Yakuwa—Ekyokulabirako Ekisingayo Obukulu mu Kulaga Obulungi
“Mumwebaze Mukama w’eggye kubanga Mukama mulungi!”—YEREMIYA 33:11.
1. Lwaki tutendereza Katonda olw’obulungi bwe?
YAKUWA KATONDA mulungi mu buli ngeri yonna. Nnabbi Zekkaliya yagamba nti: ‘Obulungi bwe nga bungi!’ (Zekkaliya 9:17) Mazima ddala, obulungi bwe bulabikira mu buli kintu kye yakola ng’atuteekerateekera ensi okugibeeramu. (Olubereberye 1:31) Tetuyinza kutegeera buli kimu Katonda kye yakola ng’atonda obutonde bwonna. (Omubuulizi 3:11; 8:17) Naye ekitono kye tumanyiiko kituleetera okumutendereza olw’obulungi bwe.
2. Obulungi oyinza kubunnyonnyola otya?
2 Obulungi kye ki? Ze mpisa ennungi. Naye era busingawo ku butabeera na mpisa mbi. Obulungi, nga kye kimu ku bibala by’omwoyo, ngeri omuntu gy’ayolesa ng’abaako ekintu ekirungi era eky’omuganyulo ky’akola. (Abaggalatiya 5:22, 23) Twoleka obulungi bwe tukolera abalala ebintu ebirungi era eby’omuganyulo. Mu mbeera z’ebintu zino, abamu kye batwala ng’ekirungi, abalala bayinza okukitwala ng’ekibi. Kyokka, bwe tuba ab’okubeera n’emirembe era n’essanyu, wateekwa okubaawo omutindo gumu ogw’okwoleka obulungi. Ani ayinza okussaawo omutindo ogwo?
3. Ku bikwata ku mutindo gw’obulungi, Olubereberye 2:16, 17 walaga ki?
3 Katonda y’assaawo omutindo gw’obulungi. Ku ntandikwa y’ebyafaayo by’omuntu, Yakuwa yalagira omuntu eyasooka: “Buli muti ogw’omu lusuku olyangako nga bw’onooyagalanga: naye omuti ogw’okumanya obulungi n’obubi togulyangako: kubanga olunaku lw’oligulyako tolirema kufa.” (Olubereberye 2:16, 17) Yee, abantu beetaaga okwesigama ku Mutonzi waabwe okusobola okumanya ekirungi n’ekibi.
Yayoleka Obulungi Obutatusaanira
4. Kiki Katonda ky’akoledde abantu okuva Adamu bwe yayonoona?
4 Essuubi ly’omuntu ery’okubeera mu ssanyu emirembe gyonna ng’atuukiridde lyagootaana Adamu bwe yayonoona era n’agaana okukkiriza nti Katonda y’alina obuyinza okumusalirawo ekirungi. (Olubereberye 3:1-6) Kyokka, Adamu bwe yali tannazaala baana abaasikira ekibi n’okufa, Katonda yalagula okujja kw’Ezzadde erituukiridde. Yakuwa bwe yali ayogera eri ‘omusota ogw’edda,’ nga ye Setaani Omulyolyomi, yagamba: “Nange obulabe n’abuteekanga wakati wo n’omukazi, era ne wakati w’ezzadde lyo n’ezzadde ly’omukazi: (ezzadde ly’omukazi) lirikubetenta omutwe, naawe oliribetenta ekisinziiro.” (Okubikkulirwa 12:9; Olubereberye 3:15) Kyali kigendererwa kya Yakuwa okununula abantu aboonoonyi. Mazima ddala, mu kwolesa obulungi obutatusaanira, Yakuwa akoze enteekateeka okununula abo abakkiririza mu ssaddaaka y’ekinunulo ky’Omwana we gw’ayagala ennyo.—Matayo 20:28; Abaruumi 5:8, 12.
