Abavubuka Basaanidde Okubatizibwa?
CARLOS,a omuzadde Omukristaayo abeera mu Philippines, yagamba nti, “Ndi musanyufu okulaba nga kati muwala wange muweereza wa Yakuwa, era nkimanyi nti naye musanyufu nnyo.” Omuzadde omulala abeera mu Buyonaani yagamba nti: “Nze ne mukyala wange tuli basanyufu okulaba ng’abaana baffe abasatu baabatizibwa nga bakyali mu myaka gyabwe egy’obutiini. Bakulaakulana mu by’omwoyo era basanyufu nnyo olw’okuba baweereza Yakuwa.”
Abazadde Abakristaayo basanyuka nnyo abaana baabwe bwe babatizibwa, kyokka ebiseera ebimu ekyo kibeeraliikiriza. Maama omu yagamba nti, “Nnasanyuka nnyo [okulaba nga mutabani wange abatizibwa] naye ate era muli nnalinamu obweraliikirivu.” Lwaki ate yali mweraliikirivu? Yagamba nti, “Nnali nkimanyi nti kati mutabani wange avunaanyizibwa mu bujjuvu mu maaso ga Yakuwa.”
Abaana bonna basaanidde okuba n’ekiruubirirwa eky’okuweereza Yakuwa ng’Abajulirwa be ababatize. Kyokka abazadde abatya Katonda bayinza okugamba nti, ‘Nkimanyi nti omwana wange akulaakulanye, naye anaasobola okwewala empisa embi, n’asigala nga muyonjo mu maaso ga Yakuwa?’ Abalala bayinza okwebuuza, ‘Okwagala ebintu tekitwalirize omwana wange n’alekera awo okuweereza Katonda n’essanyu era n’obunyiikivu?’ Kati olwo magezi ki agali mu Bayibuli agasobola okuyamba abazadde okumanya obanga abaana baabwe batuuse okubatizibwa?
Okuba Omuyigirizwa—Ekisaanyizo Ekisinga Obukulu
Ekigambo kya Katonda tekiraga myaka omuntu gy’alina okuba nagyo okusobola okubatizibwa, mu kifo ky’ekyo, kiraga ebisaanyizo omuntu by’alina okuba nabyo. Yesu yagamba abagoberezi nti: “Mugende mufuule abantu b’omu mawanga gonna abayigirizwa, nga mubabatiza.” (Mat. 28:19) Bwe kityo, omuntu okusobola okubatizibwa, alina kusooka kufuuka muyigirizwa wa Kristo.
Omuyigirizwa y’ani? Ekitabo Insight on the Scriptures kigamba nti: “Ekigambo ekyo okusingira ddala kikozesebwa ku abo bonna abakkiririza mu ebyo Kristo bye yayigiriza era ne babikolerako mu bulamu bwabwe.” Abaana abato nabo basobola okuba abayigirizwa ba Kristo aba nnamaddala? Mwannyinaffe omu amaze emyaka egisukka mu 40 ng’aweereza ng’omuminsani mu Amerika agamba nti: ‘Nze ne baganda bange ababiri twali bakulu ekimala okwesalirawo okwewaayo eri Yakuwa olw’okuba twali twagala okumuweereza n’okubeera mu Lusuku lwe. Okwewaayo eri Yakuwa kyatuyamba okuziyiza ebikemo abavubuka bye boolekagana nabyo. Tetwejjusangako olw’okwewaayo eri Katonda nga tukyali bato.’
Oyinza otya okumanya obanga omwana wo afuuse omuyigirizwa wa Kristo? Bayibuli egamba nti: “N’omwana omuto yeemanyisa olw’ebikolwa bye, omulimu gwe oba nga mulongoofu, oba nga mulungi.” (Nge. 20:11) Lowooza ku bintu ebiyinza okulaga nti omwana wo akulaakulanye ng’omuyigirizwa wa Kristo.—1 Tim. 4:15.
