‘Byawandiikibwa Okutuyigiriza’
‘OKUWANDIIKA ebitabo ebingi tekukoma.’ (Omubuulizi 12:12) Olw’okuba leero waliwo ebitabo bingi nnyo ebikubibwa mu kyapa kyeyoleka bulungi nti ebigambo ebyo bikyali bituufu nga bwe byali nga byakawandiikibwa. Kati olwo omuntu ayinza kusalawo atya ekitabo ky’asaanidde okusoma?
Abantu bangi baagala nnyo okusooka okumanya ebikwata ku muwandiisi w’ekitabo nga tebannasalawo obanga banaakisoma. Omuntu bw’awandiika ekitabo ayinza okukissaamu akatundu akalaga omuwandiisi gy’abeera, obuyigirize bwe, n’olukalala lw’ebitabo bye ebirala ebyafulumizibwa. Ekiraga nti okumanya omuwandiisi w’ekitabo kikulu nnyo kwe kuba nti mu biseera eby’edda omukazi bwe yawandiikanga ebitabo yakissangako erinnya ly’omusajja mu kifo ky’erirye, abasomi baleme kukiyisaamu maaso olw’okuba mukazi y’akiwandiise.
Eky’ennaku, nga bwe tulabye mu kitundu ekivuddeko, abamu beewala okusoma Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya nga balowooza nti Katonda gwe byogerako mukambwe nnyo era yazikirizanga abalabe be awatali kusaasira.a Ka tulabe kiki Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya n’eby’Oluyonaani kye byogera ku Muwandiisi wa Baibuli.
Ebikwata ku Muwandiisi
Okusinziira ku Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya, Katonda yagamba eggwanga lya Isiraeri nti: “Nze Mukama sijjulukuka.” (Malaki 3:6) Nga wayise emyaka nga 500, omuwandiisi wa Baibuli Yakobo yawandiika ku Katonda nti: “Takyukakyuka ng’ekisiikirize.” (Yakobo 1:17, NW) Kati ate lwaki abamu balowooza nti Katonda ow’omu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya wa njawulo ku Katonda w’omu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani?
Eky’okuddamu kiri nti ebitundu bya Baibuli eby’enjawulo byogera ku ngeri za Katonda za njawulo. Mu kitabo ky’Olubereberye mwokka, ayogerwako nti asobola ‘okunakuwala mu mutima gwe,’ ye ‘nnanyini ggulu n’ensi,’ era nti ye ‘Mulamuzi w’ensi zonna.’ (Olubereberye 6:6; 14:22; 18:25) Katonda ayogerwako mu ngeri zino ez’enjawulo y’omu? Yee.
Ng’ekyokulabirako: Omulamuzi w’omu kitundu ayinza okuba ng’abo be yali alamuddeko mu kkooti bamumanyi ng’omuntu anywerera ennyo ku mateeka. Kyokka bo abaana be bayinza okuba nga bamumanyi nga taata alina okwagala era abawa buli kye beetaaga. Ate mikwano gye bayinza okuba bamumanyi ng’omusajja omwangu okutuukirira era atera okusaagasaaga. Omulamuzi oyo ye taata, era y’omu ye mukwano gwa bangi. Lwa kuba nti bw’aba ali mu mbeera ez’enjawulo kimwetaagisa okwoleka engeri za njawulo.
Mu ngeri y’emu, Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya byogera ku Yakuwa nga “Katonda ajjudde okusaasira era ow’ekisa, alwawo okusunguwala, era alina okusaasira okungi n’amazima amangi.” Kyokka era bimwogerako nti ‘taggya musango n’akatono ku oyo aba agulina.’ (Okuva 34:6, 7) Engeri ezo ez’emirundi ebiri zooleka amakulu g’erinnya lya Katonda. Erinnya “Yakuwa” bwe livvuunulwa butereevu litegeeza nti “Y’asobozesa Ebintu Okubaawo.” Kwe kugamba, Katonda abeera buli ky’ayagala okusobola okutuukiriza ebisuubizo bye. (Okuva 3:13-15) Naye aba akyali Katonda y’omu. Yesu yagamba nti: “Yakuwa Katonda waffe, ye Yakuwa omu.”—Makko 12:29, NW.
Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya Byadibizibwa?
Bwe wabaawo okunoonyereza okuppya okuba kukoleddwa oba endowooza y’abasinga obungi bw’ekyuka, kya bulijjo ebitabo ebibaddewo okudibizibwa ebirala ne bikubibwa. Olwo kino kitegeeza nti Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani byadda mu kifo ky’Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya? Nedda.
