Ebikolwa Ebibi Bijja Kukoma!
KATONDA atuwadde Ekigambo kye ekyaluŋŋamizibwa, ekituyamba okutegeera ensonga lwaki abantu bakola ebintu ebibi. Era atuwadde eddembe ery’okwesalirawo n’obusobozi bw’okwefuga, ebituyamba okwewala okukola ebintu ebibi. (Ekyamateeka 30:15, 16, 19) Bwe kityo, tusobola okutegeera endowooza enkyamu ze tuyinza okuba nazo era ne tubaako kye tukola okuzeggyamu. N’ekivaamu, bwe twewala okukola ebintu ebibi, kitusobozesa ffe ffenyini n’abantu abalala be tubeera nabo okufuna essanyu.—Zabbuli 1:1.
Kyokka, ka kibe nti abantu kinnoomu tufuba okwewala okukola ebintu ebibi, ensi yeeyongera bweyongezi okubaamu ebikolwa ebibi ebikolebwa bantu bannaffe. Baibuli erabula nti: “Tegeera kino, nti mu nnaku ez’oluvannyuma walibaawo ebiseera ebizibu.” Okusobola okulaga ekiviirako ebiseera okuba “ebizibu,” yeeyongera mu maaso n’egamba nti: “Abantu baliba beeyagala bokka, nga baagala nnyo ssente, nga beepanka, nga ba malala, nga bavvoola, nga tebagondera bazadde baabwe, nga tebeebaza, nga si beesigwa, nga tebaagala ba luganda, nga tebakkiriza kukkaanya, nga bawaayiriza, nga tebeefuga, nga bakambwe, nga tebaagala bulungi, nga ba nkwe, nga bakakanyavu, nga beegulumiza, nga baagala eby’amasanyu okusinga Katonda, era nga balina ekifaananyi eky’okwemalira ku Katonda naye nga tebooleka maanyi gaakwo; era bano beewalenga.”—2 Timoseewo 3:1-5.
Oboolyawo mu bigambo ebyo eby’obunnabbi weetegerezza ebigambo “ennaku ez’oluvannyuma.” Ebigambo ebyo bitegeeza ki? Abantu abasinga obungi bakimanyi nti bw’oyogera ku “nnaku ez’oluvannyuma” oba otegeeza nti waliwo ekintu ekiri okumpi okukoma. Kintu ki ekyo? Weetegereze ekyo Katonda ky’asuubiza mu Kigambo kye.
Abantu ababi bonna bagenda kuggibwawo.
“Kubanga waliba akaseera katono, n’omubi talibeerawo. Weewaawo, ekifo kye olikitunuulira ddala, naye talibeerawo. Naye abawombeefu balisikira ensi; era banaasanyukiranga emirembe emingi.”—ZABBULI 37:10, 11.
“Mukama akuuma abo bonna abamwagala; naye ababi bonna alibazikiriza.”—ZABBULI 145:20.
Okunyigirizibwa tekulibaawo nate.
“Kubanga anaawonyanga omunafu bw’anaakaabanga: n’omwavu atalina mubeezi. Anaanunulanga emmeeme zaabwe mu kujoogebwa n’ettima.”—ZABBULI 72:12, 14.
‘Ebitonde bijja kusumululwa okuva mu buddu bw’okuvunda bifune eddembe ery’ekitiibwa ery’abaana ba Katonda.’—ABARUUMI 8:21.
Abantu bajja kuba n’ebintu byonna bye beetaaga mu bulamu.
“Balituula buli muntu mu muzabbibu gwe ne mu mutiini gwe; so tewalibaawo abakanga.”—MIKKA 4:4.
“Balizimba ennyumba ne basulamu; era balisimba ensuku ez’emizabbibu ne balya ebibala byamu. Tebalizimba omulala n’asulamu; tebalisimba omulala n’alya: kubanga ng’ennaku ez’omuti bwe ziba, bwe zityo bwe ziriba ennaku ez’abantu bange, n’abalonde bange balirwawo nga balya omulimu ogw’engalo zaabwe.” —ISAAYA 65:21, 22.
