwadde ez’obukaba, n’okufuna embuto ze bateeyagalidde. Abantu bayinza okuvunaana Katonda olw’okubonaabona ng’okwo, naye mu butuufu be baba bakwetuusizaako olw’okusalawo obubi.—Engero 19:3.
8. Okusinziira ku Omubuulizi 9:11, lwaki abantu babonaabona?
8 Ensonga ey’okusatu eviirako okubonaabona eragibwa mu Omubuulizi 9:11: “Awo ne nzirayo ne ndaba wansi w’enjuba ng’ab’embiro si be basinga empaka ez’embiro, so n’ab’amaanyi si be basinga okulwana, so n’abagezigezi si be bafuna emmere, so n’abantu abategeevu si be bafuna obugagga, so n’abakabakaba si be baganja; naye bonna bibagwira bugwizi ebiseera n’ebigambo.” Emirundi egimu, abantu babeera bubeezi mu kifo ekimu mu kiseera ekikyamu. Ka tubeere nga tuli ba maanyi oba banafu, tuyinza okubonaabona n’okufa ekiseera kyonna. Ng’ekyokulabirako, mu kiseera kya Yesu, omunaala gw’omu Yerusaalemi gwagwa era ne gutta abantu 18. Yesu yakiraga nti Katonda yali tababonereza olw’ebibi byabwe eby’emabega. (Lukka 13:4) Yakuwa si yavunaanyizibwa olw’okubonaabona ng’okwo.
9. Kintu ki abantu bangi kye batategeera ku kubonaabona?
9 Kikulu nnyo okutegeera ebiviirako okubonaabona. Kyokka, waliwo ekintu kimu abantu bangi kye bazibuwalirwa okutegeera. Tebategeera, Lwaki Yakuwa Katonda aleseewo okubonaabona?
Lwaki Yakuwa Aleseewo Okubonaabona?
10, 11. (a) Okusinziira ku Abaruumi 8:19-22, kiki ekyatuuka ku ‘butonde bwonna’? (b) Tusobola tutya okutegeera eyaleetera obutonde okufugibwa obutaliimu?
10 Ennyiriri ezimu eziri mu bbaluwa Pawulo gye yawandiikira Abaruumi zituyamba okutegeera ensonga eno enkulu. Pawulo yawandiika: “Okutunuulira ennyo okw’ebitonde kulindirira okubikkulirwa kw’abaana ba Katonda. Kubanga ebitonde byateekebwa okufugibwa obutaliimu, si lwa kwagala kwabyo wabula ku bw’oyo eyabifugisa, mu kusuubira Nti era n’ebitonde byennyini nabyo biriweebwa eddembe okuva mu kufugibwa okuvunda okuyingira mu ddembe ery’ekitiibwa ky’abaana ba Katonda. Kubanga tumanyi ng’ebitonde byonna bisinda era birumirwa wamu okutuusa kaakano.”—Abaruumi 8:19-22.
11 Okusobola okutegeera amakulu gennyini ag’ennyiriri zino, twetaaga okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebikulu. Ng’ekyokulabirako, Ani yaleetera ebitonde okufugibwa obutaliimu? Abamu bagamba nti ye Setaani; abalala nti Adamu. Naye tewali n’omu ku abo eyandisobodde okukola ekyo. Lwaki? Kubanga oyo aleetera ebitonde okufugibwa obutaliimu akikola ‘ng’abiteerawo essuubi.’ Ateekawo essuubi mu ngeri nti abeesigwa ‘bajja kufuna eddembe okuva mu kufugibwa okuvunda.’ Adamu oba Setaani, baali tebasobola kuwa ssuubi eryo. Yakuwa yekka ye yandisobodde okulituwa. N’olwekyo, ye yaleetera obutonde okufugibwa obutaliimu.
12. Ndowooza ki ezaawukana ezikwata ku ‘butonde bwonna,’ era obutonde obwo kye ki?
12 Naye, ‘obutonde bwonna’ obwogerwako mu nnyiriri ezo bwe buluwa? Abamu bagamba nti ‘obutonde bwonna’ bukiikirira ebintu byonna, nga mw’otwalidde ebisolo n’ebimera. Naye, ebisolo n’ebimera birina essuubi ‘ery’okufuna eddembe ery’abaana ba Katonda’? Nedda. (2 Peetero 2:12) N’olwekyo, ‘obutonde bwonna’ bukiikirira bantu bokka. Buno bwe butonde obutawaanyizibwa ekibi n’okufa olw’obujeemu obwaliwo mu Adeni era nga bwetaaga nnyo essuubi.—Abaruumi 5:12.
