ESSUULA 5
Amaanyi ge Yakozesa Okutonda—Oyo “Eyakola Eggulu n’Ensi”
1, 2. Enjuba eyoleka etya amaanyi Yakuwa ge yakozesa okutonda?
WALI oyoseeko omuliro ekiro mu budde obunnyogovu? Oboolyawo wali mu kifo ekituufu okuva ku muliro osobole okubuguma. Singa wagusemberera nnyo, ebbugumu lyandibadde lingi. Ate singa waguli wala, wandiwulidde obunnyogovu bungi.
2 Waliwo “omuliro” ogutubugumya buli lunaku. “Omuliro” ogwo guli mayiro ng’obukadde 93 okuva we tuli!a Ng’enjuba eteekwa okuba nga ya maanyi nnyo, ggwe okuba nti osobola okuwulira ebbugumu lyayo okuva mu kifo ng’ekyo ekiri ewala ennyo! Kyokka, ensi yeetooloola enjuba eyo ng’egyesudde ebbanga ettuufu. Singa ensi yali kumpi nnyo, amazzi agagiriko gandikalidde; ate singa yali wala, gandikutte bbalaafu. N’olwekyo, singa ensi yagiri kumpi oba wala okusingako weeri, teyandisobodde kubaako bulamu. Ng’oggyeko okuba nti ekitangaala ekiva ku njuba kyetaagisa obulamu okusobola okubaawo ku nsi, kiyonjo, kya mugaso, era kisanyusa.—Omubuulizi 11:7.
Yakuwa ‘yakola ekitangaala n’enjuba’
3. Enjuba eyoleka mazima ki amakulu?
3 Wadde kiri kityo, abantu abasinga obungi enjuba tebagitwala ng’ekintu ekikulu ennyo, wadde ng’obulamu bwabwe kwe bwesigamye. Bwe kityo, tebategeera njuba ky’etuyigiriza. Baibuli eyogera bw’eti ku Yakuwa: ‘Wakola ekitangaala n’enjuba.’ (Zabbuli 74:16) Yee, enjuba eweesa Yakuwa ekitiibwa, oyo “eyakola eggulu n’ensi.” (Zabbuli 19:1; 146:6) Y’emu ku bitonde eby’omu bwengula ebitulaga amaanyi ga Yakuwa amangi ennyo ge yakozesa okutonda. Ka twekenneenye ebimu ku bitonde bino ate oluvannyuma tutunuulire ensi n’obulamu obugiriko.
“Muyimuse Amaaso Gammwe Waggulu Mulabe”
4, 5. (a) Enjuba ya maanyi kwenkana wa, era nnene kwenkana wa? (b) Yenkana wa bw’ogigeraageranya n’emmunyeenye endala?
4 Wandiba ng’okimanyi nti enjuba yaffe nayo mmunyeenye. Ekigirabisa okuba ennene okusinga emmunyeenye ze tulaba ekiro, kiri nti, yo etuli kumpi okuzisinga. Ya maanyi kwenkana wa? Mu makkati gaayo enjuba erimu ebbugumu eriri ku kipimo kya 15,000,000°C. Singa wali osobola okusokoola mu makkati g’enjuba akatundu akenkana omutwe gwa ppini n’okaleeta ku nsi, tewandisobodde kuyimirira bbanga lya mayiro 90 okuva we kali n’otatuukibwako kabi konna! Buli katikitiki, enjuba efulumya amaanyi agenkanankana aga bbomu za nukuliya emitwalo n’emitwalo.
