‘Buli Muntu Alyettika Obuvunaanyizibwa Bwe’
‘Buli muntu mu ffe alivunaanyizibwa eri Katonda.’—ABARUUMI 14:12, NW.
1. Kusalawo ki Abebbulaniya abasatu kwe baayolekagana nakwo?
ABAVUBUKA basatu Abebbulaniya, Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego ababeera mu Babulooni boolekagana n’okusalawo okw’amaanyi. Singa tebavunnamira kifaananyi ekinene nga kabaka bw’alagidde, bajja kusuulibwa mu kikoomi ky’omuliro. Kiki kye bagenda okukola? Tebalina kiseera kubaako gwe beebuuzaako era tekibeetaagisa kukikola. Awatali kulonzalonza bagamba kabaka nti: “Tegeera, ai kabaka, nga tetugenda kuweereza bakatonda bo, newakubadde okusinza ekifaananyi ekya zaabu kye wayimiriza.” (Danyeri 3:1-18) Abebbulaniya abasatu beetikka obuvunaanyizibwa bwabwe.
2. Ani yasalirawo Piraato, gavana Omuruumi, era kino kyamuggisaako musango ogw’okutta Yesu Kristo?
2 Nga wayiseewo ebyasa nga mukaaga, gavana Pontiyo Piraato awuliriza emisango egivunaanibwa omusajja omu. Oluvannyuma lw’okugiwuliriza, akiraba nti omuwawaabirwa talina musango era ayagala ateebwe. Kyokka abantu baagala attibwe. Gavana oyo asooka n’akalambira ku ky’asazeewo, kyokka oluvannyuma lw’okupikirizibwa, yekkiriranya. Anaaba mu ngalo era n’agamba nti: “Siriiko kabi olw’omusaayi gw’omuntu ono omutuukirivu.” Awaayo omusajja akomererwe ku muti. Mu kifo ky’okwetikka obuvunaanyizibwa bwe ne yejjeereza Yesu Kristo, Pontiyo Piraato aleka abantu ne bamusalirawo. Piraato okunaaba mu ngalo ng’alowooza nti tavunaanyizibwa kuyiwa musaayi, tekimuggisaako musango gwa kutta Yesu.—Matayo 27:11-26; Lukka 23:13-25.
3. Lwaki tetusaanidde kuleka balala kutusalirawo?
3 Singa obaako n’eky’okusalawo, okola ng’Abebbulaniya, oba oleka abalala ne bakusalirawo? Kyo kituufu nti si kyangu okusalawo. Omuntu okusobola okusalawo obulungi, kimwetaagisa okuba nga mukulu mu birowoozo. Eno y’ensonga lwaki abazadde basaanidde okusalirawo abaana baabwe abato. Kya lwatu, si kyangu okusalawo nga tuli mu mbeera enzibu era nga waliwo ebintu ebimu ebirina okusooka okwetegerezebwa. Kyokka, okusalawo kwe twolekagana nakwo tekubalirwa mu ‘migugu’ oba ‘ebizibu,’ “abalina ebisaanyizo eby’omwoyo” bye bayinza okutwetikkirako. (Abaggalatiya 6:1, 2, NW) Wabula ‘buli muntu avunaanyizibwa eri Katonda.’ (Abaruumi 14:12, NW) Baibuli egamba nti, “buli muntu alyettika obuvunaanyizibwa bwe.” (Abaggalatiya 6:5, NW) Kati olwo tuyinza tutya okusalawo mu ngeri ey’amagezi? Okusooka, tulina okukimanya nti ng’abantu tetutuukiridde. N’olwekyo, twetaaga obuyambi okusobola okusalawo obulungi.
