Engeri Y’okufuna Essanyu Mu Maka
Okukozesa Obulungi Ssente
Omwami agamba: “Kirabika mukyala wange Laura,a ssente azoonoonera ku bintu ebitali bikulu nnyo. Era ndowooza tamanyi kukekkereza! Kino kiba kizibu kya maanyi naddala singa wagwawo ekintu kye tuba tuteetegekedde. Bulijjo nkyogerako nti mukyala wange bw’aba ne ssente mu nsawo, aba tayinza butazikozesa.”
Omukyala agamba: “Oboolyawo simanyi kukekkereza, naye mwami wange tamanyi bbeeyi ya bintu, gamba ng’ey’emmere, ey’ebintu ebikozesebwa mu nnyumba, n’ebirala, ate nga nze nsinga okubeera awaka. Mba mmanyi kye twetaaga, era nkigula ne bwe kiba nti kijja kutuviiramu okukaayana.”
SSENTE kye kimu ku bintu ebisinga okuzibuwalira abafumbo okukubaganyaako ebirowoozo mu bukkakkamu. Tekyewuunyisa nti kye kimu ku bintu ebisinga okuleeta enkaayana mu bufumbo.
Abafumbo abatamanyi kukozesa bulungi ssente bayinza okwennyamira, okuyomba, okulumizibwa mu nneewulira zaabwe, era n’okwonoona enkolagana yaabwe ne Katonda. (1 Timoseewo 6:9, 10) Abazadde abatamanyi kukozesa bulungi ssente zaabwe bayinza okuwalirizibwa okukola ennyo ne kibaviirako obutafaayo ku nneewulira ne ku mbeera y’ab’omu maka gaabwe ey’eby’omwoyo. Era baba bayigiriza abaana baabwe obutaba na ndowooza nnuŋŋamu ku ssente.
Baibuli egamba nti ‘Ssente kigo.’ (Omubuulizi 7:12) Naye ssente zijja kukuuma obufumbo bwo n’amaka go, singa oyiga engeri y’okuzikozesaamu obulungi era n’okuzikubaganyaako ebirowoozo ng’oli ne munno mu bufumbo.b Mazima ddala, mu kifo ky’okuyomba obuyombi, okukubaganya ebirowoozo ku ssente kisobola okunyweza obufumbo bwammwe.
Kati olwo, lwaki ssente zireese ebizibu bingi nnyo mu bufumbo? Era biki bye muyinza okukola okulaba nti mwogera ebikwata ku ssente mu ngeri ezimba mu kifo ky’okukaayana obukaayanyi?
Ebiremesa Abafumbo Okukkaanya
Oluusi obutakkaanya tebuva ku ngeri ssente gye zikozesebwamu, naye buva ku buteesigaŋŋana n’okutya. Ng’ekyokulabirako, omwami bw’aba ng’ayagala mukyala we amunnyonnyole buli ka ssente k’aba akozesezza, aba ng’atamwesiga. Ate omukyala eyeemulugunya nti omwami we atereka obusente butono, aba n’okutya nti mu biseera eby’omu maaso bayinza okufuna ekizibu nga tebalina ssente zimala.
Ekintu ekirala ekiremesa abafumbo okukkaanya ku nsonga ezikwata ku ssente, y’engeri gye baakuzibwamu. Matthew amaze emyaka omunaana nga mufumbo agamba nti “Amaka mukyala wange mwe yakulira gaali gakozesa bulungi ssente. Teyeeraliikirira nga nze. Taata wange yali lujuuju, ng’anywa nnyo sigala, era yamalanga ekiseera kiwanvu nga talina mulimu. Emirundi egisinga obungi tetwabanga na bintu bye twetaaga, era kino kyandeetera okutya okugwa mu mabanja. Oluusi, okutya kuno kundeetera obutakkaanya ne mukyala wange ku bikwata ku ssente.” K’ebeere nsonga ki ebaviirako obutakkaanya, kiki kye muyinza okukola okusobola okukakasa nti ssente ziyamba obufumbo bwammwe okuba obulungi mu kifo ky’okubwonoona?
Ebintu Bina Ebinaabayamba
Wadde nga Baibuli okusingira ddala teyawandiikibwa kutuyamba kumanya ngeri ya kukozesaamu bulungi ssente, erimu amagezi amalungi agasobola okuyamba abafumbo okwewala ebizibu ebiva ku ssente. Lwaki teweekenneenya amagazi agagirimu era n’ogezaako okukolera ku birowoozo bino wammanga?
