Okuluubirira ‘Luulu ey’Omuwendo’ Leero
“Enjiri eno ey’obwakabaka eribuulirwa mu nsi zonna, okuba omujulirwa mu mawanga gonna.”—MATAYO 24:14.
1, 2. (a) Kiki Abayudaaya ab’omu kiseera kya Yesu kye baali batamanyi ku Bwakabaka bwa Katonda? (b) Kiki Yesu kye yakola okusobola okubayamba okutegeera obulungi Obwakabaka, era kiki ekyavaamu?
YESU we yajjira ku nsi, Abayudaaya baali boogera nnyo ku Bwakabaka bwa Katonda. (Matayo 3:1, 2; 4:23-25; Yokaana 1:49) Kyokka, mu kusooka, abasinga obungi ku bo baali tebategeera bulungi ngeri gye bunaafugamu; era nga tebamanyi nti bwandibadde gavumenti ya mu ggulu. (Yokaana 3:1-5) N’abo abaafuuka abagoberezi ba Yesu Obwakabaka bwa Katonda baali tebabutegeera bulungi era nga tebamanyi kye balina kukola okusobola okufugira awamu ne Kristo.—Matayo 20:20-22; Lukka 19:11; Ebikolwa 1:6.
2 Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, Yesu yayigiriza abayigirizwa be ebintu bingi nga muno mwe mwali n’olugero lwa luulu ey’omuwendo omungi lwe yabagerera ng’abakubiriza okuluubirira Obwakabaka obw’omu ggulu. (Matayo 6:33; 13:45, 46; Lukka 13:23, 24) Kirabika okukubiriza kuno kwabakwatako nnyo kubanga baatandika okulangirira amawulire amalungi ag’Obwakabaka n’obunyiikivu era n’obuvumu mu bitundu eby’ewala ng’ekitabo ky’Ebikolwa by’Abatume bwe kiraga.—Ebikolwa 1:8; Abakkolosaayi 1:23.
3. Ku bikwata ku kiseera kyaffe, kiki Yesu kye yayogera ku Bwakabaka?
3 Kiri kitya leero? Abantu bangi nnyo babuuliddwa ku mikisa eginaabeera mu lusuku lwa Katonda ku nsi ng’efugibwa Obwakabaka. Mu bunnabbi bwe obukulu obukwata ku ‘mafundikira g’embeera y’ebintu,’ Yesu yagamba nti: “Enjiri eno ey’obwakabaka eribuulirwa mu nsi zonna, okuba omujulirwa mu mawanga gonna; awo enkomerero n’eryoka ejja.” (Matayo 24:3, 14; Makko 13:10) Ate era yannyonnyola nti bandyolekaganye n’ebizibu era ne bayigganyizibwa nga bakola omulimu guno. N’olw’ensonga eyo, yabazzaamu amaanyi ng’agamba nti: “[Oyo] agumiikiriza okutuuka ku nkomerero, ye alirokolebwa.” (Matayo 24:9-13) Okusobola okukola ekyo, kyetaagisa omuntu okuba omumalirivu n’okwerekereza ng’omusuubuzi ayogerwako mu lugero lwa Yesu. Leero, waliwo abantu abooleka okukkiriza n’obunyiikivu ng’obwo nga baluubirira Obwakabaka?
Essanyu Eriva mu Kuzuula Amazima
4. Amazima agakwata ku Bwakabaka gakutte gatya ku bantu leero?
4 Omusuubuzi ayogerwako mu lugero lwa Yesu yasanyuka nnyo bwe yazuula ‘luulu ey’omuwendo omungi.’ Essanyu eryo lyamuleetera okubaako ky’akolawo okusobola okugifuna. (Abaebbulaniya 12:1) Ne leero, amazima agakwata ku Katonda n’Obwakabaka bwe gasikiriza abantu era ne gabaleetera okubaako kye bakolawo. Kino kitujjukiza ebigambo by’ow’Oluganda A. H. Macmillan ebiri mu kitabo Faith on the March, mwe yawandiika ku ngeri gye yanoonyamu amazima agakwata ku Katonda n’ekigendererwa Kye eri olulyo lw’omuntu. Yagamba: “Kye nzudde n’abalala bangi bakizuula buli mwaka. Abantu bano balinga ggwe nange, kubanga bava mu buli ggwanga, langi, bakola emirimu gya njawulo era ba myaka gya njawulo. Amazima si ga balondemu. Gasikiriza abantu aba buli kika.”
