Abasomi Baffe Babuuza
Abajulirwa ba Yakuwa Bakkiririza mu Ndagaano Enkadde?
Abajulirwa ba Yakuwa batwala Baibuli okuba Ekigambo kya Katonda era bakkiriza nti erimu Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya. Kyokka, ebitundu byayo ebyo ebibiri babiyita “Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya” ne “Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani,” olw’okuba Olwebbulaniya n’Oluyonaani ze nnimi mwe byawandiikibwa okusooka.
Ku luuyi olulala, abantu abamu abeeyita Abakristaayo tebakkiririza nnyo mu Ndagaano Nkadde. Baagamba nti Katonda gw’eyogerako mukambwe nnyo, awagira entalo, mutemu, era akola ebintu ebitakwatagana na Katonda omulungi ennyo era ow’okwagala ayogerwako mu Ndagaano Empya. Oba bagamba nti olw’okuba Endagaano Enkadde okusinga ekwata ku nsinza ya Kiyudaaya, Abakristaayo tebakwatako. Naye, bw’olowooza ku ekyo Katonda kye yalagira mu Ekyamateeka 12:32 ng’agamba nti ekigambo kye tekirina kwongerwako oba kutoolebwako, ddala baba batuufu okusambajja ekitundu kya Baibuli ekinene bwe kityo, ebitundu bisatu byakuna?
Mu mwaka 50 E.E., omutume Pawulo yakyalira Abasessaloniika mu Buyonaani “[n’akubaganya nabo ebirowoozo ku] byawandiikibwa, ng’abikkula ng’ategeeza nti Kristo kyamugwanira okubonyaabonyezebwa n’okuzuukizibwa mu bafu.” (Ebikolwa 17:1-3) Abamu ku abo abaamuwuliriza baafuuka Bakristaayo, era oluvannyuma Pawulo yabasiima n’agamba nti: “Bwe mwaweebwa ffe ekigambo eky’okuwulirwa, kye kya Katonda, temwakitoola nga kigambo kya bantu, naye nga bwe kiri amazima, ekigambo kya Katonda.” (1 Abasessaloniika 2:13) Mu kiseera ekyo, ku bitabo 27 eby’Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani, kirabika ekitabo kyokka ekyali kiwedde okuwandiika kye eky’Enjiri ya Matayo. N’olwekyo, ‘Ebyawandiikibwa’ Pawulo bye ‘yabikkula’ biteekwa okuba nga byali Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya.
Mu butuufu, abawandiisi b’Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani baajuliza butereevu Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya emirundi nga 320, ate ne baabikoonako emirundi nga 890. Lwaki baakola batyo? “Kubanga byonna ebyawandiikibwa edda, byawandiikibwa kutuyigiriza ffe, tulyoke tubeerenga n’okusuubira olw’okugumiikiriza n’olw’okusanyusa kw’ebyawandiikibwa.” (Abaruumi 15:4) Kino kiraga bulungi nti abo abakkiriza Baibuli yonna leero baganyulwa nnyo.
Kyeyoleka bulungi nti Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani byongereza ku Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya era biraga engeri ebigendererwa bya Katonda gye bigenda bituukirizibwamu. Tebirina wonna we biragira nti Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya tebikyalina mugaso. Herbert H. Farmer, profesa mu by’eddiini mu Yunivasite y’e Cambridge, agamba nti ebitabo by’Enjiri “tebisobola kutegeerekeka nga tosoose kutegeera byafaayo bya bantu abaatambulira ku ndagaano y’Amateeka, ebisangibwa mu Ndagaano Enkadde.”
Ekigambo kya Katonda tekirina we kyetaaga kutereezaamu. Naye, “ekkubo ery’abatuukirivu liriŋŋanga omusana ogwakayakana, ogweyongerayongera okwaka okutuusa obudde lwe butuukirira.” (Engero 4:18) Mu kuluŋŋamya abantu okuwandiika Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani, Katonda yali ayongera kutangaaza ku kutuukirizibwa kwa bigendererwa bye, so yali talaga nti Ebyawandiikibwa by’Olwebbulaniya tebikyalina mugaso. Byonna awamu kye ‘kigambo kya Yakuwa ekibeerera emirembe n’emirembe.’—1 Peetero 1:24, 25.