Abakristaayo Boolesa Ekitiibwa kya Yakuwa
“Amaaso gammwe galina omukisa, kubanga galaba; n’amatu gammwe, kubanga gawulira.”—MATAYO 13:16.
1. Kibuuzo ki ekikujjira bw’olowooza ku ekyo Abaisiraeri kye baakola bwe baalaba Musa ng’ava ku Lusozi Sinaayi?
ABAISIRAERI bwe baali bakuŋŋanidde okumpi n’Olusozi Sinaayi, tewaaliwo nsonga yonna eyali ebalemesa kusemberera Yakuwa. Okusooka yali abaggye e Misiri n’omukono gwe ogw’amaanyi. Yali akoze ku byetaago byabwe nga bali mu ddungu, ng’abawa amazzi n’emmere. Ate era ye yali abasobozesezza okuwangula eggye ly’Abamaleki eryali libalumbye. (Okuva 14:26-31; 16:2–17:13) Kyokka, bwe baali mu ddungu okumpi n’Olusozi Sinaayi, Abaisiraeri baatya nnyo olw’okubwatuka n’okumyansa kw’eggulu. Oluvannyuma baalaba Musa ng’akka okuva ku Lusozi Sinaayi era ng’amaaso ge gamasamasa olw’ekitiibwa kya Yakuwa. Mu kifo ky’okuwuniikirira olw’ekitiibwa kya Yakuwa ekyali kyeyolekera mu maaso ga Musa, baamudduka buddusi. ‘Baatya okusemberera Musa.’ (Okuva 19:10-19; 34:30) Lwaki baatya okulaba ekitiibwa kya Yakuwa eyali abakoledde ebintu ebingi ennyo bwe bityo?
2. Lwaki Abaisiraeri baatya bwe baalaba ekitiibwa kya Katonda ekyeyolekera mu maaso ga Musa?
2 Kirabika Abaisiraeri baatya olw’ekyo ekyali kibaddewo emabega. Bwe baajeemera Yakuwa ne bakola akayana aka zzaabu, yababonereza. (Okuva 32:4, 35) Waliwo eky’okuyiga kyonna kye baafuna Yakuwa bwe yabakangavvula? Nedda, abasinga tebaakifuna. Ng’anaatera okufa, Musa yabajjukiza ebyaliwo lwe baakola akayana aka zzaabu, n’emirundi emirala lwe baajeemera Yakuwa. Yabagamba: ‘Mwajeemera ekiragiro kya Mukama Katonda wammwe, so temwamukkiriza, so temwawulira ddoboozi lye. Mwajeemera Mukama okuva ku lunaku lwe nnabamanya.’—Ekyamateeka 9:15-24.
3. Ddi Musa lwe yabikkanga ku maaso ge?
3 Weetegereze ekyo Musa kye yakola ng’Abaisiraeri batidde. Tusoma: “Musa bwe yamala okwogera nabo, n’ateeka eky’okubikka ku maaso ge. Naye Musa bwe yayingiranga mu maaso ga Mukama okwogera naye, n’aggyako eky’okubikka, okutuusa lwe yafulumanga; n’afulumanga n’ayogera n’abaana ba Isiraeri bwe yalagirwanga; abaana ba Isiraeri ne balaba amaaso ga Musa, omubiri ogw’amaaso ge nga gumasamasa: Musa n’azzanga eky’okubikka ku maaso ge, okutuusa lwe yayingiranga okwogera [ne Yakuwa].” (Okuva 34:33-35) Lwaki ebiseera ebimu Musa yabikkanga ku maaso ge? Kino kituyigiriza ki? Eby’okuddamu mu bibuuzo bino bisobola okutuyamba okwekebera obanga tulina enkolagana ennungi ne Yakuwa.