1. Yiga okwogera n’obukkakkamu nga mukubaganya ebirowoozo ku ssente. “Amagezi gaba n’abo abateesa obulungi.” (Engero 13:10) Okusinziira ku ngeri gye wakuzibwamu, oyinza okuwulira nga tekyetaagisa kwebuuza ku muntu omulala, naddala munno mu bufumbo, ebikwata ku ssente. Ne bwe kiba bwe kityo, kiba ky’amagezi okuyiga engeri y’okukubaganyamu ebirowoozo ku nsonga eno enkulu ennyo. Okugeza, lwaki tobuulirako munno mu bufumbo nti endowooza bazadde bo gye baalina ku ssente eyinza okuba ng’erina kye yakukolako? Era gezaako okutegeera oba ng’embeera munno mu bufumbo gye yakuliramu erina kye yakola ku ndowooza gy’alina ku ssente.
Temulina kulinda okutuusa ng’ekizibu kibaluseewo ne mulyoka mwogera ku nsonga ezikwata ku ssente. Omuwandiisi omu owa Baibuli yabuuza nti: ‘Ababiri bayinza okutambulira awamu okuggyako nga balagaanye?’ (Amosi 3:3) Muyinza mutya okukolera ku musingi guno? Bwe mulagaana ekiseera eky’okwogereramu ebikwata ku ssente, kiyinza okubayamba obutakaayana nnyo kubikwata ku ssente.
GEZAAKO OKUKOLA BW’OTI: Mufune ekiseera eky’okwogererangamu ebikwata ku ssente. Musobola okulonda olunaku olusooka mu buli mwezi oba olunaku lumu mu buli wiiki. Muyinza okukozesa eddakiika nga 15 oba n’obutawera. Mulonde ekiseera ekirungi nga buli omu talina kimutawaanya. Mukkiriziganye ku biseera bye mutalina kwogereramu ebikwata ku ssente, gamba nga mulya oba mu biseera byammwe eby’eddembe nga muli wamu n’abaana bammwe.
2. Mukkiriziganye ku ngeri gye musaanidde okutwalamu ssente ze mufuna. “Mu kuwa abalala ekitiibwa mmwe muba musooka.” (Abaruumi 12:10) Bwe kiba nti munno mu bufumbo takola, osobola okumussaamu ekitiibwa nga ssente z’ofuna tozitwala ng’ezizo ku bubwo, wabula ng’ezammwe mwembi.—1 Timoseewo 5:8.
Bwe kiba nti mwembi mukola, muyinza okussiŋŋanamu ekitiibwa nga buli omu abuulira munne ssente z’afuna ne z’afulumya. Singa bino obikweka munno, kiba kiraga nti tomwesiga era kino kiyinza okwonoona enkolagana yammwe. Kino tekitegeeza nti munno olina okumutegeeza buli lw’oba olina akasente k’ogenda okufulumya. Naye bw’osooka okwogerako naye nga tonnagula kintu kya ssente nnyingi, kiba kiraga nti ossa ekitiibwa mu ndowooza ye.
GEZAAKO OKUKOLA BW’OTI: Mukkiriziganye ku ssente buli omu z’ayinza okukozesa nga tasoose kwebuuza ku munne, ka zibeere ntono oba nnyingi. Weebuuze ku munno buli lw’oba ogenda okukozesa ssente ezisukka mu ezo ze mwakkiriziganyaako.
3. Muwandiike bye muteekateeka okukola. “Ebirowoozo eby’omunyiikivu bireeta bungi bwereere.” (Engero 21:5) Engeri emu gye muyinza okweteekerateekera ebiseera byammwe eby’omu maaso era n’okwewala okukolera obwereere kwe kuba n’embalirira. Nina, eyaakamala emyaka etaano mu bufumbo, agamba nti: “Mu butuufu, kya muganyulo nnyo okuwandiika ssente ze mufuna n’ezo ze musuubira okusaasaanya. Bwe mukola ekyo, kiba kizibu okukaayana.”
Engeri gye mukolamu embalirira yammwe tesaanidde kuba nzibu nnyo. Darren, amaze emyaka 26 mu bufumbo era ng’alina abaana abalenzi babiri, agamba nti: “Mu kusooka, twakozesanga ebbaasa. Ssente ze twakozesanga mu wiiki twaziterekanga mu bbaasa za njawulo. Ng’ekyokulabirako, twalinanga ebbaasa mwe twaterekanga ssente z’emmere, ez’eby’okwesanyusaamu, n’ez’okusala enviiri. Ssente bwe zagwangawo mu bbaasa emu, twewolanga mu bbaasa endala naye ne tukakasa nti tuzzizaayo mangu ddala nga bwe kisoboka.” Kiba kikulu nnyo okuwandiika ssente ze muba musaasaanyiza.