Singa Yesu yali ayagala ebikwata ku buweereza bwe n’ebirala abayigirizwa be bye baawandiika bidde mu kifo ky’Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya, yandikyogedde. Kyokka, ng’ayogera ku Yesu bwe yali addayo mu ggulu, Lukka agamba nti: “Ng’atandikira ku Musa ne Bannabbi bonna [mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya], [yannyonnyola babiri ku bayigirizwa be] ebintu byonna ebyamwogerwako mu Byawandiikibwa byonna.” Oluvannyuma, Yesu yalabikira abatume be abeesigwa n’abantu abalala. “N’abagamba nti: ‘Bino bye bigambo byange bye nnababuulira nga nkyali nammwe nti, ebintu byonna ebyawandiikibwa mu mateeka ga Musa ne mu biwandiiko bya Bannabbi ne mu Zabbuli ebinkwatako, biteekwa okutuukirira.’” (Lukka 24:27, 44, NW) Lwaki Yesu yandibadde akyajuliza Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya ku nkomerero y’obuweereza bwe ku nsi singa byali byadibizibwa?
Ng’ekibiina Ekikristaayo kimaze okutandikibwawo, abagoberezi ba Yesu beeyongera okukozesa Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya okulaga obunnabbi obwali butannatuukirizibwa, emisingi egy’omugaso egiri mu Mateeka ga Musa, n’ebikwata ku baweereza ba Katonda ab’edda abaateekawo ebyokulabirako ebiyamba Abakristaayo okusigala nga beesigwa. (Ebikolwa 2:16-21; 1 Abakkolinso 9:9, 10; Abaebbulaniya 11:1–12:1) Omutume Pawulo yawandiika nti ‘Buli ekyawandiikibwa kirina okuluŋŋamya kwa Katonda era kigasa.’b (2 Timoseewo 3:16) Mu ngeri ki Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya gye biri eby’omugaso leero?
Obulagirizi mu Bulamu Obwa Bulijjo
Lowooza ku kizibu eky’okusosola mu langi ekiriwo leero. Mu kibuga ekimu eky’omu Bulaaya ow’Ebuvanjuba, omusajja Omuwesiyopiya ow’emyaka 21 agamba nti: “Bwe tubaako ne we twagala okugenda, tulina kugendera mu kibinja. Awo lwe bayinza obutatukolako kabi.” Ayongerako nti: “Tetusobola kutambula bwe zisukka essaawa 12 ez’akawungeezi, naddala bwe tuba ab’okuyita mu ttaawo. Abantu bwe batutunuulira, langi yaffe yokka gye balaba.” Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya birina kye byogera ku kizibu kino eky’amaanyi?
Abaisiraeri ab’edda baalagirwa nti: “Omusenze bw’anaatuulanga naawe mu nsi yammwe, temumuyisanga bubi. Omusenze anaatuulanga nammwe anaabanga gye muli ng’enzaalwa mummwe, era omwagalanga nga bwe weeyagala wekka, kubanga mwali basenze mu nsi y’e Misiri.” (Eby’Abaleevi 19:33, 34, NW) Yee, etteeka eryo lyali liragira Abaisiraeri ab’edda okuyisa obulungi abagwira, oba ‘abasenze’ era lisangibwa mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya. Tokkiriza nti emisingi egiri mu teeka eryo gisobola okutuyamba okumalawo obusosoze mu langi obuliwo leero?
Wadde ng’Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya tebyogera nnyo ku bya ssente, birimu obulagirizi obuyamba ku nkwata yaazo. Ng’ekyokulabirako, mu Engero 22:7, tusoma nti: “Eyeewola aba muddu w’awola.” Abawi b’amagezi ku bya ssente bangi bakkiriza nti okumala gagula bintu ku mabanja kiyinza okumumalako omuntu ssente.
Okugatta ku ekyo, okwagala okugaggawala nga tetufuddeeyo ku kabi kayinza kutuviiramu—ekintu ekicaase ennyo mu nsi eno eyagala ennyo okufuna ebintu—kyayogerwako Kabaka Sulemaani, omu ku basajja abakyasinze okuba abagagga mu byafaayo. Yawandiika nti: “Ayagala ffeeza takkutenga ffeeza; so n’oyo ayagala obungi, ekyengera tekiimukkusenga: era n’ekyo butaliimu.” (Omubuulizi 5:10) Kuno nga kulabula kulungi nnyo!
Essuubi ery’Ebiseera eby’Omu Maaso
Baibuli yonna erina omutwe gumu gwokka: Obwakabaka wansi wa Yesu Kristo bwe bujja okulaga nti Katonda y’asaanidde okufuga byonna era butukuze erinnya Lye.—Danyeri 2:44; Okubikkulirwa 11:15.
Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya bituyigiriza bingi ebikwata ku bulamu mu Bwakabaka bwa Katonda era bituyamba okusemberera Yakuwa Katonda, Ensibuko y’okubudaabuda okwo. Ng’ekyokulabirako, nnabbi Isaaya yalagula nti wandibaddewo emirembe wakati w’abantu n’ebisolo: “Omusege gunaasulanga wamu n’omwana gw’endiga, n’engo eneegalamiranga wamu n’omwana gw’embuzi; n’ennyana n’omwana gw’empologoma n’ekya ssava wamu; n’omwana omuto alizikantiriza.” (Isaaya 11:6-8) Ng’eryo ssuubi lya kitalo!