Enkizo Ze Baafiirwa
4. Okusinziira ku mutume Pawulo, Musa bwe yabikka ku maaso ge kyali kyoleka ki?
4 Omutume Pawulo yannyonnyola ensonga lwaki Musa yabikkanga ku maaso ge. Yagamba nti ekyo kyali kyoleka endowooza y’Abaisiraeri n’embeera y’emitima gyabwe. Yawandiika: “Abaana ba Isiraeri n’okuyinza ne batayinza kwekaliriza maaso ga Musa olw’ekitiibwa ky’amaaso ge . . . amagezi gaabwe gaakakanyazibwa.” (2 Abakkolinso 3:7, 14) Nga kye baakola kyali kibi nnyo! Abaisiraeri baali bantu Yakuwa be yeerondera, era yali ayagala babeere mikwano gye. (Okuva 19:4-6) Kyokka, bo baali tebaagala kwekaliriza kitiibwa kye. Mu kifo ky’okwemalira ku Yakuwa n’emitima gyabwe gyonna n’ebirowoozo byabwe byonna, kye baakola kyalaga nti baali bamukubye amabega.
5, 6. (a) Mu ngeri ki Abayudaaya ab’omu kyasa ekyasooka gye bafaananamu Abaisiraeri ab’omu kiseera kya Musa? (b) Njawulo ki eyaliwo wakati w’abo abaawuliriza Yesu n’abo abataamuwuliriza?
5 Ekyo kye baakola kifaananako n’ekyo ekyaliwo mu kyasa ekyasooka C.E. Pawulo we yafuukira Omukristaayo, endagaano empya yali emaze okudda mu kifo ky’endagaano y’Amateeka era nga Yesu Kristo, Musa Asinga Obukulu, ye mutabaganya waayo. Yesu yayolekera ddala ekitiibwa kya Yakuwa mu ebyo bye yayogeranga ne bye yakolanga. Pawulo yawandiika bw’ati ku Yesu oyo eyali yazuukizibwa: ‘Oyo kwe kumasamasa kw’ekitiibwa kya Katonda era kye kifaananyi kye ddala.’ (Abaebbulaniya 1:3) Ng’Abayudaaya baalina enkizo ya kitalo nnyo! Baawulira Omwana wa Katonda kennyini ng’ababuulira ebigambo eby’obulamu obutaggwaawo! Eky’ennaku, abasinga obungi tebaamuwuliriza. Ng’aboogerako, Yesu yajuliza obunnabbi Yakuwa bwe yawa Isaaya obwali bugamba nti: “Omutima gw’abantu bano gusavuwadde, n’amatu gaabwe gawulira bubi, n’amaaso gaabwe bagazibye, baleme okulaba n’amaaso, n’okuwulira n’amatu, n’okutegeera n’omutima, n’okukyuka, ne mbawonya.”—Matayo 13:15; Isaaya 6:9, 10.
6 Abayudaaya baali ba njawulo nnyo ku bayigirizwa Yesu be yagamba nti: “Amaaso gammwe galina omukisa, kubanga galaba; n’amatu gammwe, kubanga gawulira.” (Matayo 13:16) Abakristaayo ab’amazima bo baagala okumanya Yakuwa n’okumuweereza. Bawulira nga baagala okukola by’ayagala nga bwe biri mu Baibuli. N’olw’ensonga eyo, Abakristaayo abaafukibwako amafuta n’ab’endiga endala boolesa ekitiibwa kya Yakuwa mu buweereza bwabwe obw’endagaano empya.—2 Abakkolinso 3:6, 18.
Ensonga Lwaki Amawulire Amalungi Gabikkiddwako
7. Lwaki tekitwewuunyisa nti abantu abasinga obungi bagaana amawulire amalungi?
7 Nga bwe tulabye, Abaisiraeri abasinga obungi ab’omu kiseera kya Yesu n’ab’omu kiseera kya Musa, baagaana enkizo ey’ekitalo eyali ebaweereddwa. Ne leero, abantu bakola kye kimu. Abasinga obungi bagaana amawulire amalungi ge tubabuulira. Kino tekyanditwewuunyisizza. Pawulo yawandiika bw’ati: “Naye okubikkibwako oba ng’enjiri yaffe ebikkibwako, ebikkibwako mu abo ababula, katonda ow’emirembe gino be yaziba amaaso g’amagezi gaabwe abatakkiriza, omusana gw’enjiri ey’ekitiibwa eya Kristo, oyo kye kifaananyi kya Katonda, gulemenga okubaakira.” (2 Abakkolinso 4:3, 4) Ng’oggyeko okuba nti Setaani afuba okulemesa abantu okutegeera mawulire malungi, bangi tebaagala kugawuliriza.
