Yakuwa Ayagala Obwenkanya
“Nze, Yakuwa, njagala obwenkanya.”—ISAAYA 61:8, NW.
1, 2. (a) Ebigambo “obwenkanya” ‘n’obutali bwenkanya’ bitegeeza ki? (b) Baibuli eyogera ki ku Yakuwa n’engeri ye ey’obwenkanya?
OBWENKANYA kitegeeza ‘obutaba na kyekubiira, obutasaliriza, n’okukola ebintu ebituufu era ebirungi.’ Obutali bwenkanya buzingiramu okwekubiira, okusaliriza, obubi, n’okulumya abalala.
2 Emyaka nga 3,500 emabega, Musa yawandiika ku Yakuwa Omufuzi w’Obutonde Bwonna nti: “Amakubo ge gonna [ga bwenkanya]: Katonda ow’obwesigwa atalina bubi, wa mazima oyo era wa [bwenkanya].” (Ekyamateeka 32:4) Nga wayiseewo ebyasa ebisukka mu musanvu, Katonda yaluŋŋamya Isaaya okuwandiika ebigambo bino: “Nze, Yakuwa, njagala obwenkanya.” (Isaaya 61:8, NW) Ate mu kyasa ekyasooka, Pawulo yagamba nti: “Tugambe nti Katonda si wa bwenkanya? Nedda si bwe kiri!” (Abaruumi 9:14, NW) Era mu kyasa kye kimu, Peetero yagamba nti: “Katonda tasosola mu bantu: naye mu ggwanga lyonna amutya n’akola obutuukirivu amukkiriza.” (Ebikolwa 10:34, 35) Yee, “Yakuwa ayagala obwenkanya.”—Zabbuli 37:28, NW; Malaki 3:6.
Obutali Bwenkanya Buyitiridde
3. Obutali bwenkanya bwatandika butya ku nsi?
3 Abantu bangi leero tebalina bwenkanya. Tuyinza okuyisibwa mu ngeri eteri ya bwenkanya—ku mulimu, ku ssomero, nga tukolagana n’ab’obuyinza, n’awalala—ne mu maka. Kya lwatu, obutali bwenkanya si kye bujje butandike okubaawo. Bwajja mu bantu bazadde baffe abaasooka bwe bajeemera Katonda ne bafuuka bakyetwala nga bapikirizibwa ekitonde eky’omwoyo ekyafuuka Setaani Omulyolyomi. Mu butuufu tekyali kya bwenkanya Adamu, Kaawa, ne Setaani okukozesa obubi eddembe ry’okwesalirawo Yakuwa lye yali abawadde. Ebikolwa byabwe ebibi byaviirako olulyo lw’omuntu lwonna okubonaabona ennyo era n’okufa.—Olubereberye 3:1-6; Abaruumi 5:12; Abaebbulaniya 2:14.
4. Obutali bwenkanya bumaze bbanga ki ku nsi?
4 Okuva obujeemu lwe bwabalukawo mu Adeni kati emyaka nga 6,000, wabaddewo obutali bwenkanya mu bantu. Kino bwe kityo bwe twandikisuubidde okuba kubanga Setaani ye katonda w’ensi eno. (2 Abakkolinso 4:4) Ye mulimba era kitaawe w’obulimba, omuwaayiriza era omuziyiza wa Yakuwa. (Yokaana 8:44) Y’ali emabega w’ebikolwa eby’obutali bwenkanya. Ng’ekyokulabirako, olw’ebintu ebibi Setaani bye yaleetera abantu okukola ng’Amataba g’omu nnaku za Nuuwa tegannabaawo, Katonda yalaba “obubi bw’omuntu nga bungi mu nsi, na buli kufumiitiriza kw’ebirowoozo eby’omu mu mutima gwe nga kubi kwereere bulijjo.” (Olubereberye 6:5) Embeera bw’etyo bwe yali ne mu kiseera kya Yesu. Yesu yagamba nti: “Olunaku olumu ekibi kyalwo kirumala,” ng’ategeeza ebizibu ebyeralikiriza ebirulimu, gamba ng’obutali bwenkanya. (Matayo 6:34) Baibuli ntuufu okugamba nti: “Ebitonde byonna bisinda era birumirwa wamu okutuusa kaakano.”—Abaruumi 8:22.