13. Obwewagguzi mu Adeni bwakwata butya ku abantu?
13 Obwewagguzi obwo bwakwata butya ku bantu? Pawulo annyonnyola ebyavaamu mu kigambo kimu: obutaliimu.a Okusinziira ku kitabo ekimu, ekigambo ekyo kitegeeza “ekintu obutakola ekyo kye kyatonderwa okukola.” Abantu baatondebwa okubeerawo emirembe gyonna, nga bakolera wamu ng’abantu abatuukiridde okulabirira olusuku lwa Katonda ku nsi. Mu kifo ky’ekyo, obulamu bwabwe bwa kaseera katono, era nga bulimu ennaku n’obulumi. Nga Yobu bwe yagamba,“omuntu azaalibwa omukazi wa nnaku si nnyingi, era ajjudde obuyinike.” (Yobu 14:1) Mazima ddala obwo butaliimu!
14, 15. (a) Kiki ekiraga nti Yakuwa yali mwenkanya okusalira abantu omusango? (b) Lwaki Pawulo yagamba nti abantu basibwa mu butaliimu ‘si lwa kwagala kwabwe’?
14 Kati tutuuse ku kibuuzo ekikulu ennyo: Lwaki ‘Omulamuzi w’ensi yonna’ yateeka abantu mu bulumi bwe butyo? (Olubereberye 18:25) Yali mwenkanya okukola ekyo? Jjukira ekyo bazadde baffe abaasooka kye baakola. Bwe beewaggula okuva ku Katonda, badda ku luuyi lwa Setaani, eyasoomooza obutuufu bw’obufuzi bwa Yakuwa. Olw’ekyo kye baakola, baakiraga nti abantu bandibadde bulungi awatali bulagirizi bwa Yakuwa, nga beefuga bokka wansi w’obulagirizi bw’ekitonde eky’omwoyo ekyewaggula. Bwe yasalira bakyewaggula abo omusango, mu butuufu Yakuwa yabawa ekyali kibagwanidde. Yaleka omuntu okwefuga ng’ali wansi w’obulagirizi bwa Setaani. Mu mbeera eyaliwo, awatali kubuusabuusa kyali kya bwenkanya okuleka abantu okufugibwa obutaliimu kyokka nga balina essuubi.
15 Kya lwatu, kino tekyali mu ‘kwagala’ kwa butonde. Tuzaalibwa nga tulina ekibi, tukaddiwa, tulwala era ne tufa nga tetweyagalidde. Naye, olw’ekisa kye, Yakuwa yakkiriza Adamu ne Kaawa okweyongera okuba abalamu okumala akaseera era n’okuzaala abaana. Wadde nga ffe bazzukulu baabwe twasikira ekibi n’okufa, tulina omukisa okukola ekyo Adamu ne Kaawa kye baalemererwa okukola. Tusobola okuwuliriza Yakuwa era ne tutegeera nti obufuzi bwe bwa butuukirivu era bulungi wadde ng’obufuzi bw’abantu obweyawudde ku Yakuwa buleeta bulumi, okusoberwa n’obutaliimu. (Yeremiya 10:23; Okubikkulirwa 4:11) Ng’oggyeko okuba nti twazaalibwa nga tuli baddu b’ekibi n’okufa, embeera Setaani gy’aleetawo eyongera okukalubya ebintu. Ebyafaayo by’omuntu bikakasa obutuufu bw’ensonga eno.—Omubuulizi 8:9.
16. (a) Lwaki tuyinza okuba abakakafu nti Yakuwa si y’avunaanyizibwa olw’okubonaabona okuliwo mu nsi leero? (b) Ssuubi ki Katonda ly’ateereddewo abantu abeesigwa?