8. Mu ngeri ki abantu bangi gye bali mu butamanya, era tusobola tutya okwewala embeera eyo?
8 Abantu bangi bali mu butamanya lwa kuba amaaso gaabwe ag’eby’omwoyo tegalaba. Baibuli egamba nti bali ‘mu kizikiza eky’obutategeera, era nti baawulibwa mu bulamu bwa Katonda olw’obutategeera obuli mu bo.’ (Abaefeso 4:18) Nga tannafuuka Mukristaayo, Pawulo omusajja eyali amanyi obulungi Amateeka yayigganyanga ekibiina kya Katonda olw’okuba yali tamanyi mazima. (1 Abakkolinso 15:9) Kyokka, oluvannyuma Yakuwa yagamubikkulira. Pawulo annyonnyola nti: “[Nnasaasirwa] Yesu Kristo alyoke alabisize mu nze ow’olubereberye okugumiikiriza kwe kwonna, okubeeranga ekyokulabirako eri abo abagenda okumukkiriza olw’obulamu obutaggwaawo.” (1 Timoseewo 1:16) Okufaananako Pawulo, bangi ku abo abaali batayagala mazima, kati baweereza Katonda. Eno ye nsonga lwaki tweyongera okuwa obujulirwa n’eri abo abatuziyiza. Bwe tuneeyongera okusoma Ekigambo kya Katonda ne tukitegeera, tetujja kukola kintu kyonna mu butamanya ekiyinza okunyiiza Yakuwa.
9, 10. (a) Mu ngeri ki Abayudaaya ab’omu kyasa ekyasooka gye baalaga nti tebaagala kuyigirizibwa era nti bagugubidde ku mateeka? (b) Waliwo embeera efaananako n’eyo mu Kristendomu leero? Nnyonnyola.
9 Bangi tebategeera bya mwoyo kubanga bagugubira ku njigiriza zaabwe. Abayudaaya bangi baagaana Yesu n’ebyo bye yayigirizanga kubanga baali bagugubidde ku Mateeka ga Musa. Kyokka si bonna abaagagugubirako. Ng’ekyokulabirako, oluvannyuma lwa Yesu okuzuukizibwa, “ekibiina kinene ekya bakabona baagondera okukkiriza.” (Ebikolwa 6:7) Wadde kyali kityo, Pawulo yawandiika bw’ati ku Bayudaaya abasinga obungi: “N’okutuusa leero, ebya Musa bwe bisomebwa, eky’okubikkako kiri ku mutima gwabwe.” (2 Abakkolinso 3:15) Kirabika Pawulo yali amanyi bulungi ebigambo Yesu bye yagamba abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya ebyali bigamba nti: “Munoonya mu byawandiikibwa, kubanga mmwe mulowooza nti mu byo mulina obulamu obutaggwaawo; n’ebyo bye bitegeeza ebyange.” (Yokaana 5:39) Ebyawandiikibwa bye baanoonyerezangamu byandibayambye okutegeera nti Yesu ye Masiya. Kyokka, bo baali babitegeera mu ngeri ndala nnyo, ne kiba nti Omwana wa Katonda ne bwe yakola ebyamagero, tebaamutegeera.
