Katonda Kye Yagatta Awamu Tokyawulanga
“Obutaba babiri nate, naye omubiri gumu. Kale Katonda kye yagatta awamu, omuntu takyawulangamu.”—MATAYO 19:6.
1, 2. Lwaki kituufu era nga kya mu Byawandiikibwa nti abafumbo ebiseera ebimu bajja kufuna ebizibu?
KUBA akafaananyi nti ogenda kutambula olugendo oluwanvu ng’okozesa ekidduka. Osuubira okusanga ebizibu mu kkubo? Kiba kikyamu okulowooza nti tojja kubifuna! Ng’ekyokulabirako, embeera y’obudde eyinza okwonooneka ne kikwetaagisa okuvuga n’obwegendereza. Oba ekidduka kiyinza okwonooneka ennyo ne kiba nti olina okufuna anaakuyamba. Ebizibu ng’ebyo byandikuleetedde okulowooza nti wakoze nsobi okutambula olugendo olwo era nti ekidduka ekyo tosaanidde kuddamu kukikozesa? Nedda. Bw’oba oli ku lugendo oluwanvu, osuubira okufuna ebizibu era kiba kya magezi okulaba engeri gy’osobola okubigonjoolamu.
2 N’obufumbo bwe butyo bwe buli. Bulina okubaamu ebizibu, era kiba kikyamu abo abaagala okuyingira obufumbo okusuubira obulamu obw’essanyu ejjereere. Mu Abakkolinso Ekisooka 7:28, Baibuli ekiraga bulungi nti abasajja n’abakazi abafumbo bandifunye “okubonaabona mu mubiri.” Lwaki kiri bwe kityo? Ensonga eri nti, abasajja n’abakazi tebatuukiridde, era tuli mu ‘biro eby’okulaba ennaku.’ (2 Timoseewo 3:1; Abaruumi 3:23) Bwe kityo, ne bwe kiba nti bategeeragana bulungi era nga bafaayo nnyo ku by’omwoyo, ebiseera ebimu bajja kufuna ebizibu.
3. (a) Abantu bangi mu nsi batwala batya obufumbo? (b) Lwaki Abakristaayo bafuba okugonjoola ebizibu ebiba bizzeewo mu bufumbo?
3 Ennaku zino abantu abamu bwe bafuna ebizibu mu bufumbo, kye basooka okulowoozaako kwe kubuvaamu. Mu nsi nnyingi, omuwendo gw’obufumbo obusasika gweyongera enkya n’eggulo. Kyokka, Abakristaayo ab’amazima bo bafuba okugonjoola ebizibu mu kifo ky’okugattululwa. Lwaki? Kubanga batwala obufumbo ng’ekirabo eky’omuwendo okuva eri Yakuwa. Yesu yayogera bw’ati ku bafumbo: “Kale Katonda kye yagatta awamu, omuntu takyawulangamu.” (Matayo 19:6) Kyo kituufu nti okutambulira ku mutindo ogwo bulijjo si kyangu. Ng’ekyokulabirako, ab’eŋŋanda n’abantu abalala—nga mwe muli n’abo abawa amagezi ku nsonga z’obufumbo—abatassa kitiibwa mu misingi gya Baibuli, bakubiriza abafumbo okwawukana oba okugattululwa wadde ng’ensonga ezisinziirwako si za mu byawandiikibwa.a Naye Abakristaayo bakimanyi nti okugonjoola ebizibu ebiba bizzeewo mu bufumbo kisingira wala okugattululwa. Mazima ddala, kikulu nnyo okutandika obufumbo nga tuli bamalirivu okugoberera amakubo ga Yakuwa—so si okukolera ku magezi g’abantu.—Engero 14:12.
Okugonjoola Ebizibu
4, 5. (a) Bizibu ki ebiteekwa okubaawo mu bufumbo? (b) Lwaki emisingi egiri mu Kigambo kya Katonda ddala gikola ne bwe wabaawo ebizibu mu bufumbo?
