Matayo
25 “Obwakabaka obw’omu ggulu buyinza okugeraageranyizibwa ku bawala ekkumi embeerera abaakwata ettaala zaabwe+ ne bagenda okwaniriza omugole omusajja.+ 2 Abataano baali basirusiru, naye abataano abalala baali ba magezi.+ 3 Abasirusiru baatwala ettaala zaabwe naye ne batatwala mafuta, 4 kyokka bo ab’amagezi baatwala amafuta mu ccupa zaabwe ne mu ttaala zaabwe. 5 Omugole omusajja bwe yalwawo okutuuka, bonna ne basumagira ne beebaka. 6 Awo ekiro mu ttumbi ne wabaawo aboogerera waggulu nti, ‘Omugole omusajja wuuno ajja! Mufulume mumwanirize.’ 7 Abawala bonna ne bagolokoka ne batandika okuteekateeka ettaala zaabwe.+ 8 Abawala abasirusiru ne bagamba ab’amagezi nti, ‘Mutuwe ku mafuta gammwe kubanga ettaala zaffe zinaatera okuzikira.’ 9 Abawala ab’amagezi ne babaddamu nti, ‘Bwe tubawaako gayinza obutatumala. Mugende eri abo abagatunda mwegulire.’ 10 Bwe baali bagenda okugagula, omugole omusajja n’atuuka. Abawala abaali beetegese ne bayingira naye mu nnyumba omwali ekijjulo ky’embaga ey’obugole,+ era oluggi ne luggalwawo. 11 Oluvannyuma abawala bali abalala ne bajja ne bamugamba nti, ‘Ssebo, Ssebo, tuggulirewo!’+ 12 N’abaddamu nti, ‘Mazima mbagamba nti sibamanyi.’
13 “N’olwekyo, mubeere bulindaala+ kubanga temumanyi lunaku wadde essaawa.+
14 “Obwakabaka obw’omu ggulu bulinga omusajja eyali anaatera okugenda mu nsi ey’ewala, n’ayita abaddu be n’abalekera ebintu bye.+ 15 Omu n’amuwa ttalanta* ttaano, omulala bbiri, ate omulala emu; buli omu yamuwa okusinziira ku busobozi bwe, awo n’agenda. 16 Amangu ago oyo eyaweebwa ttalanta ettaano n’agenda n’azisuubuzisa n’afunamu amagoba ga ttalanta endala ttaano. 17 Mu ngeri y’emu, n’oyo eyaweebwa ttalanta ebbiri yafunamu amagoba ga ttalanta endala bbiri. 18 Naye oyo eyafuna emu yagenda n’asima ekinnya n’akwekamu ssente* mukama we gye yamuwa.
19 “Oluvannyuma lw’ekiseera kiwanvu, mukama w’abaddu abo yajja alabe bwe baali bakozesezza ssente ze.+ 20 Oyo eyali afunye ttalanta ettaano n’ajja, n’aleeta endala ttaano n’agamba nti, ‘Mukama wange wampa ttalanta ttaano; laba, nnafunamu endala ttaano.’+ 21 Mukama we n’amugamba nti: ‘Weebale nnyo omuddu omulungi era omwesigwa! Wali mwesigwa mu bintu ebitono, nja kukukwasa ebintu bingi.+ Sanyukira wamu ne mukama wo.’+ 22 Ate oyo eyafuna ttalanta ebbiri n’ajja n’agamba nti, ‘Mukama wange wampa ttalanta bbiri; laba, nnafunamu endala bbiri.’+ 23 Mukama we n’amugamba nti: ‘Weebale nnyo omuddu omulungi era omwesigwa! Wali mwesigwa mu bintu ebitono, nja kukukwasa ebintu bingi. Sanyukira wamu ne mukama wo.’
