Yeremiya
25 Mu mwaka ogw’okuna ogw’obufuzi bwa Yekoyakimu+ kabaka wa Yuda, mutabani wa Yosiya, ekigambo ekikwata ku bantu bonna ab’omu Yuda kyajjira Yeremiya, era ng’ogwo gwe gwali omwaka ogusooka ogw’obufuzi bwa Kabaka Nebukadduneeza* owa Babulooni. 2 Bino nnabbi Yeremiya bye yayogera ebikwata ku bantu* bonna ab’omu Yuda n’abantu bonna ab’omu Yerusaalemi:
3 “Okuva mu mwaka ogw’ekkumi n’esatu ogw’obufuzi bwa Kabaka Yosiya+ owa Yuda, mutabani wa Amoni, okutuusa leero, gye myaka 23, Yakuwa abadde ayogera nange, era nange mbabuulidde enfunda n’enfunda,* naye ne mutawuliriza.+ 4 Era Yakuwa yabatumira abaweereza be bonna bannabbi, ng’abatuma enfunda n’enfunda,* naye ne mutawuliriza era ne mutatega kutu kuwulira.+ 5 Babaddenga babagamba nti, ‘Buli omu ku mmwe ave mu makubo ge amabi era aleke ebikolwa bye ebibi;+ olwo ensi Yakuwa gye yabawa edda mmwe ne bajjajjammwe mujja kweyongera okugibeeramu ekiseera kiwanvu. 6 Temugoberera bakatonda balala, era temubaweereza wadde okubavunnamira. Temunnyiiza nga mwekolera ebifaananyi, nneme okubabonereza.’
7 “‘Naye temwampuliriza,’ Yakuwa bw’agamba, ‘wabula mwakola ebifaananyi ne munnyiiza, ne mwereetako akabi.’+
8 “N’olwekyo bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba, ‘“Olw’okuba temwagondera bigambo byange, 9 ŋŋenda kutumya ab’amawanga gonna ag’ebukiikakkono,”+ Yakuwa bw’agamba, “n’omuweereza wange+ Kabaka Nebukadduneeza* owa Babulooni, era nja kubaleeta balwanyise ensi eno,+ n’abagibeeramu bonna, n’amawanga gonna agabeetoolodde.+ Nja kubazikiriza era mbafuule ekintu eky’entiisa era eky’okufuuyira oluwa, era mbafuule amatongo ag’olubeerera. 10 Nja kusirisa mu byo eddoboozi ly’okujaguza n’ery’okusanyuka,+ eddoboozi ly’omugole omusajja n’ery’omugole omukazi,+ era n’eddoboozi ly’okusa kw’olubengo, era nja kuggyawo ekitangaala ky’ettaala. 11 Ensi eno yonna ejja kufuuka matongo era ekintu eky’entiisa, era amawanga ago gajja kuweereza kabaka wa Babulooni okumala emyaka 70.”’+
12 “‘Naye emyaka 70 bwe giriggwaako,+ ndisasula* kabaka wa Babulooni n’eggwanga eryo olw’ensobi zaabwe,’+ Yakuwa bw’agamba, ‘era ensi y’Abakaludaaya ndigifuula matongo emirembe n’emirembe.+ 13 Ensi eyo ndigireetako ebigambo byange byonna bye nnagyogerako, ebyo byonna Yeremiya bye yalagula ku mawanga gonna ebiwandiikiddwa mu kitabo kino. 14 Amawanga mangi ne bakabaka ab’amaanyi+ balibafuula baddu,+ era amawanga ago ndigasasula okusinziira ku mirimu gyago ne ku ebyo bye gaakola n’emikono gyago.’”+
15 Bw’ati Yakuwa Katonda wa Isirayiri bwe yaŋŋamba: “Ggya mu mukono gwange ekikopo kino eky’omwenge ogw’obusungu bwange, onywese amawanga gonna gye nnaakutuma. 16 Bajja kunywa batagale era babe ng’abalalu olw’ekitala kye nnaasindika mu bo.”+
17 Awo ne nzigya ekikopo mu mukono gwa Yakuwa ne nnywesa amawanga gonna Yakuwa gye yantuma,+ 18 nga ntandikira ku Yerusaalemi n’ebibuga bya Yuda,+ ne bakabaka baamu n’abaami baamu, bifuuke amatongo, ekintu eky’entiisa, ekintu eky’okufuuyira oluwa, era ekikolimo,+ nga bwe kiri leero; 19 oluvannyuma nnanywesa Falaawo kabaka wa Misiri n’abaweereza be, abaami be, n’abantu be bonna,+ 20 n’abagwira bonna ababeera mu nsi eyo; bakabaka bonna ab’omu nsi y’e Uzzi; bakabaka bonna ab’omu nsi y’Abafirisuuti;+ Asukulooni,+ Gaaza, Ekulooni, n’abaali basigaddewo mu Asudodi; 21 Edomu,+ Mowaabu,+ n’Abaamoni;+ 22 bakabaka bonna ab’e Ttuulo, bakabaka bonna ab’e Sidoni,+ ne bakabaka b’ekizinga ekiri mu nnyanja; 23 Dedani,+ Tema, Buzi, n’abo bonna abasalako kakoba waabwe;+ 24 bakabaka bonna ab’Abawalabu+ ne bakabaka bonna ab’abagwira ababeera mu ddungu; 25 bakabaka bonna ab’e Zimuli,+ ne bakabaka bonna ab’e Eramu, ne bakabaka bonna ab’Abameedi;+ 26 ne bakabaka bonna ab’ebukiikakkono ab’okumpi n’ewala, omu ku omu, n’obwakabaka obulala bwonna obuli ku nsi; kabaka wa Sesaki*+ y’alibaddirira okunywa.