4 Ekituufu kiri nti abafumbo bonna bulijjo balina okufaayo ku mbeera y’obufumbo bwabwe. Emirundi egisinga, ekyo kiba kyetaagisa okugonjoola obutategeeragana obutonotono obuba buzzeewo. Wabula mu bufumbo obumu, wayinza okubaawo ebizibu eby’amaanyi ebiyinza okubwonoona. Ebiseera ebimu, kiyinza okukwetaagisa okusaba omukadde Omukristaayo omufumbo alina obumanyirivu akuyambe. Kyokka, ekyo tekitegeeza nti obufumbo bukulemye. Kiba kiraga bulazi nti kikulu okunywerera ku misingi gya Baibuli mu kugonjoola ebizibu.
5 Olw’okuba ye yatonda abantu era nga ye yatandikawo obufumbo, tewali asinga Yakuwa kumanya kye tusaanidde kukola okusobola okubeera n’enkolagana ennungi mu bufumbo. Ekibuuzo kiri nti, Tunaawuliriza okubuulira okutuweebwa mu Kigambo kye era ne tukugoberera? Awatali kubuusabuusa tujja kuganyulwa bwe tunaakikola. Yakuwa yagamba bw’ati abantu be ab’edda: “Singa wawulira amateeka gange! Kale emirembe gyo gyandibadde ng’omugga, n’obutuukirivu bwo ng’amayengo g’ennyanja.” (Isaaya 48:18) Bwe tukolera ku bulagirizi obuli mu Baibuli tujja kufuna essanyu mu bufumbo. Ka tusooke twekenneenye okubuulirira Baibuli kw’ewa abasajja abafumbo.
“Mwagalenga Bakazi Bammwe”
6. Kubuulirira ki Baibuli kw’ewa abasajja abafumbo?
6 Ebbaluwa y’omutume Pawulo eri Abaefeso erimu obulagirizi obulungi eri abasajja abafumbo. Pawulo yawandiika nti: “Abasajja, mwagalenga bakazi bammwe, era nga Kristo bwe yayagala ekkanisa, ne yeewaayo ku lwayo. Era bwe kibagwanidde bwe kityo abasajja okwagalanga bakazi baabwe bennyini ng’emibiri gyabwe bennyini. Ayagala mukazi we yennyini, yeeyagala yekka: kubanga tewali muntu eyali akyaye omubiri gwe yennyini, naye aguliisa agujjanjaba, era nga Kristo bw’ajjanjaba ekkanisa. Naye era nammwe buli muntu ayagalenga mukazi we nga bwe yeeyagala yekka.”—Abaefeso 5:25, 28, 29, 33.
7. (a) Kintu ki ekisaanidde okuba ekikulu ennyo mu kugonjoola ebizibu ebiba bizzeewo mu bufumbo bw’Abakristaayo? (b) Abasajja basobola batya okusigala nga baagala bakazi baabwe?
7 Pawulo tayogera ku buli kizibu ekiyinza okubalukawo wakati w’omwami n’omukyala. Wabula, alaga ekintu ekisaanidde okuba ekikulu ennyo mu kugonjoola ebizibu ebiba bizzeewo mu bufumbo bw’Abakristaayo bwonna—okwagala. Mu butuufu, okwagala kwogerwako emirundi mukaaga mu nnyiriri ezo waggulu. Ate era weetegereze nti Pawulo agamba abasajja: ‘Mwagalenga bakazi bammwe.’ Awatali kubuusabuusa, Pawulo yali akimanyi nti okutandika okwagalana kyangu nnyo okusinga okusigala nga mwagalana. Ekyo kituufu nnyo naddala ‘mu nnaku zino ez’oluvannyuma,’ nga bangi “beeyagala bokka” era nga ‘tebatabagana.’ (2 Timoseewo 3:1-3) Engeri ng’ezo zireetedde obufumbo bungi leero okusattulukuka, naye omwami alina okwagala tajja kukkiriza ngeri zino ez’ensi kumutwaliriza.—Abaruumi 12:2.
Osobola Otya Okulabirira Mukazi Wo?
8, 9. Mu ngeri ki omusajja Omukristaayo gy’alabiriramu mukazi we?
