Ekigambo kya Yakuwa Kiramu
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitundu Ekisooka eky’Ekitabo kya Zabbuli
LINNYA ki erituukirawo lye wandiwadde ekitabo ekiri mu Baibuli ekirimu ennyimba ennyingi ezitendereza Omutonzi waffe, Yakuwa Katonda? Teri linnya lituukirawo okuggyako erya Zabbuli oba Ennyimba Ezitendereza. Ekitabo kino ekisingayo obunene mu Baibuli kirimu ennyimba ennungi ennyo ezoogera ku ngeri za Katonda n’ebikolwa bye eby’ekitalo era kirimu n’obunnabbi obw’enjawulo. Nnyingi ku nnyimba ezo zooleka enneewulira abawandiisi abo ze baalina nga babonaabona oba nga bali mu buzibu. Ebyo bye baawandiika byaliwo mu bbanga lya myaka lukumi—okuva mu kiseera kya nnabbi Musa okutuuka ng’Abaisiraeri bavudde mu buwaŋŋanguse. Ekitabo kino kyawandiikibwa Musa, Kabaka Dawudi, n’abalala. Kigambibwa nti kabona Ezera ye yakuŋŋaanya ebitundutundu by’ekitabo kino n’abisengeka bulungi nga bwe biri kati.
Okuva edda n’edda, ekitabo kya Zabbuli kyayawulwamu ebitundu bitaano: (1) Zabbuli 1-41; (2) Zabbuli 42-72; (3) Zabbuli 73-89; (4) Zabbuli 90-106; ne (5) Zabbuli 107-150. Mu kitundu kino tugenda kwekenneenya ekitundu ekisooka. Ng’oggyeko zabbuli ssatu zokka, zabbuli endala zonna eziri mu kitundu ekisooka Kabaka Dawudi owa Isiraeri ey’edda ye yaziwandiika. Kyokka, abo abaayiiya Zabbuli 1, 10, ne 33 tabamanyiddwa.
‘KATONDA WANGE LWE LWAZI LWANGE’
Zabbuli esooka bw’emala okugamba nti omuntu ayagala amateeka ga Yakuwa aba n’omukisa, ey’okubiri eyogera ku Bwakabaka.a Okusingira ddala, ekitundu ekisooka ekya zabbuli kirimu essaala ez’okwegayirira Katonda. Ng’ekyokulabirako, mu Zabbuli 3-5, 7, 12, 13, ne 17, omuwandiisi yali yeegayirira Katonda amuyambe abalabe be baleme kumukolako kabi. Ate Zabbuli 8 yo eraga nti Yakuwa atusingira wala mu buli kimu.
Ng’ayogera ku Yakuwa ng’Omukuumi w’abantu be, Dawudi yagamba bw’ati: ‘Katonda wange lwe lwazi lwange olunywevu. Oyo gwe ŋŋenda okwesiganga.’ (Zabbuli 18:2) Mu Zabbuli 19 Yakuwa ayogerwako ng’Omutonzi era Omuwi w’Amateeka, mu Zabbuli 20 ayogerwako ng’Omununuzi ate mu Zabbuli 21 ayogerwako ng’Omulokozi wa Kabaka we gwe yafukako amafuta. Mu Zabbuli eya 23, Yakuwa ayogerwako ng’Omusumba Omukulu ate mu Zabbuli eya 24 ayogerwako nga Kabaka.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
2:1, 2—‘Kintu ki ekitaliimu nsa’ amawanga kye galowooza? ‘Ekintu ekitaliimu nsa’ gavumenti z’abantu kye zirowooza kwe kweyongera okufuga. Kino tekiriimu nsa kubanga ekiruubirirwa kyazo kijja kugwa butaka. Ddala amawanga gayinza okutuuka ku buwanguzi nga gawakanya ‘Yakuwa n’oyo gwe yafukako amafuta’?
2:7—‘Ekiragiro kya Yakuwa’ ekyogerwako wano kye ki? Ekiragiro kino ye ndagaano y’Obwakabaka Yakuwa gye yakola n’Omwana we omwagalwa, Yesu Kristo.—Lukka 22:28, 29.
2:12—Mu ngeri ki bakabaka b’amawanga gye ‘banywegera omwana’? Mu biseera bya Baibuli, okunywegera omuntu kyali kikolwa ekyoleka omukwano n’obwesigwa. Yali ngeri yakwanirizaamu bagenyi. Bakabaka b’ensi bagambibwa okunywegera omwana, kwe kugamba, okwaniriza Kabaka Masiya.
