Kolera ku Ebyo Yesu Bye Yayigiriza
“Katonda gwe yatuma ayogera bigambo bya Katonda.”—YOK. 3:34.
1, 2. Lwaki tuyinza okugamba nti Okubuulira kwa Yesu okw’Oku Lusozi kwali kwesigamiziddwa ku “bigambo bya Katonda”?
YESU yayigiriza ebintu eby’omuwendo bingi mu Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi. Kino tekitwewuunyisa kubanga ebyo Kristo bye yayigiriza byava eri Yakuwa! Ng’ayogera ebimukwatako, Yesu yagamba nti: “Katonda gwe yatuma ayogera bigambo bya Katonda.”—Yok. 3:34-36.
2 Wadde ng’ebiri mu Kubuulira kw’Oku Lusozi biyinza okuba nga byayogererwa mu ddakiika ezitawera 30, birimu ebyawandiikibwa 21 ebyajulizibwa okuva mu bitabo munaana eby’Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya. Bwe kityo byali byesigamiziddwa ku “bigambo bya Katonda.” Kati ka tulabe engeri gye tuyinza okussa mu nkola ebimu ku bintu eby’omuwendo ennyo Omwana wa Katonda omwagalwa bye yayigiriza.
‘Sooka Omale Okutabagana ne Muganda Wo’
3. Bwe yamala okulabula abayigirizwa be ku kabi akali mu kusiba obusungu, Yesu yawa magezi ki?
3 Ng’Abakristaayo, tuli basanyufu era tuli ba mirembe kubanga tulina omwoyo gwa Katonda omutukuvu, ng’essanyu eryo n’emirembe bye bimu ku bibala byagwo. (Bag. 5:22, 23) Olw’okuba Yesu yali ayagala abayigirizwa be babeerenga basanyufu era ba mirembe, yabalabula ku kabi akali mu kusiba obusungu, ekintu ekiyinza n’okuviirako omuntu okufa. (Soma Matayo 5:21, 22.) Bwe yamala okwogera ekyo n’agamba nti: “Bw’obanga oleese ssaddaaka yo [“ekirabo kyo,” NW] ku kyoto, bw’oyima eyo n’omala ojjukira nga muganda wo akuliko ekigambo, leka awo ssaddaaka yo [“ekirabo kyo,” NW] mu maaso g’ekyoto, oddeyo, osooke omale okutabagana ne muganda wo, olyoke okomewo oweeyo ssaddaaka yo.”—Mat. 5:23, 24.
4, 5. (a) Mu Matayo 5:23, 24 Yesu yali ayogera ku ‘kirabo’ ki? (b) Lwaki kikulu nnyo okutabagana n’ow’oluganda akulinako ensonga?
4 “Ekirabo” kino Yesu kye yayogerako kye kintu eky’engeri yonna ekyaweebwangayo mu yeekaalu e Yerusaalemi. Ng’ekyokulabirako, okusinza Yakuwa mu kiseera ekyo kyali kizingiramu okuwaayo ssaddaaka z’ensolo, era kino kyali kikulu eri abantu be. Kyokka, Yesu yalaga nti waliwo ekintu ekyali kisingako obukulu—okutabagana n’ow’oluganda akulinako ensonga nga tonnaba kuwaayo kirabo kyo eri Katonda.
5 Kya kuyiga ki ekiri mu bigambo bya Yesu ebyo? Bikyoleka bulungi nti engeri gye tukolaganamu n’ab’oluganda erina akakwate ka maanyi n’enkolagana yaffe ne Yakuwa. (1 Yok. 4:20) Mu butuufu, mu biseera by’edda okuwaayo ssaddaaka eri Katonda tekyalina makulu ng’oyo agiwaayo tayisa bulungi banne.—Soma Mikka 6:6-8.
Obwetoowaze Bwetaagisa Nnyo
6, 7. Lwaki obwetoowaze bwetaagisa nga tugezaako okuzzaawo enkolagana n’ow’oluganda atulinako ensonga?
