Matayo
21 Bwe baali basemberedde Yerusaalemi, nga batuuse e Besufaage ku Lusozi olw’Emizeyituuni, Yesu n’atuma abayigirizwa be babiri,+ 2 n’abagamba nti: “Mugende mu kabuga kali ke mulengera, era amangu ddala nga mwakatuukayo, mujja kulaba endogoyi ng’esibiddwa ng’eri n’omwana gwayo. Muzisumulule muzindeetere. 3 Singa omuntu yenna abaako ky’ababuuza, mumugambe nti, ‘Mukama waffe azeetaaga.’ Amangu ago ajja kubaleka muzitwale.”
4 Kino kyabaawo okutuukiriza ekyo nnabbi kye yagamba nti: 5 “Gamba muwala wa Sayuuni nti, ‘Laba! Kabaka wo ajja gy’oli;+ muteefu,+ era yeebagadde omwana gw’endogoyi.’”+
6 Awo abayigirizwa ne bagenda ne bakola nga Yesu bwe yabalagira.+ 7 Ne baleeta endogoyi n’omwana gwayo, ne baziteekako ebyambalo byabwe eby’okungulu, n’abituulako.+ 8 Abantu abasinga obungi ne baalirira ebyambalo byabwe eby’okungulu mu kkubo,+ ate abalala ne batema amatabi g’emiti ne bagaalirira mu kkubo. 9 Abo abaali bamukulembedde n’abo abaali bamuvaako emabega ne boogerera waggulu nga bagamba nti: “Tukusaba olokole Omwana wa Dawudi!+ Aweereddwa omukisa oyo ajjira mu linnya lya Yakuwa!*+ Tukusaba ggwe ali waggulu, omulokole!”+
10 Bwe yatuuka mu Yerusaalemi, ekibuga kyonna ne kibaamu oluyoogaano, nga babuuza nti: “Ono y’ani?” 11 Ekibiina ky’abantu ne kigamba nti: “Ono ye nnabbi Yesu,+ ava e Nazaaleesi eky’omu Ggaliraaya!”
12 Yesu n’ayingira mu yeekaalu n’agobamu abo bonna abaali batundiramu ebintu n’abo abaali babigula, era n’avuunika emmeeza z’abo abaali bavungisa ssente n’entebe z’abo abaali batunda amayiba.+ 13 N’abagamba nti: “Kyawandiikibwa nti, ‘Ennyumba yange eriyitibwa nnyumba ya kusabiramu,’+ naye mmwe mugifudde mpuku ya banyazi.”+ 14 Ate era abazibe b’amaaso n’abalema bajja gy’ali mu yeekaalu, n’abawonya.
15 Bakabona abakulu n’abawandiisi bwe baalaba ebintu ebyewuunyisa bye yali akoze, era nga n’abalenzi boogerera waggulu mu yeekaalu nga bagamba nti: “Tukusaba olokole* Omwana wa Dawudi!”+ ne basunguwala+ 16 ne bamugamba nti: “Owulira bano kye bagamba?” Yesu n’abagamba nti: “Mbawulira. Temusomangako nti: ‘Oleetedde akamwa k’abaana abato n’abawere okukutendereza’?”+ 17 N’abaviira, n’afuluma ekibuga, n’agenda e Bessaniya n’asula eyo.+
18 Bwe yali akomawo mu kibuga ku makya ennyo enjala n’emuluma.+ 19 N’alengera omutiini ku mabbali g’ekkubo n’agenda we guli, naye n’atasangako kibala kyonna okuggyako ebikoola.+ N’agugamba nti: “Toliddamu kubala kibala kyonna emirembe n’emirembe.”+ Amangu ago omutiini ne gukala. 20 Abayigirizwa bwe baakiraba, ne beewuunya nnyo, ne bagamba nti: “Omutiini guno gukaze gutya amangu bwe guti?”+ 21 Yesu n’abaddamu nti: “Mazima mbagamba nti bwe muba n’okukkiriza era nga temubuusabuusa, temujja kukoma ku kukola ekyo kye nkoze omutiini, naye era ne bwe munaagamba olusozi luno nti, ‘Siguukulukuka ogwe mu nnyanja,’ bwe kityo bwe kijja okuba.+ 22 Era ebintu byonna bye musaba nga mulina okukkiriza mujja kubifuna.”+
23 Bwe yayingira mu yeekaalu, bakabona abakulu n’abakadde ne bajja gy’ali ng’ayigiriza ne bamubuuza nti: “Oggya wa obuyinza okukola ebintu bino? Era ani eyakuwa obuyinza buno?”+ 24 Yesu n’abaddamu nti: “Nange ka mbabuuzeeyo ekibuuzo kimu. Bwe munanziramu nja kubabuulira gye nzigya obuyinza okukola ebintu bino: 25 Yokaana yaggya wa obuyinza okubatiza, mu ggulu oba mu bantu?” Ne batandika okwogera bokka na bokka nti: “Singa tugamba nti ‘Yabuggya mu ggulu,’ ajja kutugamba nti, ‘Lwaki temwamukkiriza?’+ 26 Naye ate singa tugamba nti, ‘Yabuggya mu bantu,’ tutya abantu kubanga bonna bakitwala nti Yokaana nnabbi.” 27 Ne baddamu Yesu nti: “Tetumanyi.” Naye n’abagamba nti: “Nange sijja kubabuulira gye nzigya buyinza kukola bintu bino.
