EKITUNDU EKY’OKUSOMA 40
Weeyongere Okuweereza Yakuwa nga Peetero Bwe Yakola
“Va we ndi Mukama wange kubanga ndi muntu mwonoonyi.”—LUK. 5:8.
OLUYIMBA 38 Ajja Kukuwa Amaanyi
OMULAMWAa
1. Peetero yakwatibwako atya nga Yesu amusobozesezza okuvuba ebyennyanja bingi mu ngeri ey’ekyamagero?
PEETERO yali amaze ekiro kyonna ng’avuba naye nga takwasizza kyannyanja na kimu. Wadde kyali kityo, Yesu yamugamba nti: “Eryato lyongereyo mu buziba, era musuule obutimba bwammwe muvube.” (Luk. 5:4) Wadde nga Peetero yali abuusabuusa obanga yandikwasizza ebyennyanja, yakola nga Yesu bwe yamugamba. Bwe baali basikayo obutimba bwe baali basudde, bwatandika okuyulika olw’ebyennyanja ebingi bye baali bakwasizza. Peetero n’abo be yali nabo bwe baalaba ekyamagero ekyo Yesu kye yali akoze, “beewuunya nnyo.” Peetero yagamba nti: “Va we ndi Mukama wange kubanga ndi muntu mwonoonyi.” (Luk. 5:6-9) Kirabika yali awulira nti yali tasaana na kubeera kumpi n’awaali Yesu.
2. Okwekenneenya ekyokulabirako kya Peetero kinaatuganyula kitya?
2 Peetero yali mutuufu. Yali “muntu mwonoonyi.” Ebyawandiikibwa biraga nti ebiseera ebimu yayogeranga era yakolanga ebintu oluvannyuma n’abyejjusa. Naawe ekyo oluusi kikutuukako? Waliwo obunafu bw’omaze ekiseera ng’ofuba okulwanyisa naye ng’okyalemeddwa okubuvvuunuka? Bwe kiba kityo, okwekenneenya ebikwata ku Peetero kijja kukuzzaamu nnyo amaanyi. Mu ngeri ki? Lowooza ku kino: Yakuwa yali asobola obutawandiisa mu Bayibuli ebikwata ku bunafu bwa Peetero. Naye yabiwandiisa tusobole okubiyigirako. (2 Tim. 3:16, 17) Okuyiga ebikwata ku Peetero, omusajja eyalina obunafu n’enneewulira ng’ebyaffe, kisobola okutuyamba okukiraba nti Yakuwa tatusuubira kukola bintu mu ngeri etuukiridde. Ayagala tweyongere okumuweereza wadde nga tulina obunafu obutali bumu.
3. Lwaki tusaanidde okweyongera okulwanyisa obunafu baffe?
3 Lwaki kikulu okweyongera okulwanyisa obunafu bwaffe? Kubanga mu mbeera eza bulijjo bwe tweyongera okukola ekintu enfunda n’enfunda, tulongoosa mu ngeri gye tukikolamu. Lowooza ku kyokulabirako kino: Abakubi b’ebivuga bamala emyaka mingi nga beegezaamu okusobola okukuguka mu kubikuba obulungi. Mu kiseera ekyo bakola ensobi nnyingi naye beeyongera okwegezaamu okutuusa lwe bakuguka. Naye ne bwe bamala okukuguka, olumu n’olumu bakola ensobi. Wadde kiri kityo, tebalekaayo kubikuba. Mu ngeri y’emu, ne bwe tuba tuwulira nti tumaze okuvvuunuka obunafu obumu, obunafu obwo busobola okuddamu ne bweyoleka. Wadde kiri kityo, tweyongera okubulwanyisa. Ffenna oluusi twogera oba tukola ebintu oluvannyuma ne tubyejjusa. Naye bwe tutaggwaamu maanyi ne tweyongera okulwanyisa obunafu bwaffe, Yakuwa atuyamba ne tweyongera okulongoosaamu. (1 Peet. 5:10) Ka tulabe ekyokulabirako Peetero kye yassaawo. Bwe tulowooza ku busaasizi Yesu bwe yamulaga wadde nga yalina obunafu obutali bumu, kituyamba okweyongera okuweereza Yakuwa.