27 “Ate era ojja kubagamba nti, ‘Bw’ati Yakuwa ow’eggye, Katonda wa Isirayiri, bw’agamba: “Munywe mutamiire, museseme era mugwe eri mube nga temusobola kusituka+ olw’ekitala kye ŋŋenda okusindika mu mmwe.”’ 28 Bwe banaagaana okuggya ekikopo mu mukono gwo okunywa, ojja kubagamba nti, ‘Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba: “Muteekwa okukinywa! 29 Kubanga laba! bwe kiba nti akabi ŋŋenda kusooka kukatuusa ku kibuga ekiyitibwa erinnya lyange,+ mmwe muyinza obutabonerezebwa?”’+
“‘Muteekwa okubonerezebwa, olw’okuba ŋŋenda kuyita ekitala kijje ku abo bonna ababeera ku nsi,’ bw’ayogera Yakuwa ow’eggye.
30 “Era oli wa kulangirira ebigambo bino byonna gye bali obagambe nti,
‘Yakuwa ajja kuwuluguma ng’ayima waggulu,
Era ajja kwogerera mu kifo ekitukuvu mw’abeera eddoboozi lye liwulirwe.
Ajja kuwulugumira ekifo kye eky’oku nsi eky’enkalakkalira.
Ng’aleekaana ng’abo abasogola omwenge,
Ajja kuyimba oluyimba olw’obuwanguzi ng’alwolekeza abo bonna ababeera ku nsi.’
31 ‘Eddoboozi lijja kuwulirwa okutuuka ku nkomerero y’ensi,
Kubanga Yakuwa alina enkaayana n’amawanga.
Ye kennyini ajja kusalira abantu bonna omusango.+
Era ababi ajja kubatta n’ekitala,’ bw’ayogera Yakuwa.
32 Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba:
‘Laba! Akabi kalanda nga kava ku ggwanga erimu nga kagenda ku ggwanga eddala,+
Era embuyaga ey’amaanyi ejja kukunta ng’eva mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba eby’ewala.+
33 “‘Era n’abo Yakuwa b’alitta ku lunaku olwo baliba mu nsi yonna. Tebalikungubagirwa, wadde okukuŋŋaanyizibwa, wadde okuziikibwa. Baliba ng’obusa ku ttaka.’
34 Mukube ebiwoobe mmwe abasumba, era muleekaane!
Mwevulunge mu vvu mmwe ab’ebitiibwa ab’omu kisibo,
Kubanga ekiseera kyammwe eky’okuttibwa n’okusaasaana kituuse,
Era mujja kugwa mwatikeyatike ng’ekibya eky’omuwendo!
35 Abasumba tebalina wa kuddukira,
Era ab’ebitiibwa ab’omu kisibo tebajja kuwonawo.
36 Wulira! Abasumba bakaaba
N’ab’ebitiibwa ab’omu kisibo bakuba ebiwoobe,
Olw’okuba Yakuwa asaanyaawo amalundiro gaabwe.
37 N’ebifo eby’okubeeramu ebyalingamu emirembe tebikyalimu bulamu
Olw’obusungu bwa Yakuwa obubuubuuka.