5 Enjuba nnene nnyo ne kiba nti ensi kwe tuli ezisukka mu 1,300,000 zigiggyamu. Kati olwo enjuba, mmunyeenye nnene nnyo? Nedda, kubanga abakugu mu by’emmunyeenye bagamba nti ntono nnyo ng’ogigeraageranyizza n’emmunyeenye endala. Omutume Pawulo yawandiika nti ‘emmunyeenye tezenkanankana kitiibwa.’ (1 Abakkolinso 15:41) Yali tayinza kumanya butuufu bwa bigambo ebyo ebyaluŋŋamizibwa. Eriyo emmunyeenye ennene ennyo ne kiba nti singa eteekebwa mu kifo enjuba weeri, yandibuutikidde n’ensi kwe tuli. Era waliyo emmunyeenye endala ennene ennyo nga singa nayo eteekebwa mu kifo kye kimu, yandibadde etuuka ne mu kifo awali pulaneti eyitibwa Saturn—wadde nga pulaneti eyo eri wala nnyo okuva ku nsi ne kiba nti kyatwalira ekizungirizi emyaka ena okutuukayo, ate nga kitambulira ku sipiidi ekubisaamu emirundi 40 ey’essasi erikubiddwa okuva mu mmundu ey’amaanyi!
6. Baibuli eraga etya nti emmunyeenye nnyingi nnyo?
6 Ekyewuunyisa ennyo okusinga n’obunene bw’emmunyeenye, bwe bungi bwazo. Mu butuufu, Baibuli eraga nti emmunyeenye tezibalika ‘ng’omusenyu gw’ennyanja.’ (Yeremiya 33:22) Ebigambo bino bitegeeza nti waliyo emmunyeenye endala nnyingi nnyo okusinga ezo eziyinza okulabibwa n’amaaso. Singa, omuwandiisi wa Baibuli, nga Yeremiya, yatunula ku ggulu ekiro n’agezaako okubala emmunyeenye ezirabika, yandibadde abala emmunyeenye nga nkumi ssatu zokka, kubanga ezo ze ziyinza okulabibwa n’amaaso ekiro. Obungi bw’emmunyeenye ezo buyinza okugeraageranyizibwa ku mpeke z’omusenyu eziteekeddwa mu lubatu. Kyokka, emmunyeenye nnyingi nnyo n’okusingawo; ziringa ‘omusenyu gw’ennyanja.’b Ani ayinza okubala emmunyeenye ezo?
7. (a) Ekibinja ky’emmunyeenye mwe tuli mulimu emmunyeenye mmeka, era tumanya tutya nti nnyingi nnyo? (b) Abakugu mu by’emmunyeenye okuba nti tebamanyi bungi bwa bibinja bya mmunyeenye, kituyigiriza ki ku maanyi Yakuwa ge yakozesa okutonda?
7 Isaaya 40:26, luddamu: “Muyimuse amaaso gammwe waggulu mulabe eyatonda ebyo bw’ali, afulumya eggye lyabyo ng’omuwendo gwabyo bwe guli: byonna abituuma amannya.” Zabbuli 147:4 lugamba: “Abala emmunyeenye omuwendo gwazo.” “Emmunyeenye” ziri mmeka? Ekibuuzo ekyo si kyangu kuddamu. Abakugu mu by’emmunyeenye bateebereza nti emmunyeenye ezisukka mu buwumbi 100 ze ziri mu Kibinja ky’Emmunyeenye mwe tuli ekiyitibwa Milky Way.c Naye ekibinja ky’emmunyeenye mwe tuli kimu bumu ku bibinja by’emmunyeenye ebingi, ebirimu emmunyeenye ezisingawo n’obungi. Ebibinja by’emmunyeenye biri bimeka? Abakugu mu by’emmunyeenye abamu bagamba nti biwera obuwumbi nga 50. Abalala bagamba nti biyinza okuba biwera obuwumbi nga 125. Bwe kityo, abantu tebamanyi bungi bwa bibinja bya mmunyeenye, wadde obuwumbi n’obuwumbi bw’emmunyeenye obubirimu. Kyokka, Yakuwa amanyi obungi bwazo. Ate era, buli mmunyeenye yagituuma erinnya!
8. (a) Wandinnyonnyodde otya obunene bw’Ekibinja ky’Emmunyeenye mwe tuli? (b) Kiki Yakuwa kye yassaawo okufuga entambula y’ebitonde ebiri mu bwengula?