10 Embeera bw’etyo bw’eri ne mu Kristendomu. Okufaananako Abayudaaya ab’omu kyasa ekyasooka, abo abali mu Kristendomu ‘banyiikiririra Katonda, naye si mu kutegeera.’ (Abaruumi 10:2) Wadde ng’abamu basoma Baibuli, tebaagala kukkiriza ky’egamba. Tebakkiriza nti Yakuwa ayigiriza abantu be okuyitira mu muddu omwesigwa era ow’amagezi, nga kye kibiina ky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta. (Matayo 24:45) Ffe tukimanyi nti Yakuwa ayigiriza abantu be era nti mpola mpola agenze ababikkulira amazima. (Engero 4:18) Bwe tukkiriza okuyigirizibwa Yakuwa, tutegeera by’ayagala n’ebigendererwa bye.
11. Abo abagugubira ku ndowooza zaabwe balemeddwa batya okutegeera amazima?
11 Abalala bazibye amaaso kubanga bagugubira ku ndowooza zaabwe. Obunnabbi bwalaga nti abamu bandijereze abantu ba Katonda olw’obubaka bwabwe obukwata ku kubeerawo kwa Yesu. Omutume Peetero yagamba nti: “Beerabira,” nti Katonda yakozesa amataba okuzikiriza ensi y’omu biseera bya Nuuwa. (2 Peetero 3:3-6) Okufaananako abantu ng’abo, bangi abeeyita Abakristaayo bakkiriza nti Yakuwa wa kisa, era nti asonyiwa; kyokka tebakikkiriza nti asobola okubonereza babi. (Okuva 34:6, 7) Abakristaayo ab’amazima bo bafaayo okutegeerera ddala ekyo Baibuli ky’eyigiriza.
12. Mu ngeri ki abantu gye bazibiddwa amaaso olw’obulombolombo?
12 Bangi ku abo abagenda mu makanisa bazibiddwa amaaso olw’obulombolombo. Yesu yagamba abakulembeze b’eddiini ab’omu kiseera kye nti: “Mwadibya ekigambo kya Katonda olw’obulombolombo bwammwe bwe mwaweebwa.” (Matayo 15:6) Abayudaaya bwe baakomawo okuva mu buwambe e Babulooni ne bazzaawo okusinza okw’amazima, bakabona baafuna amalala ne batandika okwetwala ng’abatuukirivu. Bye baakolanga mu kusinza kwabwe byalinga bya kutuusa butuusa mukolo, era nga biraga nti tebawa Katonda kitiibwa. (Malaki 1:6-8) Ekiseera Yesu we yajjira ku nsi, abawandiisi n’Abafalisaayo baali batadde obulombolombo bungi mu Mateeka ga Musa. Abasajja abo Yesu yabayita bannanfuusi kubanga baali tebakyategeera misingi gya butuukirivu egyali mu Mateeka ago. (Matayo 23:23, 24) Abakristaayo ab’amazima tebalina kukkiriza bulombolombo bwa ddiini kubaggya ku kusinza kulongoofu.
‘Okulaba Oyo Atalabika’
13. Mu ngeri ki ebbiri Musa gye yalabamu ekitiibwa kya Katonda?
13 Ng’ali ku lusozi, Musa yasaba Katonda amulage ekitiibwa kye, era n’akimulaga. Bwe yagendanga mu lusiisira, teyeebikkanga ku maaso. Musa yali muntu eyalina okukkiriza okw’amaanyi era eyali ayagala nnyo okukola Katonda by’ayagala. Wadde yafuna enkizo ey’okulaba ekitiibwa kya Yakuwa mu kwolesebwa, yali yalaba dda Katonda n’amaaso ag’okukkiriza. Baibuli egamba nti Musa “yagumiikiriza ng’alaba oyo atalabika.” (Abaebbulaniya 11:27; Okuva 34:5-7) Amaaso ge agaali gamasamasa si ge gokka agaayolesa ekitiibwa kya Katonda, naye era ye kennyini yakyolesa ng’ayamba Abaisiraeri okumanya Yakuwa n’okumuweereza.
