Ekigambo kya Yakuwa Kiramu
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Matayo
OMUNTU eyasooka okuwandiika ebikwata ku bulamu bwa Yesu ye Matayo—mukwano gwa Yesu era eyaliko omuwooza. Enjiri ya Matayo, ng’eno yasooka kuwandiikibwa mu Lwebbulaniya n’oluvannyuma n’evvuunulwa mu Luyonaani, yaggwa okuwandiikibwa awo nga 41 C.E. era eyunga Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya ku by’Oluyonaani.
Enjiri eno, erabika ng’okusinga yawandiikibwa kuganyula Bayudaaya, eraga nti Yesu ye Masiya eyasuubizibwa, Omwana wa Katonda. Okussaayo omwoyo ku bubaka obugirimu kijja kunyweza okukkiriza kwe tulina mu Katonda ow’amazima, Omwana we, n’ebisuubizo Bye.—Beb. 4:12.
“OBWAKABAKA OBW’OMU GGULU BUNAATERA OKUTUUKA”
Matayo essira alissa ku Bwakabaka n’ebyo Yesu bye yayigiriza, bw’atyo n’aba nti ebintu tabiwandiika nga bwe byagenda bibaawo. Ng’ekyokulabirako, ebiri mu Kubuulira okw’Oku Lusozi bisangibwa mu ssuula z’ekitabo ekyo ezisooka, so ng’ate Yesu we yabyogerera, ekiseera ky’obuweereza bwe kyali kituuse wakati.
Ng’ali mu buweereza bwe e Ggaliraaya, Yesu akola ebyamagero, awa abatume be 12 obulagirizi obukwata ku kubuulira, avumirira Abafalisaayo, era awa ebyokulabirako ebikwata ku Bwakabaka. Oluvannyuma ava e Ggaliraaya n’ajja “ku mbibi y’e Buyudaaya emitala wa Yoludaani.” (Mat. 19:1) Nga bagenda, Yesu agamba abayigirizwa be nti: ‘Twambuka tugenda e Yerusaalemi; n’Omwana w’omuntu balimusalira omusango okumutta: n’alyoka azuukizibwa ku lunaku olw’okusatu.’—Mat. 20:18, 19.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
3:16—‘Eggulu lyabikkuka’ mu ngeri ki nga Yesu abatizibwa? Kirabika lyabikkuka mu ngeri nti Yesu yajjukira ebikwata ku bulamu bwe ng’akyali mu ggulu.
5:21, 22—Okulaga obusungu kibi okusinga okusiba ekiruyi? Yesu yalabula nti omuntu bw’asibira muganda we ekiruyi aba akoze ekibi eky’amaanyi. Kyokka, ekiruyi bwe kimuleetera okwogera ebitasaana aba akoze ekibi kya maanyi okusingako era avunaanibwa mu kkooti esinga obukulu.
5:48—Naye ddala tusobola okuba ‘abatuukirivu nga Kitaffe ow’omu ggulu bw’ali omutuukirivu’? Yee, mu ngeri emu tusobola. Wano Yesu yali ayogera ku kwagala, era yakubiriza abaali bamuwuliriza okukoppa Katonda nga nabo balaga okwagala mu bujjuvu. (Mat. 5:43-47) Batya? Nga bayiga okwagala n’abalabe baabwe.
7:16—“Bibala” ki ebyawulawo eddiini ey’amazima? Ebibala bino tebizingiramu nneeyisa yaffe yokka. Wabula, bizingiramu n’enzikiriza zaffe—enjigiriza ze tugoberera.
10:34-38—Obubaka obuli mu Byawandiikibwa bwe buleetawo enjawukana mu maka? Nedda. Enjawukana ziva ku ngeri abatali bakkiriza mu maka gye basalawo. Bayinza okusalawo obutakkiriza Bukristaayo oba okubuwakanya, kino ne kireetawo enjawukana mu maka.—Luk. 12:51-53.