8 Tweyongera okuwuniikirira bwe tufumiitiriza ku bunene bw’ebibinja by’emmunyeenye. Ekibinja ky’Emmunyeenye mwe tuli kinene nnyo ddala. Teebereza ekitangaala ekitambulira ku sipiidi ya mayiro 186,000 buli katikitiki. Kyandikutwalidde emyaka 100,000 okuva ku nsonda emu ey’ekibinja ky’emmunyeenye mwe tuli okutuuka ku nsonda yaakyo ekomererayo! Ate ebibinja by’emmunyeenye ebimu bikubisaamu ekyo mwe tuli obunene emirundi mingi. Baibuli egamba nti Yakuwa ‘ayanjuluza’ eggulu ng’oli bwe yandyanjuluza olugoye. (Zabbuli 104:2, NW) Era y’ateekateeka n’entambula y’ebitonde bino. Okuva ku kaweke k’enfuufu akasingayo obutono mu bwengula okutuuka ku kibinja ky’emmunyeenye ekisingayo obunene, byonna bitambulira ku mateeka agafuga obutonde Katonda ge yassaawo. (Yobu 38:31-33) Bwe kityo, bannasayansi bageraageranyizza entambula y’ebitonde eby’omu bwengula ku mazina agategekeddwa mu ngeri y’ekikugu! Kati olwo, lowooza ku Oyo eyatonda ebintu bino byonna. Katonda alina amaanyi ng’ago takuwuniikiriza?
‘Eyakola Ensi n’Amaanyi Ge’
9, 10. Amaanyi ga Yakuwa geeyoleka gatya ku bikwata ku kifo we yateeka Jupiter, ensi yaffe, n’omwezi?
9 Amaanyi Yakuwa ge yakozesa okutonda geeyoleka ku nsi kwe tuli. Yateeka ensi mu kifo ekituufu mu bwengula obwagaagavu. Bannasayansi abamu balowooza nti ensi yaffe teyandisobodde kuwanirira bulamu ng’eri mu bibinja by’emmunyeenye ebirala. Kirabika emmunyeenye nnyingi mu Kibinja ky’Emmunyeenye mwe tuli tezaakolebwa kubaako bulamu. Mu makkati gaakyo, emmunyeenye nnyingi nnyo era ziri kumu kumu. Mulimu ekitangaala n’ebbugumu bingi nnyo era emirundi egimu emmunyeenye ziba zibulako katono okutomeregana. Ate ku njegoyego yaakyo, bingi ku bintu ebiwanirira obulamu tebiriiyo. Yo ensi yaffe eri mu kifo ekituufu wakati w’ebifo ebyo ebibiri.
10 Ensi yaffe eganyulwa okuva ku pulaneti egiri ewala era ennene ennyo eyitibwa Jupiter. Pulaneti eno esinga ensi yaffe obunene emirundi egisukka mu lukumi era esika ensi. Ekyo kivaamu ki? Ewugula ebintu ebitambulira mu bbanga. Bannasayansi bagamba nti singa Jupiter teyaliiwo, ebintu ebitomera ensi byandisinzeewo obungi emirundi 10,000. Okuliraana ensi yaffe, waliwo omwezi. Ng’oggyeko okulabika obulungi n’okutuwa ekitangaala ekiro, gusobozesa ensi yaffe okuba nga yeewunzise. Okwewunzika okwo kusobozesa ebiseera by’enkuba n’eby’ekyeya okubaawo, ekintu eky’omuganyulo ennyo wano ku nsi.
11. Ebbanga eryetoolodde ensi lituwa litya obukuumi?
11 Amaanyi Yakuwa ge yakozesa okutonda geeyoleka mu buli kintu kyonna ekikwatagana n’ensi. Lowooza ku bbanga eryetoolode ensi erituwa obukuumi. Enjuba evaako entungizi ennungi n’ez’akabi. Ez’akabi bwe zituuka mu bbanga eryetoolodde ensi, zireetera omukka gwe tussa okufuuka omukka oguyitibwa ozone. Omukka ogwo guziyiza entungizi endala ez’akabi. N’olwekyo, ensi yakolebwa ng’erina engeri gy’ekuumibwamu!
