EKITUNDU EKY’OKUSOMA 7
Twagala Nnyo Kitaffe Yakuwa
“Tulina okwagala kubanga ye yasooka okutwagala.”—1 YOK. 4:19.
OLUYIMBA 3 Amaanyi Gaffe, Essuubi Lyaffe, Obwesige Bwaffe
OMULAMWAa
1-2. Lwaki Yakuwa yatuggulirawo ekkubo okuba abamu ab’omu maka ge, era ekyo yakikola atya?
YAKUWA yatuleeta mu kibiina kye tubeere abamu ku b’omu maka ge. Eyo nga nkizo ya kitalo nnyo! Amaka ga Yakuwa ge tulimu galimu abantu abeewaayo gy’ali era abakkiririza mu kinunulo ky’Omwana we. Mu butuufu, tuli basanyufu nnyo. Tulina obulamu obw’amakulu kati era tulina essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo mu biseera eby’omu maaso, mu ggulu oba mu Lusuku lwa Katonda ku nsi.
2 Olw’okuba Yakuwa atwagala nnyo yakola enteekateeka tusobole okuba abamu ku b’omu maka ge, era okukola ekyo kyazingiramu okwefiiriza okw’amaanyi. (Yok. 3:16) Twagulwa “omuwendo munene.” (1 Kol. 6:20) Okuyitira mu kinunulo, Yakuwa yatusobozesa okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye. Tulina enkizo okuyita Omuyinza w’Ebintu Byonna, Kitaffe. Ate nga bwe twalaba mu kitundu ekyayita, Yakuwa ye Taata asingayo.
3. Bibuuzo ki bye tuyinza okwebuuza? (Laba n’akasanduuko “Yakuwa Andowoozaako?”)
3 Okufaananako omuwandiisi wa zabbuli omu, naffe tuyinza okwebuuza nti: “Yakuwa nnaamusasula ki olw’ebirungi byonna by’ankoledde?” (Zab. 116:12) Ekituufu kiri nti tetusobola kusasula Kitaffe ow’omu ggulu. Naye okwagala kw’atulaga kutuleetera naffe okumwagala. Omutume Yokaana yawandiika nti: “Tulina okwagala kubanga ye yasooka okutwagala.” (1 Yok. 4:19) Tuyinza tutya okulaga Kitaffe ow’omu ggulu nti tumwagala?
SIGALA KUMPI NE YAKUWA
4. Okusinziira ku Yakobo 4:8, lwaki tusaanidde okufuba okusemberera Yakuwa?
4 Yakuwa ayagala tumusemberere era twogere naye. (Soma Yakobo 4:8.) Atukubiriza ‘okunyiikirira okusaba,’ era mwetegefu okutuwuliriza ekiseera kyonna. (Bar. 12:12) Tewali mulundi na gumu lw’atatuwuliriza nti olw’okuba alina eby’okukola bingi oba nti akooye. Naffe tumuwuliriza nga tusoma Ekigambo kye Bayibuli awamu n’ebitabo ebituyamba okugitegeera. Ate era tumuwuliriza nga tussaayo omwoyo mu nkuŋŋaana. Ng’empuliziganya ennungi bw’esobozesa abaana okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne bazadde baabwe, naffe bwe twogeranga ne Yakuwa era ne tumuwuliriza, kituyamba okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye.
5. Tusobola tutya okulongoosa mu ssaala zaffe?
5 Lowooza ku ssaala z’osaba Yakuwa. Yakuwa ayagala tumweyabize mu kusaba. (Zab. 62:8) Tusaanidde okwebuuza ekibuuzo kino: ‘Essaala zange ziringa ebbaluwa gye nkopolodde obukopolozi oba ziringa ebbaluwa gye mpandiise okuva ku mutima?’ Kya lwatu nti oyagala nnyo Yakuwa era oyagala okukuuma enkolagana gy’olina naye nga nnywevu. Ekyo okusobola okukikola olina okwogera naye n’okumuwuliriza obutayosa. Mubuulire ebikuli ku mutima. Mubuulire ebikusanyusizza n’ebikunnakuwazza. Ba mukakafu nti asobola okukuyamba.
