Salawo mu Ngeri Ey’amagezi
“Weesigenga Mukama n’omutima gwo gwonna. So teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe.”—NGE. 3:5.
1, 2. Ndowooza ki gy’olina ku kusalawo, era owulira otya bw’olowooza ku bintu ebimu bye wasalawo?
BULI lunaku tubaako ebintu bye tulina okusalawo. Ndowooza ki gy’olina ku kusalawo? Abantu abamu baagala nnyo okwesalirawo ku buli kintu. Balowooza nti balina eddembe okwesalirawo ku buli kintu era nti tebeetaaga muntu yenna kubasalirawo. Ate abalala batya okwesalirawo ku bintu ebikulu mu bulamu. Abamu banoonya obulagirizi mu bitabo ebitali bimu oba mu bawi b’amagezi, oboolyawo ne bawaayo ne ssente nnyingi basobole okufuna obulagirizi nga basalawo.
2 Bangi ku ffe tukimanyi nti wadde nga waliwo ebintu ebimu bye tutalinaako buyinza kwesalirawo, waliwo ebintu bingi bye tulina okwesalirawo mu bulamu. (Bag. 6:5) Kyokka era tukimanyi nti oluusi engeri gye tusalawo teba ya magezi.
3. Bulagirizi ki bwe tulina obusobola okutuyamba okusalawo, naye era lwaki ebiseera ebimu tekiba kyangu kusalawo?
3 Ffe abaweereza ba Yakuwa tuli basanyufu nnyo okuba nti Yakuwa atuwadde obulagirizi ku bintu ebikulu bye tulina okusalawo mu bulamu. Tukimanyi nti bwe tugoberera obulagirizi obwo, tujja kusobola okusalawo mu ngeri esanyusa Yakuwa era ejja okutuganyula. Wadde kiri kityo, waliwo ebintu bye twolekagana nabyo mu bulamu naye nga Bayibuli tebyogerako butereevu. Kati olwo tuyinza tutya okusalawo ku bintu ng’ebyo? Ng’ekyokulabirako, tukimanyi nti tetulina kubba. (Bef. 4:28) Naye abantu abamu bagamba nti si kibi okutwala ekintu ky’omuntu omulala kasita kiba nga si kya muwendo nnyo oba kasita kiba nti oyo aba akitutte akyetaaga nnyo. Kati olwo tuyinza tutya okusalawo ku bintu abamu bye bagamba nti tebiriiko bulagirizi bubiweereddwako butereevu? Kiki ekinaatuyamba okusalawo ku bintu ng’ebyo?
OKUBA N’ENDOWOOZA ENNUŊŊAMU
4. Magezi ki ge tutera okufuna nga tulina ekintu kye twagala okusalawo?
4 Bwe tubuulirako mukkiriza munnaffe ku kintu ekikulu kye twagala okusalawo, ayinza okutukubiriza okufuba okuba n’endowooza ennuŋŋamu nga tusalawo. Kya lwatu nti ago gaba magezi malungi. Bayibuli egamba nti: “Buli muntu ayanguyiriza ayanguwa okwetaaga obwetaazi.” (Nge. 21:5) Naye tuyinza tutya okusalawo nga tulina endowooza ennuŋŋamu? Kiba kitegeeza nti bwe tuba tetunnasalawo tulina okutwala ebiseera ebiwerako okulowooza ku kintu era ne tugezaako okutegeera ebyo byonna ebizingirwamu? Ebintu ebyo bikulu, naye okuba n’endowooza ennuŋŋamu kisingako awo.—Bar. 12:3; 1 Peet. 4:7.
5. Lwaki ffenna tuzaalibwa nga tetulina ndowooza nnuŋŋamu?
5 Tewali n’omu ku ffe yazaalibwa ng’alina endowooza ennuŋŋamu. Lwaki tugamba bwe tutyo? Kubanga ffenna twazaalibwa n’ekibi era tetutuukiridde. Ekyo kitegeeza nti omubiri gwaffe n’ebirowoozo byaffe tebituukiridde. (Zab. 51:5; Bar. 3:23) Okugatta ku ekyo, bangi ku ffe Sitaani yali ‘atuzibye’ amaaso okutuusa lwe twayiga ebyo Yakuwa by’ayagala. (2 Kol. 4:4; Tit. 3:3) N’olwekyo, omuntu ne bw’atwala ebiseera bingi okulowooza ku nsonga nga tannasalawo era ayinza okusalawo mu ngeri etali ya magezi.—Nge. 14:12.
