Kulaakulanya Omutima Ogutya Yakuwa
“Singa bakulaakulanya emitima gyabwe okuntya era ne beekuuma ebiragiro byange byonna ennaku zonna.”—EKYAMATEEKA 5:29, NW.
1. Tuyinza tutya okuba abakakafu nti lumu abantu bajja kulekera awo okutya?
ABANTU babadde mu kutya okumala ebikumi n’ebikumi by’emyaka. Okutya enjala, obulwadde, obumenyi bw’amateeka, oba entalo kuleetedde obukadde n’obukadde bw’abantu okweraliikirira buli kiseera. N’olw’ensonga eyo, ennyanjula y’ekiwandiiko Universal Declaration of Human Rights, (Ekirangiriro ky’Ensi Yonna ku Ddembe ly’Obuntu), eyogera ku kuleetawo ensi abantu bonna mwe bajja okufunira eddembe awatali kutya.a Eky’essanyu, Katonda kennyini atukakasa nti ensi bw’etyo ejja kubaawo, wadde nga si lwa kufuba kw’abantu. Okuyitira mu nnabbi we Mikka, Yakuwa atusuubiza nti mu nsi ye empya ey’obutuukirivu, ‘tewalibaawo akanga bantu be.’—Mikka 4:4.
2. (a) Ebyawandiikibwa bitukubiriza bitya okutya Katonda? (b) Bibuuzo ki ebiyinza okujjawo bwe tulowooza ku buvunaanyizibwa bwaffe obw’okutya Katonda?
2 Ku luuyi olulala, okutya kuyinza okuba okw’omuganyulo. Mu Byawandiikibwa, abaweereza ba Yakuwa bakubirizibwa entakera okumutya. Musa yagamba Abaisiraeri: “Onootyanga Mukama Katonda wo; era oyo onoomuweerezanga.” (Ekyamateeka 6:13) Nga wayiseewo ebyasa by’emyaka, Sulemaani yawandiika: ‘Otyanga Katonda ow’amazima, era kwata ebiragiro bye. Kubanga kino bwe buvunaanyizibwa bwonna obw’omuntu.’ (Omubuulizi 12:13) Okuyitira mu mulimu gwaffe ogw’okubuulira, ogukolebwa wansi w’obulagirizi bwa bamalayika, naffe tukubiriza abantu bonna ‘okutya Katonda era bamuwe ekitiibwa.’ (Okubikkulirwa 14:6, 7) Ng’oggyeko okutya Yakuwa, era Abakristaayo bateekwa okumwagala n’emitima gyabwe gyonna. (Matayo 22:37, 38) Tuyinza tutya okwagala Katonda ng’ate bwe tumutya? Lwaki kyetaagisa okutya Katonda omwagazi? Tufuna miganyulo ki bwe tukulaakulanya okutya Katonda? Okusobola okuddamu ebibuuzo ebyo, tuteekwa okusooka okutegeera okutya Katonda kye kitegeeza era n’engeri okutya okwo gye kuli okukulu mu nkolagana yaffe ne Yakuwa.
Okuwuniikirira, Okuwa Ekitiibwa, n’Okutya
3. Okutya Katonda kutegeeza ki?
3 Abakristaayo bandibadde batya Omutonzi waabwe. Okutya kuno olumu kunnyonnyolwa nga “okuwuniikirira n’okuwa Omutonzi ekitiibwa era n’okwewala okumunyiiza.” N’olwekyo, okutya Katonda kukwata ku bintu bibiri ebikulu mu bulamu bwaffe: endowooza gye tulina eri Katonda, n’endowooza gye tulina ku mpisa z’akyawa. Kya lwatu, ebintu ebyo byombi bikulu era twetaaga okubyekenneenya obulungi. Nga enkuluze eyitibwa Vine’s Expository Dictionary of New Testament Words bw’ekiraga, eri Abakristaayo, okutya kuno kwe ‘kufuga obulamu bwabwe mu bintu eby’omwoyo era n’empisa.’
