Okwesomesa Okutusobozesa Okubeera Abasomesa Abalungi
“Ebyo obirowoozenga, obeerenga mu ebyo; okuyitirira kwo kulabikenga eri bonna. Weekuumenga wekka n’okuyigiriza kwo.”—1 TIMOSEEWO 4:15, 16.
1. Ebiseera birina kakwate ki n’okwesomesa?
“BULI kintu kirina ekiseera kyakyo,” Baibuli bw’etyo bw’egamba mu Omubuulizi 3:1 (NW). Bwe kityo bwe kiri ne ku kwesomesa. Bangi kibazibuwalira okulowooza ku bintu eby’omwoyo bwe babeera mu kifo ekikyamu oba mu budde obukyamu. Ng’ekyokulabirako, bw’okomawo ku mulimu ng’okooye, n’olya ekyeggulo n’obwegera, n’otuula mu ntebe yo ey’olugalaamirizo, n’otunuulira ttivi, muli wandiwulidde ng’oyagala okwesomesa? N’akatono. Kati olwo kiki kye tulina okukola? Tulina okulondawo ekiseera n’ekifo ekituufu bwe tuba ab’okuganyulwa mu kwesomesa.
2. Kiseera ki ekisinga okuba ekirungi okwesomesezaamu?
2 Bangi bakisanga nti obudde bw’oku makya buba bulungi nnyo okwesomesezaamu kubanga obwongo bwabwe buba tebunnakoowa. Abalala bakozesa akaseera k’amalya g’ekyemisana okwesomesa. Weetegereze Baibuli bw’eyogera ku biseera eby’okukoleramu ebintu eby’omwoyo mu byokulabirako bino wammanga. Kabaka Dawudi ow’edda yawandiika: “Ompulizenga enkya ekisa kyo ekirungi, kubanga neesiga ggwe. Ontegeeze ekkubo eriŋŋwanira okutambuliramu, kubanga nnyimusa emmeeme yange eri ggwe.” (Zabbuli 143:8) Nnabbi Isaaya naye yalaga okusiima mu ngeri y’emu bwe yagamba: “Mukama Katonda ampadde olulimi lw’abo abayigirizibwa, ndyoke mmanye okugumya n’ebigambo oyo akooye: azuukusa buli lukya, azuukusa okutu kwange okuwulira ng’abo abayigirizibwa.” Ekyo kitegeeza nti tulina okwesomesa n’okweyabiza Yakuwa ng’obwongo bwaffe tebunnakoowa ekiseera kyonna mu lunaku.—Isaaya 50:4, 5; Zabbuli 5:3; 88:13.
3. Mbeera ki ezeetaagisa okusobola okwesomesa obulungi?
3 Ensonga endala etuyamba okwesomesa obulungi, bwe butatuula mu ntebe ey’eggandaalo. Bwe tutuula mu ntebe ng’eyo, tetuyinza kuba bazuukufu. Ekirala, ekitusobozesa okwesomesa obulungi n’okufumiitiriza, kwe kubeera mu kifo ekisirifu ekitaliimu bituwugula. Bw’onogezaako okusomera mu kifo awali ttivi, leediyo oba abaana, tojja kuganyulwa. Yesu bwe yali ayagala okufumiitiriza, yagenda mu kifo ekisirifu. Era yayogera ne ku bukulu bw’okufuna ekifo awatali bantu okusobola okusaba.—Matayo 6:6; 14:13; Makko 6:30-32.
Okwesomesa Okutusobozesa Okuddamu Ebibuuzo
4, 5. Mu ngeri ki brocuwa Atwetaagisa gyeri ey’omugaso?