16 N’olwekyo, Yakuwa yalina ensonga ennungi okuleka abantu okufugibwa obutaliimu. Naye, ekyo kitegeeza nti Yakuwa y’avunaanyizibwa olw’okubonaabona okutuuka ku buli omu ku ffe leero? Lowooza ku mulamuzi asalira omuzzi w’emisango ekibonerezo mu bwenkanya. Omuzzi w’emisango ayinza okubonaabona ennyo ng’atuukiriza ekibonerezo ekimuweereddwa, naye asobola okunenya omulamuzi nti ye nsibuko y’okubonaabona okwo? N’akatono! Mu ngeri y’emu Yakuwa si ye nsibuko y’obubi. Yakobo 1:13 lugamba: “Katonda takemeka na bubi, era ye yennyini takema muntu yenna.” Tukijjukire nti Yakuwa yabasalira omusango ‘ng’abateerawo essuubi.’ Akoledde bazzukulu ba Adamu ne Kaawa abeesigwa enteekateeka y’okumalawo obutaliimu n’okusanyukira mu ‘ddembe ly’ekitiibwa ky’abaana ba Katonda.’ Abantu abeesigwa tebaliddamu kweraliikirira nti obutonde bwonna buliddamu okubeera mu mbeera ey’obulumi era ey’obutaliimu. Olw’okuba Yakuwa akoze ku nsonga mu ngeri ey’obwenkanya, obutuufu bw’obufuzi bwe bujja kweyoleka emirembe gyonna.—Isaaya 25:8.
17. Twandikwatiddwako tutya bwe tutegeera ensonga eziviirako okubonaabona okuliwo mu nsi leero?
17 Nga twejjukanya ensonga eziviirako abantu okubonaabona, tulina kwe tusinziira okuvunaana Yakuwa olw’obubi obuliwo oba okulekera awo okumwesiga? Mu kifo ky’ekyo, okutegeera ensonga ezo kituleetera okukkiriziganya n’ebigambo bya Musa bino: “Lwazi, omulimu gwe gwatuukirira; kubanga amakubo ge gonna musango: Katonda ow’obwesigwa atalina bubi, wa mazima oyo era wa nsonga.” (Ekyamateeka 32:4) Nga tufumiitiriza ku nsonga ezo, ka twejjukanyenga buli luvannyuma lwa kiseera engeri gye tuzitegeeramu. Mu ngeri eyo, bwe tunaayolekagana n’ebigezo, tujja kuziyiza Setaani okusiga mu birowoozo byaffe ensigo ez’okubuusabuusa. Ate kiri kitya ku kintu eky’okubiri kye tulina okukola kye twayogeddeko ku ntandikwa? Kiki ekizingirwa mu kwesiga Yakuwa?
Kye Kitegeeza Okwesiga Yakuwa
18, 19. Baibuli etukubiriza etya okwesiga Yakuwa, naye abantu abamu balina ndowooza ki enkyamu?
18 Ekigambo kya Katonda kitukubiriza: “Weesigenga Mukama n’omutima gwo gwonna. So teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe: mwatulenga mu makubo go gonna, kale anaaluŋŋamyanga olugendo lwo.” (Engero 3:5, 6) Ebigambo ebyo birungi nnyo era bizzaamu amaanyi. Kya lwatu, tewali muntu yenna mu butonde bwonna gwe twandyesize okusinga Kitaffe ow’omu ggulu. Kyokka, wadde kyangu nnyo okusoma ebigambo ebyo ebiri mu Engero, si kyangu okubissa mu nkola.
19 Bangi balina endowooza enkyamu ku bikwata ku kwesiga Yakuwa. Abamu balowooza nti obwesige obwo eba nneewulira, oba ssanyu omuntu ly’aba nalyo. Abalala bo bakkiriza nti okwesiga Katonda kitegeeza nti tumusuubira okutukuuma okuva mu buli kabi, okutugonjoolera buli kizibu, okutukolera ku buli mbeera enzibu nga bwe twagala era mu bwangu ddala! Naye endowooza ezo si ntuufu. Obwesige tebuba bwe butyo. Mu bantu abakulu, obwesige buzingiramu okusalawo mu ngeri ennungi era ey’amagezi.
20, 21. Kiki ekizingirwa mu kwesiga Yakuwa? Waayo ekyokulabirako.