6. Tuyinza tutya okufuna endowooza ennuŋŋamu?
6 Wadde nga tetutuukiridde, Yakuwa, Kitaffe ow’omu ggulu, ye atuukiridde. (Ma. 32:4) Eky’essanyu kiri nti Yakuwa asobola okutuyamba okukyusa endowooza yaffe ne tusobola okufuna endowooza ennuŋŋamu. (Soma 2 Timoseewo 1:7.) Ffenna Abakristaayo twagala okulowooza n’okusalawo mu ngeri ey’amagezi. N’olwekyo, tulina okuyiga okufuga ebirowoozo byaffe n’enneewulira zaffe n’okufuba okuba n’endowooza ng’eya Yakuwa.
7, 8. Waayo ekyokulabirako ekiraga nti tusobola okusalawo obulungi wadde nga tupikirizibwa oba nga twolekagana n’ebizibu.
7 Lowooza ku kyokulabirako kino. Abantu abamu ababa bagenze mu nsi endala okukola ssente batera okuweereza abaana baabwe abawere mu b’eŋŋanda zaabwe, bo basobole okweyongera okukola ssente.a Omukyala omu eyali agenze okukola ssente mu nsi endala yazaala omwana. Naye mu kiseera ekyo yatandika okuyiga Bayibuli n’okukolera ku by’ayiga. Ab’eŋŋanda z’omukyala oyo awamu ne mikwano gye baagezaako okumupikiriza awamu n’omwami we baweereze omwana waabwe mu bajjajjaabe. Naye omukyala oyo yali amaze okuyiga nti bo ng’abazadde, Katonda yali abeetaagisa okulabirira omwana waabwe. (Zab. 127:3; Bef. 6:4) Kati olwo yandibadde akolera ku ekyo bangi kye baali bagamba nti kye kituufu? Oba yandibadde akolera ku ebyo bye yali ayize mu Bayibuli wadde nga kyandibadde kimukosa mu by’enfuna era nga ne mikwano gye balaba nti ky’akoze si kya magezi? Ggwe kiki kye wandikoze mu mbeera ng’eyo?
8 Bwe yali apikirizibwa, omukyala oyo yasaba Yakuwa amuwe obulagirizi. Bwe yayogerako n’oyo eyali amuyigiriza Bayibuli awamu n’ab’oluganda abalala mu kibiina, yategeera endowooza ya Yakuwa ku nsonga eyo. Ate era yalowooza ku buzibu abaana bwe bayitamu nga tebakuze na bazadde baabwe. Oluvannyuma lw’okufumiitiriza ku ekyo Bayibuli ky’eyogera ku nsonga eyo, yasalawo obutaweereza mwana waabwe eri bajjajjaabe. Omwami we bwe yalaba engeri ab’oluganda mu kibiina gye baabayambamu n’embeera ennungi omwana waabwe gye yalimu, yakkiriza okuyiga Bayibuli era n’atandika okugenda mu nkuŋŋaana ne mukyala we.
9, 10. Kitegeeza ki okuba n’endowooza ennuŋŋamu, era tuyinza tutya okugifuna?
9 Ng’ekyokulabirako ekyo bwe kiraze, okuba n’endowooza ennuŋŋamu tekitegeeza kukola bukozi ekyo ffe kye tuwulira nti kituufu oba ekyo abalala kye balowooza nti kituufu. Ebirowoozo byaffe n’omutima gwaffe ebitatuukiridde bisobola okugeraageranyizibwa ku ssaawa etekola bulungi. Bwe tukozesa essaawa ng’eyo, tuyinza okugwa mu buzibu obw’amaanyi. (Yer. 17:9) N’olwekyo, bwe tuba ab’okwewala okugwa mu bizibu, tulina okufuba okulaba nti tuba n’endowooza ng’eya Yakuwa.—Soma Isaaya 55:8, 9.
10 Bayibuli egamba nti: “Weesigenga Mukama n’omutima gwo gwonna. So teweesigamanga ku kutegeera kwo gwe. Mwatulenga mu makubo go gonna, kale anaaluŋŋamyanga olugendo lwo.” (Nge. 3:5, 6) Weetegereze ebigambo “teweesigamanga ku kutegeera kwo gwe.” Oluvannyuma lw’okwogera ebigambo ebyo, Bayibuli etukubiriza ‘okwatulanga’ oba okulowoozanga ku Yakuwa. Yakuwa alina endowooza etuukiridde. N’olwekyo, buli lwe tubaako ekintu kye twagala okusalawo, tusaanidde okunoonya obulagirizi mu Bayibuli tusobole okufuna endowooza ya Katonda ku kintu ekyo. Oluvannyuma tusaanidde okusalawo nga tugoberera obulagirizi obwo. Bwe tukola tutyo, tuba tusazeewo nga tulina endowooza ennuŋŋamu oba endowooza ya Yakuwa.