4 Tufuna essanyu mu kwesomesa bwe tukozesa ebitabo ebituyamba okutegeera Baibuli naddala nga tulina ekibuuzo ky’omuntu kye twagala okuddamu. (1 Timoseewo 1:4; 2 Timoseewo 2:23) Abappya bangi batandikira ku brocuwa Katonda Atwetaagisa Ki?,a kati eri mu nnimi 261. Brocuwa eyo nnyangu nnyo, etuukira ddala ku nsonga era yonna yeesigamiziddwa ku Baibuli. Eyamba abagisoma okutegeera amangu emitindo gya Katonda egikwata ku kusinza okw’amazima. Kyokka, engeri gye yawandiikibwamu tesobozesa kunnyonnyola mu bujjuvu buli mutwe ogugirimu. Singa omuyizi wo abuuza ebibuuzo mu bwesimbu ku ebyo bye muba musoma ebikwata ku Baibuli, osobola otya okufuna ebisingawo okuva mu Baibuli ebinaamuyamba okuddamu ebibuuzo ebyo?
5 Abo abalina Watchtower Library ku kompyuta mu lulimi lwabwe, kibanguyira okunoonyereza ku bintu bingi. Naye ate abo abatagirina? Ka twekkenneenye emitwe ebiri egyogerwako mu brocuwa Atwetaagisa tulabe engeri gye tuyinza okugaziya ku kutegeera kwaffe ne tuba nga tusobola okuddamu obulungi omuntu, naddala singa abuuza ebibuuzo gamba nga Katonda y’Ani, ne ddala Yesu yali ani?—Okuva 5:2; Lukka 9:18-20; 1 Peetero 3:15.
Katonda y’Ani?
6, 7. (a) Bibuuzo ki ebikwata ku Katonda ebijjawo? (b) Munnaddiini omu yalekayo ki ekikulu ennyo mu kwogera kwe?
6 Essomo 2 mu brocuwa Atwetaagisa liddamu ekibuuzo ekikulu, Katonda y’Ani? Eyo nsonga nkulu nnyo kubanga omuntu tasobola kusinza Katonda ow’amazima nga tamumanyi oba ng’abuusabuusa nti ddala gy’ali. (Abaruumi 1:19, 20; Abaebbulaniya 11:6) Kyokka, okwetooloola ensi yonna abantu balina endowooza ez’enjawulo ezikwata ku Katonda. (1 Abakkolinso 8:4-6) Buli ddiini Katonda emunnyonnyola bwayo. Amadiini ga Kristendomu agasinga, gatwala Katonda okuba Tiriniti. Munnaddiini omu omututumufu mu Amerika yawa emboozi eyalina omutwe “Omanyi Katonda?” naye mu kwogera kwe kwonna teyakoona ku linnya lya Katonda, wadde nga yajuliza mu byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya emirundi n’emirundi. Yasoma mu nkyusa ya Baibuli etakozesa Yakuwa oba Yahweh, wabula ekigambo “Mukama,” ekigambo ekiyinza okutegeerebwa mu ngeri za mirundi ebiri oba n’okusingawo.
7 Nga munnaddiini oyo yalekayo ensonga enkulu ennyo bwe yajuliza Yeremiya 31:33, 34: “Nga olwo omuntu takyayigiriza munne na buli muntu muganda we nga boogera nti “Manya Mukama” [“Manya Yakuwa” mu Lwebbulaniya] kubanga bonna balimmanya, okuva ku muto ku bo okutuuka ku mukulu ku bo, bw’ayogera Mukama [Yakuwa, mu Lwebbulaniya].” Enkyusa ya Baibuli gye yakozesa teyaliimu linnya lya Katonda, Yakuwa.—Zabbuli 83:18.
8. Kiki ekiraga obukulu bw’okukozesa erinnya lya Katonda?
8 Zabbuli 8:9 (NW) eraga lwaki okukozesa erinnya lya Yakuwa kikulu nnyo: “Ai Yakuwa Mukama waffe, erinnya lyo nga ddungi nnyo mu nsi zonna!” Ekyo kigeraageranye ne: “Ai Mukama, Mukama waffe, erinnya lyo nga ddungi nnyo mu nsi zonna!” Kyokka, nga bwe kyayogerwako mu kitundu ekyayita, tusobola okuvumbula ‘okumanya okukwata ku Katonda’ singa tuleka Ekigambo kye okututangaaza. Naye kitabo ki ekinaatuyamba okutegeera Baibuli, kye tuyinza okukozesa okuddamu ebibuuzo ebikwata ku bukulu bw’erinnya lya Katonda?—Engero 2:1-6.