OBUNAFU PEETERO BWE YALINA N’EMIKISA GYE YAFUNA
4. Nga bwe kiragibwa mu Lukka 5:5-10, Peetero yeeyogerako atya, naye kiki Yesu kye yamugamba?
4 Ebyawandiikibwa tebitubuulira nsonga lwaki Peetero yeeyita ‘omuntu omwonoonyi’ oba bibi ki bye yakola by’ayinza okuba nga yali alowoozaako. (Soma Lukka 5:5-10.) Naye ayinza okuba ng’alina ensobi ez’amaanyi ze yakola. Yesu yali akimanyi nti Peetero yali atidde, oboolyawo olw’okuba yali awulira nti tasaana. Naye era Yesu yali akimanyi nti Peetero yali asobola okusigala nga mwesigwa. N’olwekyo yagamba Peetero nti: “Totya.” Yesu okwesiga Peetero kyakyusiza ddala obulamu bwa Peetero. Peetero ne muganda we Andereya oluvannyuma baaleka omulimu gwabwe ogw’okuvuba n’okutunda ebyennyanja ne bagoberera Masiya ekiseera kyonna. Ekyo kyabaviirako okufuna emikisa mingi.—Mak. 1:16-18.
5. Mikisa ki Peetero gye yafuna oluvannyuma lw’okuvvuunuka okutya n’akkiriza okugoberera Yesu?
5 Peetero yafuna emikisa mingi olw’okugoberera Kristo. Yalaba Yesu ng’awonya abalwadde, ng’agoba dayimooni, era ng’azuukiza n’abafu.b (Mat. 8:14-17; Mak. 5:37, 41, 42) Peetero era yalaba okwolesebwa okwalaga Yesu ng’ali mu kitiibwa kye mu Bwakabaka. Okwolesebwa okwo kwamukwatako nnyo. (Mak. 9:1-8; 2 Peet. 1:16-18) Mazima ddala Peetero yalaba ebintu bye yali talowoozanganako nti yandibirabye. Kyo kituufu nti oluusi yawuliranga nti tasaana, naye yali musanyufu okuba nti ekyo teyakikkiriza kumulemesa kufuna mikisa egyo!
6. Peetero kyamutwalira ebbanga ttono okulwanyisa obunafu bwe? Nnyonnyola.
6 Wadde nga Peetero yalaba era n’awulira ebintu bingi ebyewuunyisa, yali akyalina obunafu obutali bumu. Lowooza ku bumu ku bunafu buno bwe yalina. Yesu bwe yannyonnyola abatume be engeri gye yali agenda okubonaabonamu n’okufa okusobola okutuukiriza obunnabbi, Peetero yamunenya. (Mak. 8:31-33) Enfunda eziwerako Peetero n’abatume abalala baakaayana ani ku bo eyali asinga obukulu. (Mak. 9:33, 34) Mu kiro ekyasembayo Yesu amale attibwe, Peetero yasalako okutu kw’omusajja nga tasoose na kukirowoozaako. (Yok. 18:10) Mu kiro ekyo kye kimu Peetero yeegaana mukwano gwe Yesu emirundi esatu olw’okutya. (Mak. 14:66-72) Ekyo kyamuleetera okukaaba ennyo.—Mat. 26:75.
7. Oluvannyuma lwa Yesu okuzuukira, kakisa ki ke yawa Peetero?
7 Yesu yasigala akyalina obwesige mu mutume we ono eyali aweddemu ennyo amaanyi. Oluvannyuma lw’okuzuukira, yawa Peetero akakisa okulaga nti yali akyamwagala. Yamugamba okulundanga endiga ze. (Yok. 21:15-17) Peetero yali mwetegefu okukola ekyo Yesu kye yamugamba. Ku lunaku lwa Pentekooti yali mu Yerusaalemi, era yali omu ka abo abaasooka okufukibwako omwoyo omutukuvu.