12. Entambula y’amazzi mu bbanga eyoleka etya amaanyi Yakuwa ge yakozesa okutonda?
12 Ogwo gwe gumu ku migaso gy’ebbanga eryetoolodde ensi yaffe, eririmu emikka egy’enjawulo nga gitabikiddwa mu kigero ekituufu okusobola okubeesaawo ebintu ebiramu ebiri ku nsi kwennyini oba mu bbanga erigyetoolodde. Mu byewuunyo ebirala eby’ebbanga eryetoolodde ensi yaffe, mwe muli entambula y’amazzi. Buli mwaka enjuba esitula amazzi mangi nnyo okuva mu gayanja ku nsi. Amazzi ago gakola ebire, ebisaasaanyizibwa empewo. Amazzi ago oluvannyuma lw’okusengejjebwa, gatonnya ng’enkuba oba gagwa ng’omuzira ku nsi. Ekyo kikwatagana n’ekyo Omubuulizi 1:7 kye lugamba: “Emigga gyonna gigenda mu nnyanja, naye ennyanja tejjula; mu kifo emigga gye gigenda eyo gye gigenda nate.” Yakuwa yekka y’asobola okussaawo entambula y’amazzi ng’eyo.
13. Bujulizi ki obw’amaanyi g’Omutonzi bwe tulaba mu bimera ne mu ttaka?
13 Buli wonna we tulaba obulamu, tulaba obujulizi bw’amaanyi g’Omutonzi. Emiti eminene ennyo, emiwanvu okusinga n’ebizimbe ebya kalina 30, n’ebimera ebisirikitu ebisangibwa mu gayanja era ebikola omukka gwe tussa, byoleka amaanyi Yakuwa ge yakozesa okutonda. Ettaka lijjudde obulamu—ensiriŋŋanyi, n’ebitonde ebirala ebisirikitu, byonna nga bikolera wamu okuyamba ebimera okukula. Nga kituukirawo, Baibuli eyogera ku ttaka ng’eririna amaanyi.—Olubereberye 4:12.
14. Maanyi ki agali mu kantu akasirikitu akayitibwa atomu?
14 Awatali kubuusabuusa, Yakuwa ‘ye Yakola ensi n’amaanyi ge.’ (Yeremiya 10:12) Amaanyi ga Yakuwa geeyoleka wadde mu bintu ebisirikitu bye yatonda. Ng’ekyokulabirako, singa oteeka awamu akakadde kamu ak’obuntu obusirikitu obuyitibwa atomu, buba tebusinga bunene luviri lumu olw’omuntu. Ne bwe kiba nti ka atomu kamu kazimbulukusibwa ne kenkana ekizimbe ekya kalina 14, akantu akakabeera mu makkati akayitibwa nucleus kandibadde kenkana ng’empeke y’omunnyo eri ku mwaliro ogw’omusanvu. Kyokka, ka nucleus ako akatono ennyo ye nsibuko y’amaanyi amangi ennyo agavaamu bbomu ya nukuliya!
“Buli Ekirina Omukka”
15. Ng’ayogera ku nsolo ezitali zimu, kiki Yakuwa kye yayigiriza Yobu?
15 Obujulizi obulala obulaga amaanyi Yakuwa ge yakozesa okutonda bulabikira mu bisolo ebingi ebiri ku nsi. Zabbuli 148 emenya ebintu bingi ebitendereza Yakuwa, era olunyiriri 10 lwogera ku “nsolo zonna n’enfuge ez’omu ttale.” Ng’awa ensonga lwaki omuntu yandiwuniikiridde olw’ebyo Omutonzi bye yakola, Yakuwa yategeeza Yobu ku bisolo ng’empologoma, entulege, embogo, envubu, ne ggoonya. Kiki kye yali ayagala okuggumiza? Bwe kiba nti omuntu awuniikirira olw’ebisolo bino eby’amaanyi era eby’entiisa, kati olwo yanditutte atya Oyo Eyabitonda?—Yobu, essuula 38-41.