8 Bw’oba oli musajja Mukristaayo, osobola otya okwewala omwoyo gw’okwefaako wekka era n’olaga mukyala wo okwagala okwa nnamaddala? Mu bigambo bye eri Abaefeso ebiragiddwa waggulu, Pawulo yanokolayo ebintu bibiri bye weetaaga okukola—okulabirira mukyala wo, era n’okumwagala ng’omubiri gwo gwennyini. Osobola otya okulabirira mukyala wo? Engeri emu kwe kukola ku byetaago bye eby’omubiri. Pawulo yawandiikira Timoseewo nti: “Naye omuntu yenna bw’atajjanjaba babe, n’okusinga ab’omu nnyumba ye, nga yeegaanyi okukkiriza, era nga ye mubi okusinga atakkiriza.”—1 Timoseewo 5:8.
9 Kyokka, kisingawo okuwa obuwi mukazi wo emmere, eby’okwambala, n’aw’okusula. Lwaki? Kubanga omusajja ayinza okuba ng’awa mukazi we ebintu ebyo naye ate n’atafaayo ku nneewulira ze n’ebyetaago bye eby’omwoyo. Okukola ku byetaago bino kikulu nnyo. Kituufu, abasajja Abakristaayo bangi balina eby’okukola bingi mu kibiina. Naye eky’okuba n’obuvunaanyizibwa obw’amaanyi mu kibiina tekitegeeza nti omusajja alina okulagajjalira obuvunaanyizibwa Katonda bwe yamuwa ng’omutwe gw’amaka. (1 Timoseewo 3:5, 12) Nga koogera ku nsonga eno emyaka egy’emabega, akatabo kano kaagamba bwe kati: “Kiba kituukagana n’emisingi gya Baibuli okugamba nti ‘okulabirira endiga kutandikira waka.’ Singa omukadde alagajjalira amaka ge, asobola okufiirwa enkizo ye ey’okuweereza ng’omukadde.”b Awatali kubuusabuusa, kyetaagisa okukola ku byetaago bya mukyala wo—eby’omubiri, enneewulira ze, n’ekisinga byonna obukulu, ebyetaago bye eby’omwoyo.
Kitegeeza Ki Okutwala Mukazi Wo nga Wa Muwendo?
10. Omusajja asobola atya okulaga nti atwala mukazi we nga wa muwendo?
10 Singa otwala mukazi wo nga wa muwendo, ojja kumulabirira bulungi kubanga omwagala. Kino osobola okukikola mu ngeri eziwerako. Esooka, funa ekiseera ekimala okubeerako ne mukyala wo. Singa tokola ekyo, okwagala kwe gy’oli kuyinza okuwola. Ate kimanye nti oyinza okulowooza nti omuwa ebiseera ebimala era omuwuliriza, ng’ate ye si bw’alowooza. Tekimala kwogera bwogezi nti otwala mukazi wo nga wa muwendo. Mukazi wo ateekwa okuwulira nti ddala omufaako. Pawulo yawandiika nti: “Omuntu yenna tanoonyanga bibye yekka, wabula ebya munne.” (1 Abakkolinso 10:24) Ng’omusajja ayagala mukazi we, oteekwa okukakasa nti otegeerera ddala bulungi ebyetaago bye.—Abafiripi 2:4.
11. Engeri omusajja gy’ayisaamu mukazi we ekwata etya ku nkolagana ye ne Katonda era n’ekibiina?
11 Engeri endala mw’oyinza okulagira nti otwala mukazi wo nga wa muwendo kwe kwongera naye era n’okumuyisa mu ngeri ey’ekisa. (Engero 12:18) Pawulo yawandiikira Abakkolosaayi nti: “Abasajja, mwagalenga bakazi bammwe, so temubakwatirwanga bukambwe.” (Abakkolosaayi 3:19) Okusinziira ku kitabo ekimu, akatundu akasembayo mu kyawandiikibwa ekyo kayinza okukyusibwa “temubayisa nga bakozi ba waka” oba “oba temubayisa ng’abaddu bammwe.” Omusajja bw’ayisa obubi mukazi we—mu lujjudde oba nga bali bokka—mazima ddala aba tamutwala nga wa muwendo. Bw’ayisa obubi mukazi we, asobola okwonoona enkolagana ye ne Katonda. Omutume Peetero yawandiikira bw’ati abasajja: “Mubeerenga n’abakazi bammwe n’amagezi, nga mussangamu ekitiibwa omukazi ng’ekibya ekisinga obunafu, kubanga nabo basika bannammwe ab’ekisa eky’obulamu; okusaba kwammwe kulemenga okuziyizibwa.”c—1 Peetero 3:7.