Ekintu Ekikulu Ekinaatuyamba Okusalawo Obulungi
4. Ku bikwata ku kusalawo, kiki kye tuyigira ku bujeemu bw’abantu ababiri abaasooka?
4 Bazadde baffe ababiri abaasooka baasalawo okulya ekibala eky’omuti ogw’okumanya obulungi n’obubi ne kiviirako abantu okubonaabona. (Olubereberye 2:16, 17) Kiki ekyabaleetera okukola ekyo? Baibuli egamba nti: “Omukazi bwe yalaba ng’omuti mulungi okulya, era nga gusanyusa amaaso, n’omuti nga gwa kwegombebwa okuleeta amagezi, n’anoga ku bibala byagwo n’alya, n’awa era ne ku musajja we naye n’alya.” (Olubereberye 3:6) Okusalawo kwa Kaawa kwali kwa kwerowoozaako. Adamu naye yasalawo okumwegattako ne bajeemera Katonda. N’ekyavaamu, ekibi n’okufa ‘byabuna ku bantu bonna.’ (Abaruumi 5:12) Ekyo Adamu ne Kaawa kye baakola kirina kye kituyigiriza: Tetusobola kusalawo mu ngeri ntuufu okuggyako nga tugoberedde obulagirizi obuva eri Katonda.
5. Bulagirizi ki Yakuwa bw’atuwadde era tusobola tutya okubuganyulwamu?
5 Nga tuli basanyufu nnyo okuba nti Yakuwa Katonda atuwadde obulagirizi! Ebyawandiikibwa bigamba: “N’amatu go ganaawuliranga ekigambo ekikuvaako ennyuma nga kyogera nti Lino lye kkubo, mulitambuliremu; bwe munaakyamiranga ku mukono ogwa ddyo, era bwe munaakyamiranga ku gwa kkono.” (Isaaya 30:21) Yakuwa ayogera gye tuli okuyitira mu Kigambo kye Baibuli. N’olwekyo, tulina okukakasa nti tusoma Ebyawandiikibwa ne tubitegeera. Okusobola okusalawo mu ngeri entuufu, tusaanidde okulya ‘emmere enkalubo eya bakulu.’ Mu ngeri eyo ‘tuba tutendeka obusobozi bwaffe obw’okwawulawo ekirungi n’ekibi.’ (Abaebbulaniya 5:14) Kino tukikola nga tussa mu nkola ebyo bye tuyiga mu Kigambo kya Katonda.
6. Kiki kye twetaaga okukola omuntu waffe ow’omunda okusobola okutuyamba okusalawo obulungi?
6 Kikulu nnyo okugoberera omuntu waffe ow’omunda ky’atugamba bwe tuba tulina bye tusalawo. Omuntu waffe ow’omunda asobola okutuyamba okusalawo ekituufu ne kikyamu era asobola “okutulumiriza oba okutuwolereza.” (Abaruumi 2:14, 15, NW) Kyokka, omuntu waffe ow’omunda okusobola okukola obulungi, twetaaga okusoma Ekigambo kya Katonda era ne tufuba okukikolerako. Bwe tutakikola, obulombolombo bw’omu kitundu, enneeyisa z’abantu n’endowooza zaabwe, biyinza okulemesa omuntu waffe ow’omunda okukola obulungi. Kiki ekiyinza okubaawo singa enfunda n’enfunda tugaana okuwuliriza omuntu waffe ow’omunda ky’atugamba ne kituviirako okumenya emisingi gya Katonda? Oluvannyuma lw’ekiseera, omuntu waffe ow’omunda ayinza okuba ng’omubiri ogwayokebwa ‘n’ekyuma ekyokya,’ ne guguba, kwe kugamba, nga takyatulumiriza ne bwe tukola ekikyamu. (1 Timoseewo 4:2) Ku luuyi olulala, omuntu ow’omunda atendekeddwa Ekigambo kya Katonda asobola okutuyamba ne tusalawo mu ngeri ennungi.
7. Kintu ki ekikulu ekinaatuyamba okusalawo mu ngeri ennungi?
7 N’olwekyo, ekintu ekikulu ennyo ekijja okutuyamba okusalawo obulungi, kwe kumanya Ebyawandiikibwa n’okubikolerako. Tetusaanidde kumala gasalawo, wabula tusaanidde okusooka okumanya emisingi gya Baibuli era ne tugigoberera nga tusalawo. Ne bwe kiba nti waliwo ekitwetaagisa okusalawo amangu—nga bwe kyali eri Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego—tusobola okusalawo obulungi singa tuba tumanyi emisingi gya Baibuli era nga n’omuntu waffe ow’omunda atendekeddwa bulungi. Okusobola okutegeera engeri okukulaakulana mu by’omwoyo gye kusobola okutuyamba okusalawo obulungi, ka twetegereze ebintu bibiri.