16. Kiki ekikwewuunyisa ku bimu ku binyonyi Yakuwa bye yatonda?
16 Zabbuli 148:10 lwogera ne ku ‘binyonyi ebibuuka.’ Lowooza ku bika ebitali bimu! Yakuwa yategeeza Yobu ku mmaaya, ‘enyooma embalaasi n’agyebagadde.’ Wadde ekinnyonnyi kino ekiweza ffuuti munaana obuwanvu tekiyinza kubuuka, kisobola okudduka mayiro 40 buli ssaawa, era ng’oluta lwakyo lumu luwera ffuuti kkumi na ttaano! (Yobu 39:13, 18) Ku luuyi olulala, ekinyonyi ekinene ennyo ekiyitibwa albatross kibeera mu bbanga eriri waggulu w’agayanja ebiseera ebisinga obungi. Ebiwaawaatiro byakyo bwe biba bigoloddwa biwera ffuuti nga 11. Kiyinza okuseeyeeya mu bbanga okumala essaawa eziwera nga tekikuba biwaawaatiro byakyo. Ate ko, akanuunansubi, ke kanyonyi akasingayo obutono mu nsi yonna era kaweza inci nga bbiri zokka obuwanvu. Kayinza okukuba ebiwaawaatiro byako emirundi 80 buli katikitiki! Akanuunansubi kayinza okukuba ebiwaawaatiro nga kali mu kifo kimu ng’ennyonyi nnamunkanga era n’okubuuka nga kadda ekyennyumannyuma.
17. Lukwata eyitibwa blue whale yenkana wa obunene, era twandisazeewo ki oluvannyuma lw’okufumiitiriza ku bitonde bya Yakuwa?
17 Zabbuli 148:7 lugamba nti “balukwata” batendereza Yakuwa. Lowooza ku lukwata eyitibwa blue whale erowoozebwa okuba ekisolo ekisingayo obunene ku nsi. ‘Lukwata’ eno ebeera mu gayanja aganene eyinza okuweza ffuuti 100 n’okusingawo obuwanvu. Obuzito bwayo buyinza okwenkanankana obw’enjovu enkulu 30. Obuzito bw’olulimi lwayo bwenkana obw’enjovu emu. Omutima gwayo gwenkana akamotoka akatono. Omutima guno omunene ennyo gukuba emirundi mwenda gyokka buli ddakiika—ekyawukana ennyo ku mutima gwa kanuunansubi ogukuba emirundi nga 1,200 buli ddakiika. Ogumu ku misuwa gya lukwata eno munene nnyo ne kiba nti omwana omuto ayinza okugwavuliramu. Mazima ddala emitima gyaffe gitukubiriza okukkiriziganya n’ebigambo ebifundikira mu kitabo kya Zabbuli: “Buli ekirina omukka kimutendereze Mukama.”—Zabbuli 150:6.
Tuyigire ku Maanyi Yakuwa Ge Yakozesa Okutonda
18, 19. Ebiramu Yakuwa bye yatonda ku nsi bya njawulo kwenkana wa, era ebitonde bituyigiriza ki ku bufuzi bwe?
18 Kiki kye tuyigira ku ngeri Yakuwa gy’akozesaamu amaanyi ge okutonda? Tuwuniikirira olw’ebitonde ebingi ate eby’enjawulo. Omuwandiisi wa Zabbuli omu yagamba: “Ai Mukama, emirimu gyo nga gya ngeri nnyingi . . . Ensi ejjudde obugagga bwo.” (Zabbuli 104:24) Ekyo nga kituufu nnyo! Bannasayansi bazudde ebika by’ebintu ebiramu ebisukka mu kakadde; kyokka abamu balowooza nti biyinza n’okuwera obukadde 10, oba 30 oba n’okusingawo. Omusiizi w’ebifaananyi ebiseera ebimu ayinza okukisanga nti takyalina bippya bya kwongera mu mulimu gwe. Okwawukana ku ekyo, obusobozi bwa Yakuwa obw’okukola n’okutonda ebintu ebippya tebukoma.