28 “Mulowooza mutya? Waliwo omusajja eyalina abaana babiri; n’agenda eri omwana asooka n’amugamba nti: ‘Mwana wange, leero genda okole mu nnimiro y’emizabbibu.’ 29 N’amuddamu nti, ‘Sijja kugenda.’ Naye oluvannyuma ne yeekuba mu kifuba n’agenda. 30 Omusajja oyo n’atuukirira omwana ow’okubiri n’amugamba ekintu kye kimu. N’amuddamu nti, ‘Nja kugenda Ssebo,’ naye n’atagenda. 31 Ku bombi ani yakola kitaawe ky’ayagala?” Ne bamuddamu nti: “Eyasooka.” Yesu n’abagamba nti: “Mazima ddala mbagamba nti abasolooza omusolo ne bamalaaya bajja kubasooka okuyingira mu Bwakabaka bwa Katonda. 32 Kubanga Yokaana yajja gye muli n’abalaga ekkubo ery’obutuukirivu ne mutamukkiriza. Naye abasolooza omusolo ne bamalaaya baamukkiriza,+ era wadde ng’ekyo mwakiraba temwekuba mu kifuba musobole okumukkiriza.
33 “Muwulire olugero olulala: Waaliwo omuntu eyasimba ennimiro y’emizabbibu+ n’agissaako olukomera, n’ateekamu essogolero ly’envinnyo, n’azimbamu omunaala,+ n’agipangisa abalimi, n’agenda mu nsi ey’ewala.+ 34 Ekiseera ky’amakungula bwe kyatuuka, n’atuma abaddu be eri abalimi bamuleetere ku bibala. 35 Naye abalimi ne bakwata abaddu be, omu ne bamukuba, omulala ne bamutta, ate omulala ne bamukuba amayinja.+ 36 Era n’atuma abaddu abalala bangi okusinga abaasooka, naye bano nabo ne babakola ekintu kye kimu.+ 37 Ku nkomerero n’abatumira omwana we, ng’agamba nti, ‘Omwana wange bajja kumussaamu ekitiibwa.’ 38 Abalimi bwe baalaba omwana ne bagambagana nti, ‘Ono ye musika;+ mujje tumutte tutwale obusika bwe!’ 39 Awo ne bamukwata ne bamusuula ebweru w’ennimiro y’emizabbibu ne bamutta.+ 40 Kati olwo nnannyini nnimiro y’emizabbibu bw’alijja, kiki ky’alikola abalimi abo?” 41 Ne bamugamba nti: “Olw’okuba babi, alibazikiririza ddala, era ennimiro y’emizabbibu aligipangisa abalimi abalala abalimuwa ebibala ng’ekiseera kyabyo kituuse.”
42 Yesu n’abagamba nti, “Temusomangako mu byawandiikibwa awagamba nti, ‘Ejjinja abazimbi lye baagaana lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.*+ Kino Yakuwa* y’akikoze era kitwewuunyisa nnyo’?+ 43 Eno ye nsonga lwaki mbagamba nti Obwakabaka bwa Katonda bujja kubaggibwako buweebwe eggwanga eribala ebibala byabwo. 44 Era buli muntu anaagwa ku jjinja eryo ajja kumenyekamenyeka.+ Ate oyo gwe linaagwako lijja kumubetenta.”+
45 Bakabona abakulu n’Abafalisaayo bwe baawulira engero ze yagera ne bategeera nti yali ayogera ku bo.+ 46 Naye, wadde nga baali baagala okumukwata, baatya ekibiina ky’abantu kubanga baali bamutwala okuba nnabbi.+