5. Wadde nga twasikira endowooza embi mu mutima, lwaki tuyinza okwoleka obulungi?
5 Kya lwatu, olw’ekibi kya Adamu, twasikira endowooza embi mu mutima. (Olubereberye 8:21) Kyokka, eky’essanyu, Yakuwa atuyamba okwoleka obulungi wadde nga tetusobola kukikola mu bujjuvu. Bwe tweyongera okussa mu nkola ebintu bye tuyiga okuva mu byawandiikibwa ebitukuvu, kitusobozesa okuba ‘ab’amagezi’ era ‘n’okuba na buli kintu ekyetaagisa olw’omulimu omulungi,’ nga kw’otadde n’okutusobozesa okukola ebirungi mu maaso ge. (2 Timoseewo 3:14-17) Kyokka, okusobola okuganyulwa mu bulagirizi bw’omu Byawandiikibwa n’okwoleka obulungi, tuteekwa okubeera n’endowooza ng’ey’omuwandiisi wa Zabbuli eyayimba: “Oli mulungi [Yakuwa], era okola ebirungi; onjigirizenga amateeka go.”—Zabbuli 119:68.
Obulungi bwa Yakuwa Butuleetera Okumutendereza
6. Nga Kabaka Dawudi amaze okuleeta essanduuko y’endagaano mu Yerusaalemi, Abaleevi baayimba oluyimba olwalimu bigambo ki?
6 Kabaka Dawudi owa Isiraeri ey’edda yategeera obulungi bwa Katonda era n’anoonyanga obulagirizi Bwe. Dawudi yagamba: “Mukama ye mulungi era wa mazima: kyanaavanga ayigiriza ekkubo abalina ebibi.” (Zabbuli 25:8) Mu bulagirizi Katonda bwe yawa Abaisiraeri mwalimu ebiragiro ebikulu kkumi, kwe kugamba Amateeka Ekkumi agaawandiikibwa ku bipande by’amayinja abiri ne gateekebwa mu bokisi entukuvu eyitibwa essanduuko ey’endagaano. Nga Dawudi amaze okuleeta Essanduuko y’endagaano mu Yerusaalemi, ekibuga ekikulu eky’Abaisiraeri, Abaleevi baayimba oluyimba olwalimu ebigambo bino: “Kale mwebaze Mukama; kubanga mulungi; kubanga okusaasira kwe [“ekisa kye,” NW] kubeerera emirembe gyonna.” (1 Ebyomumirembe 16:34, 37-41) Nga kiteekwa okuba nga kyali kisanyusa nnyo okuwulira Abaleevi nga bayimba ebigambo ebyo!
7. Kiki ekyaliwo essanduuko y’endagaano bwe yatwalibwa mu Awasinga Obutukuvu era n’oluvannyuma lw’okusaba kwa Sulemaani?
7 Ebigambo bye bimu eby’okutendereza byakozesebwa mu kiseera ky’okuwaayo yeekaalu Sulemaani, mutabani wa Dawudi, gye yazimba. Ng’essanduuko y’endagaano emaze okuteekebwa mu Awasinga Obutukuvu mu yeekaalu eyali yaakazimbibwa, Abaleevi baatandika okutendereza Yakuwa, “kubanga mulungi; kubanga okusaasira kwe [“ekisa kye,” NW] kubeerera emirembe gyonna.” Mu kiseera ekyo, mu ngeri ey’eky’amagero, yeekaalu yajjula ekire nga kikiikirira ekitiibwa kya Yakuwa. (2 Ebyomumirembe 5:13, 14) Oluvannyuma lw’okusaba kwa Sulemaani ng’awaayo yeekaalu, “omuliro ne guva mu ggulu ne gwokya ekiweebwayo ekyokebwa ne ssaddaaka.” Bwe baalaba ekyo, “abaana ba Isiraeri bonna ne bavuunama amaaso gaabwe ku mayinja amaaliire, ne basinza, ne beebaza Mukama nga boogera nti Kubanga mulungi; kubanga okusaasira kwe [“ekisa kye,” NW] kubeerera emirembe gyonna.” (2 Ebyomumirembe 7:1-3) Oluvannyuma lw’embaga eyamala ennaku 14, Abaisiraeri baddayo mu maka gaabwe “nga basanyuse era nga bajaguza mu mitima gyabwe olw’obulungi Mukama bwe yali alaze Dawudi, ne Sulemaani, ne Isiraeri abantu be.”—2 Ebyomumirembe 7:10.
