Essuula 4
Yesu Kristo Ekisumuluzo ky’Okumanya Okukwata ku Katonda
1, 2. Amadiini ag’ensi ganyoddenyodde gatya ekisumuluzo ekiggulawo okumanya okukwata ku Katonda?
OYIMIRIDDE ku mulyango, okikiitana n’ebisumuluzo byo. Obudde bunnyogovu ate n’enzikiza ekutte, oyagala kuyingira mu nju—naye ekisumuluzo kigaanye okuggulawo. Ekisumuluzo kirabika nga kyekyo, naye ekkufulu egaanye okugguka. Nga kimalamu amaanyi! Oddamu okwetegereza ebisumuluzo byo. Obadde okozesa ekisumuluzo ekituufu? Waliwo akwonoonedde ekisumuluzo?
2 Ekyo kyakulabirako kirungi ekiraga obutabufutabufu bw’eddiini z’ensi eno kye bukoze ku kumanya okukwata ku Katonda. Mu mazima, bangi banyoddenyodde ekisumuluzo ekituggulirawo okumanya okwo—Yesu Kristo. Amadiini agamu gaggyemu ekisumuluzo, ne gasuulira ddala Yesu omuguluka. Amalala gatabuddetabudde ekifo kya Yesu, nga gamusinza nga Katonda Omuyinza w’ebintu byonna. Mu buli ngeri, okumanya okukwata ku Katonda kuba kuggale gye tuli nga tetufunye kutegeera kutuufu okukwata ku muntu ono omukulu, Yesu Kristo.
3. Lwaki Yesu tuyinza okumuyita ekisumuluzo eky’okumanya okukwata ku Katonda?
3 Oyinza okujjukira nga Yesu yagamba: “Kino kitegeeza bulamu obutaggwawo, okukumanya ggwe, Katonda omu ow’amazima, n’oyo gwe watuma Yesu Kristo.” (Yokaana 17:3, NW ) Mu kwogera bw’ati, Yesu yali tagezaako kwewaana. Ebyawandiikibwa biggumiza emirundi mingi obwetaavu obw’okufuna okumanya okutuufu okukwata ku Kristo. (Abeefeso 4:13; Abakkolosaayi 2:2; 2 Peetero 1:8; 2:20) “Oyo [Yesu Kristo] bannabbi bonna bamulangako,” omutume Peetero bw’atyo bwe yagamba. (Ebikolwa 10:43) Ate omutume Pawulo yawandiika: “[Yesu] omuli obugagga bwonna obw’amagezi n’obw’okutegeera.” (Abakkolosaayi 2:3) Pawulo yagamba n’okugamba nti ebisuubizo bya Yakuwa byonna bituukirizibwa olwa Yesu. (2 Abakkolinso 1:20) N’olwekyo Yesu Kristo kye kisumuluzo kyennyini eky’okumanya okukwata ku Katonda. Okumanya kwaffe okukwata ku Yesu tekuteekwa kubaamu kikyamu kyonna ku bikwata ku nfaanana ye era ne ku bikwata ku kifo kye mu nteekateeka ya Katonda. Naye lwaki abagoberezi ba Yesu bamutwala okuba omuntu asingira ddala obukulu mu bigendererwa bya Katonda?
MASIYA EYASUUBIZIBWA
4, 5. Biki ebyali bisuubirwa mu Masiya, era abayigirizwa ba Yesu baamutwala batya?
4 Okuviira ddala mu biseera by’omusajja omwesigwa Abeeri, abaweereza ba Katonda baali beesunga nnyo Ezzadde eryo eryayogerwako Yakuwa Katonda kennyini mu bunnabbi. (Olubereberye 3:15; 4:1-8; Abaebbulaniya 11:4) Kyabikkulwa nti Ezzadde eryo lyali lya kutwala mu maaso ekigendererwa kya Katonda nga Masiya, ekitegeeza “Eyafukibwako Amafuta.” Yali wa ‘kumalawo okusobya,’ era n’ekitiibwa ky’Obwakabaka bwe kyalagulwako mu zabbuli. (Danyeri 9:24-26; Zabbuli 72:1-20) Ani yandibadde Masiya oyo?