20 Ddamu weetegereze Engero 3:5. Walaga enjawulo eri wakati w’okwesiga Yakuwa n’okwesigama ku busobozi bwaffe, nga walaga nti tetusobola kukola byombiriri. Ekyo kitegeeza nti tetukkirizibwa kukozesa busobozi bwaffe obw’okutegeera? Si bwe kiri, olw’okuba Yakuwa eyatuwa obusobozi obwo, atusuubira okubukozesa nga tumuweereza. (Abaruumi 12:1) Naye twesigama ku ki? Singa endowooza yaffe eyawukana ku ya Yakuwa, tukkiriza nti amagezi ge gasingira wala agaffe? (Isaaya 55:8, 9) Okwesiga Yakuwa kitegeeza okuleka endowooza ye efuge eyaffe.
21 Okuwaayo ekyokulabirako: Kuba ekifaananyi ng’omwana atudde ku mutto gw’emmotoka ogw’emabega, ate nga bazadde be bo bali mu maaso. Kitaawe y’avuga. Singa wajjawo obuzibu mu lugendo, ka tugambe nga tebamanyi kkubo ttuufu lye balina kukwata oba ng’embeera y’obudde si nnungi oba ng’oluguudo lwennyini lubi—omwana omuwulize, era eyeesiga bazadde be anaakola ki? Ayima mu kifo kye n’awa ebiragiro, n’ategeeza kitaawe engeri gy’alina okuvugamu emmotoka? Abuusabuusa okusalawo kw’abazadde be oba n’akalambira nga bamugambye okwesiba omusipi gw’emmotoka? Si bw’akola. Yeesiga bazadde be okukola ku nsonga ezo wadde nga tebatuukiridde. Yakuwa ye Kitaffe atuukiridde. Tetwandimwesizze nnyo, naddala nga twolekaganye n’embeera enzibu?—Isaaya 30:21.
22, 23. (a) Lwaki twandyesize Yakuwa nga twolekaganye n’ebizibu, era ekyo tuyinza kukikola tutya? (b) Kiki ekijja okwogerwako mu kitundu ekiddako?
22 Kyokka, Engero 3:6 lulaga nti ‘twandirowoozezza ku Yakuwa mu makubo gaffe gonna,’ si lwe tuba n’ebizibu lwokka. N’olwekyo, engeri gye tusalawo bulijjo yandiraze nti twesiga Yakuwa. Ebizibu bwe bibalukawo, tetwandiweddemu maanyi, tetwanditidde oba okugaana obulagirizi bwa Yakuwa obulaga engeri esingayo obulungi ey’okugonjoolamu ensonga. Tulina okutunuulira ebigezo ng’akakisa ke tulina okuwagira obufuzi bwa Yakuwa, okulaga nti Setaani mulimba n’okukulaakulanya obuwulize n’engeri endala ezisanyusa Yakuwa.—Abebbulaniya 5:7, 8.
23 Tusobola okwesiga Yakuwa ka tubeere nga twolekaganye na bizibu ki. Ekyo tukikola okuyitira mu kusaba, nga tukebera mu Kigambo kye Baibuli era nga tutunuulira ekibiina kye okutuwa obulagirizi. Naye, tuyinza tutya okulaga nti twesiga Yakuwa bwe twolekagana n’ebizibu ebibaawo mu nsi eno? Ekitundu ekiddako kijja kwogera ku nsonga eyo.
[Obugambo obuli wansi]
a Ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa “obutaliimu” Pawulo kye yakozesa, kye kimu n’ekyo ekikozesebwa mu Septuagint ey’Oluyonaani Sulemaani kye yakozesa enfunda n’enfunda mu kitabo ky’Omubuulizi.—Omubuulizi 1:2, 14; 2:11, 17; 3:19; 12:8.
Wandizzeemu Otya?
• Dawudi yalaga atya nti yali yeesiga Yakuwa?
• Bintu ki ebisatu ebiviirako abantu okubonaabona leero, era lwaki kirungi okubyejjukanya buli luvannyuma lwa kiseera?
• Musango ki Yakuwa gwe yasalira abantu, era lwaki gwali gusaanira?
• Okwesiga Yakuwa kizingirwamu ki?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 23]
Dawudi yeesiga Yakuwa