12. Kiki omusajja Omukristaayo ky’ayigira ku ngeri Yesu gye yayisaamu ekibiina?
12 Tolowooza nti mukyala wo okukwagala kijja kujja kyokka. Mukakase nti omwagala. Yesu yateerawo abasajja Abakristaayo ekyokulabirako mu ngeri gye yayisaamu ekibiina Ekikristaayo. Yali mukwata mpola, nga wa kisa era ng’asonyiwa—abagoberezi be ne bwe baakolanga ensobi emirundi n’emirundi. N’olwekyo Yesu yali asobola okugamba abalala nti: “Mujje gye ndi, . . . kubanga ndi muteefu era muwombeefu mu mutima: nammwe muliraba ekiwummulo eky’omu mwoyo gwammwe.” (Matayo 11:28, 29) Ng’akoppa Yesu, omusajja Omukristaayo ayisa mukazi we nga Yesu bwe yayisa ekibiina. Omusajja alaga mukazi we nti wa muwendo gy’ali mu bigambo ne mu bikolwa amuzzaamu nnyo amaanyi.
Abakazi Abakolera ku Misingi gya Baibuli
13. Misingi ki egiri mu Baibuli egiyinza okuyamba abakazi?
13 Baibuli era erimu emisingi egiyinza okuyamba omukazi. Abaefeso 5:22-24, 33 wagamba nti: “Abakazi, muwulirenga babbammwe, nga bwe muwulira Mukama waffe. Kubanga omusajja gwe mutwe gwa mukazi we, era nga Kristo bw’ali omutwe gw’ekkanisa, bw’ali omulokozi ow’omubiri yennyini. Naye ng’ekkanisa bw’ewulira Kristo, n’abakazi bwe batyo bawulirenga babbaabwe mu buli kigambo. . . . omukazi atyenga bba.”
14. Lwaki omusingi gwa Baibuli ogukwata ku bukulembeze tegumalaamu bakazi kitiibwa?
14 Weetegereze essira Pawulo lye yassa ku mukazi okuwulira n’okuwa bbaawe ekitiibwa. Wano omukazi ajjukizibwa nti alina okuwulira bbaawe. Kino kituukagana bulungi n’enteekateeka ya Katonda. Buli kitonde kyonna mu ggulu ne ku nsi kiriko akifuga. Ne Yesu kennyini afugibwa Yakuwa Katonda. (1 Abakkolinso 11:3) Awatali kubuusabuusa, omusajja bw’akozesa obulungi ekifo kye eky’obukulembeze, kiyamba mukazi we okuba omuwulize.
15. Okumu ku kubuulirira Baibuli kw’ewa abakazi kwe kuruwa?
15 Pawulo era yagamba nti omukazi “atyenga bba.” Omukazi Omukristaayo asaanidde okwoleka ‘omwoyo omuwombeefu era omuteefu,’ so si kusoomooza buyinza bwa bbaawe oba okukola nga ye bw’ayagala. (1 Peetero 3:4) Omukazi atya Katonda akola nnyo okusobola okulabirira ab’omu maka ge n’okuweesa bbaawe ekitiibwa. (Tito 2:4, 5) Ajja kufuba okwogera obulungi ku mwami we bw’atyo aleme kuleetera balala kumuyisaamu maaso. Era ajja kukola buli ky’asobola okuwagira kyonna bbaawe ky’aba asazeewo.—Engero 14:1.