5. Lwaki waliwo obutali bwenkanya bungi okusinga bwe kyali mu biseera eby’emabega?
5 N’olwekyo, ebikolwa ebibi ebiva ku butali bwenkanya bibadde bikolebwa mu byafaayo by’omuntu byonna. Naye kati embeera yeeyongedde okwonooneka. Lwaki? Kubanga enteekateeka y’ebintu eno emaze emyaka mingi ng’eri mu ‘nnaku zaayo ez’oluvannyuma,’ era ng’eri mu ‘biro eby’okulaba ennaku,’ nga bw’esemberera enkomerero yaayo. Baibuli yalagula nti mu kiseera kino, abantu bandibadde “nga beeyagala bokka, abaagala ebintu, abeenyumiriza, ab’amalala, abavumi, . . . abateebaza, abatali batukuvu, abatayagala ba luganda, abatatabagana, abawaayiriza, abateegendereza, abakambwe, abatayagala bulungi, ab’enkwe, abakakanyavu, abeegulumiza.” (2 Timoseewo 3:1-5) Ebintu ebibi ng’ebyo bivaako obutali bwenkanya obwa buli ngeri.
6, 7. Bikolwa ki ebitali bya bwenkanya ebikosezza ennyo olulyo ly’omuntu mu biseera byaffe?
6 Mu myaka ekikumi egiyise wabaddewo obutali bwenkanya ku kigero ekitabangawo. Ensonga emu eri nti emyaka gino gye gisinze okubaamu entalo. Ng’ekyokulabirako, bannabyafaayo abamu bateebereza nti mu Ssematalo II yekka, abantu abali wakati w’obukadde 50 ne 60 be baattibwa, nga bangi ku bo baali bantu ba bulijjo—abasajja, abakazi n’abaana abataalina musango. Okuva ku lutalo olwo, abantu abalala bukadde na bukadde bafiiridde mu ntalo ezitali zimu, ng’abasinga obungi bantu ba bulijjo. Setaani akuma omuliro mu bikolwa ebitali bya bwenkanya ng’ebyo kubanga alina obusungu bungi olw’okuba amaanyi nti mangu Yakuwa ajja kumuwangula. Obunnabbi bwa Baibuli bugamba nti: “Omulyolyomi asse gye muli ng’alina obusungu bungi, ng’amanyi ng’alina akaseera katono.”—Okubikkulirwa 12:12.
7 Mu nsi yonna ssente ezisaasanyizibwa buli mwaka ku by’okwerinda ziri obuwumbi bwa doola za Amerika nga lukumi. Abantu bukadde na bukadde tebasobola kwetuusaako byetaago mu bulamu, n’olwekyo lowooza ku birungi ebyandivudde mu kukozesa ssente ezo ku bintu eby’omugaso mu bulamu. Abantu nga kawumbi kamu tebalina mmere emala so ng’ate abalala bagirina mu bungi. Okusinziira ku kibiina ky’Amawanga Amagatte, abaana ng’obukadde butaano bafa buli mwaka olw’enjala. Obutali bwenkanya nga buyitiridde! Ate era lowooza ku baana abatalina musango abafa nga bannyaabwe baggyemu embuto. Kiteeberezebwa nti mu nsi yonna buli mwaka abaana abafa mu ngeri eyo bali wakati w’obukadde 40 ne 60! Ebikolwa ebyo nga biraga obutali bwenkanya obw’amaanyi ennyo!
