LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w08 4/15 lup. 16-20
  • Obufumbo n’Okuzaala Abaana mu Kiseera eky’Enkomerero

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Obufumbo n’Okuzaala Abaana mu Kiseera eky’Enkomerero
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Engeri y’Okutunuuliramu Obufumbo
  • Okuba Abazadde ab’Obuvunaanyizibwa
  • Obwannamunigina oba Obutazaala Baana
  • “Okubonaabona mu Mubiri”
  • “Waliba Ekibonyoobonyo Ekinene”
  • Bayibuli Eyogera ki ku Bufumbo?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Okufuna Essanyu mu Bufumbo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • Obufumbo—Kirabo Okuva eri Katonda ow’Okwagala
    ‘Mwekuumire Mu Kwagala Kwa Katonda’
  • Obufumbo Bwe Buba Bugenda Kusasika
    Ekyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
w08 4/15 lup. 16-20

Obufumbo n’Okuzaala Abaana mu Kiseera eky’Enkomerero

“Ekiseera ekisigaddeyo kitono.”​—1 KOL. 7:29, NW.

 1. (a) Ekimu ku ‘bizibu’ ebyandibaddewo mu nnaku ez’oluvannyuma kye kiruwa? (b) Lwaki twandifuddeyo ku ngeri obulamu bw’amaka gye bwandikyuseemu?

EKIGAMBO kya Katonda kyalagula nti mu ‘kiseera ky’enkomerero’ wandibaddewo entalo, ebikankano, enjala, ne kawumpuli. (Dan. 8:17, 19; Luk. 21:10, 11) Era Baibuli yalabula nti mu kiseera kino ekikulu ennyo mu byafaayo wandibaddewo ebintu ebyandikyusizza ennyo obulamu bw’abantu. Emitawaana mu maka kye kimu ku ‘bizibu’ ebyandibaddewo mu ‘nnaku zino ez’oluvannyuma.’ (2 Tim. 3:1-4, NW) Lwaki twandifuddeyo ku bintu ebyo? Kubanga bibunye buli wamu era biyinza n’okukyusa engeri Abakristaayo leero gye batunuuliramu obufumbo n’okuzaala abaana. Mu ngeri ki?

 2. Abantu abasinga batunuulira batya obufumbo n’okugattululwa?

2 Kyangu nnyo ennaku zino okugattulula obufumbo, era mu nsi nnyingi omuwendo gw’abantu abagattululwa gweyongera kulinnya. Kyokka, tulina okukijjukira nti endowooza Yakuwa Katonda gy’alina ku bufumbo n’okugattululwa ya njawulo nnyo ku eyo abantu gye balina. Kati olwo, endowooza ya Yakuwa y’eruwa?

 3. Yakuwa ne Yesu Kristo batunuulira batya obufumbo?

3 Yakuwa Katonda asuubira abantu okutuukiriza obweyamo bwe bakola nga bafumbiriganwa. Bwe yagatta omusajja n’omukazi abaasooka, Yakuwa yagamba nti “omusajja . . . alina okunywerera ku mukazi we era balina okuba omubiri gumu.” Yesu Kristo yaggumiza ebigambo ebyo era n’ayongerako nti: “Kale Katonda kye yagatta awamu, omuntu takyawulangamu.” Era Yesu yagamba nti: “Buli anaagobanga mukazi we, wabula okumulanga ogw’obwenzi, n’awasa omulala, ng’ayenze.” (Lub. 2:24, NW; Mat. 19:3-6, 9) N’olwekyo, abantu bwe bafumbiriganwa, Yakuwa ne Yesu tebabasuubira kwawukana okuggyako ng’omu ku bo afudde. (1 Kol. 7:39) Olw’okuba obufumbo nteekateeka ntukuvu, abafumbo tebalina kumala gagattululwa. Mu Kigambo kye, Yakuwa agamba nti akyawa abafumbo okugattululwa nga tebalina nsonga ya mu Byawandiikibwa kwe basinziira.a​—Soma Malaki 2:13-16; 3:6.