8, 9. (a) Wadde ng’Abaisiraeri baatendereza Katonda olw’obulungi bwe, kiki kye baakola oluvannyuma? (b) Kiki ekyalagulwa ku Yerusaalemi okuyitira mu Yeremiya, era obunnabbi obwo bwatuukirizibwa butya?
8 Eky’ennaku, Abaisiraeri tebeeyongera kweyisa mu ngeri etuukagana n’ennyimba ez’okutendereza Katonda ze baayimba. Ekiseera bwe kyayitawo, abantu b’omu Yuda baali ‘bassaamu Katonda ekitiibwa kya ku mimwa.’ (Isaaya 29:13) Mu kifo ky’okunywerera ku mitindo gya Katonda egikwata ku bulungi, baatandika okukola ebibi. Bintu ki ebibi bye baakola? Baatandika okusinza ebifaananyi, okwenda, okunyigiriza abaavu era n’okukola ebibi ebirala eby’amaanyi! Ekyavaamu, Yerusaalemi kyazikirizibwa era abantu b’omu Yuda baatwalibwa mu buwambe e Babulooni mu 607 B.C.E.
9 Mu ngeri eyo, Katonda yakangavvula abantu be. Kyokka, okuyitira mu nnabbi Yeremiya, yalagula nti mu Yerusaalemi mwali mwa kuwulirwamu nate eddoboozi erigamba: “Mumwebaze Mukama w’eggye kubanga Mukama mulungi, kubanga okusaasira kwe [“ekisa kye,” NW] kwa lubeerera!” (Yeremiya 33:10, 11) Era bwe kityo bwe kyali. Oluvannyuma lw’emyaka 70 ng’ensi eyo teriimu bantu, mu 537 B.C.E., ensigalira y’Abayudaaya baakomawo mu Yerusaalemi. (Yeremiya 25:11; Danyeri 9:1, 2) Baddamu okuzimba ekyoto mu kifo awaalinga yeekaalu ku Lusozi Moliya era ne batandika okukiweerako ssaddaaka. Omusingi gwa yeekaalu gwasimibwa mu mwaka ogw’okubiri nga bamaze okuddayo. Nga kyali kiseera kya ssanyu nnyo! Ezera yagamba nti: “Awo abazimbi bwe bassaawo emisingi gya yeekaalu ya Mukama . . . bakabona nga bambadde ebyambalo byabwe nga balina amakondeere, n’Abaleevi batabani ba Asafu nga balina ebitaasa, okutendereza Mukama, nga Dawudi kabaka wa Isiraeri bwe yateekateeka. Ne bayimbiragana nga batendereza nga beebaza Mukama nga boogera nti Kubanga mulungi, n’okusaasira kwe [“ekisa kye,” NW] kubeerera emirembe gyonna eri Isiraeri.’”—Ezera 3:1-11.
10. Bigambo ki ebikulu Zabbuli 118 by’etandika nabyo era by’ekomekkereza nabyo?
10 Ebigambo ebifaananako ebyo ebitendereza obulungi bwa Yakuwa biri mu Zabbuli eziwerako. Mu ezo mwe muli Zabbuli 118, eyayimbibwanga Abaisiraeri oluvannyuma lw’okukwata embaga ey’Okuyitako. Zabbuli eyo etandika era n’ekomekkerezebwa n’ebigambo: “Mwebaze Mukama; kubanga mulungi: kubanga okusaasira kwe [“ekisa kye,” NW] kubeerera emirembe gyonna.” (Zabbuli 118:1, 29) Bino byandiba nga bye bigambo ebitendereza, Yesu Kristo bye yasembayo okuyimba n’abatume be abeesigwa mu kiro ekyakeesa olunaku kwe yafiira mu 33 C.E.—Matayo 26:30.
“Ondage Ekitiibwa Kyo”
11, 12. Musa bwe yalaba ku kitiibwa kya Yakuwa, bigambo ki bye yawulira?