6 Bwe tuba ab’okutabagana n’ow’oluganda atulinako ensonga tulina okulaga obwetoowaze. Abantu abeetoowaze tebakaayana oba tebawakana na bakkiriza bannaabwe nga bagezaako okulaga nti be batuufu. Ekyo kiba kyongera kwonoona mbeera, nga bwe kyali mu Bakristaayo b’omu kibiina ky’e Kkolinso eky’edda. Ng’ayogera ku mbeera eyo, omutume Pawulo yagamba nti: “Bwe mutyo mumaze okubaako akabi, kubanga mulina emisango mwekka na mwekka. Lwaki obutamala gakolwanga bubi? Lwaki obutamala galyazaamaanyizibwanga?”—1 Kol. 6:7.
7 Yesu teyagamba nti tusaanidde okugenda eri ow’oluganda tumuyambe okukiraba nti ffe batuufu ye y’ali mu nsobi. Ekigendererwa kyaffe kwe kufuba okuzzaawo enkolagana. Okusobola okugizzaawo, kikulu okumubuulira engeri gye tuyisiddwamu. Kitwetaagisa n’okulaga oyo gwe twogera naye nti tukimanyi nti naye tayisiddwa bulungi. Era bwe tuba nga ffe tuli mu nsobi, kirungi okwetonda mu ngeri ey’obwetoowaze.
‘Eriiso Lyo Erya Ddyo Bwe Liba Likwesittaza’
8. Mu bimpimpi, Yesu yayogera ki mu Matayo 5:29, 30.
8 Mu Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi, Yesu yayigiriza ebikwata ku mpisa. Yali akimanyi nti emibiri gyaffe tegituukiridde era gisobola okutuleetera okukola ebintu eby’akabi. Bw’atyo Yesu yagamba nti: “Oba ng’eriiso lyo erya ddyo likwesittaza, liggyeemu, lisuule wala: kubanga kye kisinga obulungi ekitundu kyo ekimu kizikirire, omubiri gwo gwonna guleme okusuulibwa mu Ggeyeena. Era oba ng’omukono gwo ogwa ddyo gukwesittaza, gutemeko, gusuule wala: kubanga kye kisinga obulungi ekitundu kyo ekimu kizikirire, omubiri gwo gwonna guleme okugenda mu Ggeyeena.”—Mat. 5:29, 30.
9. “Eriiso” lyaffe ‘n’omukono’ gwaffe biyinza bitya okutuleetera ‘okwesittala’?
9 “Eriiso” Yesu lye yali ayogerako bwe busobozi bwaffe obw’okulowooza ku kintu eky’engeri yonna, ate “omukono” bye bintu bye tusobola okukola n’emikono gyaffe. Bwe tuba tetwegenderezza, ebitundu by’omubiri bino biyinza okutuleetera ‘okwesittala’ n’okulekera awo ‘okutambulira awamu ne Katonda.’ (Lub. 5:22; 6:9) Singa tuwulira nga tukemebwa okumenya amateeka ga Yakuwa, kiba kitwetaagisa okubaako eky’amaanyi kye tukolawo, okufaananako okuggyamu eriiso oba okutemako omukono.
10, 11. Kiki ekinaatuyamba okwewala obukaba?
10 Tuyinza tutya okuziyiza amaaso gaffe galeme kutunuulira bintu eby’obugwenyufu? Yobu omusajja eyali atya Katonda yagamba nti: “Nalagaana endagaano n’amaaso gange; kale nandiyinzizza ntya okutunuulira omuwala?” (Yobu 31:1) Yobu yali musajja mufumbo era yali mumalirivu okulaba nti tamenya mateeka ga Katonda. Naffe bwe tutyo bwe tusaanidde okukola ka tube bafumbo oba nedda. Okusobola okwewala obukaba, twetaaga okukulemberwa omwoyo gwa Katonda omutukuvu, oguyamba abo abaagala Katonda okusobola okwefuga.—Bag. 5:22-25.