9. (a) Brocuwa ki eyinza okutuyamba okunnyonnyola abantu obukulu bw’okukozesa erinnya lya Katonda? (b) Abavvuunuzi ba Baibuli bangi balemereddwa batya okussa ekitiibwa mu linnya lya Katonda?
9 Tuyinza okukozesa brocuwa The Divine Name That Will Endure Forever, ekyusiddwa mu nnimi 69.b Omutwe “God’s Name—Its Meaning and Pronunciation” (Erinnya Lya Katonda—Amakulu Gaalyo n’Enjatula Yaalyo) ogusangibwa ku mpapula 6-11 gulaga bulungi nti Ekigambo ky’Olwebbulaniya eky’ennyukuta ennya ezikola erinnya lya Katonda, kisangibwa kumpi emirundi 7,000 mu byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya. Kyokka, mu bugenderevu abakadde b’amakanisa n’abavvuunuzi ba Baibuli aba Kristendomu n’ab’eddiini y’Ekiyudaaya tebaateeka linnya lya Katonda mu nkyusa zaabwe eza Baibuli ezisinga obungi.c Kati olwo, basobola batya okugamba nti bamanyi Katonda era nti balina enkolagana ennungi naye kyokka nga bagaana okumuyita erinnya lye? Erinnya lye ettuufu lituyamba okutegeera ebigendererwa bye ne ky’ali. Ekirala, ebigambo ebiri mu ssaala ya Yesu eya “Kitaffe ali mu ggulu, erinnya lyo litukuzibwe” biba na makulu ki ng’erinnya lya Katonda terikozesebwa na kukozesebwa?—Matayo 6:9; Yokaana 5:43; 17:6.
Yesu Kristo y’Ani?
10. Tuyinza tutya okumanya mu bujjuvu ebikwata ku bulamu n’obuweereza bwa Yesu?
10 Essomo 3 mu brocuwa Atwetaagisa lirina omutwe “Yesu Kristo y’Ani?” Mu butundu mukaaga bwokka, lyogera mu bufunze ku Yesu, gye yava, n’ensonga lwaki yajja ku nsi. Naye, bw’oba oyagala okumanya ebikwata ku bulamu bwe bwonna ng’ali ku nsi, ng’oggyeko Enjiri, teri kisinga kubinnyonnyola ng’ekitabo The Greatest Man Who Ever Lived, ekiri mu nnimi 111.* Ekitabo ekyo kyogera ku bulamu bwa Yesu n’enjigiriza ze mu ngeri ensengeke obulungi okusinziira ku Njiri ennya eziri mu Baibuli. Essuula 133 ezikirimu zoogera ku bulamu n’obuweereza bwa Yesu. Bw’oba oyagala okulaba engeri endala gye basengeseemu ebikwata ku bulamu bwa Yesu, oyinza okukebera mu Insight, Omuzingo 2 wansi w’omutwe “Jesus Christ.”
11. (a) Kiki ekifuula Abajulirwa ba Yakuwa okuba abaawufu ku madiini amalala ku ndowooza gye balina ku Yesu? (b) Ebimu ku byawandiikibwa ebiraga obukyamu bw’enjigiriza ya Tiriniti bye biruwa, era brocuwa ki eyinza okutuyamba ku nsonga eyo?
