ESSUULA 36
Baani Abalizuukizibwa? Balibeera Wa?
MU SSUULA ebbiri ezivuddeko, bantu bameka be twasomako abaazuukizibwa?— Baali bataano. Abaana abato baali bameka?— Basatu. Era ow’okuna yali muvubuka. Olowooza kino kiraga ki?—
Kiraga nti Katonda ayagala nnyo abaana abato n’abavubuka. Naye era ajja kuzuukiza n’abantu abalala bangi. Katonda alizuukiza abo bokka abaakola ebintu ebirungi?— Tuyinza okulowooza bwe tutyo. Naye waliwo abantu bangi abataayiga mazima agakwata ku Yakuwa Katonda n’Omwana we. Abantu abo baakolanga ebintu ebibi olw’okuba baali bayigiriziddwa ebintu ebikyamu. Olowooza Yakuwa alizuukiza abantu ng’abo?—
Bayibuli egamba nti: “Wajja kubaawo okuzuukira kw’abatuukirivu n’abatali batuukirivu.” (Ebikolwa 24:15) Lwaki abo abataali batuukirivu oba abaakolanga ebintu ebibi, bajja kuzuukizibwa?— Kiri kityo kubanga tebaafuna mukisa kuyiga ebikwata ku Yakuwa n’ebyo by’ayagala abantu bakole.
Olowooza abantu balizuukizibwa ddi?— Lowooza ku ebyo ebyaliwo nga Lazaalo afudde era Yesu n’asuubiza Maliza nti: “Mwannyoko ajja kuzuukira.” Maliza yamuddamu nti: “Mmanyi nti alizuukira mu kuzuukira kw’oku lunaku olw’enkomerero.” (Yokaana 11:23, 24) Maliza yali ategeeza ki bwe yagamba nti Lazaalo yandizuukidde ku “lunaku olw’enkomerero”?—
Maliza yali yawulirako ku kisuubizo kya Yesu nti: ‘Bonna abali mu ntaana balivaamu.’ (Yokaana 5:28, 29) N’olwekyo, ‘olunaku olw’enkomerero’ kye kiseera abantu bonna Katonda b’ajjukira lwe balizuukizibwa. Olunaku luno olw’enkomerero si lwa ssaawa 24 zokka. Wabula, lujja kuba lwa myaka lukumi. Bayibuli egamba nti ku lunaku olwo, ‘Katonda alisalira omusango abantu abali ku nsi.’ Mu abo b’alisalira omusango mulibaamu n’abo abaliba bazuukiziddwa.—Ebikolwa 17:31; 2 Peetero 3:8.
Teebereza essanyu eriribaawo ku lunaku olwo! Ku lunaku olwo olw’emyaka olukumi, obukadde n’obukadde bw’abantu abaafa bajja kuzuukizibwa. Ekifo kye balibeeramu nga bazuukiziddwa Yesu yakiyita Olusuku lwa Katonda. Ka tulabe Olusuku lwa Katonda gye lulibeera era n’embeera eribeera mu lusuku olwo.
Ng’ebula essaawa ssatu Yesu afiire ku muti ogw’okubonaabona, yabuulira omusajja eyali akomereddwa ku muti okumpi naye ebikwata ku Lusuku lwa Katonda. Omusajja oyo yali akomereddwa ku muti olw’emisango gye yali azizza. Naye omusajja oyo omumenyi wa mateeka bwe yatunuulira Yesu era n’awulira ebyali bimwogerwako, yatandika okumukkiririzaamu. N’olwekyo, yagamba Yesu nti: “Onzijukiranga bw’olituuka mu bwakabaka bwo.” Yesu yamuddamu nti: “Mazima nkugamba leero nti, Oliba nange mu Lusuku lwa Katonda.”—Lukka 23:42, 43.
Yesu yali ategeeza ki okwogera ebigambo ebyo? Olusuku lwa Katonda lwali ludda wa?— Kirowoozeeko. Olusuku lwa Katonda lwali ludda wa mu kusooka?— Kijjukire nti Katonda yateeka omusajja eyasooka, Adamu, ne mukazi we mu lusuku olwali wano ku nsi. Olusuku olwo lwali luyitibwa Adeni. Lwalimu ebisolo naye nga si bya kabi eri abantu. Era lwalimu omugga omunene n’emiti egyabalanga ebibala ebiwooma ennyo. Kyali kifo kirungi nnyo eky’okubeeramu!—Olubereberye 2:8-10.