4. Tuyinza tutya okuwa Omutonzi waffe ekitiibwa?
4 Tuyinza tutya okuwa Omutonzi waffe ekitiibwa? Tuwuniikirira bwe tulaba ekifo ekirabika obulungi, ekiyiriro ky’amazzi, oba enjuba ng’egolooba. Tweyongera okuwuniikirira bwe tulaba n’amaaso gaffe ag’okukkiriza nti Katonda ye yatonda ebintu ebyo. Era, okufaananako Kabaka Dawudi, tutegeera nti tetulina bwe tuli bwe twegeraageranya n’ebitonde bya Yakuwa eby’ekitalo. “Bwe ndowooza eggulu lyo, omulimu gw’engalo zo, omwezi n’emmunyeenye, bye walagira; omuntu kye kiki, ggwe okumujjukira?” (Zabbuli 8:3, 4) Okuwuniikirira okwo kutuviiramu okuwa Yakuwa ekitiibwa era ne kituleetera okumwebaza n’okumutendereza olw’ebyo byonna by’atukolera. Dawudi era yawandiika: “Naakwebazanga; kubanga okukolebwa kwange kwa ntiisa, kwa kitalo: emirimu gyo gya kitalo; n’ekyo emmeeme yange ekimanyidde ddala.”—Zabbuli 139:14.
5. Lwaki twanditidde Yakuwa, era tulina kyakulabirako ki ekirungi ku nsonga eyo?
5 Okuwa Katonda ekitiibwa kituleetera okumutya mu ngeri ey’omuganyulo olw’okuba ye Mutonzi era Omufuzi omutuufu ow’obutonde bwonna. Mu kwolesebwa, omutume Yokaana kwe yafuna, abagoberezi ba Kristo abaafukibwako amafuta nga bali mu ggulu, ‘baava eri ensolo n’ekifaananyi kyayo nga bawangudde’ ne balangirira: “Mukama Katonda, Omuyinza w’ebintu byonna; ga butuukirivu era ga mazima amakubo go, ggwe Kabaka ow’emirembe n’emirembe. Ani atalitya, Mukama, n’ataliwa kitiibwa erinnya lyo?” (Okubikkulirwa 15:2-4) Okutya Katonda, nga kusibuka mu kumuwa ekitiibwa olw’obukulu bwe, kuleetera abo abanaafuga ne Kristo mu Bwakabaka obw’omu ggulu okutendereza Katonda ng’oyo alina obuyinza obw’oku ntikko. Bwe twekenneenya ebyo byonna Yakuwa by’atuukirizza era n’engeri gy’afugamu obutonde bwonna mu butuukirivu, tetuba na nsonga nnungi okumutya?—Zabbuli 2:11; Yeremiya 10:7.
6. Lwaki twandyewaze okunyiiza Yakuwa?
6 Kyokka, ng’oggyeko okuwa Katonda ekitiibwa, okumutya kwanditwaliddemu okwewala okumunyiiza oba okumujeemera. Lwaki? Kubanga wadde nga Yakuwa “alwawo okusunguwala, era [ng’]alina okusaasira okungi ,” tuteekwa okujjukira nti ‘talirema kubonereza oyo alina omusango.’ (Okuva 34:6, 7) Wadde nga Yakuwa asonyiwa era nga wa kisa, tagumiikiriza bubi n’akamu wadde aboonoona mu bugenderevu. (Zabbuli 5:4, 5; Kaabakuuku 1:13) Abo aboonoona mu bugenderevu mu maaso ga Yakuwa era ne bateenenya, bajja kubonerezebwa. Ng’omutume Pawulo bwe yagamba, “kya ntiisa okugwa mu mikono gya Katonda omulamu.” Okutya okukola ekyo bukuumi bwa maanyi nnyo gye tuli.—Abaebbulaniya 10:31.