6. Kiki kye tusaanidde okukola okusobola okusigala nga tuli kumpi ne Kitaffe ow’omu ggulu?
6 Okusobola okusigala nga tuli kumpi ne Kitaffe ow’omu ggulu tulina okusiimanga by’atukolera. Tukkiriziganya n’omuwandiisi wa zabbuli eyagamba nti: “Ai Yakuwa Katonda wange, bye wakola nga bingi, ebikolwa byo eby’ekitalo n’ebyo bye watutegekera. Tewali alinga ggwe; ne bwe nnandigezezzaako okubyogerako, bisusse obungi, tebimalikayo!” (Zab. 40:5) Tetuwulira buwulizi nti tusiima Yakuwa by’atukolera, naye era tukiraga mu bigambo ne mu bikolwa nti tusiima. Ekyo kitwawulawo ku bantu abasinga obungi leero. Leero abantu bangi tebasiima bintu Katonda by’abakolera. Mu butuufu, ekimu ku bintu ebiraga nti tuli mu “nnaku ez’enkomerero” kiri nti abantu tebasiima. (2 Tim. 3:1, 2) Tetusaanidde kuba nga bantu abo!
7. Kiki Yakuwa ky’ayagala tukole, era lwaki?
7 Abazadde tebaagala kulaba baana baabwe nga baneneŋŋana, wabula baagala babe ba mukwano. Mu ngeri y’emu, Yakuwa naye ayagala abaana be babe nga bakolagana bulungi. Mu butuufu, okuba nti twagalana kiraga nti tuli Bakristaayo ab’amazima. (Yok. 13:35) Tukkiriziganya n’omuwandiisi wa zabbuli eyagamba nti: “Nga kirungi era nga kisanyusa ab’oluganda okubeera awamu nga bali bumu!” (Zab. 133:1) Bwe twagala bakkiriza bannaffe, tuba tulaga Yakuwa nti tumwagala. (1 Yok. 4:20) Nga tuli basanyufu nnyo okuba mu maka agalimu baganda baffe ne bannyinaffe ‘ab’ekisa era abasaasira abalala’!—Bef. 4:32.
KIRAGE NTI OYAGALA YAKUWA NG’OMUGONDERA
8. Okusinziira ku 1 Yokaana 5:3, ensonga esinga obukulu lwaki tugondera Yakuwa y’eruwa?
8 Yakuwa asuubira abaana okugondera bazadde baabwe, era naffe atusuubira okumugondera. (Bef. 6:1) Tusaanidde okumugondera kubanga ye Mutonzi waffe, y’abeesaawo obulamu bwaffe, era ye muzadde asingayo okuba ow’amagezi. Naye ensonga esinga obukulu lwaki tugondera Yakuwa eri nti tumwagala. (Soma 1 Yokaana 5:3.) Wadde nga waliwo ensonga nnyingi lwaki tusaanide okugondera Yakuwa, tatukaka kumugondera. Yakuwa yatuwa eddembe ery’okwesalirawo era kimusanyusa nnyo bw’alaba nga tusazeewo okumugondera olw’okuba tumwagala.
9-10. Lwaki kikulu okumanya amateeka ga Yakuwa n’okugakolerako?
9 Abazadde tebaagala baana baabwe kutuukibwako kabi. Eyo ye nsonga lwaki babateerawo amateeka okubakuuma. Abaana bwe bagondera amateeka ago kiba kiraga nti beesiga bazadde baabwe era nti babassaamu ekitiibwa. N’olwekyo, kikulu nnyo n’okusingawo okuba nti tumanya amateeka ga Yakuwa era ne tugakolerako. Bwe tugakolerako, kiba kiraga nti tumwagala era nti tumussaamu ekitiibwa era naffe kennyini tuganyulwa. (Is. 48:17, 18) Naye abo abajeemera Yakuwa beereetera obulumi.—Bag. 6:7, 8.
10 Bwe tweyisa mu ngeri esanyusa Yakuwa, kitukuuma ne tutatuukibwako kabi mu mubiri, mu nneewulira, ne mu by’omwoyo. Yakuwa amanyi ekisingayo okutuganyula. Aurora, abeera mu Amerika, agamba nti, “Nkimanyi nti okugondera Yakuwa kisobozesa omuntu okuba mu bulamu obusingayo obulungi.” Ekyo naffe tukikkiriza. Oganyuddwa otya mu kugondera Yakuwa?
11. Okusaba kutuyamba kutya?
11 Okusaba kutuyamba okugondera Yakuwa ne bwe kiba nga si kyangu. Olw’okuba tetutuukiridde, ebiseera ebimu kituzibuwalira okugondera Yakuwa, naye bulijjo tulina okufuba obutamujeemera. Omuwandiisi wa zabbuli yasaba Katonda nti: “Nzisaamu omwoyo ogwagala okukugondera.” (Zab. 51:12) Denise, aweereza nga payoniya owa bulijjo, agamba nti, “Bwe nkisanga nga kizibu okugondera amateeka ga Yakuwa, mmusaba ampe amaanyi okukola ekituufu.” Yakuwa addamu essaala ng’ezo.—Luk. 11:9-13.