5 Tebeereza engeri Omuyudaaya omuvubuka ayitibwa Andereya gye yacamuukiriramu bwe yali ng’awuliriza ebigambo bya Yesu ow’e Nazaleesi. Andereya yadduka okugenda eri muganda we Simooni Peetero n’amugamba nti: “Tulabye Kristo.” (Yokaana 1:41) Abayigirizwa ba Yesu baamatira ddala nti ye yali Masiya eyasuubizibwa. (Matayo 16:16) Era Abakristaayo ab’amazima babadde beeteefuteefu okuwaayo obulamu bwabwe olw’okukkiriza nti ddala Yesu ye yali Masiya, oba Kristo, eyalagulwako. Bukakafu ki bwe babadde nabwo? Ka twekenneenye obujulizi bwa mirundi esatu.
OBUJULIZI OBULAGA NTI YESU YE YALI MASIYA
6. (a) Lunyiriri ki olw’obuzaale olwali olw’okuyitiramu Ezzadde essuubize, era tumanya tutya nti Yesu yayitira mu lunyiriri olwo? (b) Lwaki kyandibadde tekisoboka omuntu yenna eyaliwo oluvannyuma lwa 70 C.E. okuba n’obukakafu bwonna obumulaga okuba Masiya?
6 Olunyiriri lw’obuzaale bwa Yesu luwa obukakafu obusooka obumulaga okuba Masiya eyasuubizibwa. Yakuwa yali agambye omuweereza We Ibulayimu nti Ezzadde essuubize lyali lya kuva mu lulyo lwe. Isaaka mutabani wa Ibulayimu, Yakobo mutabani wa Isaaka, ne Yuda mutabani wa Yakobo bonna baafuna ekisuubizo kye kimu. (Olubereberye 22:18; 26:2-5; 28:12-15; 49:10) Olunyiriri lw’obuzaale bwa Masiya lweyongera okumanyikira ddala obulungi Kabaka Dawudi bwe yagambibwa nti mu lunyiriri lw’abaana be Oyo mwe yandivudde. (Zabbuli 132:11; Isaaya 11:1, 10) Enjiri ya Matayo n’eya Lukka zikakasa nti Yesu yava mu lunyiriri olwo. (Matayo 1:1-16; Lukka 3:23-38) Yadde nga Yesu yalina abalabe bangi, tewali n’omu ku bo yabuusabuusa lunyiriri lwa buzaale bwe olwali lumanyisiddwa bonna. (Matayo 21:9, 15) Kya lwatu nno, olunyiriri lw’obuzaale bwe teruliiko kubuusabuusa kwonna. Naye, ebiwandiiko ebikwata ku nnyiriri z’Abayudaaya ez’obuzaale byayonoonebwa Abaruumi bwe baanyaga eby’omuwendo ebyali mu Yerusaalemi mu 70 C.E. Oluvannyuma lw’omwaka ogwo, tewali muntu yenna eyeegamba okuba Masiya eyandisobodde okuba n’obujulizi bwonna obukikakasa.
7. (a) Bujulizi ki obw’okubiri obulaga nti Yesu ye yali Masiya? (b) Ku bikwata ku Yesu, Mikka 5:2 lwatuukirizibwa lutya?
7 Obunnabbi obutuukiriziddwa bwe bujulizi obw’okubiri. Obunnabbi bungi nnyo mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya bwogera ku bintu ebitali bimu ebikwata ku bulamu bwa Masiya. Mu kyasa eky’omunaana B.C.E., nnabbi Mikka yalagula nti omufuzi ono omukulu yali wa kuzaalibwa mu kabuga ka Besirekemu akataali kamanyifu nnyo. Ebibuga bibiri mu Isiraeri ebyali biyitibwa Besirekemu, naye obunnabbi buno bwayawulawo ekyo kyennyini ekyali kyogerwako: Besirekemu Efulasa, Kabaka Dawudi gye yazaalibwa. (Mikka 5:2) Bazadde ba Yesu, Yusufu ne Malyamu, baabeeranga mu Nazaleesi, mayilo nga 90 ku bukiika kkono bwa Besirekemu. Kyokka, Malyamu bwe yali olubuto, Kayisaali Agusito omufuzi Omuruumi yawa ekiragiro abantu bonna beewandiise mu bibuga gye bazaalibwa.a Bwe kityo Yusufu yalina okutwala mukyala we eyali olubuto e Besirekemu, eyo Yesu gye yazaalirwa.—Lukka 2:1-7.
