Weewale Obulimba bwa Sitaani
‘TEMUKKIRIZA kulimbibwa. Katonda wammwe tagenda kubayamba. Singa temutabagana nange ebinaavaamu tebijja kuba birungi!’ Buno bwe bubaka Kabaka Sennakeribu owa Bwasuli bwe yatuma Labusake okutwalira abantu b’omu Yerusaalemi. Amagye ga kabaka oyo gali balumbye Yuda. Obubaka obwo bwali bugendereddwa okutiisatiisa n’okumalamu abantu b’omu Yerusaalemi amaanyi bawanike.—2 Bassek. 18:28-35.
Abasuuli baali bamanyiddwa nnyo olw’ebikolwa byabwe eby’obukambwe. Baatiisatiisanga abalabe baabwe nga bababuulira engeri gye baatulugunyangamu abantu be baabanga bawambye. Okusinziira ku munnabyafaayo ayitibwa Philip Taylor, Abasuuli baalina “enkola ey’okulimbalimba n’okutiisatiisa abo be baabanga bawambye basobole okubakuumira mu bufuge bwabwe era baatiisatiisanga n’abalabe baabwe nga bababuulira engeri ey’obukambwe gye baayisangamu abo be baawambanga.” Obulimba kyakulwanyisa kya maanyi nnyo. Taylor agamba nti: “Bukozesebwa okubuzaabuza abalala.”
Abakristaayo ab’amazima ‘tebameggana na musaayi na mubiri, wabula bameggana n’emyoyo emibi,’ nga bino bye bitonde eby’omwoyo ebyajeemera Katonda. (Bef. 6:12) Omulabe waffe asinga obukulu ye Sitaani Omulyolyomi. Okufaananako Abasuuli, naye atubuzaabuza ng’akozesa obulimba n’okutiisatiisa.
Sitaani agamba nti asobola okumenya obugolokofu bwa buli omu ku ffe. Mu kiseera kya Yobu, yagamba Yakuwa Katonda nti: “Byonna omuntu by’alina alibiwaayo olw’obulamu bwe.” Mu ngeri endala yali ategeeza nti, omuntu bw’afuna ebizibu eby’amaanyi, alwaddaaki n’ava ku Katonda. (Yob. 2:4) Sitaani mutuufu? Kituufu nti obusobozi bwaffe obw’okukuuma obugolokofu buliko ekkomo? Ekyo Sitaani ky’ayagala tulowooze. Bw’atyo akozesa obulimba okutuleetamu endowooza eyo. Ka twetegereze ezimu ku ngeri z’akozesa n’engeri gye tuyinza okumuziyizaamu.
“Omusingi Gwabwe Guli mu Nfuufu”
Sitaani yakozesa Erifaazi, omu ku mikwano gya Yobu abasatu abaali bazze okumulaba, okulaga nti abantu tebalina busobozi kunywerera ku Katonda. Ng’ayogera ku bantu ‘ng’abasula mu nnyumba ez’ettaka,’ yagamba Yobu nti: “Omusingi gwabwe guli mu nfuufu, ababetentebwa okusooka ekiwojjolo! Bazikirira mu kiseera ekiri wakati w’enkya n’akawungeezi: babula emirembe gyonna nga tewali akissaako mwoyo.”—Yob. 4:19, 20.
Kituufu nti Ebyawandiikibwa bitugeraageranya ku “bibya eby’ebbumba”—ensuwa ez’ebbumba ezisobola okwatika amangu. (2 Kol. 4:7) Tuli banafu olw’okuba twasikira ekibi n’obutali butuukirivu. (Bar. 5:12) Awatali buyambi bwonna, tetusobola kuziyiza Sitaani. Naye ng’Abakristaayo, tulina obuyambi bwa Yakuwa. Wadde nga tuli banafu, tuli ba muwendo mu maaso ga Katonda. (Is. 43:4) Yakuwa awa omwoyo gwe omutukuvu abo abamusaba. (Luk. 11:13) Omwoyo gwe gusobola okutuwa “amaanyi agasinga ku ga bulijjo,” ne gatuyamba okugumira ekizibu kyonna Sitaani ky’atuleetera. (2 Kol. 4:7; Baf. 4:13) Bwe tufuba okuziyiza Omulyolyomi, ‘nga tuli banywevu mu kukkiriza,’ Katonda ajja kutunyweza era atufuule ba maanyi. (1 Peet. 5:8-10) N’olwekyo, tetusaanidde kutya Sitaani Omulyolyomi.