TENDEKA OBUSOBOZI BWO OBW’OKUTEGEERA
11. Kiki omuntu kye yeetaaga okukola okusobola okuyiga okusalawo mu ngeri ey’amagezi?
11 Si kyangu muntu kuyiga kusalawo mu ngeri ey’amagezi era n’akolera ku ekyo ky’aba asazeewo. Kino kiyinza okuba ekizibu ennyo naddala eri abo abaakabatizibwa oba abaakatandika okukulaakulana mu by’omwoyo. Kyokka abantu ng’abo, Bayibuli beeyita abaana mu by’omwoyo, basobola okuyiga okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Lowooza ku ngeri omwana gy’ayigamu okutambula. Omwana omuto atandika mpolampola okuseetula ebigere era ekiseera bwe kigenda kiyitawo, ayiga okutambula. Bwe kityo bwe kiri ne ku bantu abakyali abato mu by’omwoyo, abatandika obutandisi okuyiga okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Omutume Pawulo yagamba nti abantu abakulu beebo “abakozesa obusobozi bwabwe obw’okutegeera ne babutendeka okwawulawo ekituufu n’ekikyamu.” Ebigambo ‘okukozesa’ ne ‘okutendeka’ biraga nti tetulina kulekera awo kutendeka busobozi bwaffe obw’okutegeera. N’olwekyo, abantu abapya mu mazima balina okweyongera okufuba okuyiga okusalawo mu ngeri ey’amagezi.—Soma Abebbulaniya 5:13, 14.
12. Tuyinza tutya okuyiga okusalawo obulungi?
12 Nga bwe twalabye ku ntandikwa, buli lunaku tulina okubaako ebintu bye tusalawo, ebinene n’ebitono. Abanoonyereza ku ngeri abantu gye basalawo ku bintu ebitali bimu bagamba nti, kumpi kimu kya kubiri eky’ebintu bye tusalawo tubisalawo nga tetusoose kufumiitiriza. Ng’ekyokulabirako, buli ku myaka tulina okusalawo eky’okwambala. Ekyo kiyinza okulabika ng’ekintu ekitono ekitakwetaagisa kulowoozaako nnyo nga tonnasalawo. Naye kikulu nnyo okulowooza ku ky’oba ogenda okwambala olabe obanga ddala kinaalaga nti oli muweereza wa Yakuwa. (2 Kol. 6:3, 4) Bw’ogenda okugula engoye oyinza okuba ng’otera okulowooza ku misono egiri ku mulembe. Naye otera okwebuuza obanga engoye z’oyagala okugula zisaanira era obanga olina ssente ezinaazigula? Bwe tufuba okusalawo obulungi mu nsonga entono, kijja kutuyamba okutendeka obusobozi bwaffe obw’okutegeera, kituyambe okusalawo obulungi ne mu nsonga ennene.—Luk. 16:10; 1 Kol. 10:31.
BA MUMALIRIVU OKUKOLA EKITUUFU
13. Kiki ekinaatuyamba okukolera ku ebyo bye tuba tusazeewo?
13 Ne bwe tuba tukimanyi nti tusazeewo bulungi, oluusi tekiba kyangu kukolera ku ekyo kye tuba tusazeewo. Ng’ekyokulabirako, abantu abamu ababa baagala okulekera awo okunywa sigala balemererwa olw’okuba tebaba bamalirivu kulekera awo kumunywa. N’olwekyo, bwe tusalawo ekintu, twetaaga okuba abamalirivu okukolera ku ekyo kye tuba tusazeewo. Kati olwo kiki ekinaatuyamba okuba abamalirivu okukolera ku ebyo bye tuba tusazeewo? Tulina okusaba Yakuwa atuyambe.—Soma Abafiripi 2:13.
14. Lwaki Pawulo yasobola okukola ekituufu?
14 Omutume Pawulo naye yali akimanyi nti si kyangu kukola kituufu. Lumu yagamba nti: “Njagala okukola ekirungi naye nnemwa okukikola.” Yali amanyi ky’ayagala okukola oba ky’asaanidde okukola, naye ebiseera ebimu yalemererwanga okukikola. Yagamba nti: “Mazima ddala nsanyukira etteeka lya Katonda mu mutima gwange, naye mu mubiri gwange ndaba etteeka eddala erirwanyisa etteeka ery’omu birowoozo byange, era linfuula omuddu w’etteeka ly’ekibi eriri mu mubiri gwange.” Kati olwo Pawulo alina wonna we yali asobola okufuna obuyambi? Yee. Yagamba nti: “Katonda yeebazibwe okuyitira mu Yesu Kristo Mukama waffe!” (Bar. 7:18, 22-25) Ate era olulala yagamba: “Nnyinza byonna olw’oyo ampa amaanyi.”—Baf. 4:13.