Ebiraga nti Omwana Wo Muyigirizwa
Omwana wo akugondera? (Bak. 3:20) Akola emirimu gy’awaka gy’aba aweereddwa? Yesu bwe yali nga wa myaka 12, Bayibuli emwogerako bw’eti: ‘Yeeyongera okugondera bazadde be.’ (Luk. 2:51) Kya lwatu nti tewali mwana n’omu asobola kugondera bazadde be mu ngeri etuukiridde. Wadde kiri kityo, Abakristaayo ab’amazima basaanidde ‘okutambuliranga mu bigere bya Yesu.’ N’olwekyo, abavubuka abaagala okubatizibwa balina okuba nga bagondera bazadde baabwe.—1 Peet. 2:21.
Lowooza ku bibuuzo bino: Omwana wo akiraga nti akulembeza Obwakabaka mu bulamu bwe ng’afuba okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira? (Mat. 6:33) Mwetegefu okubuulirako abalala amawulire amalungi, oba omusindiikiriza busiindiikiriza okugenda okubuulira oba okwogera n’abantu nga muli mu kubuulira? Amanyi bulungi obuvunaanyizibwa bwe ng’omubuulizi atali mubatize? Alaba obwetaavu bw’okuddayo eri abantu abalaga okusiima b’asanga ng’abuulira? Bayizi banne n’abasomesa be ababuulira nti Mujulirwa wa Yakuwa?
Okubeerawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina akitwala nga kintu kikulu? (Zab. 122:1) Afuba okubaako by’addamu mu lukuŋŋaana lw’Okusoma Omunaala gw’Omukuumi n’olw’Okusoma Bayibuli okw’Ekibiina? Afuba okwenyigira mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda?—Beb. 10:24, 25.
Omwana wo afuba okusigala nga muyonjo mu mpisa nga yeewala emikwano emibi ku ssomero n’awalala wonna? (Nge. 13:20) Ennyimba, firimu, programu za ttivi, emizannyo gya kompyuta, n’emikutu gya intaneeti ebimunyumira bya ngeri ki? Ebyo by’ayogera ne by’akola biraga nti ayagala okukolera ku misingi gya Bayibuli?
Omwana wo Bayibuli agimanyi kyenkana wa? Asobola okunnyonnyola mu bigambo bye ebintu by’ayiga mu Kusinza kwammwe okw’Amaka? Asobola okunnyonnyola enjigiriza za Bayibuli ezisookerwako? (Nge. 2:6-9) Annyumirwa okusoma Bayibuli awamu n’ebitabo ebikubibwa omuddu omwesigwa era ow’amagezi? (Mat. 24:45) Atera okubuuza ebibuuzo ebikwata ku njigiriza za Bayibuli oba ku bintu by’aba asomyeeko mu Bayibuli by’aba tategedde bulungi?
Ebibuuzo ebyo bisobola okukuyamba okumanya wa omwana wo w’atuuse mu kukulaakulana mu by’omwoyo. Oluvannyuma lw’okwekenneenya ebibuuzo ng’ebyo, oyinza okukiraba nti alina bye yeetaaga okusooka okukolako nga tannaba kubatizibwa. Kyokka singa okiraba nti enneeyisa ye ekyoleka nti muyigirizwa wa Kristo era ng’amaze okwewaayo eri Katonda, osobola okumuleka n’abatizibwa.
Abaana Basobola Okutendereza Yakuwa
Waliwo abaweereza ba Katonda bangi abaayoleka obwesigwa eri Katonda mu myaka gyabwe egy’obutiini oba nga bakyali bato ddala. Lowooza ku Yusufu, Samwiri, Yosiya, ne Yesu. (Lub. 37:2; 39:1-3; 1 Sam. 1:24-28; 2:18-20; 2 Byom. 34:1-3; Luk. 2:42-49) N’abawala ba Firipo abana, abaayogeranga obunnabbi, bateekwa okuba nga baatendekebwa okuviira ddala mu buto bwabwe.—Bik. 21:8, 9.