8. (a) Ddi era kiki ekyaliwo “ssabbiiti” 69 okutandika? (b) “Ssabbiiti” 69 zaali zenkana wa obuwanvu, era kiki ekyaliwo nga zikoma?
8 Mu kyasa eky’omukaaga B.C.E., nnabbi Danyeri yalagula nti “afukibwako amafuta, omulangira” yali wa kulabika oluvannyuma lwa “ssabbiiti” 69 okuva ekiragiro lwe kyafuluma eky’okuzzaawo n’okuddamu okuzimba Yerusaalemi. (Danyeri 9:24, 25) Buli emu ku “ssabbiiti” zino yali eweramu emyaka musanvu.b Okusinziira ku Baibuli n’ebyafaayo, ekiragiro ky’okuddamu okuzimba Yerusaalemi kyaweebwa mu 455 B.C.E. (Nekkemiya 2:1-8) N’olwekyo Masiya yali wa kulabika ng’emyaka 483 (69 emirundi 7) gimaze okuyitawo okuva mu 455 B.C.E. Ekyo kitutuusa mu 29 C.E., omwaka gwennyini Yakuwa mwe yafukira ku Yesu omwoyo omutukuvu. Bwe kityo Yesu yafuuka “Kristo” (ekitegeeza “Eyafukibwako Amafuta”), oba Masiya.—Lukka 3:15, 16, 21, 22.
9. (a) Zabbuli 2:2 lwatuukirizibwa lutya? (b) Obumu ku bunnabbi obulala obwatuukirizibwa mu Yesu bwe buluwa? (Laba ekipande.)
9 Kyo kituufu nti si buli omu yakkiriza Yesu nga Masiya eyasuubizibwa, era n’Ebyawandiikibwa byali biragudde bwe bityo. Nga bwe kiragibwa mu Zabbuli 2:2, Kabaka Dawudi yaluŋŋamizibwa Katonda okuwandiika: “Bakabaka b’ensi beeteeseteese, n’abafuga bateesezza ebigambo wamu, ku Mukama ne ku Masiya we.” Obunnabbi buno bwalaga nti abakulembeze okuva mu nsi ezisukka mu emu baali bajja kwekobaana okulumba Oyo Yakuwa gwe Yafukako Amafuta, oba Masiya. Era bwe kyali. Abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya, Kabaka Kerode, ne gavana Omuruumi Pontiyo Piraato bonna baaliko kye baakola mu kuwaayo Yesu okuttibwa. Kerode ne Piraato abaali abalabe baafuuka ba mukwano ddala okuva olwo n’okweyongerayo. (Matayo 27:1, 2; Lukka 23:10-12; Ebikolwa 4:25-28) Okufuna obukakafu obusingawo obulaga nti Yesu ye yali Masiya, laba ekipande ekiddiridde ekiriko omutwe “Obumu ku Bunnabbi Obwatiikirivu Obukwata ku Masiya.”
