Okutuukiriza Yakuwa by’Atwetaagisa Kimugulumiza
‘Nnaamugulumizanga wamu n’okumwebaza.’—ZABBULI 69:30.
1. (a) Lwaki Yakuwa agwanidde okugulumizibwa? (b) Tuyinza tutya okumugulumizanga wamu n’okumwebaza?
YAKUWA ye Katonda omuyinza w’ebintu byonna, Omufuzi w’Obutonde Bwonna era Omutonzi. N’olw’ensonga eyo, erinnya lye n’ebigendererwa bye byetaaga okugulumizibwa. Okugulumiza Katonda kitegeeza okumuwa ekitiibwa ekisingirayo ddala, kwe kugamba, okumutendereza mu bigambo ne mu bikolwa. Okumugulumizanga wamu ‘n’okumwebaza’ kitwetaagisa okusiimanga ebyo by’atukolera kati ne by’anaatukolera mu biseera ebijja. Tulina okuba n’endowooza ng’eyo eri mu Okubikkulirwa 4:11, ebitonde eby’omwoyo ebyesigwa we bigambira nti: “Osaanidde ggwe, Mukama waffe, Katonda waffe, okuweebwanga ekitiibwa n’ettendo n’obuyinza: kubanga ggwe wabitonda byonna, era byabaawo lwa kusiima kwo, era byatondebwa.” Tuyinza tutya okugulumiza Yakuwa? Nga tuyiga ebimukwatako era nga tutuukiriza ebyo by’atwetaagisa. Tulina okuba n’enneewulira ng’ey’omuwandiisi wa Zabbuli eyagamba nti: “Onjigirize okukolanga by’oyagala; kubanga ggwe oli Katonda wange.”—Zabbuli 143:10.
2. Yakuwa ayisa atya abo abamugulumiza, era abo abatamugulumiza anaabakola atya?
2 Yakuwa atwala abo abamugulumiza okuba ab’omuwendo ennyo. Eyo y’ensonga lwaki ye ‘mugabi’ w’empeera eri abo abamunoonya.’ (Abaebbulaniya 11:6) Agaba mpeera ki? Yesu yagamba bw’ati ng’asaba eri Kitaawe ow’omu ggulu: “Buno bwe bulamu obutaggwaawo, okutegeera ggwe, Katonda omu ow’amazima, n’oyo gwe watuma, Yesu Kristo.” (Yokaana 17:3) Yee, abo ‘abagulumiza Yakuwa wamu n’okumwebaza’ “balisikira ensi, [era] banaagibeerangamu emirembe gyonna.” (Zabbuli 37:29) Ku luuyi olulala, “tewaliba mpeera eri omuntu omubi.” (Engero 24:20) Naddala mu nnaku zino ez’oluvannyuma, kikulu nnyo okugulumiza Yakuwa kubanga mangu ddala ajja kuzikiriza ababi era awonyeewo abatuukirivu. “Ensi eggwaawo, n’okwegomba kwayo; naye akola Katonda by’ayagala abeerera emirembe egitaggwaawo.”—1 Yokaana 2:17; Engero 2:21, 22.
3. Lwaki tulina okussaayo omwoyo ku kitabo kya Malaki?
3 Yakuwa by’ayagala tukole bisangibwa mu Baibuli, kubanga “buli ekyawandiikibwa kirina okuluŋŋamya kwa Katonda.” (2 Timoseewo 3:16) Baibuli erimu ebyawandiikibwa bingi ebiraga engeri Yakuwa gy’awa omukisa abo abamugulumiza, era n’ebyo ebituuka ku abo abatamugulumiza. Ekimu ku byo kikwata ku byaliwo mu Isiraeri mu nnaku za nnabbi Malaki. Awo nga mu mwaka 443 B.C.E., nga Nekkemiya ye gavana wa Yuda, Malaki yawandiika ekitabo ekyatuumibwa erinnya lye. Ekitabo kino ekibuguumiriza kirimu ebintu bingi nga byonna “byawandiikibwa olw’okutulabula ffe abatuukiddwako enkomerero z’emirembe.” (1 Abakkolinso 10:11) Okussaayo omwoyo eri ebigambo bya Malaki kiyinza okutuyamba okweteekerateekera “olunaku olukulu olw’entiisa olwa Mukama” kw’anaazikiririza embeera zino embi.—Malaki 4:5.
