Mu Ngeri Ki Ssaddaaka ya Yesu gy’Eri “Ekinunulo ku lw’Abangi”?
Bayibuli ky’egamba
Katonda yanunula abantu okuva mu kibi n’okufa ng’ayitira mu ssaddaaka ya Yesu. Omusaayi gwa Yesu ogwayiibwa Bayibuli eguyita ekinunulo ekyaweebwayo. (Abeefeso 1:7; 1 Peetero 1:18, 19) Eyo ye nsonga lwaki Yesu yagamba nti yajja “okuwaayo obulamu bwe ng’ekinunulo ku lw’abangi.”—Matayo 20: 28.
Lwaki “ekinunulo” kyali kyetaagibwa?
Omuntu eyasooka, Adamu, yatondebwa ng’atuukiridde era nga talina kibi. Yali wa kubeerawo emirembe gyonna, naye yafiirwa enkizo eyo bwe yajeemera Katonda. (Olubereberye 3:17-19) Bwe yazaala abaana, yabasikiza ekibi. (Abaruumi 5:12) Eyo ye nsonga lwaki Bayibuli egamba nti Adamu ‘yeetunda’ era n’atunda n’abaana be mu buddu bw’ekibi n’okufa. (Abaruumi 7:14) Olw’okuba abantu bonna tebatuukiridde, tewali n’omu eyali ayinza kununula ekyo Adamu kye yatufiiriza.—Zabbuli 49:7, 8.
Katonda yasaasira bazzukulu ba Adamu abataalina ssuubi. (Yokaana 3:16) Kyokka olw’okuba Katonda anywerera ku mitindo gye egy’obwenkanya, teyasonyiwa busonyiyi bazzukulu ba Adamu olw’ekibi kye baasikira, nga talina kw’asinziira. (Zabbuli 89:14; Abaruumi 3:23-26) Olw’okuba Katonda ayagala nnyo abantu, yakola enteekateeka mwe yandiyitidde okubasonyiwa ebibi byabwe era n’okubiggirawo ddala. (Abaruumi 5:6-8) Enteekateeka eyo kye kinunulo.
Ekinunulo kye ki?
Mu Bayibuli, ekigambo “ekinunulo” kirina amakulu gano ag’emirundi esatu:
Omuwendo oguweebwayo okusasulira ekintu.—Okubala 3:46, 47.
Ekintu ekiweebwayo okusumulula oba okununula ekintu.—Okuva 21:30.
Ekyenkanankana n’omuwendo gw’ekyo kye basasulira.a
Ka tulabe engeri ebintu ebyo gye bikwataganamu ne ssaddaaka y’ekinunulo Yesu Kristo gye yawaayo.
Okusasulira. Bayibuli egamba nti Abakristaayo ‘baagulwa omuwendo munene.’ (1 Abakkolinso 6:20; 7:23) Omuwendo ogwo gwe musaayi gwa Yesu gwe yakozesa ‘okugulira Katonda abantu okuva mu buli kika n’olulimi n’eggwanga.’—Okubikkulirwa 5:8, 9.
Okusumulula. Ssaddaaka ya Yesu ‘yatusumulula’ okuva mu kibi.—1 Abakkolinso 1:30; Abakkolosaayi 1:14; Abebbulaniya 9:15.
Ekyenkanankana. Ssaddaaka ya Yesu yenkanankanira ddala n’ekyo Adamu kye yabuza, nga bwe bulamu bw’omuntu omu obutuukiridde. (1 Abakkolinso 15:21, 22, 45, 46) Bayibuli egamba nti: “Ng’obujeemu bw’omuntu omu [Adamu] bwe bwaviirako bangi okufuuka aboonoonyi, n’obuwulize bw’omuntu omu [Yesu Kristo] bujja kuviirako bangi okufuuka abatuukirivu.” (Abaruumi 5:19) Ekyo kinnyonnyola engeri okufa kw’omuntu omu gye kwali kusobola okuba ekinunulo ku lw’aboonoonyi bangi. Mu butuufu, ssaddaaka ya Yesu kye ‘kinunulo’ ekyaweebwayo ku lw’abo bonna ababaako kye bakolawo okusobola okukiganyulwamu.—1 Timoseewo 2:5, 6, n’obugambo obuli wansi.
a Mu Bayibuli, ekigambo ekyavvuunulwa “ekinunulo” kitegeeza ekintu eky’omuwendo ekiweebwayo okusobola okusasulira ekintu ekirala. Ng’ekyokulabirako, ekigambo ka·pharʹ eky’Olwebbulaniya kiyinza okutegeeza “okubikka.” Kitera okukozesebwa okutegeeza okubikka ku kibi. (Zabbuli 65:3) Ekigambo koʹpher ekikifaananako kitegeeza omuwendo okusasulibwa okusobola okununula ekintu. (Okuva 21:30) Mu ngeri y’emu, ekigambo lyʹtron eky’Oluyonaani, ekitera okuvvuunulwa “ekinunulo,” era kiyinza okuvvuunulwa nti “omuwendo oguweebwayo okununula” ekintu. (Matayo 20:28; The New Testament in Modern Speech, eyavvuunulwa R. F. Weymouth) Abawandiisi Abayonaani baakozesa ebigambo ebyo okutegeeza omuwendo oguweebwayo okununula omuntu eyawambibwa mu lutalo oba okusumulula omuddu.