Engeri y’Okutunuuliramu Obufumbo

 4. Lwaki abavubuka Abakristaayo abamu abanguwa okuyingira obufumbo bejjusa?

4 Mu nsi eno embi abantu balowooleza nnyo mu kwetaba. Ebifaananyi bingi nnyo eby’obugwenyufu ebifulumizibwa buli lunaku. Ebifaananyi bino bisobola okuba eby’akabi ennyo gye tuli naddala eri abavubuka baffe mu kibiina. Abavubuka Abakristaayo banditutte batya ekizibu kino ekiyinza okubaleetamu ebirowoozo by’okwagala okwetaba? Okusobola okwewala akabi kano, abamu basazeewo okuyingira obufumbo nga bakyali bato. Bakola batyo basobole okwewala okugwa mu bukaba. Naye mu bbanga ttono, bangi batandika okwejjusa kye baakola. Lwaki? Oluvannyuma lw’ekiseera kitono nga bamaze okufumbiriganwa, bombi batandika okukiraba nti tebalina bingi bye bafaanaganya mu bulamu obwa bulijjo. Kino bwe kibaawo, abafumbo ng’abo baba boolekedde obuzibu obw’amaanyi.

 5. Kiki ekinaayamba abafumbo okutuukiriza obweyamo bwe baakola nga bafumbiriganwa? (Laba n’obugambo obuli wansi.)

5 Bw’ofumbiriganwa n’omuntu​—kabe Mukristaayo munno​—naye ne mutakwatagana bulungi nga bwe wali osuubira kireetawo obuzibu obw’amaanyi. (1 Kol. 7:28) Kyokka, obufumbo ne bwe buba nga bulimu ebizibu, Abakristaayo ab’amazima bakimanyi nti okugattululwa okuteesigamiziddwa ku Byawandiikibwa teba ngeri ntuufu ya kugonjoola bizibu ebyo. N’olwekyo, abo abafuba okukuuma obufumbo bwabwe nga baagala okutuukiriza obweyamo bwe baakola nga bafumbiriganwa, basaanidde okussibwamu ekitiibwa n’okuyambibwa ekibiina Ekikristaayo.b

 6. Abavubuka Abakristaayo basaanidde kutunuulira batya obufumbo?

6 Oli muvubuka era okyali bwannamunigina? Bwe kiba kityo, osaanidde kutunuulira otya obufumbo? Osobola okwewala ebizibu bingi singa olinda okuyingira obufumbo okutuusa ng’okuze ekimala mu mubiri, mu birowoozo, ne mu by’omwoyo. Ebyawandiikibwa tebyogera myaka omuntu gy’alina kuba nagyo okuyingira obufumbo.c Kyokka, Baibuli eraga nti kirungi okulindako okutuusa ng’omaze okuyita mu kiseera omuntu w’awulirira ng’ayagala nnyo okwetaba. (1 Kol. 7:36) Lwaki? Kubanga okwagala ennyo okwetaba kiyinza okukulemesa okusalawo obulungi ne kikuviiramu ebizibu bingi. Jjukira nti Yakuwa ky’ayogera ku bufumbo kisobola okukuganyula n’okukuwa essanyu.​—Soma Isaaya 48:17, 18.

Okuba Abazadde ab’Obuvunaanyizibwa

 7. Bintu ki abo abayingira obufumbo nga bakyali bato bye bayitamu, era lwaki ekyo kiyinza okukosa obufumbo bwabwe?

7 Abamu abanguwa okuyingira obufumbo beesanga nga bazadde omwana ng’ate nabo bennyini bakyali bato ddala. Baba tebannaba na kumanyigana bulungi, nga bazaala omwana eyeetaaga okulabirirwa buli kiseera. Ebiseera by’omukyala ebisinga biba bigenda ku mwana, ekiyinza okuleetera omwami okukwatibwa obuggya. Ate era, abazadde bayinza obuteebaka kimala olw’okulabirira omwana, ekyo nakyo ne kireetawo obuzibu mu nkolagana yaabwe. Olwo bakizuula nti tebakyalina ddembe nga bwe kyali. Baba tebakyasobola kutambula nga bwe baagala oba okukola kyonna kye baagala nga bwe kyali tebannazaala mwana. Enkyukakyuka eno ezzeewo bandigitunuulidde batya?