4. Nsonga ki omukaaga enkulu ezitutegeezebwa mu Malaki essuula 1?
4 Ekitabo kya Malaki, ekyawandiikibwa emyaka egisukka mu 2,400 egiyise, kiyinza kutuyamba kitya mu kyasa kino ekya 21, okweteekerateekera olunaku lwa Yakuwa olukulu era olw’entiisa? Essuula esooka etulaga ensonga enkulu mukaaga lwaki tulina okugulumiza Yakuwa wamu n’okumwebaza tusobole okusiimibwa mu maaso ge era n’okufuna obulamu obutaggwaawo: (1) Yakuwa ayagala abantu be. (2) Tulina okulaga nti tusiima ebintu ebitukuvu. (3) Yakuwa atusuubira okumuwa ekisingayo obulungi. (4) Okusinza okw’amazima kukubirizibwa kwagala so si mulugube. (5) Obuweereza obusiimibwa Katonda si mugugu. (6) Buli omu ku ffe avunaanyizibwa eri Katonda. N’olwekyo, mu kitundu ekisooka eky’ebitundu ebisatu ebikwata ku kitabo kya Malaki, ka twekenneenye buli emu ku nsonga ezo nga twetegereza Malaki essuula 1.
Yakuwa Ayagala Abantu Be
5, 6. (a) Lwaki Yakuwa yayagala Yakobo? (b) Kiki kye tuyinza okusuubira bwe tubeera abeesigwa nga Yakobo?
5 Okwagala kwa Yakuwa kweyoleka bulungi mu nnyiriri ezisooka mu kitabo kya Malaki. Ekitabo kino kitandika n’ebigambo: “Omugugu ogw’ekigambo kya Mukama eri Isiraeri.” Katonda ayongera n’agamba: “Nnabaagala.” Mu lunyiriri olwo lwennyini Yakuwa awa ekyokulabirako ng’agamba: “Nnamwagala Yakobo.” Yakobo yali musajja akkiririza mu Yakuwa. Ekiseera kyatuuka Yakuwa n’akyusa erinnya lya Yakobo n’amuyita Isiraeri, era Yakobo yafuuka jjajja w’eggwanga lya Isiraeri. Yakuwa yayagala Yakobo kubanga yali musajja eyalina okukkiriza. Yakuwa era yayagala abantu mu Isiraeri abaalina endowooza ng’eya Yakobo.—Malaki 1:1, 2.
6 Singa twagala Yakuwa era ne tunywerera ku bantu be, tujja kufuna okubudaabudibwa okuva mu bigambo ebiri mu 1 Samwiri 12:22: “Mukama taayabulirenga bantu be olw’erinnya lye ekkulu.” Yakuwa ayagala abantu be era ajja kubawa empeera, nga bwe bulamu obutaggwaawo. N’olwekyo: “Weesigenga Mukama, okolenga obulungi; beeranga mu nsi, ogobererenga obwesigwa. Era sanyukiranga Mukama: naye anaakuwanga omutima gwo bye gusaba.” (Zabbuli 37:3, 4) Malaki essuula 1 eraga ensonga ey’okubiri lwaki tulina okwagala Yakuwa.
Laga Nti Osiima Ebintu Ebitukuvu
7. Lwaki Yakuwa yakyawa Esawu?
7 Nga bwe tusoma mu Malaki 1:2, 3, Yakuwa bw’amala okugamba nti, “nnamwagala Yakobo,” ayongera n’agamba nti, “Esawu nnamukyawa.” Lwaki kyali bwe kityo? Kubanga Yakobo yagulumiza Yakuwa, naye muganda we Esawu si bwe yakola. Era Esawu yayitibwa Edomu. Mu Malaki 1:4, ensi ya Edomu eyitibwa ensalo y’obubi, era abatuuze baamu baavumirirwa. Erinnya Edomu (amakulu nti “Mumyufu”) lyaweebwa Esawu oluvannyuma lw’okuguza Yakobo obukulu bwe obw’omuwendo olw’omugoyo omumyufu. Olubereberye 25:34 wagamba nti: “Esawu n’anyooma eby’obukulu bwe.” Omutume Pawulo yakubiriza bakkiriza banne okwegendereza “walemenga okubeera[wo] omwenzi, oba [atasiima bintu ebitukuvu] nga Esawu, eyatunda obusika bwe olw’akawumbo k’emmere akamu.”—Abaebbulaniya 12:14-16.