Wajja kubaawo obwenkanya.
“N’olwekyo, Katonda talisala musango mu bwenkanya ku lw’abalonde be abamukaabirira emisana n’ekiro . . . ? Mbagamba nti, Alisala omusango ku lwabwe mu bwangu era mu bwenkanya.”—LUKKA 18:7, 8.
‘Mukama ayagala obwenkanya, era talireka batukuvu be; bajja kukuumibwa emirembe gyonna.’—ZABBULI 37:28.
Ensi ejja kubaamu obutuukirivu.
‘Abatuula mu nsi baliyiga obutuukirivu.’ —ISAAYA 26:9.
“Nga bwe yasuubiza, tulindirira eggulu eriggya n’ensi empya, era nga muno obutuukirivu mwe mulibeera.”—2 PEETERO 3:13.
Ne mu Kiseera Kino Abantu Bakyuka
Awatali kubuusabuusa ffenna ebisuubizo ebyo bitusanyusa. Naye bukakafu ki obuliwo obulaga nti bijja kutuukirira? Mu butuufu, ne mu kiseera kino waliwo obukakafu obulaga nti Katonda ajja kutuukiriza ebisuubizo bye. Obukakafu obwo bwe buluwa? Leero, obukadde n’obukadde bw’abantu okwetooloola ensi yonna basobodde okulekayo emize emibi, gamba nga, obugwenyufu, okwerowoozaako, oba ebikolwa eby’obukambwe ne bafuuka abantu abeesigwa, ab’emirembe, era ab’ekisa. Leero, Abajulirwa ba Yakuwa abali mu nsi yonna abasoba mu bukadde omusanvu, bafuba okwewala enjawukana mu mawanga, mu langi, mu by’obufuzi, ne mu by’enfuna, ezireetedde abantu okuba n’obukyayi, okwenyigira mu bikolwa eby’obukambwe, n’okuyiwa omusaayi okumala ebyasa n’ebyasa.a Eky’okuba nti abantu bakola enkyukakyuka ng’ezo leero, bukakafu obulaga nti Katonda ajja kutuukiriza ebisuubizo bye ku kigero ekitabangawo.
Naye kiki ekisobozesezza abantu okukola enkyukakyuka ng’ezo? Eky’okuddamu kisangibwa mu kisuubizo ekirala ekiri mu Baibuli nnabbi Isaaya kye yayogerako. Yagamba nti:
“Omusege gunaasulanga wamu n’omwana gw’endiga, n’engo eneegalamiranga wamu n’omwana gw’embuzi; n’ennyana n’omwana gw’empologoma n’ekya ssava wamu; n’omwana omuto alizikantiriza. . . . N’empologoma erirya omuddo ng’ente. N’omwana ayonka alizannyira ku kinnya eky’enswera, n’omwana eyaakava ku mabeere aliteeka omukono gwe ku mpampagama y’essalambwa. Tebaliruma newakubadde okuzikiriza ku lusozi lwange olutukuvu lwonna: kubanga ensi erijjula okumanya Mukama, ng’amazzi bwe gasaanikira ennyanja.”—Isaaya 11:6-9.
Obunnabbi buno bukwata ku kiseera ekyo kyokka ebisolo lwe biriba mu mirembe n’abantu? Nedda, bulina n’amakulu amalala. Weetegereze nti ekitundu ekisembayo eky’obunnabbi obwo kiraga ekyo ekiviirako abantu okukola enkyukakyuka mu bulamu bwabwe. Kigamba nti: “Ensi erijjula okumanya Mukama.” Ddala okumanya Katonda kusobola okukyusa enneeyisa y’ebisolo? Nedda, tekusobola. Naye kusobola okukyusa obulamu bw’abantu! Obunnabbi buno bulaga nti abo abalina engeri eziringa ez’ensolo basobola okuzireka ne bakulaakulanya engeri ennungi eziringa eza Kristo. Ekibayamba okukola kino kwe kuyiga ebyo Baibuli by’eyigiriza era n’okubikolerako.