N’olwekyo, bwe tusoma nti omusajja oyo omumenyi w’amateeka ajja kubeera mu Lusuku lwa Katonda, tusaanidde okulowooza ku nsi eno ng’efuuliddwa ekifo ekirungi ennyo eky’okubeeramu. Yesu anaabeera n’omusajja oyo ku nsi eno ng’efuuliddwa Olusuku lwa Katonda?— Nedda. Omanyi lwaki Yesu tajja kubeera ku nsi kuno?—
Tajja kubeera ku nsi kuno kubanga ajja kubeera mu ggulu ng’afuga nga Kabaka ensi efuuliddwa Olusuku lwa Katonda. N’olwekyo, Yesu ajja kubeera n’omusajja oyo mu ngeri nti ajja kumuzuukiza mu bafu era akole ku byetaago bye byonna. Naye lwaki Yesu anakkiriza omusajja oyo eyali omumenyi w’amateeka okubeera mu Lusuku lwa Katonda?— Ka tulabe obanga tusobola okuddamu ekibuuzo ekyo.
Omusajja oyo bwe yali tannaba kwogera na Yesu, yali amanyi ebikwata ku bigendererwa bya Katonda?— Nedda, yali tabimanyi. Yakolanga ebintu ebibi olw’okuba yali tamanyi mazima agakwata ku Katonda. Ng’ali mu Lusuku lwa Katonda, ajja kuyigirizibwa ebikwata ku bigendererwa bya Katonda. Awo aliba n’akakisa okukiraga nti ddala ayagala Katonda ng’akola ebyo Katonda by’ayagala.
Buli muntu alizuukizibwa alibeera mu Lusuku lwa Katonda ku nsi?— Nedda, si bwe kiri. Omanyi lwaki?— Kubanga abamu bajja kuzuukizibwa babeere ne Yesu mu ggulu. Bajja kufuga ensi efuuliddwa olusuku lwa Katonda nga bali wamu ne Yesu. Ka tulabe lwaki tugamba bwe tutyo.
Mu kiro ekyasembayo nga Yesu tannattibwa, yagamba abatume be nti: ‘Mu nnyumba ya Kitange ali ggulu, mulimu ebifo bingi eby’okubeeramu, era ŋŋenda okubateekerateekera ekifo.’ Oluvannyuma Yesu yabasuubiza nti: “Nja kukomawo mbatwale gye ndi, nammwe mubeere eyo.”—Yokaana 14:2, 3.
Yesu yagenda wa ng’amaze okuzuukizibwa?— Yee, yaddayo mu ggulu okubeera ne Kitaawe. (Yokaana 17:4, 5) N’olwekyo, Yesu yasuubiza abatume be n’abagoberezi be abalala nti ajja kubazuukiza babeere naye mu ggulu. Kiki kye bajja okukola nga bali ne Yesu mu ggulu?— Bayibuli egamba nti abayigirizwa be abalina omugabo mu “kuzuukira okusooka” bajja kubeera mu ggulu era bajja kufuga ensi ‘nga bakabaka nga bali wamu naye okumala emyaka lukumi.’—Okubikkulirwa 5:10; 20:6; 2 Timoseewo 2:12.
Bantu bameka abaliba n’omugabo mu “kuzuukira okusooka” ne bafugira wamu ne Yesu nga bakabaka?— Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Temutya mmwe ekisibo ekitono, kubanga Kitammwe yasiima okubawa obwakabaka.” (Lukka 12:32) Omuwendo gw’abo abali mu ‘kisibo ekitono,’ abanaazuukizibwa ne babeera wamu ne Yesu mu Bwakabaka bwe obw’omu ggulu, mugereke. Bayibuli eraga nti abantu “emitwalo kkumi n’ena mu enkumi nnya” bazuukizibwa okuva ku nsi.—Okubikkulirwa 14:1, 3.
Bantu bameka abalibeera mu Lusuku lwa Katonda ku nsi?— Bayibuli tewa muwendo gwabwe. Naye Katonda yagamba Adamu ne Kaawa nga bali mu lusuku Adeni okuzaala abaana bajjuze ensi. Mu butuufu, ekyo tebaakituukiriza. Naye Katonda ajja kukakasa nti ekigendererwa kye eky’okujjuza ensi eno abantu abalungi kituukirizibwa.—Olubereberye 1:28; Isaaya 45:18; 55:11.
Nga kiriba kya ssanyu nnyo okubeera mu Lusuku lwa Katonda! Ensi yonna ejja kuba erabika bulungi nnyo. Ejja kubaamu ebinyonyi, ebisolo, emiti egirabika obulungi, n’ebimuli ebya buli kika. Tewalibaawo kufa, kulwala wadde obulumi. Buli omu ajja kubeera mukwano gwa munne. Bwe tuba twagala okubeera mu Lusuku lwa Katonda emirembe gyonna, kati kye kiseera okweteekateeka.
Soma ebirala ebikwata ku kigendererwa kya Katonda eri ensi mu Engero 2:21, 22; Omubuulizi 1:4; Isaaya 2:4; 11:6-9; 35:5, 6; ne 65:21-24