11 Mu Kristendomu, eriyo okukubagana empawa ku nsonga obanga ‘Yesu Mwana wa Katonda’ oba ye ‘Katonda Omwana’—mu ngeri endala enkaayana eri ku ekyo katikiisimu kyeyita “ekyama ekikulu eky’enzikiriza ya Kristo,” Tiriniti. Nga baawukana ku madiini ga Kristendomu, Abajulirwa ba Yakuwa bakkiriza nti Yesu yatondebwa Katonda naye ye si Katonda. Brocuwa ennyonnyola obulungi ensonga eyo, eyitibwa Should You Believe in the Trinity?, era yakyusibwa mu nnimi 95.d Ebimu ku byawandiikibwa ebingi by’ekozesa okulaga obukyamu bw’enjigiriza ya Tiriniti bye bino: Makko 13:32 ne 1 Abakkolinso 15:24, 28.
12. Bibuuzo ki ebirala bye twetaaga okuddamu?
12 Ebyogeddwako waggulu ebikwata ku Katonda ne Yesu Kristo biraga engeri ze tuyinza okwesomesaamu ffekka nga tulina ekigendererwa eky’okuyamba abo abatamanyi mazima ga Baibuli basobole okufuna okumanya okutuufu. (Yokaana 17:3) Naye kiri kitya eri abo abamaze emyaka emingi mu kibiina Ekikristaayo? Bakyetaaga okwesomesa Ekigambo kya Yakuwa ng’ate baayiga dda ebintu bingi nnyo mu Baibuli?
Lwaki ‘Twandyekuumyenga’?
13. Ndowooza ki enkyamu abamu gye bayinza okuba nayo ku kwesomesa?
13 Abamu ku abo abaludde mu kibiina kya Yakuwa bayinza okuba abamativu n’ebyo bye baayiga mu Baibuli nga baakafuuka Abajulirwa ba Yakuwa. Kyangu okugamba: “Seetaaga kwesomesa nnyo ng’abappya. Nsomye Baibuli n’ebitabo ebigyesigamyeko emirundi mingi mu myaka egiyise.” Ekyo kyenkanankana n’okugamba nti: “Kati seetaaga kufaayo nnyo ku ndya yange kubanga mbadde ndya emmere okumala emyaka mingi.” Tumanyi nti okusobola okuba omulamu obulungi, buli lunaku omubiri gwetaaga emmere efumbiddwa obulungi era erimu ebiriisa. Nga kikulu nnyo n’okusingawo okulabirira embeera yaffe ey’eby’omwoyo!—Abaebbulaniya 5:12-14.
14. Lwaki tulina okwekuumanga?
14 N’olwekyo, ka tube nga tuludde nga tuyiga Baibuli oba nga twakatandika, tulina okussaayo omwoyo ku kubuulira kwa Pawulo eri Timoseewo, eyali akuze mu by’omwoyo era nga mulabirizi ow’obuvunaanyizibwa: “Weekuumenga wekka n’okuyigiriza kwo. Nyiikiriranga mu ebyo; kubanga bw’okola bw’otyo, olyerokola wekka era n’abo abakuwulira.” (1 Timoseewo 4:15, 16) Lwaki twandisizzaayo omwoyo ku magezi ga Pawulo? Jjukira, Pawulo era yalaga nti ‘tumeggana ne Setaani’ era ‘n’emyoyo emibi mu bifo ebya waggulu.’ Ate omutume Peetero naye yalabula nti Setaani “anoonya gw’anaalya,” era “gw’anaalya” ayinza okuba omuntu yenna ku ffe. Bwe tutaba bulindaala tuyinza okuwa Setaani omwagaanya okutuukiriza ky’ayagala.—Abaefeso 6:11, 12; 1 Peetero 5:8.