8. Ani yekka asobola okuleetera abantu obwenkanya obwa nnamaddala?
8 Bannabyabufuzi balemeddwa okugonjoola ebizibu bingi ebiruma abantu leero; era abantu ne bwe banaafuba batya tebajja kutereeza mbeera. Ekigambo kya Katonda kyalagula nti mu biseera byaffe “abantu ababi n’abeetulinkirira balyeyongera okuyitiriranga mu bubi, nga balimba era nga balimbibwa.” (2 Timoseewo 3:13) Obutali bwenkanya bungi nnyo leero ne kiba nti abantu tesobola kubumalawo. Katonda ow’obwenkanya ye yekka asobola okubumalawo. Ye yekka asobola okumalawo Setaani, badayimooni, n’abantu ababi.—Yeremiya 10:23, 24.
Tekyewuunyisa nti Kyabaluma
9, 10. Kiki ekyaleetera Asafu okunakuwala?
9 Mu biseera eby’edda, n’abawandiisi ba Baibuli abamu beebuuza lwaki Katonda yali talina ky’akozeewo kuleetawo bwenkanya obwa nnamaddala n’obutuukirivu. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku musajja omu mu kiseera kya Baibuli. Obugambo obutono obuli waggulu wa Zabbuli 73 bulaga nti yali Asafu, ng’ono ayinza okuba nga ye Muleevi omututumufu eyali omuyimbi mu biseera by’obufuzi bwa Kabaka Dawudi oba nga be bayimbi b’omu nnyumba eyali ekulirwa Asafu. Asafu ne bazzukulu be baawandiika ennyimba nnyingi ezaakozesebwanga mu kusinza. Kyokka, waaliwo ekiseera mu bulamu bwe, omuwandiisi wa zabbuli ono we yanafuyira mu by’omwoyo. Yalaba ababi nga bali bulungi mu byenfuna, nga balabika bamativu mu bulamu, era nga tebalina kabi konna kabatuukako.
10 Tusoma nti: “Ab’amalala bankwasa obuggya, bwe nnalaba ababi bwe balina omukisa. Kubanga bafa tebalumwangako: naye amaanyi gaabwe ganywera. Tebalaba nnaku ng’abantu abalala; so tebabonyaabonyezebwa ng’abantu abalala.” (Zabbuli 73:2-8) Kyokka, bwe waayitawo ekiseera omuwandiisi wa Baibuli ono yakiraba nti endowooza ye yali nkyamu. (Zabbuli 73:15, 16) Omuwandiisi wa zabbuli ono yagezaako okutereeza endowooza ye, naye yalemwa okutegeerera ddala lwaki ebyo ababi bye bakola byali tebibaviiramu kabi ng’ate abo abaweereza n’obwesigwa emirundi mingi baali babonaabona.
11. Oluvannyuma, kiki omuwandiisi wa zabbuli Asafu kye yategeera?
11 Oluvannyuma, omusajja oyo omwesigwa ow’edda yamala n’ategeera ebyali bijja okutuuka ku babi—Yakuwa yali ajja kubasalira omusango. (Zabbuli 73:17-19) Dawudi yagamba nti: “Lindiriranga Mukama, okwatenga ekkubo lye, naye alikugulumiza okusikira ensi: ababi bwe balizikirizibwa oliraba.”—Zabbuli 37:9, 11, 34.
12. (a) Kiki Yakuwa ky’agenda okukolera obubi n’obutali bwenkanya? (b) Owulira otya olw’okuba nti Yakuwa agenda kuggyawo obutali bwenkanya?
12 Awatali kubuusabuusa, Yakuwa alina ekigendererwa eky’okumalawo obubi mu nsi awamu n’obutali bwenkanya mu kiseera kye ekigereke. Kino kye kintu n’Abakristaayo abeesigwa kye balina okujjukira buli kiseera. Yakuwa agenda kuggyawo abo abakola by’atayagala, ate abo abakola by’ayagala abawe empeera. “Amaaso ge galaba abaana b’abantu, ebikowe bye bibakema. Mukama akema abatuukirivu: naye omubi n’oyo ayagala eby’amaanyi emmeeme ye ebakyawa. Ku babi anaatonnyesanga ebyambika; omuliro n’ekibiriiti n’empeewo ezookya . . . Kubanga Mukama mutuukirivu; ayagala eby’obutuukirivu.”—Zabbuli 11:4-7.