11 Akakwate akaliwo wakati w’obulungi bwa Yakuwa n’ekisa kye kaali kalagiddwa ebyasa bingi nga Ezera tannaba kubaawo. Amangu ddala ng’Abaisiraeri baakamala okusinza akayana aka zaabu mu ddungu era nga n’abakozi b’ebibi baakamala okuttibwa, Musa yeegayirira Yakuwa: “Nkwegayiridde ondage ekitiibwa kyo.” Ng’akimanyi nti Musa yali tayinza kumulaba n’aba mulamu, Yakuwa yagamba: “N[n]aayisa obulungi bwange bwonna mu maaso go.”—Okuva 33:13-20.
12 Obulungi bwa Yakuwa bwayita mu maaso ga Musa olunaku olwaddako ku Lusozi Sinaayi. Mu kiseera ekyo, Musa yalaba ku kitiibwa kya Katonda era n’awulira ebigambo bino: “Yakuwa, Yakuwa, Katonda omusaasizi era alumirirwa, alwawo okusunguwala, era ow’ekisa ekingi n’amazima, alaga ekisa eri enkumi n’enkumi, asonyiwa ensobi n’okwonoona n’ekibi, kyokka talemwa kuwa bibonerezo, ateeka ekibonerezo ku baana olw’ensobi ya bakitaabwe, ne ku bazukkulu, ku bannakasatwe ne ku bannakana.” (Okuva 34:6, 7, NW) Ebigambo ebyo biraga nti obulungi bwa Yakuwa bulina akakwate n’ekisa kye era n’engeri ze endala zonna. Okwekenneenya engeri ezo kijja kutuyamba okwoleka obulungi. Ka tusooke twekenneenye engeri eyogerwako emirundi ebiri mu bigambo ebyo ebitendereza obulungi bwa Katonda.
“Katonda . . . ow’Ekisa Ekingi”’
13. Mu bigambo ebitendereza obulungi bwa Katonda, ngeri ki eyogerwako emirundi ebiri, era lwaki ekyo kituukirawo?
13 “Yakuwa [ye] Katonda . . . ow’ekisa ekingi . . . alaga ekisa eri enkumi n’enkumi.” Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekivvuunulwa “ekisa” era kitegeeza “okwagala okunywevu.” Ye ngeri yokka eyayogerwako emirundi ebiri mu bigambo ebyo Katonda bye yayogera eri Musa. Nga kituukirawo nnyo, kubanga engeri ya Yakuwa esinga obukulu kwe kwagala! (1 Yokaana 4:8) Ebigambo ebitendereza Yakuwa nga bigamba nti ‘kubanga mulungi, ekisa kye kya lubeerera,’ biggumiza engeri eyo.
14. Baani okusingira ddala abaganyulwa mu bulungi ne mu kisa kya Katonda?
14 Engeri emu obulungi bwa Yakuwa gye bwolesebwamu eri nti ‘wa kisa kingi.’ Nnaddala kino kirabikira mu ngeri gy’alabiriramu abaweereza be abeewaayo gy’ali era abeesigwa. (1 Peetero 5:6, 7) Ng’Abajulirwa ba Yakuwa bwe bayinza okukiwaako obukakafu, “alaga ekisa” eri abo abamwagala era abamuweereza. (Okuva 20:6) Yakuwa yalekera awo okulaga eggwanga lya Isiraeri ekisa kye oba okwagala kwe okunywevu kubanga lyagaana Omwana we. Naye obulungi bwa Yakuwa n’okwagala okunywevu by’alaga Abakristaayo abeesigwa okuva mu mawanga gonna bijja kubeerawo emirembe gyonna.—Yokaana 3:36.
Yakuwa—Musaasizi era Alumirirwa Abalala
15. (a) Ekirangiriro Musa kye yawulira ku Lusozi Sinaayi kyatandika na bigambo ki? (b) Obusaasizi buzingiramu ki?
15 Ekirangiriro Musa kye yawulira ku Lusozi Sinaayi kyatandika n’ebigambo bino: “Yakuwa, Yakuwa, Katonda omusaasizi era alumirirwa.” Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekivvuunulwa ‘okusaasira’ kiyinza okutegeeza “ebyenda” era kirina akakwate n’ekigambo “olubuto.” N’olwekyo, okusaasira kuzingiramu enneewulira ey’omunda ennyo ey’okulumirirwa abalala. Naye tekukoma ku kulumirirwa bulumirirwa balala. Twandibaddeko ne kye tukolawo okukendeeza ku kubonaabona kw’abalala. Ng’ekyokulabirako, abakadde Abakristaayo balaba obwetaavu bw’okulaga bakkiriza bannaabwe obusaasizi, nga bakikola ‘n’essanyu’ buli we kiba kyetaagisa.—Abaruumi 12:8; Yakobo 2:13; Yuda 22, 23.