10. Ngeri ki Yakuwa gye yalagamu nti Yesu ye yali Oyo Eyafukibwako Amafuta gwe yasuubiza?
10 Obujulirwa bwa Yakuwa Katonda bwe bujulizi obw’okusatu obukakasa nti Yesu ye yali Masiya. Yakuwa yatuma bamalayika okumanyisa abantu nti Yesu ye yali Masiya eyasuubizibwa. (Lukka 2:10-14) Mu butuufu, mu kiseera eky’obulamu bwa Yesu ku nsi, Yakuwa kennyini yayogera okuva mu ggulu, ng’alaga nga bwe yali asiima Yesu. (Matayo 3:16, 17; 17:1-5) Yakuwa Katonda yawa Yesu amaanyi okukola ebyamagero. Buli kyamagero kyabanga bukakafu bulala obuva eri Katonda nti Yesu ye yali Masiya, kubanga Katonda teyandiwadde muntu mukuusa maanyi ga kukola ebyamagero. Era Yakuwa yakozesa omwoyo gwe omutukuvu okuluŋŋamya okuwandiikibwa kw’Enjiri, obujulizi obulaga nti Yesu ye Masiya ne bulyoka bubeerera ddala kitundu kya Baibuli, ekitabo ekisingidde ddala okuvvuunulwa ennyo n’okubunyisibwa ennyo mu byafaayo.—Yokaana 4:25, 26.
11. Bujulizi bwenkana wa obuliwo obulaga nti Yesu ye yali Masiya?
11 Mu kugattagatta awamu, obujulizi buno bulimu ebintu nkumi na nkumi ebiraga Yesu okuba Masiya eyasuubizibwa. N’olwekyo, kya lwatu nti Abakristaayo ab’amazima bamutwala okuba ‘oyo bannabbi bonna gwe baalangako’ era bamutwala okuba ekisumuluzo ky’okumanya okukwata ku Katonda. (Ebikolwa 10:43) Naye waliwo eby’okuyiga ebirala ebikwata ku Yesu Kristo ng’oggyeeko eky’okuba nti ye yali Masiya. Yava wa? Yali muntu wa ngeri?
YESU NGA TANNAFUUKA MUNTU
12, 13. (a) Tumanya tutya nga Yesu yaliwo mu ggulu nga tannajja ku nsi? (b) “Kigambo” y’ani, era kiki kye yakola nga tannafuuka muntu?
12 Obulamu bwa Yesu buyinza okwawulwamu ebitundu bisatu. Ekitundu ekisooka kyatandika dda nnyo nga tannazaalibwa ku nsi. Mikka 5:2 lwagamba nti ensibuko ya Masiya yava “dda na dda, emirembe nga teginnabaawo.” Era Yesu yakyasanguza bulungi nti yava “waggulu,” kwe kugamba, mu ggulu. (Yokaana 8:23; 16:28) Yali amaze bbanga ki mu ggulu nga tannajja ku nsi?
13 Yesu yayitibwa ‘Omwana wa Katonda eyazaalibwa omu yekka’ kubanga Yakuwa yamutonda butereevu. (Yokaana 3:16) Yesu, nga “omubereberye ow’ebitonde byonna,” oluvannyuma Katonda yamukozesa okutonda ebintu ebirala byonna. (Abakkolosaayi 1:15; Okubikkulirwa 3:14) Yokaana 1:1 lugamba nti “Kigambo” (Yesu nga tannafuuka muntu) yali ne Katonda “ku lubereberye.” N’olwekyo, Kigambo yali ne Yakuwa “eggulu n’ensi” bwe byali bitondebwa. Katonda yali ayogera na Kigambo bwe Yagamba nti: “Tukole omuntu mu ngeri yaffe.” (Olubereberye 1:1, 26) Era, Kigambo ateekwa okuba nga ye ‘mukoza’ wa Yakuwa omwagalwa, ayogerwako mu Engero 8:22-31 ng’amagezi mu ngeri ey’obuntu, eyali ku lusegere lwa Yakuwa ng’akola mu kukolebwa kw’ebintu byonna. Yakuwa ng’amaze okumutonda, Kigambo yamala ekiseera kiwanvu nnyo ekitabalika ng’ali ne Katonda mu ggulu nga tannafuuka muntu ku nsi.