Ensi Empya Erimu Obwenkanya
13, 14. Lwaki ensi empya ejja kubaamu obutuukirivu n’obwenkanya?
13 Yakuwa bw’anaazikiriza enteekateeka y’ebintu eno eri wansi wa Setaani etaliimu bwenkanya, Ajja kuleetawo ensi empya ennungi. Ensi eno ejja kuba efugibwa Obwakabaka bwa Katonda obw’omu ggulu, Yesu bwe yayigiriza abagoberezi be okusaba. Obutuukirivu n’obwenkanya bijja kudda mu kifo ky’obubi n’obutali bwenkanya, olwo essaala eyo lw’ejja okuddibwamu mu bujjuvu, egamba nti: “Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi, nga bwe bikolebwa mu ggulu.”—Matayo 6:10.
14 Baibuli etubuulira bufuzi bwa kika ki bwe tusuubira, obufuzi abantu bonna ab’emitima emirungi bwe beesunga. Olwo Zabbuli 145:16 ejja kutuukirizibwa mu bujjuvu: “[Yakuwa Katonda] oyanjuluza engalo zo, n’okussa buli kintu [e]kiramu bye kyagala.” Ate era, Isaaya 32:1 wagamba nti: “Laba, kabaka [Kristo Yesu mu ggulu] alifuga n’obutuukirivu, n’abakulu [abakiikirira Kristo ku nsi] balifuga [n’obwenkanya].” Ku bikwata ku Kabaka Yesu Kristo, Isaaya 9:7 wagamba nti: “Okufuga kwe n’emirembe tebirikoma kweyongeranga, ku ntebe ya Dawudi, ne ku bwakabaka bwe, okubunyweza, n’okubuwanirira n’omusango n’obutuukirivu okuva leero n’emirembe n’emirembe. Obunyiikivu bwa Mukama ow’eggye bulituukiriza ekyo.” Okuba akafaananyi ng’oli wansi w’obufuzi obwo obw’obwenkanya?
15. Kiki Yakuwa ky’agenda okukolera olulyo lw’omuntu mu nsi empya?
15 Mu nsi empya, tujja kuba tetukyalina kituleetera kwogera bigambo ng’ebyo ebiri mu Omubuulizi 4:1: “Ne nzirayo ne ndaba okujooga kwonna kwe bajooga wansi w’enjuba: era, laba, amaziga g’abo abajoogebwa, so nga tebalina abasanyusa; n’obuyinza nga buli ku luuyi lw’abajoozi baabwe, naye no nga tebalina abasanyusa.” Kituufu nti olw’okuba tetutuukiridde, kizibu okukuba akafaananyi kennyini ensi eyo ey’obutuukirivu bw’eribeera. Obubi tebulibaawo nate, wabula buli lunaku lujja kuba nga lujjudde birungi byereere. Yee, Yakuwa ajja kutereeza buli kikyamu, era ng’ajja kukikola n’okusinga bwe tusuubira. Nga kituukirawo bulungi okuba nti Yakuwa Katonda yaluŋŋamya omutume Peetero okuwandiika nti: “Nga bwe yasuubiza tusuubira eggulu eriggya n’ensi empya, obutuukirivu mwe butuula”!—2 Peetero 3:13.
16. “Eggulu eriggya” liteekeddwawo litya era “ensi empya” eteekebwateekebwa mu ngeri ki leero?
