Yakuwa Mugabi era Si Mukakanyavu
“Mukama mulungi eri bonna; n’okusaasira kwe okulungi kubuna emirimu gye gyonna.”—ZAB. 145:9.
1, 2. Kiki kye tujja okweyongera okukola emirembe n’emirembe?
MWANNYINAFFE ayitibwa Monika yagamba nti: “Tumaze emyaka 35 mu bufumbo, era nze n’omwami wange buli omu amanyi bulungi munne. Wadde kiri kityo, wakyaliwo ebintu buli omu by’akyayiga ku munne!” Abafumbo bangi n’ab’emikwano bangi nabo bwe batyo bwe bali.
2 Ffenna kitusanyusa nnyo okuyiga ebikwata ku bantu be twagala. Naye okusingira ddala kitusanyusa nnyo okuyiga ebikwata ku Yakuwa, Mukwano gwaffe gwe tusinga okwagala. Okuyiga ebikwata ku Yakuwa tekukoma. (Bar. 11:33) Tujja kweyongera okuyiga ku ngeri za Yakuwa emirembe n’emirembe era tujja kweyongera okumukoppa.—Mub. 3:11.
3. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?
3 Mu kitundu ekyayita twalaba nti Yakuwa atuukirikika era nti tasosola. Mu kitundu kino tugenda kwetegerezaayo engeri za Yakuwa endala bbiri. Tugenda kulaba nti Yakuwa mugabi era nti si mukakanyavu. Ekyo kijja kutuyamba okweyongera okukiraba nti ‘Yakuwa mulungi eri bonna era nti okusaasira kwe okulungi kubuna emirimu gye gyonna.’—Zab. 145:9.
YAKUWA MUGABI
4. Omuntu omugabi afaanana atya?
4 Omuntu omugabi afaanana atya? Eky’okuddamu tukisanga mu bigambo bya Yesu ebiri mu Ebikolwa by’Abatume 20:35 awagamba nti: “Okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.” N’olwekyo okusinziira ku bigambo bya Yesu ebyo, omuntu omugabi aba mwetegefu okuwaayo ebiseera bye, amaanyi ge, n’ebintu bye okuyamba abalala, era ekyo akikola n’essanyu. Okuba omugabi tekitegeeza kugaba kintu kinene, wabula kitegeeza okugaba okuviira ddala ku mutima. (Soma 2 Abakkolinso 9:7.) Tewali asinga Yakuwa, ‘Katonda waffe omusanyufu,’ kugaba.—1 Tim. 1:11.
5. Yakuwa akiraze atya nti mugabi?
5 Yakuwa akiraze atya nti mugabi? Akiraze ng’awa abantu bonna bye beetaaga, nga mw’otwalidde n’abo abatamuweereza. Mu butuufu, ‘Yakuwa mulungi eri bonna.’ Bayibuli egamba nti: “Omusana gwe agwakiza abalungi n’ababi era enkuba ye agitonyeseza abatuukirivu n’abatali batuukirivu.” (Mat. 5:45) Eyo ye nsonga lwaki omutume Pawulo bwe yali ayogera n’abantu abataali bakkiriza, yabagamba nti Yakuwa ‘abawa enkuba okuva mu ggulu n’ebiro eby’okubaliramu emmere, era abawa emmere mu bungi, era ajjuza emitima gyammwe essanyu.’ (Bik. 14:17) Ekyo kiraga nti Yakuwa mugabi eri abantu bonna.—Luk. 6:35.
6, 7. (a) Okusingira ddala baani Yakuwa baayagala okuyamba? (b) Waayo ekyokulabirako ekiraga nti Katonda alabirira abaweereza be.
6 Okusingira ddala Yakuwa ayagala nnyo okuwa abaweereza be abeesigwa ebintu bye beetaaga. Kabaka Dawudi yagamba nti: “N[n]ali muto, kaakano nkaddiye; naye sirabanga mutuukirivu ng’alekeddwa, newakubadde ezzadde lye nga basaba emmere.” (Zab. 37:25) Abaweereza ba Yakuwa bangi abeesigwa bakirabye nti Yakuwa abafaako nnyo. Lowooza ku kyokulabirako kino.
7 Emyaka mitono egiyise, mwannyinaffe Nancy aweereza nga payoniya yafuna ekizibu eky’amaanyi. Nancy agamba nti: “Nnali nneetaaga ddoola 66 okusasula ennyumba mwe nnali nsula. Ssente ezo nnannyini nnyumba yali azeetaaga nkeera naye nga simanyi wa kuziggya. Nnasaba Yakuwa nnemutegeeza ku kizibu kyange ekyo, oluvannyuma ne ŋŋenda ku mulimu. Nnali mpeereza mmere mu wooteeri. Bakasitoma baateranga okumpa akasiimo naye ku olwo nnali sisuubira nti bakasitoma bajja kuba bangi. Naye kyaneewuunyisa nnyo okulaba nti bakasitoma bajja bangi ku olwo era ne bampa akasiimo akawerako. Ku nkomerero y’olunaku, nnagenda okubala ssente ze nnali nfunye nga ziri ddoola 66.” Nancy mukakafu nti Yakuwa ye yamuyamba okufuna ssente zennyini ze yali yeetaaga.—Mat. 6:33.