16. Lwaki kiyinza okugambibwa nti Yakuwa alumirirwa abalala?
16 Obulungi bwa Katonda era bweyolekera mu kisa kye. Omuntu alumirirwa abalala “afaayo nnyo ku nneewulira zaabwe” era ayoleka ‘ekisa eky’amaanyi eri abo abali wansi w’obuyinza bwe.’ Okusinziira ku ngeri gy’akolaganamu n’abaweereza be, Yakuwa kye kyokulabirako ekisingirayo ddala obulungi eky’okulumirirwa abalala. Ng’ekyokulabirako, ng’ayitira mu bamalayika, mu ngeri ey’ekisa Katonda yagumya nnabbi Danyeri eyali akaddiye ennyo. Era y’ategeeza n’omuwala embeerera, Malyamu, enkizo gye yali agenda okufuna ey’okuzaala Yesu. (Danyeri 10:19; Lukka 1:26-38) Ng’abantu ba Yakuwa, mazima ddala tusiima nnyo engeri ey’ekisa gy’atubuuliriramu okuyitira mu Baibuli. Tumutendereze olw’okwoleka obulungi bwe mu ngeri eyo. Era naffe twandibadde ba kisa nga tukolagana n’abalala. Abo abalina ebisaanyizo eby’omwoyo bwe baba bagolola mukkiriza munnaabwe “mu mwoyo gw’obuwombeefu,” bagezaako okukikola mu ngeri ey’eggonjebwa era ey’ekisa.—Abaggalatiya 6:1.
Katonda Alwawo Okusunguwala
17. Lwaki tusaanidde okubeera abasanyufu olw’okuba Yakuwa “alwawo okusunguwala”?
17 “Katonda . . . alwawo okusunguwala.” Ebigambo ebyo biggumiza engeri endala obulungi bwa Yakuwa gye bwolesebwamu. Yakuwa agumiikiriza obunafu bwaffe era atuwa ebbanga tusobole okuvvuunuka obunafu obw’amaanyi n’okukulaakulana mu by’omwoyo. (Abaebbulaniya 5:12–6:3; Yakobo 5:14, 15) Obugumiikiriza bwa Yakuwa era buganyula n’abo abatannaba kufuuka basinza be. Abo bakyalina ebbanga okukkiriza obubaka bw’Obwakabaka n’okwenenya. (Abaruumi 2:4) Kyokka, wadde nga Yakuwa mugumiikiriza, ebiseera ebimu obulungi bwe bumuleetera okwoleka obusungu bwe, nga bwe yakola nga Abaisiraeri basinzizza akayana aka zaabu ku Lusozi Sinaayi. Katonda anaatera okulaga obusungu bwe mu ngeri ey’amaanyi ng’azikiriza embeera za Setaani zino embi.—Ezeekyeri 38:19, 21-23.
18. Ku bikwata ku mazima, njawulo ki eriwo wakati wa Yakuwa n’abakulembeze b’abantu?
18 ‘Yakuwa ye Katonda alina amazima amangi.’ Nga Yakuwa wa njawulo nnyo ku bakulembeze b’abantu abasuubiza ebintu eby’ekitalo kyokka ne balemererwa okubituukiriza! Okubawukanako, abasinza ba Yakuwa basobola okwesiga ebigambo bye byonna ebiri mu Kigambo kye ekyaluŋŋamizibwa. Okuva Katonda bw’alina amazima amangi, tusobola okwesiga by’atusuubiza byonna. Olw’obulungi bwe, Kitaffe ow’omu ggulu talemererwa kuddamu kusaba kwaffe okw’okumanya amazima ag’eby’omwoyo era agatuwa mu bungi.—Zabbuli 43:3; 65:2.