16 Mu butuufu, ‘eggulu eryo eriggya,’ gavumenti ya Katonda ey’omu ggulu ng’efugibwa Kristo, yateekebwawo dda. Abo abajja okubeera omusingi ‘gw’ensi empya,’ abantu abaagala obutuukirivu, bakuŋŋanyizibwa kati mu nnaku zino ez’oluvannyuma. Abantu bano kati kumpi bawera obukadde musanvu, mu nsi ezitakka wansi wa 235 era bali mu bibiina nga 100,000. Abantu bano bayize amakubo ga Yakuwa ag’obutuukirivu n’obwenkanya, n’ekivuddemu, bali bumu okwetooloola ensi yonna olw’okuba balina okwagalana okw’Ekikristaayo. Mu byafaayo by’ensi ne mu bantu ba Setaani tewabangawo bantu baali babadde bumu ng’Abajulirwa ba Yakuwa bwe bali. Okwagala ng’okwo n’obumu biraga obulamu obw’ekitalo obunaabeera mu nsi ya Katonda empya, ejja okufugibwa mu butuukirivu n’obwenkanya.—Isaaya 2:2-4; Yokaana 13:34, 35; Abakkolosaayi 3:14.
Obulumbaganyi bwa Setaani Bwa Kugwa Butaka
17. Lwaki Setaani tajja kuwangula bantu ba Yakuwa mu lulumba lwe olunaasembayo?
17 Mu kiseera ekitali kya wala Setaani n’abagoberezi be bajja kulumba abasinza ba Yakuwa nga baagala okubasaanyawo. (Ezeekeri 38:14-23) Ekyo kye kimu ku binaabeera mu ekyo Yesu kye yayita ‘ekibonyoobonyo ekinene, ekitabangawo kasookedde ensi ebaawo okutuusa leero, era tekiribaawo nate.’ (Matayo 24:21) Setaani anaatuuka ku buwanguzi? N’akatono. Ekigambo kya Katonda kitukakasa nti: “Mukama ayagala [obwenkanya], era taleka batukuvu be; bakuumibwa emirembe gyonna: naye ezzadde ery’omubi lirizikirizibwa. Abatuukirivu balisikira ensi, banaagibeerangamu emirembe gyonna.”—Zabbuli 37:28, 29.
18. (a) Katonda agenda kukola ki nga Setaani alumbye abantu be? (b) Oganyuddwa otya mu kwekenneenya ebyo Baibuli by’eyogera ku kuzzaawo obwenkanya?
18 Setaani n’abawagizi be bwe banaalumba abaweereza ba Yakuwa kye kijja okuba ekikolwa eky’obukambwe ekisembayo. Yakuwa yalagula okuyitira mu Zekkaliya nti: “Abakomako mmwe akoma ku mmunye y’eriiso [lyange].” (Zekkaliya 2:8) Setaani ajja kuba ng’akutte Yakuwa mu liiso. Yakuwa ajja kusitukiramu aggyewo abalabe be. Abaweereza ba Yakuwa be basingayo okuba n’okwagalana, okuba obumu, okuba ab’emirembe n’okutambulira ku mateeka mu nsi yonna. N’olwekyo, ajja kuba talina nsonga yonna kw’asinziira kubalumba. Oyo ‘ayagala ennyo obwenkanya’ tajja kukigumiikiriza. Mu kubalwanirira wajja okuva azikiririze ddala abalabe b’abantu be, azzeewo obwenkanya era anunule abo abasinza Katonda omu ow’amazima. Nga bino ebinaatera okubaawo bibuguumiriza!—Engero 2:21, 22.
Wandizzeemu Otya?
• Lwali waliwo obutali bwenkanya bungi?
• Yakuwa agenda kumalawo atya obutali bwenkanya mu nsi?
• Kiki ekisinze okukukwatako mu byonna bye tuyize ku kuzzibwawo kw’obwenkanya?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
Obubi bwali bungi nnyo ng’Amataba teganabaawo, era bungi nnyo mu ‘nnaku zino ez’oluvannyuma’
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16, 17]
Mu nsi ya Katonda empya, obwenkanya n’obutuukirivu bijja kudda mu kifo ky’obubi