B’Ani Be Tufuula Mikwano Gyaffe?
8, 9. (a) Misingi ki kwe tusinziira okwewala emikwano emibi? (b) Okuba n’enkolagana ey’oku lusegere n’emikwano emibi, kikoma ku kukolagana n’abo butereevu? Nnyonnyola.
8 Omutume Pawulo yagamba nti: “Temulimbibwanga: Okukwana n’ababi kwonoona empisa ennungi.” (1 Abakkolinso 15:33) Ate Yesu Kristo yagamba abayigirizwa be nti: “Temuli ba nsi.” (Yokaana 15:19) Bwe tutegeera emisingi gino gyombi, kijja kutuyamba okwewala okuba n’enkolagana ey’oku lusegere n’abakaba, abenzi, ababbi abatamiivu n’abalala abalinga abo. (1 Abakkolinso 6:9, 10) Ate era, bwe tweyongera okutegeera Baibuli, tujja kumanya akabi akali mu kumala ebiseera nga tulaba abantu ng’abo ku ttivi, ku vidiyo, ku kompyuta, oba okubasomako mu bitabo. N’ekirala, kya kabi okukolagana n’abantu “abakweka kye bali” nga tukozesa emikutu gya Internet.—Zabbuli 26:4, NW.
9 Ate kiri kitya ku kuba n’enkolagana ey’oku lusegere n’abantu abalina empisa ennungi naye nga tebakkiririza mu Katonda ow’amazima? Ebyawandiikibwa bitugamba nti: “Ensi yonna eri mu [buyinza bw’o]mubi.” (1 Yokaana 5:19) Kino kitegeeza nti emikwano emibi si beebo bokka abalina empisa embi. N’olwekyo, kiba kya magezi okukola emikwano n’abo bokka abaagala Yakuwa.
10. Kiki ekinaatuyamba okusalawo obulungi nga tukolagana n’abantu b’ensi?
10 Tetusobola kwewalira ddala kuba na nkolagana n’abantu ba nsi. (Yokaana 17:15) Bwe tubeera mu buweereza obw’Ekikristaayo, ku ssomero, ne ku mirimu, tukolagana n’abantu b’ensi. Omukristaayo alina munne mu bufumbo atali mukkiriza kiyinza okumuviirako okukolagana n’abantu b’ensi okusinga Abakristaayo abalala. Bwe tutendeka obusobozi bwaffe obw’okutegeera, tujja kusobola okukimanya nti okuba n’enkolagana n’abantu ab’ensi we kiba kyetaagisa, si kye kimu n’okuba n’enkolagana ey’okulusegere nabo. (Yakobo 4:4) Kino kijja kutuyamba okusalawo obanga kisaanira okwenyigira mu bintu ebirala ebikolebwa oluvannyuma lw’okusoma, gamba ng’emizannyo n’okuyimba, oba okugenda ne bakozi bannaffe ku bubaga oba ku bijjulo.
Okulonda Emirimu
11. Kiki kye tusaanidde okusooka okulowoozaako nga tulonda omulimu ogw’okukola?
11 Bwe tugoberera emisingi gya Baibuli, kijja kutuyamba okusalawo obulungi ku bikwata ku ngeri ‘y’okulabiriramu ab’omu maka gaffe.’ (1 Timoseewo 5:8) Kye tulina okusooka okulowoozaako, gwe mulimu gwe twagala okukola, kwe kugamba, tulina okulowooza ku bizingirwamu. Omulimu ogukontana n’emisingi gya Baibuli guba tegusaanira. Ng’ekyokulabirako, Abakristaayo ab’amazima tebakkiriza kukola mirimu egizingiramu okusinza ebifaananyi, okubba, okukozesa omusaayi, oba ekintu ekirala kyonna ekikontana n’emisingi gya Baibuli. Tetujja kulimba oba okukumpanya, ne bwe kiba nti mukama waffe y’aba atugambye okukikola.—Ebikolwa 15:29; Okubikkulirwa 21:8.