15. Lwaki tulina okuba abamalirivu okukola ekituufu?
15 Bwe tuba twagala okusanyusa Katonda, tulina okusalawo okukola ekituufu era ne tuba bamalirivu okukikola. Lowooza ku bigambo Eriya bye yagamba abasinza ba Baali n’Abaisiraeri abaali bafuuse bakyewaggula ku Lusozi Kalumeeri: “Mulituusa wa okutta aga n’aga nga mulowooza wabiri? Mukama oba ye Katonda, mumugoberere: naye oba Baali, kale mumugoberere ye.” (1 Bassek. 18:21) Abaana ba Isiraeri baali bamanyi ekituufu eky’okukola, naye nga ‘batta aga n’aga,’ nga tebasalawo. Kyokka ye Yoswa yali wa njawulo. Lumu yagamba Abaisiraeri abaaliwo mu kiseera kye nti: “Oba nga mulowooza nga kibi okuweerezanga Mukama, mulonde leero gwe munaaweerezanga . . . naye nze n’ennyumba yange, ffe tunaaweerezanga Mukama.” (Yos. 24:15) Mikisa ki Yoswa awamu n’abo abaamunywererako gye baafuna? Baasobola okuyingira mu Nsi Ensuubize eyali “ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki.”—Yos. 5:6.
SALAWO MU NGERI EY’AMAGEZI OFUNE EMIKISA
16, 17. Waayo ekyokulabirako ekiraga nti bwe tusalawo mu ngeri esanyusa Katonda tufuna emikisa.
16 Lowooza ku w’oluganda omu eyali yaakabatizibwa era ng’alina omukyala n’abaana abato basatu. Omulimu gwe yali akola gwali gumusasula kitono naye nga gumusobozesa okubaawo mu nkuŋŋaana n’okubuulira ku wiikendi awamu n’ab’omu maka ge. Lumu, mukozi munne yamuwa amagezi baleke omulimu ogwo bafune omulala ogwali gusasula ssente ennyingi. Ow’oluganda oyo yalowooza ku nsonga eyo era n’asaba Yakuwa amuyambe okusalawo obulungi. Yakiraba nti okukola omulimu ogwo omupya kyanditaataaganyizza enteekateeka ze ez’eby’omwoyo okumala ekiseera. Singa wali ggwe, wandikoze ki?
17 Oluvannyuma lw’okufumiitiriza ku ngeri okukola omulimu ogwo gye kyandikosezzaamu enkolagana ye ne Yakuwa, yasalawo okugugaana. Olowooza yejjusa olw’okusalawo bw’atyo? Nedda. Yakiraba nti okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa kisingira wala okufuna ssente ennyingi. Ow’oluganda oyo ne mukyala we baasanyuka nnyo muwala waabwe omukulu ow’emyaka ekkumi bwe yagamba nti ayagala nnyo bazadde be, ab’oluganda mu kibiina, ne Yakuwa. Era yagamba nti yali ayagala kwewaayo eri Yakuwa era abatizibwe. Ekyokulabirako ekirungi kitaawe kye yateekawo mu kukulembeza okusinza okw’amazima kyamuganyula nnyo!
18. Lwaki tusaanidde okusalawo mu ngeri ey’amagezi buli lunaku?
18 Yesu Kristo, Oyo asinga Musa obukulu, amaze emyaka mingi ng’akulembera abantu ba Katonda ng’abayisa mu nsi ya Sitaani. Era ng’Oyo asinga Yoswa obukulu, Yesu anaatera okuzikiriza enteekateeka ya Sitaani, ayingize abagoberezi be mu nsi empya ey’obutuukirivu. (2 Peet. 3:13) N’olwekyo, si kya magezi mu kiseera kino kuddamu kuba na ndowooza enkyamu ze twalina, emize emibi gye twalina, n’ebiruubirirwa ebikyamu bye twalina. Mu kifo ky’ekyo, tusaanidde okukozesa ekiseera kino okweyongera okutegeera ebyo Katonda by’ayagala. (Bar. 12:2; 2 Kol. 13:5) N’olwekyo, fuba okulaba nti ebyo by’osalawo buli lunaku biraga nti oyagala okufuna emikisa egiva eri Katonda emirembe n’emirembe.—Soma Abebbulaniya 10:38, 39.
a Ensonga endala lwaki abantu abamu bakola batyo, kwe kwagala bazadde baabwe okweraga olw’okuba n’abazzukulu ababa bavudde ebweru.