8. Lwaki Pawulo yageraageranya Esawu ku mwenzi?
8 Lwaki Pawulo yagerageranya ebikolwa bya Esawu ku bwenzi? Kubanga omuntu bw’abeera n’endowooza ng’eya Esawu kiyinza okumuviiramu obutasiima bintu bitukuvu. Kino kiyinza n’okumuviirako okwenyigira mu bibi eby’amaanyi, gamba ng’obwenzi. N’olwekyo, buli omu ku ffe ayinza okwebuuza: ‘Emirundi egimu nkemebwa okuwaanyisa eby’obusika bwange obw’Ekikristaayo—obulamu obutaggwaawo—n’ebintu eby’ekiseera obuseera ng’akawumbo k’emmere akamu? Oboolyawo mu butamanya, nnyooma ebintu ebitukuvu?’ Esawu enjala bwe yamuluma, teyagumiikiriza. Yagamba Yakobo: “Mpa mangu omugoyo ogwo omumyufu.” (Olubereberye 25:30, NW) Eky’ennaku, mu ngeri y’emu abamu ku baweereza ba Katonda bagambye nti: “Mangu! Lwaki tulinda obufumbo obw’ekitiibwa?” Okwagala ennyo okwetaba kibafuukidde ekyambika ng’akawumbo k’emmere akamu bwe kaali eri Esawu.
9. Tuyinza tutya okusigala nga tutya Yakuwa?
9 Ka tuleme kunyooma ebintu ebitukuvu nga tutwala empisa ennungi, n’obusika bwaffe obw’eby’omwoyo ng’ebintu ebitali bikulu. Mu kifo ky’okubeera nga Esawu, ka tubeere nga Yakobo eyali omwesigwa, tusigale nga tutya Katonda era nga tusiima ebintu ebitukuvu. Kino tuyinza kukikola tutya? Nga tufuba okutuukiriza Yakuwa by’atwetaagisa. Kino kitutuusa ku nsonga ey’okusatu eri mu Malaki essuula 1. Y’eruwa eyo?
Okuwa Yakuwa Ekisingayo Obulungi
10. Mu ngeri ki bakabona gye baanyoomamu emmeeza ya Yakuwa?
10 Bakabona abaaweerezanga mu yeekaalu e Yerusaalemi mu nnaku za Malaki, tebaawanga Yakuwa ssaddaaka ezisingayo obulungi. Malaki 1:6-8 wagamba: “Omwana assaamu ekitiibwa kitaawe, n’omuddu mukama we: kale oba nga ndi kitammwe, ekitiibwa kyange kiri ludda wa? Era oba nga ndi mukama wammwe, okutiibwa kwange kuli ludda wa? Mukama w’eggye bw’agamba mmwe, Ai bakabona abanyooma erinnya lyange.” Bakabona baamubuuza nti: “Twali tunyoomye tutya erinnya lyo?” Yakuwa yabaddamu: ‘[Nga] muweerayo ku kyoto kyange ekiweebwayo ekyonoonese.’ Bakabona ne bamubuuza, “twakwonoona tutya?” Yakuwa yabaddamu: “Kubanga mwogera nti Emmeeza ya Mukama teriimu ka buntu.” Bakabona abo baalaga nti baanyooma emmeeza ya Yakuwa buli lwe baawangayo ssaddaaka eziriko ekikyamu ne bagamba nti: ‘Si kibi!’
11. (a) Kiki Yakuwa kye yayogera ku ssaddaaka ezitakkirizibwa? (b) Mu ngeri ki n’abantu abalala gye baalina omusango?
11 Yakuwa kyeyava ayogera bw’ati ku ssaddaaka ezitakkirizibwa: ‘Kale nno muzitonere oyo abatwala; anaabasanyukira, oba anakkiriza amaaso gammwe?’ N’akatono! Ow’essaza teyandisanyukidde kirabo ng’ekyo. Awatali kubuusabuusa n’Omufuzi w’Obutonde Bwonna tayinza kusanyukira n’akatono ssaddaaka eziriko ekikyamu. Kyokka, si bakabona bokka be baali mu nsobi. Kyo kituufu nti baanyoomanga Yakuwa nga bawaayo ssaddaaka ezo. Naye ate bo abantu abalala tebaalina musango? Baagulina. Be baalondanga ensolo enzibe z’amaaso, eziwenyera, era endwadde ne bazitwalira bakabona okuziwaayo nga ssaddaaka. Nga kyali kibi kya maanyi!
12. Tuyambibwa tutya okuwa Yakuwa ekisingayo obulungi?
12 Okuwa Yakuwa ekisingayo obulungi ye ngeri y’okulagamu nti tumwagalira ddala. (Matayo 22:37, 38) Obutafaanana nga bakabona ab’omu nnaku za Malaki, leero ekibiina kya Yakuwa kituyigiriza ebintu bingi ebikwata ku Baibuli ebituyamba okugulumiza Katonda wamu n’okumwebaza nga tutuukiriza by’atwetaagisa. Kino kitutuusa ku nsonga enkulu ey’okuna esangibwa mu Malaki essuula 1.