 8. Okuzaala abaana kusaanidde kutunuulirwa kutya, era lwaki?

8 Ng’obufumbo bwe bulina okutwalibwa ng’ekintu ekikulu, n’okuzaala abaana bwe kutyo buvunaanyizibwa bwa maanyi okuva eri Katonda. Okuzaala omwana ka kuleetewo nkyukakyuka ki mu bulamu bw’Abakristaayo abafumbo, balina okufuba okuzaŋŋanga mu ngeri ey’obuvunaanyizibwa. Olw’okuba Yakuwa ye yawa abantu obusobozi bw’okuzaala, abazadde basaanidde okutunuulira omwana aba azaaliddwa ‘ng’obusika okuva eri Mukama.’ (Zab. 127:3) Abazadde Abakristaayo balina okufuba okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe ‘ng’abazadde mu Mukama waffe.’​—Bef. 6:1.

 9. (a) Okukuza abaana kyetaagisa ki? (b) Omusajja ayinza atya okuyamba mukazi we okusigala nga munywevu mu by’omwoyo?

9 Okukuza omwana kitwala ebbanga ddene era kyetaagisa okwefiiriza. Kyetaagisa abazadde okufuba ennyo era n’okuwaayo ebiseera bingi ddala. Omwami Omukristaayo alina okukitegeera nti okumala emyaka egiwerako ng’omwana amaze okuzaalibwa, mukazi we kiyinza okumuzibuwalira okussaayo omwoyo mu nkuŋŋaana n’okufuna ebiseera okwesomesa Baibuli n’okufumiitiriza. Kino kiyinza okumuleetera okuddirira mu by’omwoyo. Ng’omuzadde ow’obuvunaanyizibwa, omwami alina okufuba okuyamba mukazi we mu kulabirira omwana. Ayinza okuyamba mukazi we nga bazzeeyo eka n’amuddiramu ezimu ku nsonga z’ayinza okuba nga yasubiddwa mu nkuŋŋaana. Era ayinza okuyamba mu kulabirira omwana, mukazi we asobole okufuna ekiseera ekimala okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka.​—Soma Abafiripi 2:3, 4.

10, 11. (a) Abaana bakuzibwa batya ‘mu kubuulirira kwa Mukama waffe’? (b) Lwaki abazadde Abakristaayo bangi basaanidde okusiimibwa?

10 Okulabirira omwana tekikoma ku kumufunira bya kulya, bya kwambala, wa kusula, na bujjanjabi. Naddala mu nnaku zino ez’oluvannyuma embi, abaana beetaaga okuyigirizibwa emisingi gy’empisa kwe balina okutambulira okuviira ddala nga bakyali bato. Abaana balina okukuzibwa mu ‘kukangavvula ne mu kubuulirira kwa Mukama waffe.’ (Bef. 6:4) ‘Okubuulirira’ kuno kuzingiramu okuyamba omwana okufuna endowooza ya Yakuwa okuva nga muto n’okutuusa ng’ayise mu myaka gy’obuvubuka emizibu ennyo.​—2 Tim. 3:14, 15.

11 Yesu bwe yagamba abagoberezi be nti balina ‘okufuula amawanga gonna abayigirizwa,’ alina okuba nga yali ategeeza nti n’abazadde balina okuyamba abaana baabwe okufuuka abayigirizwa. (Mat. 28:19, 20) Kino si kyangu olw’okuba abavubuka boolekagana n’okupikirizibwa kwa maanyi mu nsi. N’olwekyo, abazadde abasobodde okuyamba abaana baabwe okufuuka Abakristaayo basaanidde okusiimibwa ennyo abo bonna abali mu kibiina. ‘Bawangudde’ ensi olw’okukkiriza kwabwe n’olw’okutuukiriza obulungi obuvunaanyizibwa bwabwe ng’abazadde.​—1 Yok. 5:4.