16. Kiki abakazi Abakristaayo kye basobola okuyigira ku Saala ne Lebbeeka?
16 Okuba n’omwoyo omuwombeefu era omuteefu tekitegeeza nti omukazi Omukristaayo talina kuwa ndowooza ye oba nti ebirowoozo bye si bikulu. Abakazi abatya Katonda ab’edda, nga Saala ne Lebbeeka, baayogera kye baali balowooza, era Baibuli eraga nti kye baakola kyasanyusa Yakuwa. (Olubereberye 21:8-12; 27:46–28:4) Abakazi Abakristaayo nabo basobola okwogera kye balowooza. Kyokka, basaanidde okwogera obulungi so si mu ngeri emalamu babbaabwe ekitiibwa. Mu ngeri eno kijja kwanguyira abasajja okuwuliriza kye bagamba.
Okunywerera ku Munno mu Bufumbo
17, 18. Ezimu ku ngeri eziyinza okuyamba omwami n’omukyala okuziyiza Setaani aleme kwonoona bufumbo bwabwe ze ziruwa?
17 Obufumbo buba bwa lubeerera. N’olw’ekyo, omwami n’omukyala bombi balina okuba nga ddala baagala obufumbo bwabwe okugenda mu maaso. Obutaba na mpuliziganya nnungi kiyinza okuleetera ekizibu ekibadde ekitono okufuuka eky’amaanyi. Emirundi mingi abafumbo bwe bafuna obutategeeragana balekera awo okwogeraganya, ekireetawo obukyayi. Abamu bayinza n’okusala amagezi okuva mu bufumbo, oba okwegwanyiza omuntu omulala. Yesu yalabula nti: “Buli muntu atunuulira omukazi okumwegomba, ng’amaze okumwendako mu mutima gwe.”—Matayo 5:28.
18 Omutume Pawulo yabuulirira Abakristaayo bonna, nga mwe muli n’abo abali mu bufumbo nti: “Musunguwalenga so temwonoonanga: enjuba eremenga okugwa ku busungu bwammwe: so temuwanga bbanga Setaani.” (Abaefeso 4:26, 27) Omulabe waffe omukulu, Setaani, agezaako nnyo okulaba nti obutakkaanya obuba buzzeewo wakati w’Abakristaayo buvaako ebizibu eby’amaanyi. Temumukkiriza kubawangula! Bwe wabaawo ebizibu, munoonyereze Baibuli ky’eyogera ku ndowooza ya Yakuwa ku nsonga eyo nga mweyambisa ebitabo ebinnyonnyola Baibuli. Mugonjoole obutakkaanya bwonna mu bukkakkamu era nga buli omu ayogera ekimuli ku mutima. Mugoberere emitindo gya Yakuwa mu byonna bye mukola. (Yakobo 1:22-25) Bwe kituuka ku bufumbo bwammwe, mwembi mube bamalirivu okweyongera okutambula ne Katonda, era temuganya muntu yenna oba kintu kyonna kwawula kye yagatta!—Mikka 6:8.
[Obugambo obuli wansi]
a Laba akasanduuko “Okugattululwa n’Okwawukana” mu Awake! eya Febwali 8, 2002, olupapula 10, eyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
b Laba Watchtower, eya Maayi 15, 1989, olupapula 12.
c Bw’aba ow’okuweebwa enkizo mu kibiina Ekikristaayo, omusajja ateekwa kuba nga ‘takuba’ oba okuvuma abalala. N’olw’ekyo, Watchtower eya Ssebutemba 1, 1990, ku lupapula 25 egamba: “Omusajja ne bw’aba ng’alaga okutya Katonda mu bintu ebirala naye ng’ayisa bubi ab’omu maka ge, tasaanira kuba na nkizo.”—1 Timoseewo 3:2-5, 12.
Ojjukira?
• Lwaki obufumbo bw’Abakristaayo nabwo buyinza okubaamu ebizibu?
• Omusajja asobola atya okulabirira mukazi we era n’alaga nti amutwala nga wa muwendo?
• Omukazi ayinza kukola ki okulaga nti awa bbaawe ekitiibwa?
• Omwami n’omukyala basobola batya okunywerera mu bufumbo bwabwe?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]
Omwami alina okulabirira obulungi mukazi we mu by’omubiri n’eby’omwoyo
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]
Omusajja atwala mukazi we nga wa muwendo amuzzaamu nnyo amaanyi
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]
Abakazi Abakristaayo boogera ekibali ku mutima mu ngeri eraga nti bawa babbaabwe ekitiibwa