‘Mumunywerereko’
7. Tulina nsonga ki okwesiga amaanyi ga Yakuwa agalokola?
7 Okutya Katonda n’okutegeera amaanyi ge biviirako okumwesiga. Ng’omwana omuto bw’awulira emirembe nga kitaawe amuli kumpi, naffe tuwulira obukuumi wansi w’obulagirizi bwa Yakuwa. Weetegereze engeri Abaisiraeri gye baawuliramu oluvannyuma lwa Yakuwa okubaggya mu Misiri: “Isiraeri ne balaba omulimu omunene Mukama gwe yakola Abamisiri, abantu ne bamutya Mukama; ne bamukkiriza Mukama.” (Okuva 14:31) Ebyatuuka ku Erisa nabyo bikakasa nti ‘malayika wa Yakuwa asiisira okwetooloola abo abatya Yakuwa, nnabalokola.’ (Zabbuli 34:7; 2 Bassekabaka 6:15-17) Ebyafaayo ebikwata ku bantu ba Yakuwa leero era n’ebitutuuseeko kinnoomu bikakasa nti Katonda alaga amaanyi ge ku lw’abo abamuweereza. (2 Ebyomumirembe 16:9) N’olwekyo, tukitegeera nti “mu kutya Yakuwa mulimu obwesige obw’amaanyi.”—Engero 14:26, NW.
8. (a) Lwaki okutya Katonda kutukubiriza okutambulira mu makubo ge? (b) Nnyonnyola engeri gye tuyinza ‘okunywerera’ ku Yakuwa.
8 Okutya Yakuwa okw’omuganyulo tekutuleetera kumwesiga kyokka, naye era kutukubiriza okutambulira mu makubo ge. Sulemaani bwe yawaayo yeekaalu eri Yakuwa yasaba: “[Ka Isiraeri] balyoke bakutye [batambulirenga] mu makubo go ennaku zonna ze balimala mu nsi gye wawa bajjajjaffe.” (2 Ebyomumirembe 6:31) Emabegako, Musa yakubiriza Abaisiraeri: “Munaatambulanga okugoberera Mukama Katonda wammwe ne mwekuumanga ebiragiro bye ne muwuliranga eddoboozi lye, era munaamuweerezanga, ne mwegattanga naye [“ne mumunywererako,” NW].” (Ekyamateeka 13:4) Ng’ennyiriri ezo bwe ziraga obulungi, okwegomba okutambulira mu makubo ga Yakuwa era ‘n’okumunywererako’ biva mu kumwesiga. Yee, okutya Katonda kutukubiriza okumugondera, okumuweereza era n’okumunywererako ng’omwana omuto bw’anywerera ku kitaawe gwe yeesiga.—Zabbuli 63:8; Isaaya 41:13.
Okwagala Katonda Kitegeeza Okumutya
9. Kakwate ki akali wakati w’okwagala Katonda n’okumutya?
9 Okusinziira ku Byawandiikibwa, okutya Katonda tekitulobera kumwagala. Abaisiraeri baakubirizibwa “okutyanga Mukama . . . okutambuliranga mu makubo ge gonna, n’okumwagala.” (Ekyamateeka 10:12) N’olwekyo, okutya Katonda n’okumwagala bigendera wamu. Okutya Katonda kutukubiriza okutambulira mu makubo ge, era ekyo ne kikakasa nti tumwagala. (1 Yokaana 5:3) Kino kitegeerekeka bulungi kubanga bwe tuba twagala omuntu, tuba tutya okumunyiiza. Abaisiraeri baanyiiza Yakuwa olw’obwewagguzi bwabwe mu ddungu. Kya lwatu, ffe tetwandyagadde kukola kintu kyonna ekyandinyiizizza Kitaffe ow’omu ggulu. (Zabbuli 78:40, 41) Ku luuyi olulala, okuva ‘Yakuwa bw’asiima abo abamutya,’ obuwulize bwaffe n’obwesigwa busanyusa omutima gwe. (Zabbuli 147:11; Engero 27:11) Okwagala Katonda kutukubiriza okumusanyusa ate okumutya kutukugira okumunyiiza. Engeri ezo tezikontana wabula buli emu ejjuuliriza ginnaayo.