15. Byakulwanyisa ki eby’eby’omwoyo bye tulina era tuyinza kubirabirira tutya?
15 Kati olwo bya kulwanyisa ki bye tulina? Omutume Pawulo atujjukiza: “Mutwalenga ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke muyinzenga okuguma ku lunaku olubi, era bwe mulimala okukola byonna, musobole okuyimirira.” (Abaefeso 6:13) Ebyokulwanyisa ebyo okusobola okutuganyula tekisinziira ku mbeera gye byalimu nga bikyali bippya kyokka, wabula ne ku ndabirira yaabyo. N’olwekyo, eby’okulwanyisa bya Katonda ebyo bitwaliramu okumanya ebippya ebikwata ku Kigambo kye. Ekyo kiraga obukulu bw’okutuukana n’okutegeera okuppya okukwata ku mazima okutuweebwa Yakuwa okuyitira mu Baibuli ne mu kibiina ky’omuddu omwesigwa. Okwesomesa Baibuli n’ebitabo ebigyesigamyeko kyetaagisa nnyo okusobola okulabirira eby’okulwanyisa byaffe eby’eby’omwoyo.—Matayo 24:45-47; Abaefeso 6:14, 15.
16. Kiki kye tuyinza okukola okulaba nti “engabo [yaffe] ey’okukkiriza” eri mu mbeera nnungi?
16 Pawulo ayogera ku “engabo ey’okukkiriza” ng’ekimu ku by’okulwanyisa byaffe ebikulu bye tuyinza okukozesa okuzikiza obusaale bwa Setaani obw’omuliro obuzingiramu enjigiriza za bakyewaggula n’eby’obulimba ebitwogerwako. (Abaefeso 6:16) N’olwekyo, kikulu okukebera obanga engabo yaffe oy’okukkiriza eri mu mbeera nnungi n’okulaba engeri y’okugirabiriramu. Ng’ekyokulabirako, oyinza okwebuuza: ‘Nneetegekera ntya okusoma Omunaala gw’Omukuumi buli wiiki? Nneesomesezza ekimala okusobola “okukubirizanga okwagala n’ebikolwa ebirungi” nga mbaako bye nziramu ebizimba mu nkuŋŋaana? Mbikkula Baibuli ne nsoma ebyawandiikibwa ebijuliziddwa? Nzizaamu abalala amaanyi nga nneenyigira mu nkuŋŋaana?’ Emmere yaffe ey’eby’omwoyo ngumu, era yeetaaga okumulungulwa obulungi okusobola okugiganyulwamu mu bujjuvu.—Abaebbulaniya 5:14; 10:24.
17. (a) Butwa ki Setaani bw’akozesa okutunafuya mu by’omwoyo? (b) Ddagala ki erivumula obusagwa bwa Setaani?
17 Setaani amanyi obunafu bw’emibiri gyaffe egitatuukiridde, era enkwe ze si nnyangu kutegeera. Emu ku ngeri gy’abunyisaamu empisa ze embi kwe kukifuula ekyangu eri abantu okulaba ebifaananyi eby’obugwenyufu ku ttivi, Internet, vidiyo, ne mu bitabo. Abakristaayo abamu bakkirizza obutwa bw’ebintu ebyo okubasensera, era kibaviiriddeko okufiirwa enkizo zaabwe ez’obuweereza mu kibiina oba n’okufuna emitawaana egisingako awo. (Abaefeso 4:17-19) Ddagala ki erivumula obusagwa bwa Setaani obwo? Tuteekwa obutalagajjalira kwesomesa Baibuli, enkuŋŋaana z’Ekikristaayo, n’ebyokulwanyisa byaffe byonna okuva ewa Katonda. Bino byonna, bituwa obusobozi bw’okwawulawo ekituufu ku kikyamu n’okukyawa ekyo Katonda ky’akyawa.—Zabbuli 97:10; Abaruumi 12:9.
18. “Ekitala eky’omwoyo” kiyinza kitya okutuyamba mu lutalo lwaffe olw’eby’omwoyo?