3:—Obugambo obutono obuli waggulu wa zabbuli ezimu bulina kigendererwa ki? Obugambo obwo oluusi buba bulaga erinnya ly’omuwandiisi wa zabbuli eyo n’embeera gye yalimu ng’agiwandiika, nga bwe kirabikira mu Zabbuli 3. Ate era, bulaga ekigendererwa ky’oluyimba (gamba nga mu Zabbuli 4 ne 5) era ne bulaga n’ekivuga ekyakozesebwa (Zabbuli 6).
3:2—“Seera” kye ki? Kirowoozebwa nti omuyimbi bwe yatuukanga awali ekigambo ekyo yalinanga okusiriikiriramu, era kino yakikolanga ng’alekera awo okuyimba oba ng’alekera awo byombi okuyimba n’okukuba ekivuga. Yasiriikirirangamu asobole okufumiitiriza ku ebyo bye yaakamala okuyimba. Tekyetaagisa kusoma kigambo ekyo ng’osoma Zabbuli.
11:3—Wano emisingi egizikirizibwa gye giruwa? Gino gye misingi egirina okugobererwa gavumenti z’abantu, kwe kugamba, amateeka, ebiragiro, n’obwenkanya. Bwe giba tegigobereddwa, wabaawo obwegugungo, era tewabaawo bwenkanya. Mu mbeera ng’ezo, “omutuukirivu” aba alina okwesiga Katonda.—Zabbuli 11:4-7.
21:3—“Engule eya zaabu ennungi” ekiikirira ki? Baibuli tetubuulira obanga engule eno yali ya ddala obanga kaali kabonero akooleka ekitiibwa Dawudi kye yaweebwa olw’obuwanguzi bwe yatuukako. Kyokka, ekyawandiikibwa kino kyali kisonga ku ngule ey’obwakabaka Yakuwa gye yawa Yesu mu 1914. Olw’okuba engule eno yakolebwa mu zaabu kiba kiraga nti obufuzi bwe bulungi nnyo.
22:1, 2—Lwaki Dawudi yawulira nti Yakuwa amwabulidde? Dawudi yali ayigganyizibwa nnyo abalabe be ne kiviirako ‘omutima gwe okubanga obubaane obusaanuuse wakati mu byenda bye.’ (Zabbuli 22:14) Kirabika yawulira nti Yakuwa amwabulidde. Yesu bwe yakomererwa naye yawulira mu ngeri y’emu. (Matayo 27:46) Ebigambo bya Dawudi ebyo byoleka enneewulira omuntu gy’aba nayo ng’ali mu mbeera enzibu. Kyokka okusinziira ku kusaba kwe okuli mu Zabbuli 22:16-21, kyeyoleka kaati nti Dawudi yali akyakkiririza mu Katonda.
Bye Tuyigamu:
1:1. Tulina okwewala okuba n’enkolagana ey’oku lusegere n’abantu abataagala Yakuwa.—1 Abakkolinso 15:33.
1:2. Tetwandirese lunaku kuyitawo nga tetwesomesezza bintu bya mwoyo.—Matayo 4:4.
4:4. Bwe tukwatibwa obusungu, tusaanidde okufuga olulimi lwaffe tuleme kwogera kintu kye tunnejjusa oluvannyuma.—Abeefeso 4:26.
4:5. Ssaddaaka zaffe ez’eby’omwoyo ziba ‘ssaddaaka za butuukirivu’ singa tuziwaayo n’ekiruubirirwa ekirungi era nga tweyisa nga Yakuwa bw’ayagala.
6:5. Nsonga ki enkulu eyandituleetedde okwagala okubeera abalamu?—Zabbuli 115:17.
9:12. Yakuwa ababonereza abo abayiwa omusaayi naye teyeerabira “kukaaba kw’abaavu.”
15:2, 3; 24:3-5. Abali mu kusinza okw’amazima bateekwa okwogera amazima era n’okwewala okulayira eby’obulimba n’okuwaayiriza abalala.
15:4. Okuleka nga tukitegedde nti kye tweyamye kikontana n’ebyawandiikibwa, twandikoze kyonna kye tusobola okukituukiriza, ka kibe kizibu kitya.
15:5. Ng’abaweereza ba Yakuwa, twetaaga okwewala okukozesa obubi ssente.