Ate kiri kitya eri abo abeesanga mu bizibu olw’obusosoze mu langi oba mu mawanga, obulwadde obw’amaanyi, oba embeera y’eby’enfuna embi ennyo? Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya byalagula bwe biti ku Kristo Yesu: “Anaawonyanga omunafu bw’anaakaabanga: n’omwavu atalina mubeezi. Anaasaasiranga omwavu n’omunafu, n’emmeeme z’abanafu anaazirokolanga.” (Zabbuli 72:12, 13) Ebisuubizo ng’ebyo birungi kubanga bisobozesa abo ababikkiririzaamu okwaŋŋanga ebiseera eby’omu maaso nga bakakafu nti bijja kutuukirira.—Abaebbulaniya 11:6.
Tekyewuunyisa nti omutume Pawulo yaluŋŋamizibwa okuwandiika nti: ‘Byonna ebyawandiikibwa edda, byawandiikibwa kutuyigiriza ffe, tulyoke tubeerenga n’okusuubira olw’okugumiikiriza n’olw’okusanyusa kw’ebyawandiikibwa’! (Abaruumi 15:4) Yee, Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya bikyali kitundu kikulu eky’Ekigambo kya Katonda, Baibuli, ekyaluŋŋamizibwa. Bya mugaso nnyo gye tuli leero. Tusuubira nti ojja kufuba okuyiga ebisingawo ku ekyo ddala Baibuli yonna ky’eyigiriza bw’otyo osobole okufuna enkolagana ey’oku lusegere n’oyo Eyagiwandiika, Yakuwa Katonda.—Zabbuli 119:111, 112.
[Footnotes]
a Mu kitundu kino, Endagaano Enkadde tujja kugiyita Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya. (Laba akabokisi “Ndagaano Nkadde oba Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya?” ku lupapula 6.) Era, Abajulirwa ba Yakuwa Endagaano Empya batera kugiyita Byawandiikibwa eby’Oluyonaani.
b Mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya mulimu emisingi mingi egikyali egy’omugaso ennyo leero. Kyokka, kisaanye okujjukirwa nti Abakristaayo tebali wansi wa Mateeka Katonda ge yawa eggwanga lya Isiraeri ng’ayitira mu Musa.
[Akasanduuko akali ku lupapula 6]
NDAGAANO NKADDE OBA BYAWANDIIKIBWA EBY’OLWEBBULANIYA?
Ebigambo “endagaano ey’edda [“enkadde,” NW]” bisangibwa mu 2 Abakkolinso 3:14. Ekigambo wano ekyavvuunulwa “endagaano” mu Luyonaani kiri di·a·theʹke. Naye byo ebigambo “endagaano enkadde,” ebisangibwa mu 2 Abakkolinso 3:14 bitegeeza ki?
Omuwandiisi w’enkuluze ayitibwa Edward Robinson yagamba nti: “Okuva bwe kiri nti endagaano ey’edda esangibwa mu bitabo bya Musa, [di·a·theʹke] kikiikirira ekitabo ky’endagaano, ebyo ebyawandiikibwa Musa, kwe kugamba, amateeka.” Mu 2 Abakkolinso 3:14, omutume Pawulo yali ayogera ku Mateeka ga Musa, nga kino kitundu butundu eky’Ebyawandiikibwa ebyaliwo ng’Obukristaayo tebunnabaawo.
Kati olwo, ebitabo 39 ebisooka mu Baibuli Entukuvu bisaanidde kuyitibwa bitya? Mu kifo ky’okuyita ebitabo bya Baibuli bino erinnya eriraga nti byadibizibwa oba nti bikadde, Yesu Kristo n’abagoberezi be baabiyitanga ‘Byawandiikibwa’ oba ‘Ebyawandiikibwa ebitukuvu.’ (Matayo 21:42; Abaruumi 1:2) N’olwekyo, nga batuukana n’ebigambo ebyo ebyaluŋŋamizibwa, Abajulirwa ba Yakuwa bayita Endagaano Enkadde Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya kubanga ebyawandiikibwa ebyo, ekitundu kyabyo ekisinga obunene kyawandiikibwa mu Lwebbulaniya. Ate ebyo abantu abalala bye bayita Endagaano Empya babiyita Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani, kubanga Oluyonaani lwe lulimi olwakozesebwa abasajja abaaluŋŋamizibwa Katonda okuwandiika ekitundu kya Baibuli ekyo.
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 4]
Omusajja y’omu asobola okuba omulamuzi anywerera ku mateeka, taata omwagazi era mukwano gwa bangi
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]
Yesu yakozesa Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya mu buweereza bwe bwonna
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 7]
Misingi ki egy’omu Baibuli egiyinza okuyamba omuntu okusalawo obulungi?