19. Ngeri ki enkulu ennyo Yakuwa mw’alagidde obulungi bwe eri aboonoonyi abeenenya?
19 “Yakuwa [ye] Katonda . . . asonyiwa ensobi n’okwonoona n’ekibi.” Olw’obulungi bwe, Yakuwa aba mwetegefu okusonyiwa aboonoonyi abeenenya. Mazima ddala, tuli basanyufu olw’okuba Kitaffe ow’omu ggulu akoze enteekateeka okutusonyiwa okuyitira mu ssaddaaka ya Yesu. (1 Yokaana 2:1, 2) Mazima ddala, tuli basanyufu nnyo nti abo bonna abakkiririza mu kinunulo basobola okubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa, nga balina essuubi ery’okubeera abalamu emirembe gyonna mu nsi empya gye yasuubiza. Nga zino nsonga nnungi nnyo ezituleetera okutendereza Yakuwa olw’okulaga abantu obulungi bwe!—2 Peetero 3:13.
20. Bukakafu ki bwe tulina obulaga nti Katonda tazibiikiriza bubi?
20 “[Yakuwa] talemwa kuwa bibonerezo.” Mu butuufu eno nsonga ndala etuleetera okutendereza Yakuwa olw’obulungi bwe. Lwaki? Kubanga emu ku ngeri enkulu obulungi gye bulagibwamu eri nti tebuzibiikiriza bubi mu buli ngeri yonna. Ate era, “mu kubikkulibwa kwa Mukama waffe Yesu okuva mu ggulu awamu ne bamalayika ab’obuyinza,” ajja kuwalana eggwanga ku abo “abatamanyi Katonda, n’abo abatagondera mawulire malungi aga Mukama waffe Yesu.” Abo bajja “kubonerezebwa, kwe kuzikirira emirembe n’emirembe.” (2 Abasessaloniika 1:6-9) Abasinza ba Katonda abanaawonawo bajja kusobola okunyumirwa obulamu mu bujjuvu nga tebatawaanyizibwa bantu abatatya Katonda, “abatayagala bulungi.”—2 Timoseewo 3:1-3.
Koppa Obulungi bwa Yakuwa
21. Lwaki twandyolesezza obulungi?
21 Awatali kubuusabuusa tulina ensonga nnyingi ezituleetera okutendereza n’okwebaza Yakuwa olw’obulungi bwe. Ng’abaweereza be, tetwandikoze kyonna ekisoboka okwoleka engeri eyo? Yee, twandikikoze, kubanga omutume Pawulo yakubiriza bw’ati Bakristaayo banne: “Mukoppenga Katonda, ng’abaana abaagalwa.” (Abaefeso 5:1, NW) Kitaffe ow’omu ggulu ayoleka obulungi bwe buli kiseera, era naffe bwe tusaanidde okukola.
22. Kiki kye tujja okwekenneenya mu kitundu ekiddako?
22 Bwe tuba twamala dda okwewaayo eri Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna, awatali kubuusabuusa, twagala okukoppa obulungi bwe. Olw’okuba tuli bazzukulu ba Adamu omwonoonyi, tekitubeerera kyangu okukola ekirungi. Kyokka, mu kitundu ekiddako, tujja kulaba ensonga lwaki tusobola okwoleka obulungi. Era tujja kwekenneenya engeri ezitali zimu mwe tusaanidde okukoppamu Yakuwa—oyo ataddewo ekyokulabirako ekisingayo obukulu eky’obulungi.
Wandizzeemu Otya?
• Obulungi kye ki?
• Bigambo ki eby’omu Byawandiikibwa ebiggumiza obulungi bwa Katonda?
• Ezimu ku ngeri obulungi bwa Yakuwa gye bwolesebwamu ze ziruwa?
• Lwaki tusaanidde okukoppa obulungi bwa Yakuwa?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]
Yakuwa yakangavvula abantu be ab’edda kubanga tebaanywerera ku bigambo byabwe eby’okumutendereza
Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]
Ensigalira abeesigwa baddayo mu Yerusaalemi
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 11]
Musa yawulira ekirangiriro eky’ekitalo ekikwata ku bulungi bwa Katonda
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 13]
Obulungi bwa Yakuwa bulabikira mu ngeri gy’atubuuliriramu okuyitira mu Baibuli