11:2-6—Lwaki Yokaana yabuuza oba nga Yesu ‘ye wuuyo ajja’ ng’ate yali awulidde eddoboozi lya Katonda nga limukakasa nti Yesu ye Masiya? Yokaana ayinza okuba nga yali ayagala Yesu kennyini amukakase. Ng’oggyeko ekyo, Yokaana yali ayagala kumanya obanga wandibaddewo “omulala” alina obuyinza bw’Obwakabaka eyandizze n’atuukiriza byonna Abayudaaya bye baali basuubira. Yesu kye yaddamu kyalaga bulungi nti tewali yali ajja kumuddira mu bigere.
19:28—“Ebika ekkumi n’ebibiri ebya Isiraeri” ebirisalirwa omusango bikiikirira ki? Tebikiikirira bikka 12 ebya Isiraeri ow’omwoyo. (Bag. 6:16; Kub. 7:4-8) Abatume abo Yesu be yali ayogera nabo be bamu ku baali ab’okuba mu Isiraeri ow’omwoyo, so tebaali ba kusalira musango abo abali mu Isiraeri ow’omwoyo. Yesu yakola nabo ‘endagaano ey’Obwakabaka,’ era baali ba kubeera ‘bwakabaka era bakabona eri Katonda.’ (Luk. 22:28-30; Kub. 5:10) Abo abali mu Isiraeri ow’omwoyo “balisalira ensi omusango.” (1 Kol. 6:2) N’olwekyo, kirabika nti “ebika ekkumi n’ebibiri ebya Isiraeri” abo abatudde ku ntebe ez’omu ggulu bye basalira omusango bikiikirira abantu abatali ba ggwanga eryo erya bakabona era bakabaka, era nga bano be baali bakiikirirwa ebika 12 ku Lunaku lw’Okutangirirako.—Leev., Essuula 16.
Bye Tuyigamu:
4:1-10. Ennyiriri zino zituyigiriza nti Setaani muntu wa ddala so si bwe bubi. Atukema ng’akozesa “okwegomba kw’omubiri, n’okwegomba kw’amaaso, n’okwegulumiza kw’obulamu okutaliimu.” Wadde kiri kityo, okussa mu nkola emisingi egiri mu Byawandiikibwa kijja kutuyamba okusigala nga tuli beesigwa eri Katonda.—1 Yok. 2:16.
5:1–7:29. Manya obwetaavu bwo obw’eby’omwoyo. Beera wa mirembe. Weewale ebirowoozo eby’obugwenyufu. Tuukiriza obweyamo bwo. Bw’oba osaba, essira lisse ku bintu eby’omwoyo okusinga okulissa ku byetaago by’omubiri. Beera mugagga eri Katonda. Kulembeza Obwakabaka bwa Katonda n’obutuukirivu bwe. Tosalira balala musango. Kola Katonda by’ayagala. Ng’Okubuulira kw’Oku Lusozi kulimu eby’okuyiga ebirungi!
9:37, 38. Bwe tusaba Omwami “asindike abakozi mu by’okukungula bye,” twandikoledde ku kusaba okwo nga tuba banyiikivu mu mulimu gw’okufuula abalala abayigirizwa.—Mat. 28:19, 20.
10:32, 33. Tetusaanidde kutya kwogera ku nzikiriza yaffe.
13:51, 52. Okutegeera amazima agakwata ku Bwakabaka kituwa obuvunaanyizibwa okugayigiriza abalala.
14:12, 13, 23. Okusobola okufumiitiriza obulungi twetaaga okufunayo ekiseera okubaako ffekka.—Mak. 6:46; Luk. 6:12.
17:20. Okusobola okuvvuunuka ebizibu ebiringa ensozi ebitulemesa okukulaakulana mu by’omwoyo n’okugumira ebizibu, tulina okuba n’okukkiriza. Tetusaanidde kulagajjalira kunyweza kukkiriza kwe tulina mu Yakuwa n’ebisuubizo bye.—Mak. 11:23; Luk. 17:6.
18:1-4; 20:20-28. Okuba n’eddiini eyali eteeka ennyo essira ku kuba omututumufu n’okuba nti baali tebatuukiridde kyaleetera abayigirizwa ba Yesu okwagala ennyo obukulu. Tusaanidde okufuba okuba abeetoowaze nga twewala okutwalirizibwa obutali butuukirivu bwaffe era nga tugezaako okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku nkizo n’obuvunaanyizibwa mu kibiina.