19 Engeri Yakuwa gy’akozesaamu amaanyi ge okutonda erina ky’etuyigiriza ku bufuzi bwe. Ekigambo “Omutonzi” kyawula Yakuwa ku bintu ebirala byonna mu butonde, kubanga byonna ‘byatondebwa.’ N’Omwana wa Yakuwa eyazaalibwa omu yekka, era ‘eyakolera’ awamu ne Katonda mu kutonda, tayitibwa Mutonzi mu Baibuli. (Engero 8:30; Matayo 19:4) Wabula, ye ‘mubereberye w’ebitonde byonna.’ (Abakkolosaayi 1:15) Ekifo kya Yakuwa ng’Omutonzi kimuwa obwanannyini okufuga obutonde bwonna.—Abaruumi 1:20; Okubikkulirwa 4:11.
20. Yakuwa awummudde mu ngeri ki okuva bwe yamaliriza okutonda ku nsi?
20 Yakuwa alekedde awo okukozesa amaanyi ge okutonda? Baibuli egamba nti Yakuwa bwe yamala okutonda ku lunaku olw’omukaaga, ‘yawummula ku lunaku olw’omusanvu okuva ku mirimu gye yakola.’ (Olubereberye 2:2) Omutume Pawulo yalaga nti ‘olunaku’ olw’omusanvu lulimu enkumi n’enkumi z’emyaka, kubanga lwali lukyagenda mu maaso. (Abebbulaniya 4:3-6) Naye ekigambo ‘okuwummula’ kitegeeza nti Yakuwa alekedde awo okukola? Nedda, Yakuwa aba talekedde awo kukola. (Zabbuli 92:4; Yokaana 5:17) N’olwekyo, okuwummula okwo kutegeeza okulekera awo okutonda ebintu ku nsi. Kyokka, omulimu gwe ogw’okutuukiriza ebigendererwa bye gukyagenda mu maaso. Omulimu ogwo guzingiddemu okuluŋŋamya Ebyawandiikibwa Ebitukuvu. Omulimu gwe era guzingiddemu okussaawo ‘ekitonde ekiggya,’ ekijja okwogerwako mu Ssuula 19.—2 Abakkolinso 5:17.
21. Amaanyi Yakuwa gakozesa okutonda galikola ki ku bantu abeesigwa emirembe n’emirembe?
21 Olunaku lwa Yakuwa olw’okuwummula bwe lulikoma, ajja kusobola okwogera nti emirimu gye gyonna gy’akoze ku nsi ‘mirungi nnyo,’ nga bwe yayogera ku nkomerero y’olunaku olw’omukaaga olw’okutonda. (Olubereberye 1:31) Engeri gy’alikozesaamu amaanyi ge agatakoma okutonda oluvannyuma lw’ekyo kiriba gy’ali. Ka kibeere ki, tuyinza okuba abakakafu nti tujja kweyongera okuwuniikirira olw’engeri Yakuwa gy’alikozesaamu amaanyi ge okutonda. Emirembe n’emirembe tujja kuyiga bingi ku Yakuwa okuyitira mu bitonde bye. (Omubuulizi 3:11) Gye tukoma okuyiga ebimukwatako, gye tukoma okuwuniikirira, era n’okubeera n’enkolagana ennungi n’Omutonzi waffe ow’Ekitalo.
a Okusobola okutegeera obulungi obuwanvu bwa mayiro ezo, lowooza ku kino: Singa obadde mu mmotoka ng’ovuga mayiro 100 buli ssaawa, emisana n’ekiro, kyandikutwalidde emyaka egisukka mu kikumi okumalayo mayiro ezo!
b Abamu balowooza nti abantu abaaliwo mu biseera bya Baibuli balina okuba nga baakozesa galubindi ezizimbulukusa. Bagamba nti singa tekyali bwe kityo, kati olwo bandisobodde batya okumanya nti emmunyeenye nnyingi nnyo era tezibalika? Abateebereza bwe batyo, baba basuula muguluka Yakuwa, Eyawandiisa Baibuli.—2 Timoseewo 3:16.
c Teeberezaamu ekiseera kye wanditutte okubala emmunyeenye obuwumbi 100. Singa osobola okubala emmunyeenye emu buli katikitiki, era n’okikola buli lunaku essaawa 24, kyandikutwalidde emyaka 3,171!