18 Bwe tunaanywerera ku mpisa yaffe oy’okwesomesa Baibuli obutayosa, tetujja kukoma ku kuba na busobozi bwa kuziyiza Setaani bwokka, wabula tujja kuba n’obusobozi bw’okumwaŋŋanga nga tweyambisa “ekitala eky’omwoyo, kwe kugamba, Ekigambo kya Katonda.” Ekigambo kya Katonda “kisala okusinga ekitala kyonna eky’obwogi obubiri, era kiyitamu n’okwawula ne kyawula obulamu n’omwoyo, ennyingo n’obusomyo, era kyangu okwawula okulowooza n’okufumiitiriza okw’omu mutima.” (Abaefeso 6:17; Abaebbulaniya 4:12) Bwe tunaafuna obukugu mu kukozesa “ekitala” ekyo, tetujja kubuzaabuzibwa bintu ebirabika ng’ebitali bya kabi era ebisikiriza, wabula tujja kubitegeera nti mitego gya Setaani. Okumanya kwaffe okwa Baibuli kujja kutuyamba okwesamba obubi era kutusobozese okukola ebirungi. N’olwekyo, ffenna tusaana twebuuze: ‘Ekitala kyange kyogi oba kiweddeko obwogi? Kinzibuwalira okujjukira ebyawandiikibwa eby’okukozesa okwaŋŋanga Setaani?’ Ka tunywerere ku mpisa zaffe ennungi ez’okwesomesa tusobole okuziyiza Omulyolyomi.—Abaefeso 4:22-24.
19. Miganyulo ki gye tuyinza okufuna bwe tunyiikirira okwesomesa?
19 Pawulo yawandiika: “Buli ekyawandiikibwa kirina okuluŋŋamya kwa Katonda, era kigasa olw’okuyigirizanga, olw’okunenyanga, olw’okutereezanga, olw’okubuulirira okuli mu butuukirivu omuntu wa Katonda alemenga okubulwa kyonna kyonna, ng’alina ddala byonna olwa buli mulimu omulungi.” Bwe tunassa omwoyo ku bigambo bya Pawulo eri Timoseewo, tujja kusobola okunywera mu by’omwoyo era tuyinza n’okulongoosa obuweereza bwaffe. Abakadde n’abaweereza abettanira eby’omwoyo baganyula nnyo ekibiina, era ffenna tuyinza okusigala nga tuli banywevu mu kukkiriza.—2 Timoseewo 3:16, 17; Matayo 7:24-27.
[Obugambo obuli wansi]
a Mu mbeera eza bulijjo, omuntu bw’amalako brocuwa Atwetaagisa, adda mu katabo Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo, bwombi obukubibwa Abajulirwa ba Yakuwa. Ebiri mu butabo obwo biyamba okuggyawo enkonge ezandiziyizza omuntu okukulaakulana mu by’omwoyo.
b Yakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa. Abo abalina ekitabo Insight on the Scriptures mu lulimi lwabwe, bayinza okukebera mu Muzingo 2 wansi w’omutwe “Jehovah.” Mu Luganda laba essuula 3 mu katabo Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo.
c Enkyusa za Baibuli nnyingi mu nnimi ezoogerebwa mu Spain ne Catalonia zikyusa ennukuta ennya ez’Olwebbulaniya ezikola erinnya lya Katonda nga “Yavé,” “Yahveh,” “Jahvè,” ne “Jehová.”
d Kakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
Ojjukira?
• Mbeera ki eziyinza okutusobozesa okwesomesa obulungi?
• Nsobi ki ekwata ku linnya lya Katonda abavvuunuzi ba Baibuli bangi gye bakola?
• Byawandiikibwa ki by’oyinza okweyambisa okulaga nti enjigiriza ya Tiriniti nkyamu?
• Ki kye tuteekwa okukola okwekuuma enkwe za Setaani wadde nga tumaze emyaka mingi nga tuli Bakristaayo ab’amazima?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 25]
Okusobola okuganyulwa mu kwesomesa, weetaaga ekifo ekituufu, ekisirifu obulungi
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 29]
“Ekitala” kyo kyogi oba kiweddeko obwogi?