12, 13. Ng’ogyeko ekika ky’omulimu, bintu ki bye tulina okwetegereza bwe tuba tulonda omulimu ogw’okukola?
12 Watya ng’omulimu ku bwagwo tegumenya misingi gya Baibuli? Bwe tweyongera okutegeera Baibuli era ne tuba nga tusobola bulungi okwawulawo ekituufu n’ekikyamu, waliwo ebintu bye tujja okusooka okwetegereza. Watya ng’omulimu guzingiramu okukola ekintu ekikontana n’Ebyawandiikibwa, gamba ng’okukwata amasimu mu kifo awakubirwa zzaala? Ate era kyetaagisa okulowooza ku mulimu omuva ssente ezitusasulwa era n’ekifo we tukolera. Ng’ekyokulabirako, Omukristaayo eyeekozesa yekka yandisabye omulimu gw’okusiiga langi amakanisa ga Kristendomu, mu ngeri eyo n’aba nga atumbula okusinza okw’obulimba?—2 Abakkolinso 6:14-16.
13 Ate kiba kitya singa oyo atukozesa afuna omulimu ogw’okusiiga langi ebizimbe ebikozesebwa mu kusinza okw’obulimba? Mu mbeera eno tuyinza okulowooza ku kifo kye tujja okuba nakyo mu kukola omulimu ogwo. Ate kiri kitya singa tufuna omulimu ogw’okutwala amabaluwa eri bannyini go, nga mw’otwalidde n’abo ababeera mu bifo omukolerwa ebintu ebikyamu? Omusingi oguli mu Matayo 5:45 gusobola okutuyamba okusalawo obulungi. Kye tutalina kwerabira, y’engeri muntu waffe ow’omunda gy’ayinza okukwatibwako. (Abaebbulaniya 13:18) Mazima ddala, okulonda omulimu gwe twagala okukola, kyetaagisa okukozesa amagezi n’omuntu waffe ow’omunda atendekeddwa Baibuli.
“Mwatulenga mu Makubo Go Gonna”
14. Kiki ekiyinza okutuyamba okusalawo mu ngeri ennungi ku bintu ebitali bimu?
14 Ate bwe kituuka ku kusalawo ku bintu ebirala gamba ng’obuyigirize oba obujjanjabi? Bwe tuba tusalawo ku bintu nga bino, tulina okulowooza ku misingi gya Baibuli egikwata ku nsonga zino era ne tugigoberera. Kabaka Sulemaani eyali omugezi yagamba nti: “Weesigenga Mukama n’omutima gwo gwonna. So teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe: Mwatulenga mu makubo go gonna, kale anaaluŋŋamyanga olugendo lwo.”—Engero 3:5, 6.
15. Ekyokulabirako ky’Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka kiyinza kitya okutuyamba bwe tuba tulina bye tusalawo?
15 Tulina okukijjukira nti emirundi egisinga obungi bye tusalawo birina engeri gye bikwata ku balala. Ng’ekyokulabirako, Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baali tebakyali wansi wa Mateeka ga Musa agaali gagaana omuntu okulya ebintu ebimu. Baali basobola okulya ensolo ezaatwalibwanga nti si nnyonjo mu Mateeka ga Musa. Kyokka, omutume Pawulo yagamba bw’ati ku bikwata ku kulya ennyama y’ensolo eyali eweereddwayo mu yeekaalu mwe basinzizza ebifaananyi: “Kale, oba ng’ekyokulya kyesittaza muganda wange, siiryenga nnyama emirembe gyonna, nnemenga okwesittaza muganda wange.” (1 Abakkolinso 8:11-13) Abakristaayo abaasooka baakubirizibwa okufaayo ku nneewulira z’abalala baleme kubeesittaza. Naffe tusaanidde okwegendereza tuleme ‘kwesittaza’ balala olw’ebyo bye tusalawo.—1 Abakkolinso 10:29, 32.