5. Birungi ki ebiri mu alipoota y’obuweereza ey’omwaka 2004?
5 Buli mwaka, tulaba obutuufu bw’ebigambo ebyo ng’enkumi n’enkumi z’abantu basikirizibwa amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda ne beewaayo eri Yakuwa era ne bakola by’ayagala. N’omwaka gw’obuweereza 2004, ogwatandika mu Ssebutemba 2003 okutuuka mu Agusito 2004, guwa obukakafu ku nsonga eno. Mu myezi egyo 12, abantu 262,416 beewaayo eri Yakuwa ne babatizibwa. Abantu abo baava mu nsi 235, Abajulirwa ba Yakuwa gye baayigiriza abayizi ba Baibuli 6,085,387 buli wiiki. Kino baakikola okusobola okuyamba abantu aba buli ggwanga, ebika n’ennimi okuyiga amazima agawa obulamu agasangibwa mu Kigambo kya Katonda.—Okubikkulirwa 7:9.
6. Kiki ekisobozesezza okukulaakulana okubaawo mu myaka egizze giyitawo?
6 Kiki ekyasobozesa ebyo byonna okubaawo? Awatali kubuusabuusa Yakuwa y’asika abantu bano abaagala amazima. (Yokaana 6:65; Ebikolwa 13:48) Wadde kiri kityo, tetulina kubuusa maaso abo abeerekereza era abakola obutaweera nga baluubirira okufuna Obwakabaka. Ng’aweza emyaka 79, ow’Oluganda Macmillan yagamba: “Okuva lwe nnayiga mu Baibuli ekyo ekijja okutuuka ku balwadde n’abafu, essuubi eryo lye nnafuna terinzigwangamu. Okuva olwo, nnamalirira okweyongera okumanya ebyo Baibuli by’eyigiriza nsobole okuyamba abantu abalinga nze abaagala okumanya Katonda Omuyinza w’Ebintu byonna, Yakuwa, era n’ebigendererwa bye eri olulyo lw’omuntu.”
7. Kyakulabirako ki ekyoleka nti abo abayayaanira amazima ga Baibuli bafuna essanyu bwe bagazuula?
7 Ne leero omwoyo ng’ogwo ogw’okwagala okuweereza Yakuwa gweyoleka mu baweereza be. Ng’ekyokulabirako, omukyala ayitibwa Daniela ow’omu Vienna eky’omu Austria agamba: “Okuva mu buto Katonda abadde mukwano gwange nfiira bulago. Nnayagalanga nnyo okumanya erinnya lye kubanga nnawuliranga nti okumuyita ‘Katonda’ kyoleka nti si wa ddala. Kyokka, bwe nnaweza emyaka 17, Abajulirwa ba Yakuwa bajja ewaffe. Bannyinnyonnyola buli kimu kye nnali njagala okumanya ku Katonda. Mu nkomerero ya byonna, nnasobola okuzuula amazima, era kino kyali kya ssanyu nnyo! Nnasanyuka nnyo era amangu ago nnatandika okubuulira buli muntu.” Olw’okubuulira n’ebbugumu, bayizi banne baatandika okumujerega. Daniela ayongera n’agamba: “Okumpisa bwe batyo nnakitunuulira ng’ekyali kituukiriza obunnabbi bwa Baibuli, kubanga nnali njize nti abagoberezi ba Yesu bajja kuyigganyizibwa olw’erinnya lye. Nnasanyuka nnyo era ne kinneewuunyisa.” Waayita mbale, Daniela n’awaayo obulamu bwe eri Yakuwa, n’abatizibwa, era n’atandika okuluubirira enkizo y’obuminsani. Bwe yamala okufumbirwa, Daniela ne mwami we Helmut baatandika okubuulira mu kitundu eky’omu Vienna ekyabeerangamu abantu abava mu Afirika, Abakyayina, Abafiripino n’Abayindi. Kaakano Daniela ne Helmut baweereza ng’abaminsani mu maserengeta g’ebugwanjuba bwa Afirika.