11 Okusobola okwewala obukaba, kiba kirungi muli okwebuuza, ‘Ndeka amaaso gange okundeetamu omutima ogwagala ebintu eby’obugwenyufu ebiba mu bitabo, ku ttivi, oba ku Internet?’ Kiba kirungi ne tujjukira n’ebigambo bino eby’omuyigirizwa Yakobo: “Buli muntu akemebwa, ng’awalulwa okwegomba kwe ye n’asendebwasendebwa. Okwegomba okwo ne kulyoka kuba olubuto ne kuzaala okwonoona: n’okwonoona okwo, bwe kumala okukula, ne kuzaala okufa.” (Yak. 1:14, 15) Mu butuufu, omuntu eyamala okwewaayo eri Katonda ‘bw’atunuulira’ omuntu bwe batafaananya kikula ng’ayagala okwetaba naye, aba alina okukola enkyukakyuka ey’amaanyi, ne kiba ng’aggyemu eriiso n’alisuula.—Soma Matayo 5:27, 28.
12. Pawulo yatubuulirira ki ekiyinza okutuyamba okulwanyisa okwegomba okubi?
12 Olw’okuba bwe tukozesa emikono gyaffe obubi kiyinza okutuviiramu okumenya amateeka ga Yakuwa, tuteekwa okuba abamalirivu okukuuma empisa zaffe nga nnyonjo. N’olwekyo, tusaanidde okussaayo omwoyo ku kubuulirira kwa Pawulo kuno: “Mufiise ebitundu byammwe ebiri ku nsi; obwenzi, obugwagwa, okwegomba okw’ensonyi, omululu omubi n’okuyaayaana, kwe kusinza ebifaananyi.” (Bak. 3:5) Ekigambo ‘okufiisa’ kiraga nti kyetaagisa enkyukakyuka ez’amaanyi okusobola okulwanyisa okwegomba okubi.
13, 14. Lwaki kikulu okwewala ebirowoozo n’ebikolwa eby’obugwenyufu?
13 Omuntu talonzalonza kukkiriza kumusalako mukono bwe kiba nga kinaawonya obulamu bwe. Bwe kityo naffe kitwetaagisa ‘okusuula’ eriiso lyaffe oba omukono gwaffe tusobole okwewala okulowooza n’okukola ebintu ebiyinza okunyiiza Yakuwa. Okwekuuma nga tuli bayonjo mu birowoozo, mu mpisa, ne mu by’omwoyo ye ngeri yokka gye tuyinza okwewala okuzikirizibwa okw’emirembe n’emirembe, nga kuno kwe kwogerwako ng’okusuulibwa mu Ggeyeena.
14 Olw’okuba twasikira ekibi n’obutali butuukirivu, tulina okufuba ennyo okusobola okusigala nga tuli bayonjo mu mpisa. Pawulo yagamba nti: “Nneebonereza omubiri gwange era ngufuga: mpozzi, nga mmaze okubuulira abalala, nze nzekka nneme okubeera atasiimibwa.” (1 Kol. 9:27) N’olwekyo, ka tube bamalirivu okutambulira ku ebyo Yesu bye yayigiriza, tulage nti tusiima ssaddaaka y’ekinunulo gye yatuweerayo.—Mat. 20:28; Beb. 6:4-6.
“Mugabenga”
15, 16. (a) Yesu yateekawo kyakulabirako ki mu kugaba? (b) Yesu bye yayogera mu Lukka 6:38 bitegeeza ki?
15 Ebigambo bya Yesu awamu n’ekyokulabirako kye ekirungi bitukubiriza okuba n’omwoyo omugabi. Yalaga nti ayagala okuwa abalala bwe yajja ku nsi ku lw’obulungi bw’abantu abatatuukiridde. (Soma 2 Abakkolinso 8:9.) Yesu yakkiriza okuleka ekitiibwa kye yalina mu ggulu n’afuuka omuntu era n’awaayo obulamu bwe ku lw’abantu aboonoonyi, ng’abamu ku bo bandifunye enkizo ey’okufugira awamu naye mu Bwakabaka. (Bar. 8:16, 17) Yagamba bw’ati ku kugaba:
16 “Mugabenga, nammwe abantu balibagabira. Balibayiira mu bikondoolo byammwe ekigera ekirungi, ekikkatiddwa era ekijjudde ne kibooga. Kubanga ekipimo kye mukozesa okupimira abalala nammwe kye balikozesa okubapimira.” (Luk. 6:38, NW) ‘Okuyiwa mu kikondoolo’ okwogerwako wano yalinga nkola ya basuubuzi abamu ab’edda, ng’omuntu bw’abagulako ebintu babimuteera mu kikondoolo era nga bakijjuliza ddala. Bwe tugabira abalala kiyinza okubaleetera okutukolera kye kimu nga tuli mu bwetaavu.—Mub. 11:2.