Funa Amagezi Okuva eri Katonda
16. Lwaki tusaanidde okusooka okusaba nga tetunnasalawo?
16 Bwe tuba twagala okusalawo obulungi, tusaanidde okusooka okusaba. Omuyigirizwa Yakobo agamba nti: “Naye obanga omuntu yenna ku mmwe aweebuuka mu magezi, asabenga Katonda atamma awa bonna so takayuka; era galimuweebwa.” (Yakobo 1:5) Tusobola okusaba Yakuwa atuwe amagezi tusobole okusalawo mu ngeri entuufu. Bwe tumubuulira ebitweraliikiriza era ne tumusaba atuwe obulagirizi bwe, omwoyo gwe omutukuvu gujja kutuyamba okutegeera ebyawandiikibwa bye tuba tunoonyerezaako era gujja kutujjukiza n’ebyo bye tuyinza okuba nga twerabidde.
17. Abalala bayinza kutuyamba batya bwe tuba tulina bye tusalawo?
17 Abalala bayinza okutuyamba bwe tuba tulina bye tusalawo? Yee. Yakuwa atuwadde ab’oluganda abakuze mu by’omwoyo abasobola okutuyamba. (Abaefeso 4:11, 12) Tusobola okubeebuuzaako naddala nga tusalawo ku nsonga enkulu. Ab’oluganda abamanyi obulungi Ebyawandiikibwa era abalina obumanyirivu basobola okutulaga emisingi gya Baibuli emirala egikwata ku nsonga ze tuba twagala okusalawo ne gituyamba ‘okulondawo ekisinga obulungi.’ ( Abafiripi 1:9, 10, Baibuli y’Oluganda eya 2003) Kyokka, tulina okujjukira kino: Tetulina kuleka muntu mulala yenna kutusalirawo. Ffe tulina okwesalirawo.
Okusalawo Okwesigamiziddwa ku Misingi gya Baibuli Kuvaamu Ebirungi?
18. Biki ebiyinza okubaawo wadde nga tusazeewo bulungi?
18 Bwe tusalawo nga tusinziira ku misingi gya Baibuli era nga tusoose kulowooza ku byonna ebizingirwamu, kivaamu ebirungi? Yee. Wadde mu kusooka tuyinza okufuna ebizibu, naye ekiseera bwe kigenda kiyitawo ebivaamu biba birungi. Ng’ekyokulabirako, Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego baali bamanyi nti bajja kuttibwa singa bagaana okusinza ekifaananyi. (Danyeri 3:16-19) Ate era, oluvannyuma lw’abatume okugamba Olukiiko Olukulu olw’Abayudaaya nti baali balina okugondera Katonda okusinga abantu, baasooka kukubwa miggo oluvannyuma ne balyoka bateebwa. (Ebikolwa 5:27-29, 40) Okugatta ku ekyo, ‘ebintu ebigwaawo obugwi’ nabyo bisobola okugootaanya bye tuba tusazeewo. (Omubuulizi 9:11) Wadde tuyinza okufuna ebizibu oluvannyuma lw’okusalawo mu ngeri entuufu, tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kutuyamba okubigumira era ajja kutuwa emikisa mu biseera eby’omu maaso.—2 Abakkolinso 4:7.
19. Tusobola tutya okusalawo obulungi?
19 Bwe tuba tulina bye tusalawo, tuteekwa okusooka okunoonyereza emisingi gy’Ebyawandiikibwa egikwata ku nsonga eyo, era ne tugigoberera. Nga tuli basanyufu nnyo okumanya nti Yakuwa atuwadde omwoyo gwe omutuukirivu, n’ab’oluganda abakuze mu by’omwoyo okutuyamba okusalawo obulungi! Ka tweyambise enteekateeka zino tusobole okusalawo obulungi.
Kiki ky’Oyize?
• Kintu ki ekikulu ekinaatuyamba okusalawo obulungi?
• Mu ngeri ki okukulaakulana mu by’omwoyo gye kiyinza okutuyamba okulonda emikwano emirungi?
• Bintu ki ebikulu bye tusaanidde okusooka okulowoozaako nga tusalawo ku bikwata ku mirimu?
• Biki ebiyinza okutuyamba okusalawo obulungi?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]
Obujeemu bwa Adamu ne Kaawa bulina kye butuyigiriza
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]
Sooka onoonyereze emisingi gya Baibuli nga tonnabaako ky’osalawo