Tebalekulira
8. Abantu bangi balaze batya nti baagala Katonda era nti banyweredde ku Bwakabaka bwe?
8 Mazima ddala, okuweereza ng’omuminsani y’emu ku ngeri abantu ba Yakuwa leero gye boolekamu nti bamwagala era nti banyweredde ku Bwakabaka bwe. Okufaananako omusuubuzi ayogerwako mu lugero lwa Yesu, abo abaweereza ng’abaminsani baba beetegefu okugenda mu bifo eby’ewala olw’okutumbula ebigendererwa by’Obwakabaka. Mu kukola kino, baba tebanoonya mawulire malungi ga Bwakabaka; wabula baba bagatwalira abantu abali mu bitundu eby’ewala ennyo, nga babayigiriza era nga babayamba okufuuka abayigirizwa ba Yesu Kristo. (Matayo 28:19, 20) Wadde nga mu nsi nnyingi baba balina okugumiikiriza ebizibu eby’amaanyi, bafuna emikisa olw’obugumiikiriza bwabwe.
9, 10. Byakulabirako ki ebisanyusa abaminsani bye bafunye mu bifo eby’ewala, gamba nga mu Central African Republic?
9 Ng’ekyokulabirako, omwaka ogwayita, mu Central African Republic, abaaliwo ku Kijjukizo ky’okufa kwa Kristo baali 16,184, omuwendo ogukubisaamu ogw’ababuulizi b’Obwakabaka mu nsi eyo emirundi musanvu. Okuva ebitundu bingi eby’omu nsi eyo bwe bitaliimu masannyalaze, emirimu gy’awaka abantu batera kugikolera wabweru mu bisiikirize by’emiti. Okubafaananako, n’abaminsani nabo omulimu gwabwe bagukolera wabweru, kwe kugamba, bwe baba bayigiriza abantu Baibuli batuula mu bisiikirize bya miti. Ng’oggyeko okuba nti mu bifo ng’ebyo wabaawo ekitangaala era nga waweweevu bulungi, waliwo n’ekintu ekirala ekirungi ekiva mu kusomera wabweru. Abantu b’omu nsi eyo baagala nnyo Baibuli era batera okunyumya ku by’eddiini nga n’ab’omu nsi endala bwe batera okunyumya ku by’emizannyo n’embeera y’obudde. Emirundi mingi abantu bwe baba bayitawo ne balaba nga musoma, bajja buzzi ne babeegattako.
10 Lumu, omuminsani bwe yali ayigiriza omuntu Baibuli wabweru w’ennyumba, omuvubuka eyali abeera ebusukka kkubo yabatuukirira n’agamba nti naye yandyagadde omuminsani amukyalire amuyigirize Baibuli. Kya lwatu, omuminsani yasanyuka nnyo okutandika okumuyigiriza Baibuli, era kati omuvubuka ono akulaakulana mu by’omwoyo. Mu nsi eyo, abapoliisi batera nnyo okuyimiriza Abajulirwa ku nguudo. Kino bakikola si lwa kubavunaana musango oba okubaweesa engasi, wabula baba baagala magazini za Watchtower ne Awake! eziba zaakafuluma oba okubeebaza olw’ekintu ekimu ekyabasanyusizza kye baba baasomye mu magazini.