8. Kirabo ki ekisingayo obulungi Katonda kye yawa abantu?
8 Ekirabo ekisingayo obulungi Katonda kye yawa abantu, buli omu asobola okukiganyulwamu. Kirabo ki ekyo? Ye ssaddaaka y’ekinunulo ky’Omwana we. Yesu yagamba nti: “Katonda yayagala nnyo ensi n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiririzaamu aleme okuzikirira naye afune obulamu obutaggwaawo.” (Yok. 3:16) “Ensi” eyogerwako mu lunyiriri olwo be bantu bonna. Yakuwa mwetegefu okuwa ekirabo ekyo abo bonna abakyagala. Abo bonna abakkiririza mu Yesu bajja kufuna obulamu obutaggwaawo. (Yok. 10:10) Obwo bwe bukakafu obusingirayo ddala okulaga nti Yakuwa mugabi.
KOPPA YAKUWA, KATONDA OMUGABI
9. Tuyinza tutya okukoppa Yakuwa, Katonda omugabi?
9 Tuyinza tutya okukoppa Yakuwa, Katonda omugabi? Olw’okuwa Yakuwa “atuwa byonna mu bungi olw’okutusanyusa,” naffe tusaanidde okuwa abalala ku bintu byaffe tusobole okubasanyusa. (1 Tim. 6:17-19) Bwe tuwa mikwano gyaffe n’ab’omu maka gaffe ebirabo era ne tuyamba abo abali mu bwetaavu, kituleetera essanyu lingi. (Soma Ekyamateeka 15:7.) Kiki ekiyinza okutuyamba okujjukira okugabira abalala ku bintu byaffe? Abakristaayo abamu bwe baweebwa ekirabo, nabo bafunayo omuntu omulala gwe bawa ekirabo. Mu kibiina Ekikristaayo mulimu abantu bangi abooleka omwoyo omugabi.
10. Engeri emu gye tuyinza okwolekamu omwoyo omugabi y’eruwa?
10 Engeri emu gye tuyinza okwolekamu omwoyo omugabi kwe kukozesa ebiseera byaffe n’amaanyi gaffe okuyamba abalala n’okubazzaamu amaanyi. (Bag. 6:10) Okusobola okumanya obanga ekyo tukikola, tuyinza okwebuuza ebibuuzo nga bino: ‘Abalala bakiraba nti ndi mwetegefu okubawuliriza? Bwe wabaawo omuntu ansaba okubaako ekintu kye mukolera mba mwetegefu okukimukolera? Ddi lwe nnasembayo okwebaza omu ku b’omu maka gange oba omu ku bakkiriza bannange ng’aliko ekintu ekirungi ky’akoze?’ Bwe twoleka omwoyo omugabi, tweyongera okusemberera Yakuwa era n’abantu abalala beeyongera okutwagala.—Luk. 6:38; Nge. 19:17.
11. Tuyinza tutya okwoleka omwoyo omugabi eri Yakuwa?
11 Tusobola n’okwoleka omwoyo omugabi n’eri Yakuwa. Ebyawandiikibwa bigamba nti: “Ossangamu Yakuwa ekitiibwa ng’omuwa ku bintu byo eby’omuwendo.” (Nge. 3:9, NW) Mu ‘bintu ebyo eby’omuwendo’ mwe muli ebiseera byaffe, amaanyi gaffe, n’eby’obugagga byaffe bye tusobola okukozesa mu buweereza bwaffe eri Yakuwa. N’abaana abato basobola okwoleka omwoyo omugabi eri Yakuwa. Taata omu ayitibwa Jason agamba nti: “Bwe tubaako ssente ze twagala okuwaayo ng’amaka okuwagira omulimu gw’Obwakabaka, tuzikwasa abaana baffe ne tubagamba baziteeke mu kasanduuko. Ekyo kibasanyusa nnyo kubanga baba bamanyi nti baliko ekintu kye bawadde Yakuwa.” Abaana bwe bakiraba nti okuwa Yakuwa ku bintu byaffe kireeta essanyu, ekyo kiyinza okubayamba okwongera okwoleka omwoyo omugabi eri Yakuwa ne bwe baba nga bakuze.—Nge. 22:6.