Obwannamunigina oba Obutazaala Baana

12. Lwaki Abakristaayo abamu basalawo okusigala nga bali bwa nnamunigina okumala ekiseera?

12 Olw’okuba “ekiseera ekisigaddeyo kitono” era nga ‘n’embeera y’ensi eno ekyukakyuka,’ Ekigambo kya Katonda kitukubiriza okulowooza ku miganyulo egiri mu kubeera obwa nnamunigina. (1 Kol. 7:29-31, NW) Eno ye nsonga lwaki Abakristaayo abamu basalawo okusigalira ddala nga bali bwa nnamunigina, oba basalawo okumala ekiseera nga tebannayingira bufumbo. Kino bangi tebakikola lwa kwenoonyeza byabwe ku bwabwe, wabula bakikola basobole okuweereza Yakuwa nga tewali ‘kibateganya.’ (Soma 1 Abakkolinso 7:32-35.) Abakristaayo abamu abali obwa nnamunigina baweereza nga payoniya oba Ababeseri. Abalala bafuba okutuukiriza ebisaanyizo basobole okugenda mu Ssomero Eritendeka Abakadde n’Abaweereza. Mu butuufu, abo abaasooka mu buweereza obw’ekiseera kyonna n’oluvannyuma ne basalawo okuyingira obufumbo, bawulira nti bye baayiga nga bakyali bwa nnamunigina bibaganyudde nnyo mu bufumbo bwabwe.

13. Lwaki Abakristaayo abamu abafumbo basalawo obutazaala baana?

13 Mu nsi ezimu, abafumbo bangi basazeewo obutazaala baana. Abamu basalawo bwe batyo olw’embeera y’eby’enfuna, ate abalala bakikola basobole okwekolera emirimu gyabwe. Waliwo n’Abakristaayo abafumbo abasalawo obutazaala baana. Kyokka, bangi ku bo bakikola basobole okuweereza Yakuwa nga tewali kibateganya. Kino tekitegeeza nti abantu ng’abo tebaba basanyufu mu bufumbo bwabwe. Baba basanyufu. Naye basalawo okwefiiriza essanyu eriva mu kuzaala abaana olw’omulimu gw’Obwakabaka. (1 Kol. 7:3-5) Abamu ku bafumbo bano baweereza Yakuwa ne baganda baabwe ng’Ababeseri, abalabirizi b’ebitundu, oba ng’abalabirizi ba disitulikiti. Abalala baaweereza nga bapayoniya oba abaminsani. Yakuwa tajja kwerabira mirimu gyabwe n’okwagala kwe balaga olw’erinnya lye.​—Beb. 6:10.

“Okubonaabona mu Mubiri”

14, 15. ‘Kubonaabona ki mu mubiri’ abazadde Abakristaayo kwe boolekagana nakwo?

14 Omutume Pawulo yagamba Abakristaayo abafumbo nti bandibadde “n’okubonaabona mu mubiri.” (1 Kol. 7:28) Kino kiyinza okuzingiramu abafumbo okulwala, okulwaza abaana, oba bazadde baabwe abakaddiye. Kiyinza n’okutwaliramu ebizibu bye boolekagana nabyo mu kukuza abaana baabwe. Nga bwe twalabye ku ntandikwa y’ekitundu kino, Baibuli yalagula nti ‘ennaku ez’oluvannyuma’ zandibaddemu “ebizibu.” Ekimu ku bizibu ebyo kwe kuba nti abaana bandibadde ‘tebagondera bazadde baabwe.’​—2 Tim. 3:1-3, NW.