14. Yesu yalaba atya ekitiibwa kya Katonda era kiki kye yasanyukiranga okukola?
14 Bwe yali mu ggulu, Yesu yamala emyaka mingi ng’alaba butereevu ekitiibwa kya Katonda, nga n’obuntonde bwonna tebunnabaawo. (Engero 8:22, 30) Mu bbanga eryo lyonna, Yakuwa ne Yesu baali ba mukwano nnyo. Yakuwa Katonda yayagala nnyo omwana we omubereberye w’ebitonde byonna. Ne Yesu naye yayagala nnyo oyo Eyamuwa Obulamu. (Yokaana 14:31; 17:24) Waaliwo okwagala okwa nnamaddala wakati w’Omwana ne Kitaawe. Okufaananako Musa, Yesu yayolesanga ekitiibwa kya Yakuwa mu ebyo bye yayigirizanga.
15. Abakristaayo boolesa batya ekitiibwa kya Katonda?
15 Okufaananako Musa ne Yesu, Abajulirwa ba Katonda ab’omu kiseera kino nabo baagala nnyo okwolesa ekitiibwa kya Yakuwa. Tebagaana mawulire malungi. Omutume Pawulo yawandiika nti: “Omuntu bw’akyuka nadda eri Mukama, ekibikka kiggwaawo.” (2 Abakkolinso 3:16, Baibuli y’Oluganda eya 2003) Ffe tusoma Ebyawandiikibwa olw’okuba twagala okukola Katonda by’ayagala. Twegomba ekitiibwa Yesu Kristo Omwana wa Yakuwa, Kabaka eyafukibwako amafuta ky’ayolesa era twagala okumukoppa. Nga Musa ne Yesu, naffe tuweereddwa omulimu gw’okuyigiriza abalala ebikwata ku Katonda ow’ekitalo gwe tusinza.
16. Lwaki tulina enkizo ya maanyi okuba nti tumanyi amazima?
16 Yesu yasaba nti: “Nkwebaza, Kitange, . . . kubanga wakisa ebigambo bino ab’amagezi n’abakabakaba n’obibikkulira abaana abato.” (Matayo 11:25) Abo abeesimbu era abalina omutima ogutuukiridde, Yakuwa abategeeza ebigendererwa bye n’engeri ze. (1 Abakkolinso 1:26-28) Atukuuma era atuyigiriza tusobole okuganyulwa. N’olwekyo, ka tukozese akakisa konna okufuna enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa, nga tusiima enteekateeka z’atukoledde ezitusobozesa okumutegeera obulungi.
17. Kiki ekiyinza okutuyamba okutegeera engeri za Yakuwa obulungi?
17 Abakristaayo abaafukibwako amafuta Pawulo yabawandiikira nti: ‘Amaaso gaffe bwe gaggiddwako eky’okubikkako, twolesa ekitiibwa kya Yakuwa ng’endabirwamu.’ (2 Abakkolinso 3:18, NW) Ka kibe nti tulina essuubi lya kugenda mu ggulu oba lya kusigala ku nsi, gye tukoma okumanya Yakuwa—engeri ze nga bwe zeeyolekera mu Baibuli—gye tukoma okumufaanana. Singa tufumiitiriza ku bulamu bwa Yesu Kristo, obuweereza bwe, n’enjigiriza ze, tujja kusobola okwolesa engeri za Yakuwa. Nga kya ssanyu nnyo okumanya nti tusobola okutendereza n’okuweesa Katonda waffe ekitiibwa!
Ojjukira?
• Lwaki Abaisiraeri baatya okutunuulira ekitiibwa kya Katonda ekyeyolekera mu maaso ga Musa?
• Mu ngeri ki amawulire amalungi gye ‘gaabikkibwako’ mu kyasa ekyasooka? ate mu biseera byaffe?
• Mu ngeri ki gye twolesa ekitiibwa kya Katonda?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 13]
Abaisiraeri baatya okutunuulira amaaso ga Musa
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 15]
Okufaananako Pawulo, bangi abaasooka okuwakanya amazima kati baweereza Katonda
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 17]
Abaweereza ba Yakuwa baagala okwolesa ekitiibwa kya Katonda