8. Nsobi ki ey’amaanyi Peetero gye yakola mu Antiyokiya?
8 N’oluvannyuma lw’okufuuka Omukristaayo eyafukibwako amafuta, Peetero yali akyalina obunafu bwe yalina okulwanyisa. Mu mwaka gwa 36 E.E., Peetero yaliwo Koluneeriyo munnaggwanga ataali mukomole bwe yafukibwako omwoyo omutukuvu, ekyalaga nti “Katonda tasosola” era nti ab’amawanga baali basobola okwegatta ku kibiina Ekikristaayo. (Bik. 10:34, 44, 45) Oluvannyuma lw’ekyo, Peetero yali awulira nti kati yali asobola okuliira awamu n’ab’amawanga, ekintu edda kye yali tasobola kukola. (Bag. 2:12) Kyokka waaliwo Abakristaayo abamu Abayudaaya abaali bakitwala nti Abayudaaya baali tebasaanidde kuliira wamu n’ab’amawanga. Abamu ku Bakristaayo abaalina endowooza eyo bwe baagenda mu Antiyokiya, Peetero yalekera awo okuliira awamu n’Abakristaayo ab’amawanga, kirabika olw’okutya okunyiiza Abakristaayo Abayudaaya. Omutume Pawulo yalaba obunnanfuusi obwo era n’anenya Peetero mu maaso g’abalala. (Bag. 2:13, 14) Wadde kyali kityo, Peetero teyalekera awo kuweereza Yakuwa. Kiki ekyamuyamba?
KIKI EKYAYAMBA PEETERO OKWEYONGERA OKUWEEREZA YAKUWA?
9. Ebyo bye tusoma mu Yokaana 6:68, 69 biraga bitya nti Peetero yali mwesigwa?
9 Peetero yali mwesigwa; teyakkiriza kintu kyonna kumuleetera kulekera awo kugoberera Yesu. Obwesigwa bwe yabwoleka lumu Yesu bwe yayogera ekintu abayigirizwa be kye bataategeera. (Soma Yokaana 6:68, 69.) Mu kifo ky’okufuba okumanya ekyo Yesu kye yali ategeeza oba okulinda Yesu abannyonnyole, bangi ku bayigirizwa be baalekera awo okumugoberera. Naye Peetero ye yasigala amugoberera. Yali akimanyi Yesu yekka ye yalina “ebigambo eby’obulamu obutaggwaawo.”
10. Yesu yakiraga atya nti yali yeesiga Peetero? (Laba n’ekifaananyi.)
10 Yesu teyalekayo kwesiga Peetero. Mu kiro ekyasembayo amale attibwe, Yesu yali akimanyi nti Peetero n’abatume abalala bandimwabulidde. Wadde kyali kityo, Yesu yagamba Peetero nti yali mukakafu nti Peetero yandikomyewo era nti yandisigadde mwesigwa. (Luk. 22:31, 32) Yesu yali akimanyi nti “omwoyo gwagala naye omubiri munafu.” (Mak. 14:38) Bwe kityo, n’oluvannyuma lwa Peetero okumwegaana, Yesu yasigala amwesiga. Bwe yamala okuzuukira, yalabikira Peetero, kirabika nga Peetero ali yekka. (Mak. 16:7; Luk. 24:34; 1 Kol. 15:5) Ekyo nga kiteekwa okuba nga kyazzaamu nnyo amaanyi omutume oyo eyali anakuwadde ennyo olw’ekyo kye yali akoze!
11. Yesu yayamba atya Peetero okukimanya nti Yakuwa yandimulabiridde?
11 Yesu yayamba Peetero okukimanya nti Yakuwa yandimulabiridde. Oluvannyuma lw’okuzuukira, yaddamu n’asobozesa Peetero n’abatume abalala okuvuba ebyennyanja mu ngeri ey’ekyamagero. (Yok. 21:4-6) Ekyamagero ekyo kiteekwa okuba nga kyayamba Peetero okukiraba nti Yakuwa yandibadde akola ku byetaago bye eby’omubiri. Oboolyawo Peetero yajjukira ekyo Yesu kye yayogera nti Yakuwa yandirabiridde abo ‘abasooka okunoonya Obwakabaka.’ (Mat. 6:33) Ebyo byonna byayamba Peetero okukulembeza omulimu gw’okubuulira, so si bizineesi y’okuvuba n’okutunda ebyennyanja. Yawa obujulirwa n’obuvumu ku lunaku lwa Pentekooti mu mwaka 33 E.E., n’ayamba abantu abangi nnyo okukkiriza amawulire amalungi ag’Obwakabaka. (Bik. 2:14, 37-41) Oluvannyuma yayamba Abasamaliya n’ab’amawanga okukkiriza Kristo. (Bik. 8:14-17; 10:44-48) Mazima ddala Yakuwa yakozesa nnyo Peetero okuleeta abantu aba buli ngeri mu kibiina Ekikristaayo.