YAMBA ABALALA OKWAGALA KITAFFE
12. Okusinziira ku Abeefeso 5:1, ki kye tusaanidde okukola?
12 Soma Abeefeso 5:1. ‘Ng’abaana ba Yakuwa abaagalwa,’ tufuba okumukoppa. Tufuba okumukoppa nga tulaga abalala okwagala, ekisa, era nga tubasonyiwa. Abo abatamanyi Katonda bwe balaba empisa zaffe ennungi, kiyinza okubaleetera okwagala okuyiga ebimukwatako. (1 Peet. 2:12) Abazadde basaanidde okukoppa Yakuwa mu ngeri gye bayisaamu abaana baabwe. Ekyo bwe bakikola, kiyinza okuleetera abaana baabwe okwagala okufuna enkolagana eyaabwe ku bwabwe ne Kitaffe ow’omu ggulu.
13. Kiki ekisobola okutuyamba okuba abavumu?
13 Omwana omuto aba yeenyumiririza mu taata we era aba ayagala okubuulira abalala ebikwata ku taata we. Naffe twenyumiririza mu Yakuwa, Kitaffe ow’omu ggulu, era twagala abalala bamanye ebimukwatako. Tuwulira nga Kabaka Dawudi eyawandiika nti: “Nja kwenyumiririza mu Yakuwa.” (Zab. 34:2) Naye watya singa tulina ensonyi? Tuyinza tutya okufuna obuvumu? Tusobola okufuna obuvumu singa tulowooza ku ssanyu Yakuwa ly’awulira nga tubuulidde abalala ebimukwatako, era singa tulowooza ne ku ngeri abalala gye baganyulwamu nga tubabuulidde ebimukwatako. Yakuwa ajja kutuwa obuvumu bwe twetaaga. Yasobozesa Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka okuba abavumu era naffe ajja kutusobozesa.—1 Bas. 2:2.
14. Lwaki kikulu okufuula abantu abayigirizwa?
14 Yakuwa tasosola, era asanyuka nnyo bw’alaba nga tulaga abalala okwagala ka babe nga bali mu mbeera ki oba nga baakulira mu mbeera ki. (Bik. 10:34, 35) Emu ku ngeri esingayo obulungi gye tuyinza okulaga abalala okwagala kwe kubabuulira amawulire amalungi. (Mat. 28:19, 20) Birungi ki ebiva mu mulimu ogwo? Abo abatuwuliriza obulamu bwabwe bulongooka era baba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo mu biseera eby’omu maaso.—1 Tim. 4:16.
YAGALA KITAFFE OBEERE MUSANYUFU
15-16. Bintu ki ebituleetera essanyu?
15 Yakuwa muzadde ayagala abaana be, era ayagala ab’omu maka ge babe basanyufu. (Is. 65:14) Waliwo ebintu bingi ebisobola okutuleetera essanyu mu kiseera kino, ne bwe tuba nga twolekagana n’ebizibu. Ng’ekyokulabirako, tuli bakakafu nti Kitaffe ow’omu ggulu atwagala nnyo. Tumanyi amazima agali mu Bayibuli. (Yer. 15:16) Ate era tuli mu maka agalimu abantu abaagala Yakuwa, abaagala emitindo gye egya waggulu egikwata ku mpisa, era abaagalana.—Zab. 106:4, 5.
16 Tusobola okusigala nga tuli basanyufu kubanga tukimanyi nti obulamu bujja kuba bulungi nnyo n’okusingawo mu biseera eby’omu maaso. Tukimanyi nti mu kiseera ekitali kya wala, Yakuwa ajja kuggyawo abantu ababi era nti Obwakabaka bwe bujja kuzzaawo Olusuku lwa Katonda ku nsi. Ate era tulina essuubi nti abo abaafa bajja kuzuukizibwa baddemu okubeera n’abantu baabwe. (Yok. 5:28, 29) Ekyo nga kijja kuba kiseera kya ssanyu! N’ekisinga obukulu, tuli bakakafu nti buli omu mu ggulu ne ku nsi ajja kuwa Kitaffe ow’omu ggulu ekitiibwa n’ettendo by’asaanidde okuweebwa.
OLUYIMBA 12 Yakuwa, Katonda ow’Ekitalo
a Tukimanyi nti Kitaffe Yakuwa atwagala nnyo era yatuleeta mu kibiina kye. Ekyo kituleetera okumwagala. Tuyinza tutya okukiraga nti twagala nnyo Kitaffe oyo atwagala ennyo? Ekitundu kino kigenda kulaga ebintu ebitali bimu bye tusobola okukola.