10. Yesu yalaga atya nti asanyukira okutya Yakuwa?
10 Obulamu bwa Yesu Kristo bwoleka engeri gye twandyagaddemu Katonda ate era ne tumutya. Ku bikwata ku Yesu, nnabbi Isaaya yawandiika: “N’omwoyo gwa Mukama gulibeera ku ye, omwoyo ogw’amagezi n’okutegeera, omwoyo ogw’okuteesa n’amaanyi, omwoyo ogw’okumanya n’okutya Mukama; n’okutya Mukama kw’alisanyukira.” (Isaaya 11:2, 3) Okusinziira ku bunnabbi buno, omwoyo gwa Katonda gwakubiriza Yesu okutya Kitaawe ow’omu ggulu. Era tulaba nti okutya kuno tekwali mugugu gy’ali, wabula kwamuleetera okumatira. Yesu yafuna essanyu mu kukola Katonda by’ayagala era n’okumusanyusa wadde ne mu mbeera enzibu ennyo. Bwe yali ng’anaatera okukomererwa ku muti, yagamba Yakuwa: “Si nga nze bwe njagala, wabula nga ggwe bw’oyagala.” (Matayo 26:39) Olw’okuba Yesu yatya Katonda mu ngeri eno, Yakuwa kye yava awuliriza okusaba kwe, n’amuzzaamu amaanyi era n’amulokola mu kufa.—Abaebbulaniya 5:7.
Okuyiga Okutya Yakuwa
11, 12. (a) Lwaki twandiyize okutya Katonda? (b) Yesu atuyigiriza atya okutya Yakuwa?
11 Okwawukana ku kuwuniikirira nga tulabye ebitonde, okutya Katonda tekujjawo kwokka. Eyo ye nsonga lwaki, Yesu, Dawudi Omukulu, atwaniriza: “Mujje, mmwe abaana abato, mumpulire: [n] naabayigirizanga okutya Mukama.” (Zabbuli 34:11) Tuyinza tutya okuyigira ku Yesu okutya Yakuwa?
12 Yesu atuyigiriza okutya Yakuwa ng’atuyamba okutegeera engeri ennungi eza Kitaffe ow’omu ggulu. (Yokaana 1:18) Ekyokulabirako kya Yesu kennyini kyoleka endowooza ya Katonda era n’engeri gy’akolaganamu n’abalala, kubanga Yesu yayolekera ddala engeri za Kitaawe. (Yokaana 14:9, 10) Ate era, okuyitira mu ssaddaaka ya Yesu, tusobola okutuukirira Yakuwa nga tumusaba atusonyiwe ebibi byaffe. Ekikolwa kya Katonda kino eky’ekisa ekingi, ku bwakyo nsonga nkulu nnyo eyandituleetedde okumutya. Omuwandiisi wa Zabbuli yawandiika: “Naye waliwo okusonyiwa w’oli, olyoke otiibwenga.”—Zabbuli 130:4.
13. Mitendera ki egiri mu kitabo ky’Engero egituyamba okutya Yakuwa?
13 Ekitabo ky’Engero kiraga emitendera egitusobozesa okukulaakulanya okutya Katonda. “Mwana wange, bw’onokkirizanga ebigambo byange, n’oterekanga ebiragiro byange ewuwo; n’okutega n’oteganga okutu kwo eri amagezi, n’ossangayo omutima gwo eri okutegeera; weewaawo, bw’onookaabiranga okumanya, n’oliriranga okutegeera; . . . kale lw’olitegeera okutya Mukama, n’ovumbula okumanya Katonda.” (Engero 2:1-5) N’olwekyo, okusobola okutya Katonda, tuteekwa okusoma Ekigambo kye, okufuba okutegeera ebikirimu, era n’okukigoberera.
14. Tuyinza tutya okukoppa obulagirizi obwaweebwa bakabaka ba Isiraeri?
14 Buli kabaka wa Isiraeri ey’edda yalagirwa okukoppolola Amateeka era ‘agasome ebbanga lyonna ery’obulamu bwe, asobole okuyiga okutya Yakuwa, Katonda we, era asobole okwekuuma ebigambo byonna ebiri mu mateeka.’ (Ekyamateeka 17:18, 19) Okusoma n’okuyiga Baibuli bikulu nnyo bwe tuba ab’okuyiga okutya Yakuwa. Nga tugoberera emisingi gya Baibuli mu bulamu bwaffe, mpolampola tufuna amagezi n’okumanya ebiva eri Katonda. Bwe kityo tutegeera ‘okutya Katonda,’ kubanga tulaba bwe kiganyula obulamu bwaffe, era enkolagana yaffe naye ne tugitwala nga ya muwendo. Era, bwe tukuŋŋaana obutayosa ne bakkiriza banaffe, abato n’abakulu basobola okuwuliriza ebyo Katonda by’ayigiriza, ne bayiga okumutya, era ne batambulira mu makubo ge.—Ekyamateeka 31:12.