14. Lwaki Yesu ayitibwa ‘ekifaananyi kya Katonda atalabika’?
14 Tekyanditwewuunyisizza Abakolosaayi 1:15 bwe luyita Yesu ‘ekifaananyi kya Katonda atalabika’! Mu myaka egyo egitamanyiddwa ng’amuli ku lusegere, Omwana ono omuwulize yatuuka okufaananira ddala Kitaawe, Yakuwa. Eyo ye nsonga endala lwaki Yesu kye kisumuluzo ky’okumanya okukwata ku Katonda okuwa obulamu. Buli kimu Yesu kye yakola ng’ali ku nsi kyekyo ddala Yakuwa kye yandikoze. N’olw’ensonga eyo, okumanya Yesu era kuba kutegeeza kweyongera kumanya Yakuwa. (Yokaana 8:28; 14:8-10) N’olwekyo, twetaaga okuyiga ebisingawo ebikwata ku Yesu Kristo.
OBULAMU BWA YESU NG’ALI KU NSI
15. Yesu yatuuka atya okuzaalibwa ng’omwana atuukiridde?
15 Ekitundu eky’okubiri eky’obulamu bwa Yesu kyali wano ku nsi. Awatali kulonzaalonza kwonna yakkiriza Katonda okukyusa obulamu bwe okuva mu ggulu okubussa mu lubuto lw’omuwala Omuyudaaya omwesigwa eyali embeerera ayitibwa Malyamu. Omwoyo omutukuvu ogwa Yakuwa, oba amaanyi ge agakola, ‘gwasiikiriza’ Malyamu, ne gumuleetera okuba olubuto era n’azaala omwana atuukiridde. (Lukka 1:34, 35) Yesu teyasikira butali butuukirivu bwonna, okuva obulamu bwe bwe bwava ku Nsibuko etuukiridde. Yakuzibwa mu maka amayabayaba ng’omwana wa Yusufu omubazzi era ye yali omubereberye mu baana abawerako ab’omu maka ago.—Isaaya 7:14; Matayo 1:22, 23; Makko 6:3.
16, 17. (a) Yesu yaggya wa amaanyi agaakola ebyamagero, era ebimu ku byo bye biruwa? (b) Ezimu ku ngeri Yesu ze yalaga ze ziruwa?
16 Okwemalira ennyo ku Yakuwa Katonda Yesu kwe yalaga kwali kumaze okweyoleka nga wa myaka 12 egy’obukulu. (Lukka 2:41-49) Oluvannyuma lw’okukula n’okutandika obuweereza bwe ku myaka 30 egy’obukulu, Yesu era yalaga okwagala okungi kwe yalina eri bantu banne. Omwoyo omutukuvu ogwa Katonda gwamusobozesa okukola ebyamagero, yawonya abalwadde, abalema, abo abaali batalina bitundu ebimu, abazibe b’amaaso, bakiggala, era n’abagenge olw’obusaasizi bwe yalina. (Matayo 8:2-4; 15:30) Yesu yaliisa abayala nkumi na nkumi. (Matayo 15:35-38) Yakkakkanya omuyaga ogwali gutadde obulamu bwa mikwano gye mu kabi. (Makko 4:37-39) Mu butuufu, yazuukiza n’abafu. (Yokaana 11:43, 44) Ebyamagero bino byaliwo ddala mu byafaayo. N’abalabe ba Yesu baakikkiriza nti ‘yakola obubonero bungi.’—Yokaana 11:47, 48.
17 Yesu yatambula ensi y’ewaabwe okugimalako, ng’ayigiriza abantu ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda. (Matayo 4:17) Era yateekawo ekyokulabirako ekirungi ennyo eky’obugumiikiriza n’obutabeera mukakanyavu. Yadde n’emirundi egyo abayigirizwa be lwe baalemwa okukola nga bw’ayagala, yabagamba n’obusaasizi nti: ‘Omwoyo gwagala naye omubiri munafu.’ (Makko 14:37, 38) Naye, Yesu yalinga muvumu era atazibiramu n’akamu eri abo abanyoomanga amazima era abaabonyaabonyanga abo abatalina buyambi. (Matayo 23:27-33) N’okusinga byonna, yakoppera ddala ekyokulabirako kya Kitaawe eky’okwagala. Yesu yali na mwetegefu okufiirira olulyo lw’omuntu olutatuukiridde lusobole okuba n’essuubi ery’omu maaso. N’olwekyo, tekyewuunyisa bwe twogera ku Yesu ng’ekisumuluzo ky’okumanya okukwata ku Katonda! Yee, kye kisumuluzo ekiramu! Naye lwaki tugamba nti ekisumuluzo ekiramu? Kino kitutuusa ku kitundu eky’okusatu eky’obulamu bwe.