Okusinza okw’Amazima Kukubirizibwa Kwagala So Si Mulugube
13. Kiki bakabona kye baakolanga ekyalaga nti baali bakubirizibwa mulugube?
13 Bakabona ab’omu nnaku za Malaki baalinga beenoonyeza byabwe. Tebaalina kwagala, era baali baagala nnyo ssente. Ekyo tukimanya tutya? Malaki 1:10 wagamba: “Mu mmwe singa mubaddemu n’omu eyandiggaddewo enzigi, muleme okukuma omuliro ku kyoto kyange obwereere! Sibasanyukira n’akatono, bw’ayogera Mukama w’eggye, so sikkirize kiweebwayo [okuva mu] mukono gwammwe.” Yee, bakabona abo ab’omulugube baayagalanga okusasulwa okusobola okukola obulimu obutonotono mu yeekaalu, gamba ng’okuggala enzigi n’okukuma omuliro mu kyoto! Tekyewuunyisa lwaki Yakuwa teyasanyukira n’akatono biweebwayo okuva mu mikono gyabwe!
14. Lwaki tuyinza okugamba nti Abajulirwa ba Yakuwa bakubirizibwa kwagala?
14 Bakabona ab’omu Yerusaalemi eky’edda abaali ab’omulugube era abeenoonyezanga ebyabwe, batujjukiza nti, okusinziira ku Kigambo kya Katonda, abaluvu tebalisikira Bwakabaka bwe. (1 Abakkolinso 6:9, 10, NW) Bwe tufumiitiriza ku bakabona abo abaali beenoonyeza ebyabwe, kituleetera okweyongera okusiima omulimu gw’okubuulira mu nsi yonna ogukolebwa Abajulirwa ba Yakuwa. Gukolebwa kyeyagalire; tetusaba ssente okukola omulimu ogwo. ‘Tetutunda kigambo kya Katonda.’ (2 Abakkolinso 2:17, NW) Okufaananako Pawulo, buli omu ku ffe ayinza okugamba: ‘N’essanyu nnababuulira enjiri ya Katonda ku bwereere.’ (2 Abakkolinso 11:7) Weetegereze nti Pawulo ‘yabuulira enjiri ya Katonda n’essanyu.’ Ekyo kitutuusa ku nsonga ey’okutaano eri mu kitabo kya Malaki essuula 1.
Okuweereza Katonda Si Mugugu
15, 16. (a) Bakabona baalina ndowooza ki ku kuwaayo ssaddaaka? (b) Abajulirwa ba Yakuwa bawaayo batya ssaddaaka zaabwe?
15 Bakabona b’omu Yerusaalemi eky’edda abataalina kukkiriza, baatwala okuwaayo ssaddaaka ng’omukolo ogukooya. Gwali mugugu gye bali. Nga bwe kiragibwa mu Malaki 1:13 (NW), Katonda yabagamba: “Mwogera nti, “Laba! Omulimu guno nga gukooya!’ era mugunyoomye.” Bakabona abo baanyooma ebintu bya Katonda ebitukuvu. Ka tusabe Katonda tuleme kubeera nga bo. Mu kifo ky’ekyo, ka tubeerenga n’endowooza eri mu 1 Yokaana 5:3: “Kuno kwe kwagala kwa Katonda ffe okukwatanga ebiragiro bye: era ebiragiro bye tebizitowa.”
16 Ka tusanyukenga okuwaayo eri Katonda ssaddaaka ez’eby’omwoyo, tuleme kuziraba ng’omugugu omuzito. Ka tusseeyo omwoyo ku bigambo bino eby’obunnabbi: “[Mugambe Yakuwa], ggyawo [“sonyiwa,” NW] obutali butuukirivu bwonna, okkirizeeko ebirungi: bwe tutyo tunaasasula ekiweebwayo eky’omu mimwa gyaffe, ng’ente ennume.” (Koseya 14:2) Ebigambo “ekiweebwayo eky’omu mimwa gyaffe, ng’ente ennume” bitegeeza ssaddaaka ez’eby’omwoyo, ebigambo bye twogera nga tutendereza Yakuwa n’ebigendererwa bye. Abaebbulaniya 13:15 wagamba: “Kale mu oyo [Yesu Kristo] tuweereyo eri Katonda bulijjo ssaddaaka ey’ettendo, kye kibala eky’emimwa egyatula erinnya lye.” Nga tuli basanyufu nnyo nti ssaddaaka zaffe ez’eby’omwoyo, teziba za kutuukiriza butuukiriza mukolo, naye zooleka okwagala kwe tulina eri Katonda! Kino kitutuusa ku nsonga ey’omukaaga gye tuyinza okuyiga mu Malaki essuula 1.