11. Wadde nga boolekagana n’ebizibu, abo abaludde mu buminsani bawulira batya ku bikwata ku buweereza bwabwe?
11 Bangi ku abo abaatandika okuweereza ng’abaminsani emyaka 40 oba 50 emabega, bakyakakalabya omulimu ogwo. Nga batuteereddewo ekyokulabirako ekirungi eky’okukkiriza n’obugumiikiriza! Mu myaka 42 egiyise, waliwo omugogo gw’abafumbo abaweerezza ng’abaminsani mu nsi ssatu. Omwami agamba: “Tubaddenga twolekagana n’ebizibu. Ng’ekyokulabirako, omusujja gw’ensiri gwatusumbuwa okumala emyaka 35. Kyokka, tetwejjusa kuweereza ng’abaminsani.” Mukyala we agattako: “Waliwo ebintu bingi ebituleetedde okufuna essanyu. Obuweereza bw’ennimiro butunyumira nnyo era kyangu okufuna abayizi ba Baibuli. Bwe tulaba ng’abayizi baffe bazze mu nkuŋŋaana era ne bamanya abalala, buli lukuŋŋaana lubeera ng’amaka agakuŋŋaanidde awamu.”
‘Ebintu Byonna Babitwala ng’Okufiirwa’
12. Omuntu ayinza atya okulaga nti Obwakabaka abutwala ng’ekintu eky’omuwendo?
12 Omusuubuzi bwe yazuula luulu ey’omuwendo omungi, ‘yagenda n’atunda buli ky’alina, n’agigula.’ (Matayo 13:46) Okwerekereza ebintu ebiyinza okutwalibwa ng’eby’omuwendo kintu ekikolebwa abo abasiima Obwakabaka. Ng’omu ku abo abandifugidde awamu ne Kristo mu Bwakabaka, omutume Pawulo yagamba: “Ebintu byonna [nnabitwala] nga kufiirwa olw’obulungi obungi obw’okutegeera Kristo Yesu Mukama wange: ku bw’oyo nnafiirwa ebintu byonna, era mbirowooza okubeera mpitambi, ndyoke nfune amagoba ye Kristo.”—Abafiripi 3:8.
13. Omwami omu ow’omu Czech Republic yalaga atya nti ayagala Obwakabaka?
13 Mu ngeri y’emu, leero abantu bangi beetegefu okukola enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwabwe basobole okufuna emikisa gy’Obwakabaka. Ng’ekyokulabirako, mu Okitobba 2003, omukulu w’essomero erimu mu Czech Republic aweza emyaka 60 egy’obukulu, yafuna akatabo Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo. Bwe yamala okukasoma, yatuukirira Abajulirwa ba Yakuwa abaali mu kitundu kye n’abasaba okumuyigiriza Baibuli. Yakulaakulana mangu nnyo mu by’omwoyo era n’atandika okujjanga mu nkuŋŋaana. Ate ekiruubirirwa kye yalina eky’okwesimbawo ku bwa meeya era n’oluvannyuma okulondebwa ng’omubaka mu paaliyamenti? Yasalawo okuluubirira ekintu ekirala—ng’ayingira mu mbiro z’obulamu—ng’afuuka omulangirizi w’Obwakabaka. Yagamba, “Nnasobola okugabira abayizi b’omu ssomero lyange obutabo bungi obwogera ku Baibuli.” Yeewaayo eri Yakuwa ng’abatizibwa ku lukuŋŋaana olunene olwaliwo mu Jjulaayi 2004.
14. (a) Abantu bangi bakoze ki nga babuuliddwa amawulire amalungi ag’Obwakabaka? (b) Bibuuzo ki ebikulu buli omu ku ffe bye yandyebuuzizza?