YESU LEERO
18. Yesu Kristo tusaanidde kumutwala tutya leero?
18 Wadde nga Baibuli eyogera ku kufa kwa Yesu, kaakati mulamu! Mu butuufu, abantu bikumi na bikumi abaaliwo mu kyasa ekyasooka C.E. baalabako n’agaabwe nti yali azuukiziddwa. (1 Abakkolinso 15:3-8) Nga bwe kyalagulwa, okuva olwo n’atuula ku mukono gwa Kitaawe ogwa ddyo ng’alindirira okufuna obuyinza obw’obwakabaka mu ggulu. (Zabbuli 110:1; Abaebbulaniya 10:12, 13) Kati olwo Yesu tusaanide kumutunuulira tutya leero? Tumutwale ng’akaana akawere akazazikiddwa mu lutiba ensolo mwe ziriira? Oba ng’omusajja attibwa ali mu bulumi obungi? Nedda. Kati Kabaka ow’amaanyi, afuga! Era mu kabanga katono, ajja kwoleka obufuzi bwe eri ensi eno ejjudde emitawaana.
19. Kikolwa ki Yesu ky’ajja okukola mu biseera eby’omu maaso awo?
19 Mu Okubikkulirwa 19:11-15, Kabaka Yesu Kristo ayogerwako ng’ajja n’obuyinza bungi okuzikiriza ababi. Omufuzi ono omwagazi ali mu ggulu ateekwa okuba ng’ayagalira ddala nnyo okukomya okubonaabona abantu obukadde n’obukadde kwe balimu leero! Era ayagalira ddala nnyo okuyamba abo abafuba okukoppa ekyokulabirako ekituukiridde kye yateekawo ng’ali ku nsi. (1 Peetero 2:21) Ayagala okubakuuma okuyita mu ‘lutalo olw’oku lunaku olukulu olwa Katonda Omuyinza w’ebintu byonna,’ olugenda lusembera amangu ennyo, olutera okuyitibwa Kalumagedoni, basobole okuba abalamu emirembe gyonna nga bafugibwa ku nsi Obwakabaka bwa Katonda obw’omu ggulu.—Okubikkulirwa 7:9, 14; 16:14, 16.
20. Kiki Yesu ky’ajja okukolera abantu mu Myaka Olukumi egy’Obufuzi bwe?
20 Mu Myaka Olukumi egy’Obufuzi bwa Yesu obw’emirembe obwalagulwa, ajja kukolera olulyo lw’omuntu ebyamagero. (Isaaya 9:6, 7; 11:1-10; Okubikkulirwa 20:6) Yesu ajja kuwonya obulwadde bwonna era ajja kukomya okufa. Ajja kuzuukiza obukadde n’obukadde bw’abantu nabo basobole okufuna omukisa gw’okuba abalamu emirembe gyonna ku nsi. (Yokaana 5:28, 29) Ojja kusanyuka nnyo okuyiga ebisingawo ebikwata ku Bwakabaka bwe obw’Obwamasiya mu ssuula eziri mu maaso. Ba mukakafu ku kino: Tetuyinza na kuteebereza engeri ey’ekitalo ennyo obulamu bwaffe gye bulibamu wansi w’obufuzi bw’Obwakabaka. Nga kikulu nnyo okuyiga ebisingawo ebikwata ku Yesu Kristo! Yee, kitwetaagisa obuteerabira Yesu, ekisumuluzo ekiramu eky’okumanya okukwata ku Katonda okutukulembera okutuuka mu bulamu obutaggwawo.