24 “Mu nkomerero, oyo eyafuna ttalanta emu n’ajja n’agamba nti: ‘Mukama wange, nnamanya nti oli muntu muzibu, okungula wadde nga tewasiga era okuŋŋaanya wadde nga tewawewa.+ 25 Kyennava ntya ne ŋŋenda nkweka ttalanta yo mu ttaka. Ttalanta yo yiino.’ 26 Mukama we n’amuddamu nti: ‘Muddu ggwe omubi era omugayaavu, wakimanya nti nkungula wadde nga saasiga, era nti nkuŋŋaanya wadde nga saawewa, 27 kale ssente* zange wandibadde oziwa abasuubuzi,* bwe nnandizze nnandibadde nzifuna nga kuliko n’amagoba.
28 “‘N’olwekyo, ttalanta mugimuggyeeko mugiwe oyo alina ttalanta ekkumi.+ 29 Kubanga buli alina alyongerwako era aliba na bingi; naye oyo atalina, ne ky’alina kirimuggibwako.+ 30 Omuddu ono atalina mugaso mumusuule ebweru mu kizikiza. Eyo gy’alikaabira era n’aluma obugigi.’
31 “Omwana w’omuntu bw’alijjira mu kitiibwa kye+ ng’ali wamu ne bamalayika bonna,+ alituula ku ntebe ye ey’ekitiibwa. 32 Amawanga gonna galikuŋŋaanyizibwa mu maaso ge era alyawulamu abantu ng’omusumba bw’ayawula endiga okuva mu mbuzi. 33 Aliteeka endiga ku mukono gwe ogwa ddyo,+ ate embuzi ku mukono gwe ogwa kkono.+
34 “Awo Kabaka aligamba abo abali ku mukono gwe ogwa ddyo nti: ‘Mujje mmwe Kitange be yawa omukisa, musikire Obwakabaka obwabateekerwateekerwa okuva ku ntandikwa y’ensi.* 35 Kubanga nnalumwa enjala ne mumpa eky’okulya; nnalumwa ennyonta ne mumpa eky’okunywa. Nnali mugenyi ne munsembeza;+ 36 saalina kya kwambala* ne mumpa eky’okwambala.+ Nnali mulwadde ne munzijanjaba. Nnali mu kkomera ne mujja okundaba.’+ 37 Awo abatuukirivu balimuddamu nti: ‘Mukama waffe, twakulaba ddi ng’olumwa enjala ne tukuwa eky’okulya, oba ng’olumwa ennyonta ne tukuwa eky’okunywa?+ 38 Twakulaba ddi ng’oli mugenyi ne tukusembeza, oba nga tolina kya kwambala ne tukuwa eky’okwambala? 39 Twakulaba ddi ng’oli mulwadde oba ng’oli mu kkomera ne tujja okukulaba?’ 40 Kabaka alibaddamu nti, ‘Mazima mbagamba nti, ebyo bwe mwabikoleranga omu ku baganda bange bano abasembayo okuba aba wansi, mwabanga mubikolera nze.’+
41 “Awo aligamba abo abali ku mukono gwe ogwa kkono nti: ‘Muve we ndi+ mmwe abakolimiddwa; mugende mu muliro ogutazikira+ ogwategekerwa Omulyolyomi ne bamalayika be.+ 42 Kubanga nnalumwa enjala ne mutampa kya kulya; nnalumwa ennyonta ne mutampa kya kunywa. 43 Nnali mugenyi ne mutansembeza; saalina kya kwambala ne mutampa kya kwambala; nnali mulwadde era nnali mu kkomera ne mutajja kundaba.’ 44 Nabo balimuddamu nti: ‘Mukama waffe twakulaba ddi ng’olumwa enjala oba ennyonta oba ng’oli mugenyi oba nga tolina kya kwambala oba ng’oli mulwadde oba ng’oli mu kkomera ne tutakuyamba?’ 45 Naye alibaddamu nti, ‘Mazima mbagamba nti okuva ebyo bwe mutaabikolera omu ku bano abasembayo okuba aba wansi, nange temwabinkolera.’+ 46 Abo baligenda mu kufa okw’olubeerera,+ naye abatuukirivu baligenda mu bulamu obutaggwaawo.”+