15 Si kyangu eri abazadde Abakristaayo okukuza obulungi abaana. Naffe “ebiseera ebizibu” bitunyiga. N’olwekyo abazadde Abakristaayo balina okulwana ennyo okulaba nti ‘enteekateeka y’ebintu ey’ensi eno’ tereetera baana baabwe kwonooneka. (Bef. 2:2, 3, NW) Emirundi egimu kino kibalema! Omwana w’omuzadde Omukristaayo bw’alekera awo okuweereza Yakuwa, bazadde be abafubye okumukuliza mu kutya Katonda kibaleetera “okubonaabona.”​—Nge. 17:25.

“Waliba Ekibonyoobonyo Ekinene”

16. ‘Kibonyoobonyo’ ki Yesu kye yalagulako?

16 Kyokka, waliwo okubonaabona okujja okusingira ewala ennyo “okubonaabona” kwonna omuntu kw’ayitamu mu bufumbo ne mu kukuza abaana. Mu bunnabbi bwe obukwata ku kubeerawo kwe ne ku mafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu, Yesu yagamba nti: “Waliba ekibonyoobonyo ekinene, nga tekibangawo kasookedde ensi ebaawo okutuusa leero, era tekiribaawo nate.” (Mat. 24:3, 21) Oluvannyuma Yesu yakiraga nti ekibiina ekinene kyandiwonyewo mu ‘kibonyoobonyo kino ekinene.’ Kyokka nga tennasaanyizibwawo, ensi ya Setaani ejja kukola olulumba ssinziggu ku Bajulirwa ba Yakuwa. Awatali kubuusabuusa, ekyo kijja kuba kiseera kizibu nnyo gye tuli ffenna​—abakulu n’abato.

17. (a) Lwaki ebyo eby’okubaawo mu biseera by’omu maaso tebirina kutweraliikiriza kisusse? (b) Lwaki twanditunuulidde obufumbo n’okuzaala abaana mu ngeri ennuŋŋamu?

17 Wadde kiri kityo, ebyo eby’okubaawo mu biseera eby’omu maaso tebirina kutweraliikiriza kisusse. Abazadde abeesigwa eri Yakuwa balina essuubi nti ajja kubakuuma wamu n’abaana baabwe. (Soma Isaaya 26:20, 21; Zef. 2:2, 3; 1 Kol. 7:14) Ka okumanya nti tuli mu biseera bizibu kituyambe okuba n’endowooza ennuŋŋamu mu ngeri gye tutunuuliramu obufumbo n’okuzaala abaana mu kiseera kino eky’enkomerero. (2 Peet. 3:10-13) Mu ngeri eyo​—ka tube nga tuli bwa nnamunigina oba bafumbo, tulina abaana oba nedda​—obulamu bwaffe bujja kuweesa ekitiibwa Yakuwa n’ekibiina Ekikristaayo.

[Obugambo obuli wansi]

a Laba akatabo Live With Jehovah’s Day in Mind wansi w’omutwe omutono “Akyawa Okugattululwa,” ku lupapula 125.

b Abo abalina ebizibu mu bufumbo bajja kuganyulwa mu kusoma ebitundu ebikwata ku bufumbo ebiri mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Okitobba 1, 2003, ne Awake! aya Jjanwali 8, 2001.

c Laba essuula 30, “Ndi Mwetegefu Okuyingira Obufumbo?” mu katabo Questions Young People Ask​—Answers That Work.

Okwejjukanya

• Lwaki Abakristaayo abakyali abato tebandyanguye kuyingira bufumbo?

• Okukuza omwana kizingiramu ki?

• Lwaki Abakristaayo bangi basalawo okusigala obwa nnamunigina, oba bwe baba nga bafumbo, obutazaala abaana?

• ‘Kubonaabona’ ki abazadde Abakristaayo kwe bayinza okuyitamu?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 17]

Lwaki kya magezi Abakristaayo abakyali abato obutayingira mangu bufumbo?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]

Omwami alina kinene ky’ayinza okukola okuyamba mukyala we mu by’omwoyo

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 19]

Lwaki Abakristaayo abamu abafumbo basalawo obutazaala baana?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share