Omujulirwa omu abeera mu Buyonaani yagamba nti: “Nnabatizibwa nga ndi wa myaka 12. Sejjusangako olw’ekyo kye nnasalawo okukola. Kati wayise emyaka 24 bukya mbatizibwa, era nga 23 ku gyo ngimaze mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Okwagala kwe nnina eri Yakuwa kunyambye okwaŋŋanga ebizibu abavubuka bye boolekagana nabyo. Okumanya okukwata ku Byawandiikibwa kwe nnina kati kusingira wala nnyo okwo kwe nnalina nga ndi wa myaka 12. Wadde nga nnali nkyali muto mu kiseera ekyo, nnali njagala nnyo Yakuwa era nga njagala okumuweereza emirembe gyonna. Ndi musanyufu nnyo okuba nti ansobozesezza okusigala nga mmuweereza.”
Omuntu yenna, k’abe mukulu oba muto, kasita akyoleka nti muyigirizwa wa Kristo owa nnamaddala, aba asaanidde okubatizibwa. Omutume Pawulo yawandiika nti: “Omuntu akkiriza na mutima gwe okufuna obutuukirivu, naye ayatula mu lujjudde n’akamwa ke okufuna obulokozi.” (Bar. 10:10) Omuyigirizwa wa Kristo akyali omuto bw’abatizibwa, ye kennyini awamu ne bazadde be baba balina eddaala ekkulu lye baba batuuseeko. N’olwekyo, ggwe awamu n’abaana bo temusaanidde kukkiriza kintu kyonna kubalemesa kutuuka ku ddala lino ekkulu ennyo.
[Obugambo obuli wansi]
a Amannya agamu gakyusiddwa.
[Akasanduuko akali ku lupapula 5]
Endowooza Ennuŋŋamu ku Kubatizibwa
Abazadde abamu eky’abaana baabwe okubatizibwa bakitwala ng’ekintu eky’omuganyulo naye nga kirimu okusoomooza kungi—okufaananako omuntu afuna ebbaluwa emukkiriza okuvuga ekidduka. Naye ddala okubatizibwa n’okuweereza Katonda biteeka obulamu bw’omuntu mu kabi? Nedda. Engero 10:22 wagamba nti: “Omukisa gwa Mukama gwe gugaggawaza, so tagatta buyinike bwonna wamu nagwo.” Era ne Pawulo yagamba Timoseewo nti: “Mazima ddala, okwemalira ku Katonda wamu n’okuba omumativu bivaamu amagoba.”—1 Tim. 6:6.
Kituufu nti okuweereza Yakuwa tekitera kuba kyangu. Ne Yeremiya yayolekagana n’ebizibu bingi bwe yali aweereza nga nnabbi wa Katonda. Wadde kyali kityo, yayogera bw’ati ku buweereza bwe eri Katonda ow’amazima: “Ebigambo byo byali gye ndi ssanyu n’okusanyuka kw’omutima gwange: kubanga ntuumiddwa erinnya lyo, Ai Mukama Katonda ow’eggye.” (Yer. 15:16) Yeremiya yali akimanyi nti okuweereza Katonda kye kyali kimuleetera essanyu. Ensi ya Sitaani terina kirala ky’ereetera muntu okuggyako ennaku enjereere. Abazadde balina okuyamba abaana baabwe okutegeera obulungi ensonga eno.—Yer. 1:19.
[Akasanduuko/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]
Omwana Wange Agira Alindako Okubatizibwa?
Oluusi abaana ne bwe baba nga batuukirizza ebisaanyizo by’okubatizibwa, bazadde baabwe bayinza okubagamba okugira nga balindako okubatizibwa. Lwaki oluusi babagamba okugira nga balindako okubatizibwa?