[Obugambo obwa wansi]
a Okwewandiisa kuno kwasobozesa Ettwale ly’Abaruumi okusolooza obulungi emisolo. N’olwekyo, Agusito nga takimanyi yayamba mu kutuukiriza obunnabbi obukwata ku mufuzi eyali ‘ow’okuyisa omusolooza mu bwakabaka.’ Obunnabbi bwe bumu obwo bwalagula nti “omukulu w’endagaano,” oba Masiya, yali wa ‘kumenyeka’ mu kiseera ky’oyo eyali ow’okudda mu kifo ky’omufuzi ono. Yesu yattibwa mu kiseera ky’obufuzi bwa Tiberiyo, eyadda mu kifo kya Agusito.—Danyeri 11:20-22.
b Abayudaaya ab’edda baateranga okwogerera mu ssabbiiti ez’emyaka. Ng’ekyokulabirako, nga buli lunaku olw’omusanvu bwe lwabanga olwa Ssabbiiti, buli mwaka ogw’omusanvu nagwo gwabanga gwa Ssabbiiti.—Okuva 20:8-11; 23:10, 11.
GEZESA OKUMANYA KWO
Olunyiriri lw’obuzaale bwa Yesu lwawa lutya obukakafu nti ye yali Masiya?
Obumu ku bunnabbi obukwata ku Masiya obwatuukirizibwa mu Yesu bwe buluwa?
Katonda yakiraga atya obutereevu nti Yesu ye Eyafukibwako Amafuta?
Lwaki Yesu kye kisumuluzo ekiramu eky’okumanya okukwata ku Katonda?
[Ekipande ekiri ku lupapula 37]
OBUMU KU BUNNABBI OBWATIIKIRIVU OBUKWATA KU MASIYA
OBUNNABBI EKYANDIBADDEWO OKUTUUKIRIZIBWA
NGA MUTO
Isaaya 7:14 Okuzaalibwa omukazi embeerera Matayo 1:18-23
Yeremiya 31:15 Abaana okuttibwa ng’azaaliddwa Matayo 2:16-18
OBUWEEREZA BWE
Isaaya 61:1, 2 Omulimu gwe gwamuweebwa Katonda Lukka 4:18-21
Isaaya 9:1, 2 Obuweereza bwe bwaleetera abantu Matayo 4:13-16
okulaba ekitangaala eky’amaanyi
Zabbuli 69:9 Yalina obuggya Yokaana 2:13-17
obw’ennyumba ya Yakuwa
Isaaya 53:1 Tebamukkiririzamu Yokaana 12:37, 38
Zekkaliya 9:9; Yayingira mu Yerusaalemi nga Matayo 21:1-9
Zabbuli 118:26 yeebagadde omwana gw’endogoyi;
yayanirizibwa nga kabaka era oyo
eyajjira mu linnya lya Yakuwa
OKULIIBWAMU OLUKWE N’OKUFA KWE
Zabbuli 41:9; Omutume omu teyali mwesigwa; Ebikolwa 1:15-20
109:8 yalyamu Yesu olukwe era
oluvannyuma omulala n’azzibwa
mu kifo kye
Zekkaliya 11:12 Yaliibwamu olukwe Matayo 26:14, 15
olw’ebitundu 30 ebya ffeeza
Zabbuli 27:12 Abajulirwa ab’obulimba Matayo 26:59-61
baakozesebwa okumuwaayiriza
Zabbuli 22:18 Ebyambalo bye Yokaana 19:23, 24
byakubirwako obululu
Isaaya 53:12 Yabalirwa wamu n’abalina ebibi Matayo 27:38
Zabbuli 22:7, 8 Yavumibwa ng’afa Makko 15:29-32
Zabbuli 69:21 Yaweebwa omwenge omukaatuufu Makko 15:23, 36
Isaaya 53:5; Yafumitibwa Yokaana 19:34, 37
Isaaya 53:9 Yaziikibwa wamu n’abagagga Matayo 27:57-60
Zabbuli 16:8-11 Yazuukizibwa nga tannavunda Ebikolwa 2:25-32;
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 35]
Katonda yawa Yesu amaanyi ag’okuwonya abalwadde