GEZAAKO OKUKOLA BW’OTI: Muwandiike ssente ze musaasaanyiza ku bintu ebirina emiwendo egitakyukakyuka. Mukkiriziganye ku muwendo gwa ssente gwe musaanidde okutereka. Oluvannyuma, muwandiike ssente ze musaasaanyiza ku bintu ebikyukakyuka emiwendo, gamba ng’emmere, amasannyalaze, n’essimu. Ng’ekyo kiwedde, mutereke ebiwandiiko ebikwata ku ssente ze musaasaanya okumala emyezi egiwerako. Bwe kiba kyetaagisa, muyinza okukendeeza ku nsaasaanya yammwe muleme kugwa mu mabanja.
4. Buli omu amanye obuvunaanyizibwa bwe. “Babiri basinga omu, kubanga babeera n’empeera ennungi olw’okutegana kwabwe.” (Omubuulizi 4:9, 10) Mu maka agamu, abaami be bakola ku buli kimu ekikwata ku ssente. Ate mu maka amala, abakyala be balina obuvunaanyizibwa obwo. (Engero 31:10-28) Kyokka, abafumbo bangi basalawo okugabana obuvunaanyizibwa obwo. Mario eyaakamala emyaka 21 nga mufumbo agamba nti “Mukyala wange y’asasulira ebintu bye tukozesa awaka, ate nze ne nsasula emisolo, ennyumba n’ebirala. Buli omu abuulira munne ky’aba asasulidde era tukolera wamu.” Ka mube nga mukozesa nkola ki, ekintu ekisinga obukulu kwe kukolaganira awamu.
GEZAAKO OKUKOLA BW’OTI: Mukubaganye ebirowoozo ku buvunaanyizibwa buli omu bw’alina okutuukiriza nga musinziira ku busobozi bwa buli omu. Muyinza okuddamu okwekenneenya enteekateeka eno nga wayiseewo emyezi ebiri. Mubeere beetegefu okukola enkyukakyuka. Okusobola okusiima ebyo munno by’akola, gamba g’okusasulira ebintu ebikozesebwa awaka oba okugula ebintu ebirala ebyetaagisa, muyinza okuwaanyisa obuvunaanyizibwa buli luvannyuma lwa kiseera.
Ebirungi Ebiva mu Kukubaganya Ebirowoozo ku Ssente
Okukubaganya ebirowoozo ku nsonga ezikwata ku ssente kirina okukolebwa mu kwagala. Leah, eyaakamala emyaka etaano mu bufumbo, akkiriziganya ne nsonga eno. Agamba nti: “Nze n’omwami wange tuyize okuba abeesimbu nga tukubaganya ebirowoozo ku ssente. N’ekivuddemu, kati tukolera wamu era n’okwagala kwaffe kweyongedde.”
Abafumbo bwe bateesa ku ngeri gye baagala okusaasaanyamu ssente zaabwe, buli omu aba asobola okumanya ebiruubirirwa bya munne era kiba kiraga nti obufumbo bwabwe babutwala nga bwa muwendo. Buli omu bwe yeebuuza ku munne nga tannagula kintu kya ssente nnyingi, kiba kiraga nti assa ekitiibwa mu ndowooza ne mu nneewulira za munne. Buli omu bw’aba n’eddembe okukozesa ezimu ku ssente nga tamaze kwebuuza ku munne, kiba kiraga nti beesigaŋŋana. Ebyo bye bimu ku bintu ebisobola okuyamba abafumbo okuba n’enkolagana ennungi. Enkolagana ng’eyo ya muwendo nnyo n’okusinga ssente, n’olwekyo temusaanidde kuba na nkaayana zikwata ku ssente.
[Obugambo obuli wansi]
a Amannya gakyusiddwa.
b Baibuli egamba nti “omusajja gwe mutwe gwa mukazi we,” n’olwekyo alina obuvunaanyizibwa okulaba engeri ssente gye zikozesebwamu awaka era n’okuyisa mukyala we mu ngeri ey’okwagala, nga teyeefaako yekka.—Abeefeso 5:23, 25.
WEEBUUZE . . .
▪ Ddi nze ne munnange mu bufumbo lwe twasembayo okukubaganya ebirowoozo n’obukkakkamu ku nsonga ezikwata ku ssente?
▪ Kiki kye nnyinza okwogera oba okukola okulaga nti nsiima ebyo munnange by’akola ku lw’amaka gaffe?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]
Kiki ky’osinga okutwala ng’ekikulu—ssente oba obufumbo bwo?