KIKI KYE TUYIGAMU?
12. Bye tusoma ku Peetero bituyamba bitya bwe tuba nga tulina obunafu bwe tumaze ebbanga nga tulwanyisa?
12 Yakuwa asobola okutuyamba okweyongera okumuweereza. Oluusi kiyinza obutatubeerera kyangu nnaddala bwe tuba nga tulina obunafu bwe tumaze ebbanga nga tulwanyisa. Obunafu bwaffe buyinza okulabika ng’obw’amaanyi ennyo okusinga obwo Peetero bwe yalina. Naye Yakuwa asobola okutuwa amaanyi ne tutalekaayo kubulwanyisa. (Zab. 94:17-19) Ng’ekyokulabirako, ow’oluganda omu yali yeenyigira mu muze ogw’okulya ebisiyaga okumala emyaka egiwera nga tannayiga mazima. Oluvannyuma yalekayo omuze ogwo. Wadde kyali kityo, oluusi yaddangamu okufuna okwegomba okwo okubi. Kiki ekyamuyamba obutalekera awo kulwanyisa kwegomba okwo? Agamba nti: “Yakuwa atuwa amaanyi.” Era agattako nti: “Olw’okuba Yakuwa ampa omwoyo gwe omutukuvu . . . , nkirabye nti nsobola [okweyongera] okutambulira mu kkubo ery’amazima . . . Yakuwa yeeyongedde okunkozesa, era wadde nga nnina obunafu, Yakuwa akyeyongera okumpa amaanyi.”
13. Okusinziira ku Ebikolwa 4:13, 29, 31, tuyinza tutya okukoppa Peetero? (Laba n’ekifaananyi.)
13 Nga bwe tulabye, emirundi egisukka mu gumu Peetero yakola ensobi olw’okutya abantu. Naye bwe yasaba Yakuwa okumuwa obuvumu, yasobola okuvvuunuka okutya. (Soma Ebikolwa 4:13, 29, 31.) Naffe tusobola okuggwaamu okutya. Lowooza ku Horst, ow’oluganda omuto eyali abeera mu Bugirimaani mu kiseera ky’Abanazi. Mu kiseera ekyo oluusi abantu baalagirwanga okwogera ebigambo ebyali biraga nti Hitler ye mulokozi waabwe. Wadde nga yali akimanyi nti ekyo tekyali kituufu, emirundi egisukka mu gumu ku ssomero Horst yayogera ebigambo ebyo olw’okutya abantu. Mu kifo ky’okumukambuwalira, bazadde be baasabira wamu naye ne beegayirira Yakuwa amuyambe okuba omuvumu. Olw’obuyambi bazadde be bwe baamuwa n’olw’okwesiga Yakuwa, Horst yaggwaamu okutya n’asobola okunywerera ku kituufu. Oluvannyuma yagamba nti: “Yakuwa teyanjabulira.”c
14. Abakadde bayinza batya okuyamba abo ababa baweddemu amaanyi?
14 Yakuwa ne Yesu beetegefu okweyongera okutuyamba. Oluvannyuma lw’okwegaana Kristo, Peetero yali ayolekaganye n’okusalawo okukulu ennyo. Yandisazeewo okulekera awo okugoberera Yesu, oba okweyongera okumugoberera? Yesu yali asabye Yakuwa ayambe Peetero asigale nga munywevu mu kukkiriza. Yesu yabuulira Peetero ku ssaala eyo era n’akiraga nti yali yeesiga Peetero nti oluvannyuma yandibadde anyweza baganda be. (Luk. 22:31, 32) Peetero ateekwa okuba nga bwe yalowooza ku bigambo bya Yesu ebyo yaddamu nnyo amaanyi. Naffe bwe tuba n’eky’okusalawo ekikulu ennyo mu bulamu bwaffe, Yakuwa asobola okukozesa abakadde okutuwa obuyambi bwe twetaaga okusobola okusigala nga tuli beesigwa. (Bef. 4:8, 11) Ow’oluganda ayitibwa Paul amaze ekiseera kiwanvu ng’aweereza ng’omukadde afuba okuyamba ab’oluganda mu ngeri eyo. Akubiriza abo ababa bawulira nti tebakyasobola kweyongera kuweereza Yakuwa okufumiitiriza ku ngeri Yakuwa gye yabayamba okuyiga amazima. Oluvannyuma abakakasa nti olw’okuba Yakuwa alina okwagala okutajjulukuka, tasobola kubaabulira. Ow’oluganda oyo agamba nti: “Ndabye abantu bangi ababa baweddemu amaanyi nga Yakuwa abayamba okweyongera okumuweereza n’obwesigwa.”
