ESSUULA 113
Ayigiriza ku Bunyiikivu—Ttalanta
YESU AGERA OLUGERO LWA TTALANTA
Bw’aba akyali ku Lusozi olw’Emizeyituuni awamu n’abatume abana, Yesu abagerera olugero olulala. Ennaku ntono emabega, bwe yali e Yeriko, yagera olugero lwa mina okulaga nti Obwakabaka bwa kujja mu kiseera eky’omu maaso. Olugero kati lw’agera lulina ebintu ebitali bimu bye lufaanaganya n’olugero lwa mina. Olugero luno nalwo alugera ng’addamu ekibuuzo ekikwata ku kubeerawo kwe n’amafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu. Olugero luno lulaga nti abayigirizwa be balina okukola n’obunyiikivu omulimu gwe yabakwasa.
Yesu atandika ng’agamba nti: “Obwakabaka obw’omu ggulu bulinga omusajja eyali anaatera okugenda mu nsi ey’ewala, eyayita abaddu be n’abalekera ebintu bye.” (Matayo 25:14) Okuva bwe kiri nti Yesu yeegeraageranya ku musajja eyagenda mu nsi ey’ewala “okulya obwakabaka,” abatume bakitegeera bulungi nti kati “omusajja” Yesu gw’ayogerako mu lugero luno ye ye kennyini.—Lukka 19:12.
Omusajja ayogerwako mu lugero olwo bw’aba tannagenda mu nsi ey’ewala, akwasa abaddu be ebintu bye eby’omuwendo. Mu myaka esatu n’ekitundu Yesu gy’amaze mu buweereza bwe ku nsi, yeemalidde ku mulimu gw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka, era atendese n’abayigirizwa be okukola omulimu ogwo. Kati anaatera okugenda, era mukakafu nti abayigirizwa be bajja kugenda mu maaso n’omulimu gw’abatendese okukola.—Matayo 10:7; Lukka 10:1, 8, 9; geraageranya Yokaana 4:38; 14:12.
Mu lugero luno, omusajja oyo agabanya atya ebintu bye? Yesu agamba nti: “Omu n’amuwa ttalanta ttaano, omulala bbiri, n’omulala emu, buli omu okusinziira ku busobozi bwe, n’agenda.” (Matayo 25:15) Abaddu abo banaakozesa batya ebyo ebibakwasiddwa? Banaayoleka obunyiikivu nga babikozesa okukola mukama waabwe by’ayagala? Yesu agamba abatume nti:
“Amangu ago oyo eyaweebwa ttalanta ettaano n’agenda n’azisuubuzisa n’azifunamu amagoba ga ttalanta endala ttaano. Mu ngeri y’emu, n’oyo eyaweebwa ttalanta ebbiri yafunamu amagoba ga ttalanta endala bbiri. Naye oyo eyafuna emu yagenda n’asima ekinnya n’akwekamu ssente mukama we gye yamuwa.” (Matayo 25:16-18) Kiki ekinaabaawo nga mukama waabwe akomyewo?
Yesu agamba nti: “Oluvannyuma lw’ekiseera kiwanvu, mukama w’abaddu abo yajja alabe bwe baali bakozesezza ssente ze.” (Matayo 25:19) Abaddu ababiri abasooka baakola kyonna kye basobola, “buli omu okusinziira ku busobozi bwe.” Buli omu ku bo yali munyiikivu era yakozesa bulungi ebyo ebyamukwasibwa. Oyo eyakwasibwa ttalanta ettaano yafunamu endala ttaano, n’oyo eyakwasibwa ebbiri yafunamu endala bbiri. (Mu kiseera ekyo, omuntu kyali kimwetaagisa okukola okumala emyaka nga 19 okusobola okufuna ttalanta emu.) Abaddu abo bombi mukama waabwe abeebaza ng’akozesa ebigambo bye bimu. Buli omu amugamba nti: “Weebale nnyo omuddu omulungi era omwesigwa! Wali mwesigwa mu bintu ebitono, nja kukukwasa ebintu bingi. Sanyukira wamu ne mukama wo.”—Matayo 25:21.
Naye ekyo si bwe kiri eri omuddu eyakwasibwa ttalanta emu. Omuddu oyo agamba nti: “Mukama wange, nnamanya nti oli muntu muzibu, okungula wadde nga tewasiga era okuŋŋaanya wadde nga tewawewa. Kyennava ntya ne ŋŋenda nkweka ttalanta yo mu ttaka. Yiino ttalanta yo.” (Matayo 25:24, 25) Omuddu oyo ssente ezo teyaziwa na basuubuzi zisobole okuzaala amagoba ge yandiwadde mukama we. Mu butuufu, omuddu oyo teyakola ekyo mukama we ky’ayagala.
N’olwekyo tekyewuunyisa nti mukama w’abaddu omuddu oyo amuyita ‘omuddu omubi era omugayaavu.’ Ttalanta eyali yamukwasibwa emuggibwako n’eweebwa omuddu omunyiikivu. Oluvannyuma mukama w’abaddu agamba nti: “Buli alina alyongerwako era aliba na bingi; naye oyo atalina, ne ky’alina kirimuggibwako.”—Matayo 25:26, 29.
Abayigirizwa ba Yesu balina bingi eby’okulowoozaako, nga mw’otwalidde n’ebyo ebiri mu lugero luno. Bakiraba nti enkizo ey’okufuula abantu abayigirizwa Yesu gy’abakwasizza ya muwendo nnyo, era abasuubira okukola omulimu ogwo n’obunyiikivu. Yesu tabasuubira kukola kye kimu mu mulimu gw’okubuulira gw’abakwasizza. Ng’olugero olwo bwe lulaga, buli omu asaanidde okukola kyonna ky’asobola “okusinziira ku busobozi bwe.” N’olwekyo, kyeyoleka lwatu nti Yesu tasanyukira muntu yenna “omugayaavu,” agaana okukozesa obusobozi bwe mu bujjuvu okukola omulimu ogw’okubuulira.
Kyokka abatume bateekwa okuba nga basanyufu okuwulira Yesu ng’agamba nti: “Buli alina alyongerwako.”