17:14, 15. “Abantu b’ensi” beemalira ku kunoonya bya bugagga, kulabirira maka, n’okulaba nti babaako eky’obusika kye balekera abantu baabwe. Kyokka ye Dawudi yeemalira ku kukola linnya ddungi ne Katonda asobole ‘okulaba amaaso ge,’ oba okufuna emikisa gye. Bwe ‘yandizuukuse’ oba bwe yanditegedde ebisuubizo bya Yakuwa era n’akimanya nti Yakuwa ali wamu naye, Dawudi yandibadde ‘mumativu,’ oba yandisanyuse okumanya nti Yakuwa ali naye. Okufaananako Dawudi, naffe tetwandifuddeyo nnyo ku bintu eby’omwoyo?
19:1-6. Bwe kiba nti ebitonde ebitasobola kwogera oba okulowooza biwa Yakuwa ekitiibwa, ffe abasobola okwogera, okulowooza n’okusinza tetwandisinzeewo?—Okubikkulirwa 4:11.
19:7-11. Ebyo Yakuwa by’atwetaagisa bya muganyulo nnyo gye tuli.
19:12, 13. Tusaanidde okwewala okukola ekibi n’okwetulinkiriza.
19:14. Tetusaanidde kufaayo ku bye tukola byokka, naye era ne ku bye twogera era ne ku bye tulowooza.
“ONNYWEZA NZE MU BUTUKIRIVU BWANGE”
Mu kitundu kya zabbuli ekisooka, Dawudi yakyoleka mu ssuula ebbiri ezisooka nti ayagala nnyo era mumalirivu okutambulira mu kkubo ery’obutuukirivu. Agamba: “Naye nze naatambuliranga mu butuukirivu bwange.” (Zabbuli 26:11) Bwe yali asaba Katonda amusonyiwe ebibi bye, yagamba: “Bwe nnasirikanga, amagumba gange gaakaddiwanga, olw’okukaaba kwange obudde okuziba.” (Zabbuli 32:3) Dawudi akakasa abantu ba Yakuwa abeesigwa ng’agamba nti: “Amaaso ga Mukama galaba abatuukirivu, n’amatu ge gawulira okukaaba kwabwe.”—Zabbuli 34:15.
Okubuulirira okuli mu Zabbuli 37 kwali kwa mugaso nnyo eri Abaisiraeri era naffe abali “mu nnaku ez’oluvannyuma” ez’enteekateeka y’ebintu eno okubuulirira okwo kutuganyula. (2 Timoseewo 3:1-5) Obunnabbi obuli Zabbuli 40:7, 8 bwogera bwe buti ku Yesu Kristo: “Nzize; mu muzingo ogw’ekitabo ekyampandiikwako: Nsanyuka okukola by’oyagala, ai Katonda wange; weewaawo, amateeka go gali mu mutima gwange munda.” Mu ssuula esembayo mu kitundu kya zabbuli ekisooka, Dawudi yasaba Yakuwa amuyambe mu biseera ebizibu bye yalimu oluvannyuma lw’okugwa mu bwenzi ne Basuseba. Yagamba: “Naye nze, onnyweza nze mu butuukirivu bwange.”—Zabbuli 41:12.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
26:6—Okufaananako Dawudi, twetooloola tutya ekyoto kya Yakuwa? Ekyoto ekyo kitegeeza nti Yakuwa yasiima ssaddaaka Yesu Kristo gye yawaayo okununula abantu. (Abaebbulaniya 8:5; 10:5-10) Twetooloola ekyoto kya Yakuwa bwe tukkiririza mu ssaddaaka eyo.
29:3-9—Lwaki eddoboozi lya Yakuwa ligeraageranyizibwa ku laddu? Kubanga: Yakuwa alina amaanyi mangi nnyo.
31:23—Mu ngeri ki omuntu ow’amalala gy’asasulwa mu bungi? Okusasulwa okwogerwako wano kwe kubonerezebwa. Omutuukirivu bw’akola ensobi Yakuwa amusasula ng’amukangavvula. Okuva bwe kiri nti omuntu ow’amalala takyuka kuva mu kkubo lye ebbi, asasulwa mu bungi ng’aweebwa ekibonerezo eky’amaanyi.—Engero 11:31; 1 Peetero 4:18.
33:6—‘Omukka’ ogw’omu kamwa ka Yakuwa kye ki? Omukka guno ge maanyi ga Katonda g’akozesa, oba omwoyo omutukuvu gwe yakozesa mu kutonda eggulu. (Olubereberye 1:1, 2) Guyitibwa omukka ogw’omu kamwa ke kubanga okufaananako omukka ogw’omu kamwa k’omuntu, ogusobola okufuuyibwa ne wabaawo ekikolebwa, ne Yakuwa atuma omwoyo gwe ne wabaawo ebikolebwa.