YAKUWA SI MUKAKANYAVU
12. Omuntu atali mukakanyavu afaanana atya?
12 Engeri endala ennungi Yakuwa gy’alina kwe kuba nti si mukakanyavu. Omuntu atali mukakanyavu afaanana atya? (Tit. 3:1, 2) Aba takalambira ku nsonga. Omuntu atali mukakanyavu taguggubira ku mateeka era aba mwetegefu okukyusaamu bwe kiba kyetaagisa. Afuba okuyisa abalala mu ngeri ey’ekisa era afuba okutegeera embeera yaabwe. Aba mwetegefu okuwuliriza abalala, era bwe kiba kyetaagisa, aba mwetegefu okuleka abalala okukola kye baagala.
13, 14. (a) Yakuwa akiraze atya nti si mukakanyavu? (b) Yakuwa yakiraga atya nti si mukakanyavu bwe yali akolagana ne Lutti?
13 Yakuwa akiraze atya nti si mukakanyavu? Akiraze ng’afaayo ku nneewulira z’abaweereza be, era ng’ebiseera ebimu abaleka okukola ebintu nga bwe baba baagala. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ngeri Yakuwa gye yakolaganamu n’omusajja omwesigwa Lutti. Yakuwa bwe yali agenda okuzikiriza Sodomu ne Ggomola, yalagira Lutti okuddukira mu nsozi. Naye Lutti yeegayirira Yakuwa amukkirize okuddukira mu kifo ekirala. Kiteeberezeemu, Lutti yasaba Yakuwa okukyusa mu ekyo kye yali amulagidde okukola!—Soma Olubereberye 19:17-20.
14 Abantu abamu bayinza okugamba nti Lutti yali mujeemu era nti okukkiriza kwe kwali kutono. Kya lwatu nti Yakuwa yali asobola okukuuma Lutti wonna we yandibadde. N’olwekyo, Lutti yali teyeetaaga kutya. Wadde kyali kityo, Lutti yalimu okutya. Yakuwa yafaayo ku nneewulira ya Lutti era yamukkiriza okuddukira mu kibuga ekirala wadde nga nakyo yali ayagala kukizikiriza. (Soma Olubereberye 19:21, 22.) Ekyo kiraga bulungi nti Yakuwa takalambira ku nsonga. Mu butuufu Yakuwa si mukakanyavu.
15, 16. Amateeka Yakuwa ge yawa Abaisiraeri gaalaga atya nti si mukakanyavu? (Laba ekifaananyi ku lupapula 12.)
15 Amateeka Yakuwa gye yawa eggwanga lya Isiraeri nago gaalaga nti si mukakanyavu. Ng’ekyokulabirako, Omuisiraeri bwe yabanga omwavu nga tasobola kuwaayo ndiga oba mbuzi nga ssaddaaka, yali asobola okuwaayo amayiba abiri oba enjiibwa bbiri. Ate watya singa Omuisiraeri yabanga mwavu nnyo nga tasobola na kuwaayo njiibwa bbiri? Yakuwa yamukkirizanga okuwaayo obuwunga obutonotono. Kyokka weetegereze nti obuwunga bwe yalinanga okuwaayo bwalinanga okuba obulungi ennyo, nga bulinga obwo bwe baafumbiranga abagenyi ab’ekitiibwa. (Lub. 18:6) Ekyo kiraga kitya nti Yakuwa si mukakanyavu?—Soma Eby’Abaleevi 5:7, 11.
16 Kati kuba akafaananyi ng’oli Muisiraeri era ng’oli mwavu nnyo. Bw’ogenda ku weema entukuvu okuwaayo obuwunga bwo nga ssaddaaka, osangayo ne Baisiraeri banno abagagga nga bo baleese bisolo. Oyinza okuwulira ng’oswadde olw’okuba ggwe oleese buwunga ate nga butono. Naye oluvannyuma okijjukira nti ssaddaaka yo ya muwendo mu maaso ga Yakuwa. Lwaki? Kubanga Yakuwa yali yeetaagisa Abaisiraeri abaawangayo obuwunga nga ssaddaaka okuwaayo obuwunga obulungi ennyo. Mu ngeri endala, Yakuwa yali ng’agamba Abaisiraeri abaavu nti: ‘Nkimanyi nti temusobola kuwaayo ekyo Abaisiraeri abagagga kye bawaayo, naye nkimanyi nti muwaayo ekyo ekisingayo obulungi okusinziira ku busobozi bwammwe.’ Ekyokulabirako ekyo kiraga nti Yakuwa si mukakanyavu. Tasuubira baweereza be kukola kintu kisukka ku busobozi bwabwe.—Zab. 103:14.