Ntya nti singa omwana wange abatizibwa, ayinza okukola ekibi eky’amaanyi n’agobebwa mu kibiina. Naye ddala kituufu nti singa omwana alindako okubatizibwa aba tavunaanyizibwa mu maaso ga Katonda olw’ebyo by’akola? Ng’ayogera ku baana, Sulemaani yagamba nti: ‘Tegeera nga Katonda alikusalira omusango mu ebyo byonna by’okola.’ (Mub. 11:9) Ate era ne Pawulo yayogera ku bantu bonna, abato n’abakulu, ng’agamba nti: “Buli omu ku ffe alyennyonnyolako ku lulwe mu maaso ga Katonda.”—Bar. 14:12.
Abaweereza ba Katonda bonna ababatize n’abatali babatize bavunaanyizibwa mu maaso ga Katonda olw’ebikolwa byabwe. Ate era teweerabira nti Yakuwa akuuma abaweereza be nga ‘tabaleka kukemebwa kusukka ku kye bayinza okugumira.’ (1 Kol. 10:13) Kasita ‘basigala nga bategeera bulungi’ era ne bafuba okuziyiza ebikemo, Katonda abayamba. (1 Peet. 5:6-9) Maama omu Omukristaayo agamba nti: “Abaana ababatize baba balina ekintu ekibakubiriza okwewala okukola ebintu ebibi. Mutabani wanga eyabatizibwa nga wa myaka 15 awulira ng’okubatizibwa kibadde kya bukuumi gy’ali. Yagamba nti, ‘Kizibu okulowooza ku kukola ekintu ekikontana n’amateeka ga Yakuwa.’ Okubatizibwa kiyamba omuntu okwagala okukola ebikolwa eby’obutuukirivu.”
Bw’oba ng’otendese abaana bo okugondera Yakuwa era ng’obateereddewo ekyokulabirako ekirungi, ba mukakafu nti bajja kweyongera okumugondera ne bwe banaaba nga bamaze okubatizibwa. Engero 20:7 wagamba nti: “Omuntu omutuukirivu atambulira mu butayonoona bwe, abaana be abaddawo balina omukisa.”
Waliwo ebiruubirirwa bye njagala omwana wange asooke atuukeko. Abaana basaanidde okubaako emirimu gye bayiga okukola kibasobozese okweyimirizaawo mu biseera eby’omu maaso. Naye kiba kya kabi okubakubiriza okwemalira ku misomo ne ku kwenoonyeza eby’obugagga mu kifo ky’okubakubiriza okukulembeza Obwakabaka. Bwe yali ayogera ku ‘nsigo,’ oba ekigambo ky’Obwakabaka, etakula, Yesu yagamba nti: “Eyo eyasigibwa mu maggwa, y’oyo awulira ekigambo, naye okweraliikirira kw’obulamu obw’omu kiseera kino n’obulimba bw’obugagga bizisa ekigambo n’atabala.” (Mat. 13:22) Singa omuzadde aleetera omwana we okutwala ebiruubirirwa by’ensi nga bikulu okusinga enkolagana ye ne Katonda, ekyo kiyinza okuleetera omwana obutayagala kuweereza Katonda.
Ng’ayogera ku bavubuka abatuukiriza ebisaanyizo by’okubatizibwa naye bazadde baabwe ne babagaana okubatizibwa, omukadde omu agamba nti: “Okugaana omwana okubatizibwa, kiyinza okumumalamu amaanyi, bw’atyo n’addirira mu by’omwoyo.” N’omulabirizi w’ekitundu omu yagamba nti: “Kiyinza okuleetera omuvubuka okuwulira nti talina bw’ali mu by’omwoyo era nga tagya mu kibiina, bw’atyo n’asalawo okugenda mu nsi.”
[Ekifaananyi]
Omwana waffe asooke kugenda ku yunivasite?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 3]
Omwana asobola okulaga nti muyigirizwa wa Kristo
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 3]
Nga yeetegekera enkuŋŋaana era ng’azenyigiramu
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]
Ng’agondera bazadde be
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]
Nga yeenyigira mu mulimu gw’okubuulira
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]
Ng’asaba Katonda