Balina Essanyu Bonna Abatya Yakuwa
15. Mu ngeri ki okutya Katonda gye kukwatagana n’okusinza kwaffe?
15 Okusinziira ku bye twekenneenyeza, tukiraba nti okutya Katonda y’engeri ey’omuganyulo ffenna gye twandikulaakulanyizza, okuva bwe kuli ekitundu ekikulu eky’okusinza kwaffe. Kutuleetera okumwesigira ddala, okutambulira mu makubo ge, era n’okumunywererako. Nga bwe kyali eri Yesu Kristo, naffe okutya Katonda kuyinza okutukubiriza okutuukiriza okwewaayo kwaffe gy’ali kaakati era n’emirembe gyonna.
16. Lwaki Yakuwa atukubiriza okumutya?
16 Okutya Katonda si kwa ntiisa era tekukugira mu ngeri etagasa. Baibuli etukakasa nti: “Alina essanyu buli atya Yakuwa, oyo atambulira mu makubo ge.” (Zabbuli 128:1, NW) Yakuwa atukubiriza okumutya kubanga amanyi nti kijja kutukuuma. Tulaba okufaayo kwe mu bigambo bye eri Musa: “Singa [Abaisiraeri] bakulaakulanya emitima gyabwe okuntya era ne beekuuma ebiragiro byange byonna ennaku zonna, balyoke balabenga obulungi n’abaana baabwe emirembe gyonna!”—Ekyamateeka 5:29, NW.
17. (a) Tufuna miganyulo ki bwe tutya Katonda? (b) Biki ebikwata ku kutya Katonda ebijja okwekenneenyezebwa mu kitundu ekiddako?
17 Mu ngeri y’emu, singa tukulaakulanya emitima egitya Katonda, tujja kulaba ebirungi. Mu ngeri ki? Okusooka, okukola ekyo kijja kusanyusa Katonda era kijja kunyweza enkolagana yaffe naye. Dawudi yakimanya okuva ku ebyo ebyamutuukako nti ‘Katonda anaatuukirizanga abo abamutya kye baagala; era anaawuliranga okukaaba kwabwe, era abalokole.’ (Zabbuli 145:19) Eky’okubiri, okutya Katonda kujja kutuganyula kubanga kujja kutuyamba okwewala ebikolwa eby’akabi. (Engero 3:7) Ekitundu ekiddako kijja kwekenneenya engeri okutya kuno gye kutukuuma okuva ku kabi ak’eby’omwoyo. Era kijja kuwa ebyokulabirako okuva mu Byawandiikibwa eby’abasajja abaatya Katonda ne beewala ebikolwa ebibi.
[Obugambo obuli wansi]
a Olukiiko Olukulu olw’Ekibiina ky’Amawanga Amagatte lwatongoza Ekiwandiiko Universal Declaration of Human Rights nga Ddesemba 10, 1948.
Osobola Okuddamu Ebiddirira?
• Kitegeeza ki okutya Katonda, era ekyo kikukwatako kitya?
• Kakwate ki akali wakati w’okutya Katonda n’okutambula naye?
• Ekyokulabirako kya Yesu kiraga kitya engeri okutya Katonda n’okumwaga la gye bigendera awamu?
• Mu ngeri ki gye tuyinza okukulaakulanyamu emitima egitya Yakuwa?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 22]
Bakabaka ba Isiraeri baalagirwa okukoppolola Amateeka era n’okugasoma buli lunaku
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]
Okutya Yakuwa kutuleetera okumwesiga ng’omwana bwe yeesiga kitaawe
[Ensibuko y’ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]
Emunnyeennye: Photo by Malin, © IAC/RGO 1991