17. Yakuwa yassaawo atya ekyokulabirako ekirungi mu kugaba, era kugaba kwa ngeri ki okuleeta essanyu?
17 Yakuwa ayagala nnyo abo abagaba n’essanyu era abawa empeera. Ye kennyini yassaawo ekyokulabirako ekirungi ennyo bwe yawaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, “buli muntu yenna amukkiriza aleme okubula, naye abeere n’obulamu obutaggwaawo.” (Yok. 3:16) Pawulo yawandiika nti: “Asiga ennyingi, alikungula nnyingi. Buli muntu akolenga nga bw’amaliridde mu mutima gwe; si lwa nnaku, newakubadde olw’okuwalirizibwa: kubanga Katonda ayagala oyo agaba n’essanyu.” (2 Kol. 9:6, 7) Bwe tukozesa ebiseera byaffe, amanyi gaffe, n’ebintu byaffe okuwagira okusinza okw’amazima kituleetera essanyu lya maanyi n’emikisa mingi.—Soma Engero 19:17; Lukka 16:9.
“Teweefuuyiranga Ŋŋombe mu Maaso Go”
18. Kiki ekiyinza okutuviirako ‘obutafuna mpeera’ kuva eri Kitaffe ow’omu ggulu?
18 “Mwekuume obutakoleranga bigambo byammwe eby’obutuukirivu mu maaso g’abantu, era babalabe: kubanga bwe munaakola bwe mutyo temuuweebwenga mpeera eri Kitammwe ali mu ggulu.” (Mat. 6:1) “Eby’obutuukirivu” Yesu bya yali ayogerako wano ze mpisa ezituukana n’emitindo gya Katonda. Yali tategeeza nti ebikolwa ebiraga okutya Katonda tebirina kukolebwa nga waliwo abantu kubanga yakubiriza abagoberezi be okuleka ‘omusana gwabwe gwake mu maaso g’abantu.’ (Mat. 5:14-16) Naye Kitaffe ow’omu ggulu tajja kutuwa “mpeera” singa tunaakola ebintu olw’okwagala abalala ‘batulabe’ era batwegombe, ng’abo abazannya emizannyo ku siteegi bwe bakola. Ekyo bwe kiba nga kye kigendererwa kyaffe, tetusobola kuba na nkolagana nnungi ne Katonda, wadde okuweebwa omukisa ogw’okuyingira mu bufuzi bw’Obwakabaka.
19, 20. (a) Yesu yali ategeeza ki bwe yayogera ku ‘kwefuuyira eŋŋombe’ ng’omuntu alina ‘byagabira abaavu’? (b) Tuyinza tutya obutaleka mukono gwa kkono kumanya gwa ddyo bye gukola?