“OMWANA W’OMUNTU ALIWEEBWAYO”
“Nga yeebagadde endogoyi,” Yesu ajja e Yerusaalemi nga Nisani 9, 33 C.E. (Mat. 21:5) Olunaku oluddako, ajja mu yeekaalu n’agirongoosa. Nga Nisani 11, ayigiriza mu yeekaalu, avumirira abawandiisi n’Abafalisaayo, era oluvannyuma awa abayigirizwa be ‘akabonero ak’okubeerawo kwe n’ak’emirembe gino okuggwaawo.’ (Mat. 24:3) Olunaku oluddako abagamba nti: “Mumanyi nti olw’ebbiri walibaawo Okuyitako, n’Omwana w’omuntu aliweebwayo okukomererwa.”—Mat. 26:1, 2.
Olunaku lwa Nisani 14. Bw’amala okutandikawo omukolo gw’Ekijjukizo ky’okufa kwe okwali kusembedde, Yesu bamulyamu olukwe, bamukwata, bamusalira omusango, era bamukomerera. Ku lunaku olw’okusatu, azuukizibwa okuva mu bafu. Nga tannaddayo mu ggulu, Yesu alagira abagoberezi be nti: “Kale mugende, mufuule amawanga gonna abayigirizwa.”—Mat. 28:19.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
22:3, 4, 9—Okuyita abantu ku mbaga ey’obugole okw’emirundi esatu kubaawo ddi? Okuyita okusooka okw’okukuŋŋaanya ab’ekibiina ky’omugole kwaliwo Yesu n’abagoberezi be bwe baatandika okubuulira mu 29 C.E. okutuuka mu 33 C.E. Okuyita okw’okubiri kwatandika ng’abayigirizwa bafukiddwako omwoyo omutukuvu ku Pentekoote 33 C.E. ne kuggwa mu 36 C.E. Emirundi egyo gyombi Abayudaaya, abakyufu, n’Abasamaliya be bokka abaayitibwa. Kyokka, omulundi ogw’okusatu abantu abaali ku nguudo wabweru w’ekibuga be baayitibwa, nga bano be bannamawanga abatali bakomole, era nga baatandika okuyitibwa okuva mu 36 C.E. nga Koluneeriyo omuserikale Omuruumi akyuse, okutuuka mu kiseera kyaffe.
23:15—Lwaki omuntu eyafuukanga omugoberezi w’Abafalisaayo yabanga “mwana wa Ggeyeena emirundi ebiri okukira” Abafalisaayo? Abantu abamu abaafuukanga abagoberezi b’Abafalisaayo bayinza okuba nga baali boonoonyi nnyo. Kyokka mu kukyuka ne bagoberera eddiini y’Abafalisaayo abakakanyavu, bafuukanga boonoonyi okusingawo, oboolyawo ne baba bakakanyavu n’okusinga abo abaabayigiriza. N’olwekyo baali ‘baana ba Ggeyeena,’ emirundi ebiri okukira Abafalisaayo.
27:3-5—Kiki ekyaleetera Yuda okunakuwala? Tewali kiraga nti okunakuwala kwa Yuda kwali kwoleka kwenenya okwa nnamaddala. Mu kifo ky’okusaba Katonda okumusonyiwa, ekibi kye yakibuulira bakabona abakulu n’abakadde. Olw’okuba yali akoze “ekibi eky’okufa,” Yuda yawulira ng’omusango gumusinze era yajjula ennyiike. (1 Yok. 5:16) Ennyiike eyo ye yamuleetera okwejjusa.
Bye Tuyigamu:
21:28-31. Okukola Yakuwa by’ayagala kye kikulu mu maaso ge. Ng’ekyokulabirako, tulina okuba abanyiikivu mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka n’okufuula abalala abayigirizwa.—Mat. 24:14; 28:19, 20.
22:37-39. Ng’amateeka abiri agasingayo obukulu galaga bulungi mu bufunze ekyo Katonda ky’ayagala abamusinza bakole!
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]
Oli munyiikivu mu mulimu gw’okukungula?
[Ensibuko y’ekifaananyi]
© 2003 BiblePlaces.com
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]
Matayo assa essira ku Bwakabaka