15. Ekyokulabirako kya Peetero n’ekya Horst kiraga kitya obutuufu bw’ebigambo ebiri mu Matayo 6:33?
15 Nga Yakuwa bwe yakola ku byetaago bya Peetero n’eby’abatume abalala eby’omubiri, naffe ajja kukola ku byetaago byaffe eby’omubiri singa tukulembeza Obwakabaka mu bulamu bwaffe. (Mat. 6:33) Oluvannyuma lwa Ssematalo II, ow’oluganda Horst ayogeddwako waggulu yalowooza ku ky’okuweereza nga payoniya. Kyokka yali mwavu nnyo, era yali takakasa obanga yali asobola okweyimirizaawo ng’ali mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Kiki kye yakola? Yasalawo okugezesa Yakuwa n’amala wiiki yonna ey’okukyala kw’omulabirizi akyalira ebibiina ng’ali mu mulimu gw’okubuulira. Ku nkomerero ya wiiki, yeewuunya nnyo omulabirizi akyalira ebibiina bwe yamukwasa ebbaasa eyali emuweereddwa omuntu gw’ataamanya. Ebbaasa eyo yalimu ssente ezaali zimumala okukola ku byetaago bye ng’aweereza nga payoniya okumala emyezi egiwera. Ssente ezo Horst yaziraba ng’obukakafu obwali bulaga nti Yakuwa yandimulabiridde. Okuva olwo yakulembeza omulimu gw’Obwakabaka mu bulamu bwe.—Mal. 3:10.
16. Lwaki tusaanidde okwekenneenya ekyokulabirako kya Peetero era n’ebyo bye yawandiika?
16 Nga Peetero ateekwa okuba nga yasanyuka nnyo okuba nti Yesu teyava w’ali nga bwe yali amusabye! Kristo yeeyongera kutendeka Peetero okuba omutume omwesigwa era n’okuteerawo Abakristaayo ekyokulabirako ekirungi. Ffenna tulina bingi bye tusobola okuyigira ku kutendekebwa okwo. Ebimu ku ebyo Peetero bye yayiga mu kutendekebwa okwo awamu n’ebirala, yabiwandiika mu bbaluwa ezaaluŋŋamizibwa ze yawandiikira ebibiina mu kyasa ekyasooka. Mu kitundu ekiddako tujja kulaba ebimu ku ebyo bye tuyiga mu bbaluwa ezo era n’engeri gye tuyinza okubikolerako leero.
OLUYIMBA 126 Tunula, Beeranga wa Maanyi
a Ekitundu kino kitegekeddwa okuyamba abo abalina obunafu bwe bamaze ebbanga nga balwanyisa, okukimanya nti basobola okubuvvuunuka ne beeyongera okuweereza Yakuwa n’obwesigwa.
b Ebyawandiikibwa bingi ebijuliziddwa mu kitundu kino biggiddwa mu Njiri ya Makko. Kirabika ebyo bye yawandiika yabiggya ku Peetero, eyalaba ebintu ebyo nga bibaawo.
c Laba ebyafaayo bya Horst Henschel mu kitundu ekirina omutwe, “Obwesigwa bwa Bazadde Bange Bwankwatako Nnyo” (Motivated by My Family’s Loyalty to God,”) mu Awake!, eya Febwali 22, 1998.
d EKIFAANANYI: Nga bwe kiragibwa mu kifaananyi, bazadde ba Horst Henschel’s baasabira wamu naye era ne bamuyamba okunywerera ku kituufu.