Buli Omu Avunaanyizibwa Eri Katonda
17, 18. (a) Lwaki Yakuwa yakolimira “oyo alimba”? (b) Kiki abalimba abo kye bataalowoozaako?
17 Abantu abaaliwo mu nnaku za Malaki, baali bavunaanyizibwa olw’ebikolwa byabwe, era naffe tuvunaanyizibwa. (Abaruumi 14:12; Abaggalatiya 6:5) Mu ngeri eyo, Malaki 1:14 wagamba: “Naye oyo alimba akolimirwe, alina ennume mu kisibo kye, ne yeeyama n’awaayo ssaddaaka eri Mukama ekintu ekiriko obulema.” Omusajja eyabeeranga n’ekisibo, gamba ng’eky’endiga, teyabanga na nsolo emu yokka n’aba nga yeeyo yokka gy’asobola okuwaayo. Ate mu kulonda ensolo ey’okuwaayo nga ssaddaaka, teyandironzeemu eyo enzibe y’amaaso, ewenyera, oba endwadde. Bwe yandironze ensolo ng’eyo, kyandiraze nti anyoomye enteekateeka ya Yakuwa ey’okuwaayo ssaddaaka, kubanga omusajja eyalina ekisibo yandibadde asobolera ddala okufunayo eyo etaaliko kikyamu.
18 N’olwekyo, ng’alina ensonga entuufu, Yakuwa yakolimira oyo alimbalimba, eyalina ennume esaanidde, naye n’aleeta ensolo enzibe y’amaaso, ewenyera, oba endwadde eri kabona agiweeyo nga ssaddaaka. Era tewali kyonna kiraga nti bakabona baajuliza Amateeka ga Katonda okulaga nti ensolo eziriko obulema zaali tezikkirizibwa. (Eby’Abaleevi 22:17-20) Abantu abalowooza obulungi baali bakimanyi nti ebintu tebyandibagendedde bulungi singa baagezaako okuwaayo ekirabo ng’ekyo eri ow’essaza nga bamulimbalimba nti kirungi. Kyokka ate n’okusingawo, baali bakolagana n’Omufuzi w’Obutonde Bwonna, Yakuwa, oyo asingira ewala ow’essaza yenna. Malaki 1:14 wagamba bwe wati: “Nze ndi kabaka mukulu, bw’ayogera Mukama w’eggye, n’erinnya lyange lya ntiisa mu b’amawanga.”
19. Kiki kye twesunga, era mu kiseera kino kiki kye twandibadde tukola?
19 Ng’abaweereza ba Katonda abeesigwa, twesunga olunaku abantu bonna lwe balisinza Kabaka Omukulu, Yakuwa. Mu kiseera ekyo, “ensi erijjula okumanya Mukama, ng’amazzi bwe gasaanikira ennyanja.” (Isaaya 11:9) Mu kiseera kino ka tunyiikire okutuukiriza Katonda by’atwetaagisa nga tukoppa omuwandiisi wa Zabbuli eyagamba nti: ‘Nnaamugulumizanga wamu n’okumwebaza.” (Zabbuli 69:30) Okusobola okutuukiriza kino, Malaki atuwa okubuulirira okulala okuyinza okutuyamba ennyo. Ka twekenneenye ebintu ebirala ebiri mu kitabo kya Malaki, mu bitundu ebibiri ebiddako.
Ojjukira?
• Lwaki twandigulumizza Yakuwa?
• Lwaki ssaddaaka bakabona ze baawangayo mu nnaku za Malaki, Yakuwa teyazikiriza?
• Yakuwa tumuwa tutya ssaddaaka ey’okutendereza?
• Kiki ekyanditukubirizza mu kusinza okw’amazima?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]
Obunnabbi bwa Malaki bwasonga ku nnaku zaffe
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 19]
Esawu teyasiima bintu bitukuvu
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]
Bakabona n’abantu baawaayo ssaddaaka ezitakkirizibwa
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 21]
Mu nsi yonna, Abajulirwa ba Yakuwa bawaayo ssaddaaka ez’okutendereza kyeyagalire