35:19—Lwaki Dawudi yasaba abamukyawa baleme kutemya kikowe? Okutemya ekikowe kyanditegeezezza nti abalabe ba Dawudi baasanyuka olw’okuba enkwe ze baali bamukoledde zaali ziyiseemu. Eno ye nsonga lwaki Dawudi yasaba bw’atyo.
Bye Tuyigamu:
26:4. Tusaanidde okwewala abo abakweka kye bali ku mikutu gya Internet, abo be tusoma nabo oba be tukola nabo abeefuula mikwano gyaffe naye nga balina ebiruubirirwa ebikyamu. Ate era tulina n’okwewala bakyewaggula abeefuula okuba abantu abalungi, n’abo abatambulira mu bulamu obw’emirundi ebiri.
26:7, 12; 35:18; 40:9. Tusaanidde okutendereza Yakuwa nga tuli mu nkuŋŋaana zaffe ez’Ekikristaayo.
26:8; 27:4. Tukitwala nti kikulu nnyo okubeerawo mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo?
26:11. Dawudi yakiraga nti mumalirivu okutambulira mu kkubo ery’obutuukirivu era n’asaba Yakuwa okumununula. Naffe tusobola okutambulira mu kkubo ery’obutuukirivu wadde nga tetuukiridde.
29:10. Yakuwa okutuula ku “mataba” kitegeeza nti asobola okufuga amaanyi ge.
30:5. Engeri ya Yakuwa esingayo obukulu kwe kwagala—so si busungu.
32:9. Yakuwa tayagala tube ng’ennyumbu oba embalaasi ezigondera mukama waazo nga zimaze kusibwamu lukoba oba kukubibwa. Wabula ayagala tumugondere olw’okuba tutegeera ky’ayagala.
33:17-19. Tewali gavumenti y’abantu k’ebe nga ya maanyi kwenkana wa, esobola okununula abantu. N’olwekyo tusaanidde okwesiga Yakuwa n’Obwakabaka bwe.
34:10. Ng’ekyawandiikibwa kino kizzaamu nnyo amaanyi abo abakulembeza Obwakabaka bwa Katonda!
39:1, 2. Singa ababi babaako bye batubuuza nga balina ekintu ekikyamu kye baagala okukola baganda baffe, kiba kirungi ne tusirika busirisi ne tuba nga ‘abasibye olukoba ku mimwa’ gyaffe.
40:1, 2. Bwe tulindirira Yakuwa kitusobozesa okugumira ebyo ebituleetera okwennyamira era ne tusobola okuva “mu bunnya obw’okuzikirira, mu bitosi.”
40:5, 12. Singa tukijjukira nti tujja kufuna emikisa ‘mingi nnyo,’ tetujja kuggwaamu maanyi olw’ebizibu bye tufuna mu bulamu oba olw’obunafu bwonna bwe tulina.
“[Yakuwa] Atenderezebwenga”
Nga tuzibwamu nnyo amaanyi bwe tusoma essuula 41 eziri mu kitundu ekisooka eky’ekitabo kya zabbuli! Ka tube nga tulina ebizibu oba ng’omuntu waffe ow’omunda atulumiriza, tusobola okuddamu amaanyi bwe tusoma essuula ezo. (Abebbulaniya 4:12) Zabbuli ezo zirimu obulagirizi obwesigika obusobola okutuyamba mu bulamu bwaffe. Zitukakasa enfunda n’enfunda nti, ka kibe kizibu ki kye tuba twolekaganye nakyo, Yakuwa tasobola kutwabulira.
Ekitundu ekisooka eky’ekitabo kya Zabbuli kifundikira n’ebigambo bino: “Atenderezebwenga Mukama, Katonda wa Isiraeri, okuva mu mirembe gyonna okutuusa emirembe n’emirembe. Amiina era Amiina.” (Zabbuli 41:13) Oluvannyuma lw’okwekenneenya Zabbuli ezo, tetukubirizibwa okutendereza Yakuwa?
[Obugambo obuli wansi]
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 30]
Bwe kiba nti ebitonde ebitalina bulamu bitendereza Yakuwa, ffe twandimutendereza n’okusingawo!
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]
Tetwandirese lunaku kuyitawo nga tetwesomesezza bintu bya mwoyo
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]
Dawudi ye yayiiya Zabbuli ezisinga obungi eziri mu kitundu ekisooka
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 32]
Omanyi zabbuli eyogera ku Yakuwa ng’Omusumba Omukulu?
[Ensibuko y’ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]
Stars: Courtesy United States Naval Observatory
[Ensibuko y’ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]
Stars, pages 30, 31 and 32: Courtesy United States Naval Observatory