17. Yakuwa okusobola okusiima obuweereza bwaffe, kiki kye tusaanidde okukola?
17 Kituzzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Yakuwa asiima obuweereza bwaffe singa tumuweereza n’omutima gwaffe gwonna. (Bak. 3:23) Constance, mwannyinaffe nnamukadde abeera mu Itale, yagamba nti: “Njagala nnyo okubuulira abalala ebikwata ku Mutonzi wange. Eyo ye nsonga lwaki nneeyongera okubuulira n’okuyigiriza abantu Bayibuli. Ebiseera ebimu mpulira bubi olw’okuba obulwadde bwange tebunsobozesa kubeera mu buweereza kumala kiseera kiwanvu nga bwe nnakolanga edda. Naye nkimanyi nti Yakuwa amanyi obusobozi bwange we bukoma era asiima ekyo kyonna kye mba nsobodde okukola.”
KOPPA YAKUWA, KATONDA ATALI MUKAKANYAVU
18. Abazadde bayinza batya okukoppa Yakuwa?
18 Tuyinza tutya okukoppa Yakuwa, Katonda atali mukakanyavu? Ddamu olowooze ku ngeri Yakuwa gye yakolaganamu ne Lutti. Yakuwa yalina obuyinza okulagira Lutti wa gye yali amwagala agende; naye yawuliriza Lutti era n’amukkiriza okugenda gye yali ayagala. Bw’oba ng’oli muzadde, naawe osobola okukoppa Yakuwa. Oyinza okuwuliriza ekyo abaana bo kye bagamba era bwe kiba kyetaagisa oyinza okukkiriza okukola kye baagala ne bwe kiba nti ekyo ggwe si ky’obadde oyagala. Ku nsonga eyo, Omunaala gw’Omukuumi ogwa Ssebutemba 1, 2007 gwagamba nti abazadde bayinza okukubaganya ebirowoozo n’abaana baabwe ku mateeka ge baba baagala okubateerawo. Ng’ekyokulabirako, abazadde bayinza okusalawo okuteerawo abaana baabwe essaawa ze balina okuba nga bakomyewo awaka, era abazadde ba ddembe okukola ekyo. Wadde kiri kityo, abazadde Abakristaayo bayinza okubuuza abaana baabwe kye balowooza ku ssaawa ze baba babateereddewo. Abazadde bayinza okusalawo okukyusa mu biseera bye baba bataddewo kasita kiba nti okukola ekyo tekimenya misingi gya Bayibuli. Abazadde bwe bakubaganya ebirowoozo n’abaana baabwe ku mateeka ge baba baagala okubateerawo, abaana baabwe kibanguyira okutegeera ensonga lwaki bazadde baabwe babateerawo amateeka ago era kibanguyira okugagondera.
19. Abakadde bayinza batya okukoppa Yakuwa, Katonda atali mukakanyavu?
19 Abakadde nabo basobola okukoppa Yakuwa, Katonda atali mukakanyavu. Ekyo bayinza okukikola nga tebasuubira bakkiriza bannaabwe kukola kisukka ku busobozi bwabwe. Kijjukire nti Yakuwa yasiimanga ne ssaddaaka Abaisiraeri abaavu ze baawangayo. Mu ngeri y’emu, ab’oluganda abamu tebasobola kumala kiseera kiwanvu mu buweereza, oboolyawo olw’okuba balwadde oba olw’okuba bakaddiye. Watya singa bakkiriza bannaffe ng’abo bawulira nga baweddemu amaanyi olw’okuba tebasobola kumala biseera bingi mu buweereza nga bwe baakolanga edda? Abakadde bayinza okubayamba okukitegeera nti Yakuwa asiima ekyo kyonna kye basobola okumuwa okusinziira ku busobozi bwabwe.—Mak. 12:41-44.
20. Tuyinza tutya okukiraga nti tetuli bakakanyavu nga tuweereza Katonda?
20 Kya lwatu nti obutaba bakakanyavu tekitegeeza kwesaasira, oboolyawo ne tutuuka n’okukola ekitono ennyo mu buweereza bwaffe. (Mat. 16:22) Tetwagala kukola kitono mu buweereza bwaffe ng’ate tusobola okukola ekisingawo. Mu kifo ky’ekyo, tusaanidde ‘okufuba ennyo’ okuwagira omulimu gw’Obwakabaka. (Luk. 13:24) Kyokka tetusaanidde kugwa lubege. Tulina okufuba okuwa Yakuwa ekisingayo obulungi, ate nga mu kiseera kye kimu tukijjukira nti Yakuwa tatusuubira kukola kisukka ku busobozi bwaffe. Bwe tufuba okuwa Yakuwa ekisingayo obulungi, tujja kumusanyusa. Nga kituleetera essanyu lingi okukimanya nti tuweereza Yakuwa, Katonda atali mukakanyavu! Mu kitundu ekiddako, tujja kulabayo engeri za Yakuwa endala bbiri.—Zab. 73:28.