14 Mu ngeri y’emu, abantu bangi nnyo okwetooloola ensi balina kye bakozeewo oluvannyuma lw’okubuulirwa amawulire amalungi ag’Obwakabaka. Beekutudde ku nsi embi, beeyambuddeko omuntu omukadde, balese mikwano gyabwe egy’ensi era ne balekera awo okuluubirira ebintu by’ensi eno. (Yokaana 15:19; Abaefeso 4:22-24; Yakobo 4:4; 1 Yokaana 2:15-17) Lwaki bakola ebintu bino byonna? Kubanga bakimanyi nti emikisa gy’Obwakabaka bwa Katonda gisingira wala ekintu kyonna omuntu ky’ayinza okufuna mu nsi eno. Naawe bw’otyo bw’otwala amawulire amalungi ag’Obwakabaka? Muli owulira ng’okubirizibwa okukola enkyukakyuka ezeetaagisa mu bulamu bwo n’ebiruubirirwa byo osobole okutuukana n’ekyo Yakuwa ky’akwetaagisa? Singa okola bw’otyo ojja kufuna emikisa kati era ne mu biseera eby’omu maaso.
Amakungula Ganaatera Okufundikirwa
15. Kiki ekyalagulwa abantu ba Katonda kye bandikoze mu nnaku ez’enkomerero?
15 Omuwandiisi wa zabbuli yagamba: “Abantu bo [balye]waayo n’omwoyo ogutawalirizibwa ku lunaku lw’obuyinza bwo.” Mu abo abeewaddeyo mulimu ‘abavubuka abalinga omusulo’ era ‘n’eggye eddene ery’abakazi ababuulira amawulire amalungi.’ (Zabbuli 68:11; 110:3) Biki ebivudde mu kufuba n’okwerekereza kw’abantu ba Yakuwa—abasajja n’abakazi, abato n’abakulu—mu nnaku zino ez’enkomerero?
16. Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri abaweereza ba Katonda gye bafuba okuyamba abalala okuyiga ebikwata ku Bwakabaka?
16 Payoniya omu ow’omu Buyindi, yeebuuza engeri bakiggala abassuka mu bukadde obubiri abali mu nsi eyo gye bayinza okuyambibwamu okuyiga ebikwata ku Bwakabaka. (Isaaya 35:5) Yasalawo okugenda mu ttendekero ayige olulimi lwa bakiggala. Ng’ali eyo yasobola okubuulira bakiggala abawerako ku ssuubi ly’Obwakabaka, era obubinja bw’okuyiga Baibuli bwatandikibwawo. Nga waakayitawo wiiki ntono nnyo, abantu abasukka mu kkumi baatandika okugendanga mu nkuŋŋaana mu Kizimbe ky’Obwakabaka. Lumu, bwe yali ku mbaga, payoniya oyo yasisinkana omuvubuka kiggala ow’omu Calcutta eyalina ebibuuzo ebiwerako era n’alaga nti ayagala okumanya ebisingawo ku Yakuwa. Eky’ennaku, omuvubuka ono yalina okuddayo okusoma mu Calcutta, ekibuga ekyali mayilo ezisoba mu 1,000, kyokka nga tewaaliyo Bajulirwa bamanyi lulimu lwa bakiggala. Omuvubuka ono yasobola okumatiza kitaawe amutwale mu ssomero erimu mu Bangalore era mu ngeri eyo yeeyongera okuyiga Baibuli. Omuvubuka ono yakulaakulana mu by’omwoyo, era mu mwaka nga gumu yawaayo obulamu bwe eri Yakuwa. Oluvannyuma, naye yayigiriza bakiggala bangi Baibuli nga mw’otwalidde n’oyo eyali mukwano gwe okuva mu buto. We twogerera bino, ofiisi y’ettabi mu Buyindi ekoze enteekateeka bapayoniya bayigirizibwe olulimi lwa bakiggala basobole okuyamba abantu ng’abo.