Ng’ekyokulabirako, lowooza ku Pedro.b Yeegatta ku kibiina kya bannalukalala ng’alowooza nti alwanirira obwenkanya. Ng’amaze okutendekebwa, baamulagira okusaanyaawo enkambi ya poliisi. Yakwatibwa ng’aky’ateekateeka okukola ekyo. Pedro yamala emyezi 18 mu kkomera, naye mu kiseera ekyo yali akyagenda mu maaso n’enteekateeka ze. Nga Pedro ali mu kkomera, mukyala we yatandika okuyiga Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa. Pedro bwe yava mu kkomera, naye yatandika okuyiga Baibuli, era ebyo bye yayiga ku Yakuwa Katonda byamuleetera okukyusa endowooza ye era n’engeri gye yali atwalamu obulamu. Pedro agamba nti: “Nneebaza nnyo Yakuwa olw’okuba satta muntu yenna mu myaka gye nnamala nga ndi mu kibiina kya bannalukalala. Kaakano, nkozesa Baibuli, ekitala eky’omwoyo gwa Katonda, okutuusa ku bantu obubaka obw’emirembe n’obwenkanya ebya nnamaddala, kwe kugamba, amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda.” Era Pedro yagenda mu nkambi ya poliisi gye yali ayagala okusaanyaawo n’ababuulira obubaka obw’emirembe era n’obwo obukwata ku nsi omutaliba bikolwa bya bukambwe.
Okuva bwe kiri nti Ekigambo kya Katonda kirina amaanyi agasobola okukyusa obulamu bw’abantu, tuli bakakafu nti ekisuubizo kya Katonda eky’okukomya ebikolwa ebibi kijja kutuukirira. Yee, abantu tebajja kweyongera kukola bintu bibi wabula bajja kufuuka abantu abalungi. Mu kiseera ekitali kya wala, Yakuwa ajja kuggyawo Sitaani Omulyolyomi, ensibuko y’ebikolwa ebibi era ali emabega w’ebintu byonna ebibi ebiriwo mu nsi. Baibuli egamba nti: “Ensi yonna eri mu buyinza bw’omubi.” (1 Yokaana 5:19) Naye mu kiseera ekitali kya wala, omubi oyo ajja kuggibwawo. Abo abagaana okukyusa amakubo gaabwe amabi nabo bajja kuggibwawo. Nga kiriba kya ssanyu nnyo okubeerawo mu kiseera ekyo!
Kiki omuntu ky’alina okukola okusobola okubeerawo mu kiseera ekyo? Kijjukire nti ‘okumanya Yakuwa’ kwe kuleetera abantu okukola enkyukakyuka mu bulamu bwabwe leero era kwe kujja okuleetera abantu mu nsi yonna okukola enkyukakyuka mu biseera eby’omu maaso. Bw’onoofuna okumanya okutuufu okuli mu Baibuli era n’okukolerako nga Pedro bwe yakola, naawe ojja kuba n’essuubi ery’okubeera mu nsi “obutuukirivu mwe bulibeera.” (2 Peetero 3:13) N’olwekyo, tukukubiriza okukozesa akakisa akakyaliwo okufuna okumanya okukwata ku Katonda ne Yesu Kristo, kubanga ekyo kye kijja okukusobozesa okufuna obulamu obutaggwawo.—Yokaana 17:3.
[Obugambo obuli wansi]
a Okusobola okumanya ebisingawo, laba brocuwa Abajulirwa ba Yakuwa—Be Baani? Kiki Kye Bakkiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
b Erinnya likyusiddwa.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 9]
Naawe osobola okuba n’essuubi ery’okubeera mu nsi“obutuukirivu mwe bulibeera.”—2 PEETERO 3:13