Omuntu “Anywa Obutali Butuukirivu”
Erifaazi yabuuza nti: “Omuntu kye kiki abeere omulongoofu? N’oyo azaalibwa omukazi abeere omutuukirivu?” Era yagamba nti: “Laba, [Katonda] teyeesiga batukuvu be; weewaawo, eggulu si ddongoofu mu maaso ge. Omugwagwa era omuvundu si ye asinga nnyo obutaba mulongoofu, omuntu anywa obutali butuukirivu ng’amazzi!” (Yob. 15:14-16) Mu kwogera atyo, Erifaazi yali alaga Yobu nti tewali muntu n’omu Yakuwa gw’atwala nga mutuukirivu. Omulyolyomi naye ayagala tufune endowooza ng’eyo. Ayagala tweraliikirire olw’ensobi ze twakola era tulowooze nti Katonda tasobola kutusonyiwa. Era ayagala tulowooze nti Yakuwa by’ayagala tukole bingi nnyo era nti ebibi byaffe bya maanyi nnyo ne kiba nti Katonda tasobola kutulaga busaasizi bwe.
Kituufu nti ffenna ‘twayonoona ne tutatuuka ku kitiibwa kya Katonda.’ Omuntu atatuukiridde tasobola kukwata mateeka ga Yakuwa mu ngeri etuukiridde. (Bar. 3:23; 7:21-23) Naye ekyo tekitegeeza nti tetuli ba mugaso mu maaso ge. Yakuwa akimanyi nti “omusota ogw’edda oguyitibwa Omulyolyomi era Sitaani,” y’ayagala okukozesa obutali butuukirivu bwaffe okwonoona enkolagana yaffe naye. (Kub. 12:9, 10) Olw’okuba amanyi nti “tuli nfuufu,” Katonda atukwasa kisa era tatunoonyamu nsobi.—Zab. 103:8, 9, 14.
Singa tuleka amakubo gaffe amabi ne tutuukirira Yakuwa n’omutima ogumenyese era oguboneredde, ajja ‘kutusonyiyira ddala nnyo.’ (Is. 55:7; Zab. 51:17) Baibuli egamba nti ebibi byaffe “ne bwe biba ng’olugoye olumyufu, binaaba byeru ng’omuzira.” (Is. 1:18) N’olwekyo, ka tube bamalirivu obutaddirira mu kukola Katonda by’ayagala.
Olw’okuba tetutuukiridde, tetugwanira kuweebwa butuukirivu mu maaso ga Katonda. Adamu ne Kaawa bwe baafiirwa obulamu obutuukiridde n’essuubi ery’obulamu obutaggwawo, naffe ffenna baabitufiiriza. (Bar. 6:23) Kyokka olw’okwagala kwe okw’ekitalo eri olulyo lw’omuntu, Yakuwa yakola enteekateeka etusobozesa okusonyiyibwa ebibi byaffe singa tukkiririza mu ssaddaaka y’ekinunulo ky’Omwana we, Yesu Kristo. (Mat. 20:28; Yok. 3:16) Ng’ekyo kikolwa ekyoleka “ekisa kya Katonda eky’ensusso”! (Tit. 2:11) Ebibi byaffe bisobola okusonyiyibwa! Kati olwo, lwaki twandikkiriza Sitaani okutuleetera okulowooza nti tetusobola kusonyiyibwa?
‘Koma ku Magumba Ge ne ku Mubiri Gwe’
Sitaani yalaga nti singa Yobu afuna obulwadde obw’amaanyi, yandirekedde awo okwesiga Katonda. Ng’asoomooza Yakuwa, Omulyolyomi yagamba nti: ‘Koma ku magumba ge ne ku mubiri gwe, era alikwegaanira mu maaso go.’ (Yob. 2:5) Awatali kubuusabuusa, Omulabe wa Katonda ono asanyuka nnyo bw’alaba ng’asobodde okutuleetera okuwulira nti tetukyali ba mugaso nga tulwadde.