17. Yogera ku ebyo ebisinze okukuzzaamu amaanyi ebiri mu alipoota y’omwaka gw’obuweereza 2004 eri ku lupapula 21 okutuuka ku 24.
17 Ku lupapula 21 okutuuka ku 24 mu magazini eno, ojja kusangako lipoota ey’ensi yonna eraga ebyo ebyakolebwa Abajulirwa ba Yakuwa mu buweereza bw’ennimiro mu mwaka gw’obuweereza 2004. Gyekenneenye, era olabe obukakafu obulaga nti abantu ba Yakuwa okwetooloola ensi yonna mu kiseera kino, beemalidde ku kuluubirira ‘luulu ey’omuwendo omungi.’
‘Sooka Onoonye Obwakabaka’
18. Kiki Yesu ky’ataayogerako mu lugero lw’omusuubuzi, era lwaki?
18 Bwe tuddamu okulowooza ku lugero lwa Yesu olw’omusuubuzi eyatambula okunoonya luulu, tulaba nti Yesu talina kyonna kye yayogera ku ngeri omusuubuzi ono gye yandyeyimirizaawo ng’amaze okutunda ebintu bye byonna. Abamu bayinza okwebuuza: ‘Omusuubuzi ono yandisobodde atya okufuna eky’okulya, engoye n’aw’okusula ng’amaze okutunda buli kimu ky’abadde nakyo? Luulu eyo ey’omuwendo yandimugasizza etya?’ Ebibuuzo ebyo biyinza okulabika ng’ebirimu ensa okusinziira ku ndowooza y’obuntu. Naye Yesu teyagamba abayigirizwa be nti: “Musooke munoonye obwakabaka bwe n’obutuukirivu bwe; era ebyo byonna mulibyongerwako”? (Matayo 6:31-33) Ensonga enkulu mu lugero luno kwe kwemalira ku Katonda n’okunyiikirira Obwakabaka. Waliwo kye tuyigamu?
19. Kya kuyiga ki ekikulu ekiri mu lugero lwa Yesu olwa luulu ey’omuwendo omungi?
19 Ka kibe nti twakayiga ebikwata ku mawulire amalungi oba nga tumaze ekiseera kiwanvu nga tuluubirira Obwakabaka era nga tubuulira abalala emikisa gye bunaaleeta, tusaanidde okweyongera okubukulembeza. Ebiseera bye tulimu bizibu nnyo, naye tuli bakakafu nti ekyo kye tuluubirira kya muwendo nnyo okufaananako luulu omusuubuzi gye yazuula. Ebintu ebiriwo mu nsi leero n’okutuukirizibwa kw’obunnabbi bwa Baibuli bikakasa nti tuli mu ‘nnaku ez’enkomerero y’embeera y’ebintu eno.’ (Matayo 24:3) Okufaananako omusuubuzi eyatambula okunoonya luulu ey’omuwendo, ka ffenna tunyiikirire okunoonya Obwakabaka bwa Katonda n’okusiima enkizo ey’okulangirira amawulire amalungi.—Zabbuli 9:1, 2.
Ojjukira?
• Okumala emyaka mingi, kiki ekisobozesezza abasinza ab’amazima okweyongerayongera?
• Abo abaweereza ng’abaminsani balina ndowooza ki?
• Nkyukakyuka ki abantu ze bakoze olw’amawulire amalungi ag’Obwakabaka?
• Kiki kye tuyigira ku lugero lwa Yesu olukwata ku luulu ey’omuwendo omungi?
[Ekipande ekiri ku lupapula 21-24]
LIPOOTA Y’OBUWEEREZA EY’ENSI YONNA EY’ABAJULIRWA BA YAKUWA EYA 2004
(Laba Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjanwali 2004)
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 26, 27]
Okufaananako omusuubuzi, n’abaminsani bafuna emikisa mingi leero
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 27]
‘Abantu bo beewaayo kyeyagalire’