19 Bwe tuba n’ekigendererwa ekirungi, tujja kugoberera okubuulira kwa Yesu kuno: “Kale, bw’ogabiranga abaavu, teweefuuyiranga ŋŋombe mu maaso go, nga bannanfuusi bwe bakola mu makuŋŋaaniro ne mu nguudo, abantu babawe ekitiibwa. Mazima mbagamba nti Bamaze okuweebwa empeera yaabwe.” (Mat. 6:2) Edda wabangawo enteekateeka ‘ey’okugabira abaavu.’ (Soma Isaaya 58:6, 7.) Yesu n’abayigirizwa be baalina ensawo ey’okuyamba abaavu. (Yok. 12:5-8; 13:29) Abantu tebaasookanga kufuuwa ŋŋombe nga bagenda okuyamba omwavu, bwe kityo Yesu bwe yatukubiriza ‘obuteefuuyira ŋŋombe’ nga tugenda ‘okugabira abaavu,’ yalina ky’atuyigiriza. Yali atulaga nti si kirungi kwerangirira nga tugenda okugaba ng’Abafalisaayo bwe baakolanga. Yesu yabayita bannanfuusi kubanga bye baakolanga okuyamba abalala baabirangiriranga “mu makuŋŋaaniro ne mu nguudo.” Bannanfuusi abo baabanga “bamaze okuweebwa empeera yaabwe.” Okuwaanibwa abantu n’okutuuzibwa mu bifo eby’oku mwanjo mu makuŋŋaaniro awaatuulanga abayigiriza ab’amannya ye mpeera yokka gye baafunanga, kubanga Yakuwa teyabawanga mikisa gye n’akamu. (Mat. 23:6) Naye bo abayigirizwa ba Kristo baali baakweyisa batya? Yesu yabagamba—nga naffe atutwaliddemu:
20 “Naye ggwe, bw’ogabiranga abaavu, omukono gwo ogwa kkono gulemenga okumanya ogwa ddyo bye gukola: okugaba kwo kubeerenga kwa kyama: kale Kitaawo alaba mu kyama alikuwa empeera.” (Mat. 6:3, 4) Emikono gyaffe gitera okukolera awamu. N’olwekyo, obutaleka mukono gwa kkono kumanya gwa ddyo bye gukola kitegeeza nti tetulina kumanyisa balala nga tuliko omuntu gwe tuyambye, ka babe nga batuli ku lusegere ng’omukono ogwa ddyo bwe guli n’ogwa kkono.
21. Empeera Oyo “alaba mu kyama” gy’atuwa etwaliramu ki?
21 Bwe twewala okweyogerako nga tulina bye ‘tugabidde abaavu,’ tujja kuba tugabye mu kyama. Olwo Kitaffe, “alaba mu kyama,” ajja kutuwa empeera. Olw’okuba abeera mu ggulu gye tutasobola kumulabira n’amaaso, Kitaffe ow’omu ggulu aba “mu kyama.” (Yok. 1:18) Empeera oyo “alaba mu kyama” gy’atuwa etwaliramu okutufuula mikwano gye, okutusonyiwa ebibi byaffe, n’okutuwa obulamu obutaggwawo. (Nge. 3:32; Yok. 17:3; Bef. 1:7) Ekyo kya muwendo nnyo okusinga okuwaanibwa abantu!
Ebigambo Ebirina Okutwalibwa nga Bikulu
22, 23. Lwaki Yesu bye yayigiriza tulina okubitwala nga bikulu?
22 Awatali kubuusabuusa, Okubuulira kw’Oku Lusozi kulimu ebintu bingi ebikulu era ebisobola okutuleetera essanyu, wadde ng’ensi gye tulimu ejjudde ebizibu. Yee, tujja kuba basanyufu bwe tunaatwala Yesu bye yayigiriza ng’ekikulu era ne tubikolerako mu bulamu bwaffe.
23 Buli “awulira” era ‘akolera’ ku ebyo Yesu bye yayigiriza ajja kufuna essanyu. (Soma Matayo 7:24, 25.) N’olwekyo, ka tube bamalirivu okukolera ku ebyo Yesu bye yayigiriza. Ebirala Yesu bye yayogera mu Kubuulira kw’Oku Lusozi bijja kwetegerezebwa mu kitundu ekiddako.
Wandizzeemu Otya?
• Lwaki kikulu okutabagana n’ow’oluganda aba atulinako ensonga?
• Tuyinza tutya okukakasa nti ‘eriiso lyaffe erya ddyo’ terituleetera kwesitala?
• Tusaanidde kuba na kigendererwa ki nga tugabira abalala?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 11]
Nga kirungi “okutabagana” n’ow’oluganda atulinako ensonga!
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 13]
Abo abagaba n’essanyu Yakuwa abawa emikisa