Kyokka, Yakuwa tayinza kutuleka bwe tuba nga tetukyasobola kukola nga bwe twakolanga edda mu buweereza bwe. Ate kiri kitya singa mukwano gwaffe alumbibwa n’atuusibwako ebisago eby’amaanyi? Twandimututte ng’atakyalina mugaso olw’okuba takyasobola kutukolera ebyo bye yali asobola okutukolera edda? Nedda! Twandisigadde nga tumwagala era nga tumufaako—naddala singa ebisago ebyo yabifuna ng’aliko ky’atukolera. Ate kiri kitya eri Yakuwa? Baibuli egamba nti: “Katonda mutuukirivu tayinza kwerabira mulimu gwammwe n’okwagala kwe mwalaga erinnya lye.”—Beb. 6:10.
Ebyawandiikibwa byogera ku “nnamwandu omwavu” ayinza okuba nga yali amaze emyaka mingi ng’awagira okusinza okw’amazima. Yesu bwe yamulaba ng’asuula “obusente bubiri obw’omuwendo omutono ennyo” mu kasanduuko akaali mu yeekaalu, yamunyooma era n’obusente bwe n’abutwala ng’obutaali bwa mugaso? N’akatono. Mu kifo ky’ekyo, yamutendereza olw’ekyo kye yasobola okukola okuwagira okusinza okw’amazima.—Luk. 21:1-4.
Singa tukuuma obugolokofu bwaffe, tujja kusigala nga tulina enkolagana ennungi ne Yakuwa, ka tube nga tukaddiye oba nga tulwadde olw’obutali butuukirivu bwaffe. Katonda tayinza kwabulira baweereza be abeesigwa olw’okuba ebizibu eby’amaanyi bye balina bibalemesa okumuweereza obulungi.—Zab. 71:9, 17, 18.
Mukkirize “Sseppeewo ey’Obulokozi”
Tuyinza tutya okwekuuma obulimba bwa Sitaani? Omutume Pawulo yawandiika nti: “Mufunenga amaanyi mu Mukama waffe ne mu buyinza bw’amaanyi ge. Mwambale eby’okulwanyisa byonna ebiva eri Katonda musobole okuba abanywevu nga muziyiza enkwe z’Omulyolyomi.” Ekimu ku byokulwanyisa ebyo ye “sseppeewo ey’obulokozi.” (Bef. 6:10, 11, 17) Okusobola okwekuuma obulimba bwa Sitaani, tulina okwambala sseppeewo eyo era ne tutagiggyaako. Sseppeewo y’omusirikale ekuuma omutwe gwe. Mu ngeri y’emu, “essuubi ery’obulokozi” lye tulina, nga buno bwe bwesige bwe tulina mu bisuubizo bya Katonda eby’ensi empya, lisobola okukuuma ebirowoozo byaffe ne bitayonoonebwa bulimba bwa Sitaani. (1 Bas. 5:8) Twetaaga okukuuma essuubi eryo nga ddamu era nga linywevu nga twesomesa Ebyawandiikibwa.
Yobu yagumira ebizibu eby’amaanyi Sitaani bye yamuleetera. Okukkiriza Yobu kwe yalina mu kuzuukira kwali kwa maanyi nnyo ne kiba nti n’entiisa y’okufa teyamuleetera kusuula bugolokofu bwe. Mu kifo ky’ekyo, yagamba Yakuwa nti: ‘Olimpita, nange ndikuyitaba: Oliba n’okwegomba eri omulimu gw’emikono gyo.’ (Yob. 14:15) Ne bwe kyali kimwetaagisa kufa olw’okukuuma obugolokofu bwe, Yobu yali mukakafu nti okwagala Katonda kw’alina eri abaweereza be abeesigwa kwandimuleetedde okubayita okuva emagombe.
Mu ngeri y’emu, naffe tusaanidde okwesiga Katonda ow’amazima. Yakuwa asobola okutuyamba okugumira ebizibu byonna Sitaani n’abo abamugoberera bye bayinza okutuleetera. Pawulo atukakasa nti: “Katonda mwesigwa, tajja kubaleka kukemebwa kusukka ku kye muyinza okugumira, naye bwe mukemebwa ajja kubateerawo obuddukiro musobole okugumiikiriza.”—1 Kol. 10:13.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]
Yakuwa atwala obuweereza bwo nga bwa muwendo
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 21]
Yambala sseppeewo ey’obulokozi, era togiggyaako