Tutenderereze Wamu Erinnya lya Yakuwa
“Mumukuze Mukama wamu nange, tugulumize erinnya lye fenna.”—ZABBULI 34:3.
1. Yesu yateekawo kyakulabirako ki ekirungi mu buweereza bwe obw’oku nsi?
MU KIRO ekya Nisani 14, 33 C.E., Yesu n’abatume be baayimbira wamu ennyimba ezitendereza Yakuwa nga bali mu kisenge ekya waggulu eky’ennyumba mu Yerusaalemi. (Matayo 26:30) Guno gwe gwali omulundi gwa Yesu ogusembayo okukola ekyo n’abayigirizwa be. Kyokka, kyali kisaana olukuŋŋaana luno okulumaliriza mu ngeri eno. Okuva lwe yatandika obuweereza wano ku nsi okutuuka lwe bwaggwa, Yesu yatendereza Kitaawe era n’obunyiikivu yamanyisa erinnya Lye. (Matayo 4:10; 6:9; 22:37, 38; Yokaana 12:28; 17:6) Mu ngeri eno, Yesu yakola ng’omuwandiisi wa zabbuli bwe yagamba nti: “Mumukuze Mukama wamu nange, tugulumize erinnya lye fenna.” (Zabbuli 34:3) Nga kyakulabirako kirungi kye tusobola okugoberera!
2, 3. (a) Tumanya tutya nti mu Zabbuli 34 mulimu obunnabbi obw’omuganyulo? (b) Tugenda kwekenneenya ki mu kitundu kino era n’ekinaddako?
2 Nga wayise essaawa ntono ng’amaze okuyimbira wamu ne Yesu, omutume Yokaana alina ekintu eky’enjawulo kye yali agenda okulaba. Yalaba Mukama we wamu n’abatemu babiri nga battibwa ku miti egy’okubonaabona. Yalaba abasirikale Abaruumi nga bamenya amagulu g’abatemu ababiri bafe amangu. Kyokka, Yokaana agamba nti tebaamenya magulu ga Yesu. Abasirikale bwe baatuuka ku Yesu, baasanga yafudde dda. Yokaana yannyonnyola mu Njiri ye, nti kino kyali kituukiriza ekitundu ekimu ekya Zabbuli 34: “Talimenyebwa ggumba.”—Yokaana 19:32-36; Zabbuli 34:20.
3 Zabbuli 34 erimu ensonga endala ezisobola okuganyula Abakristaayo. N’olwekyo, mu kitundu kino era n’ekinaddako, tujja kwetegereza embeera Dawudi gye yalimu ng’awandiika zabbuli eno era tulabe n’ebiri mu zabbuli eyo yennyini.
Dawudi Adduka Sawulo
4. (a) Lwaki Dawudi yafukibwako amafuta okubeera kabaka wa Isiraeri ow’omu kiseera eky’omu maaso? (b) Lwaki Sawulo ‘yayagala nnyo’ Dawudi?
4 Dawudi bwe yali akyali muto, Sawulo yali kabaka wa Isiraeri. Kyokka, Sawulo yafuuka kyewaggula era n’aba nga takyasiimibwa Yakuwa. Olw’ensonga eyo, nnabbi Samwiri yamugamba nti: “Mukama akuyuzizzaako obwakabaka bwa Isiraeri leero, n’abuwa muliraanwa wo akusinga obulungi.” (1 Samwiri 15:28) Oluvannyuma, Yakuwa yalagira Samwiri okufuka amafuta ku Dawudi, mutabani wa Yese eyali asingayo obuto, okufuuka kabaka mu biseera eby’omu maaso. Omwoyo gwa Yakuwa bwe gwamuvaako, Kabaka Sawulo yafuna okwennyamira. Dawudi, omuyimbi omulungi, yaleetebwa e Gibeya okuyimbira kabaka, era ennyimba ze zaaleetera Sawulo obuweerero, era “n’amwagala nnyo.”—1 Samwiri 16:11, 13, 21, 23.
5. Lwaki Sawulo yakwatirwa Dawudi obuggya era Dawudi yawalirizibwa kukola ki?
5 Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, Yakuwa yalaga nti yali asiima Dawudi. Yamuyamba okuwangula Goliyaasi Omufirisuuti ow’amaanyi era n’amuleetera okussibwamu ekitiibwa mu Isiraeri olw’obuwanguzi bwe yali atuuseeko mu kulwana. Naye Sawulo yakwatirwa Dawudi obuggya olw’emikisa Yakuwa gye yamuwa era n’atandika okumuwalana. Emirundi ebiri Dawudi bwe yali nga akubira Sawulo ennanga, kabaka yamukasukira effumu. Emirundi egyo gyombi, Dawudi yeewoma effumu. Sawulo bwe yagezaako okumutta ku mulundi ogw’okusatu, Dawudi yakiraba nti yali ateekwa okudduka okusobola okuwonya obulamu bwe. Oluvannyuma, Sawulo bwe yeeyongera okufuba okukwata Dawudi era amutte, kyaleetera Dawudi okunoonya obubuddamo mu bitundu ebiri ebweru wa Isiraeri.—1 Samwiri 18:11; 19:9, 10.
6. Lwaki Sawulo yalagira abantu b’omu Nobu okuttibwa?
6 Bwe yali adduka okugenda mu bitundu ebiri ku nsalo ya Isiraeri, Dawudi yayitirako mu kibuga Nobu, omwali weema ya Yakuwa. Kirabika Dawudi bwe yali adduka, yagenda n’abavubuka era nga y’abafunira eby’okulya. Sawulo yakitegeera nti kabona omukulu yawa Dawudi ne basajja be emmere wamu n’ekitala Dawudi kye yali ajje ku Goliyaasi. Kino Sawulo kyamusunguwaza nnyo era n’alagira abantu b’omu kibuga bonna, nga mw’otwalidde ne bakabona 85, okuttibwa.—1 Samwiri 21:1, 2; 22:12, 13, 18, 19; Matayo 12:3, 4.
Awona Okuttibwa Nate
7. Lwaki Gaasi tekyali kifo kituufu Dawudi kwekwekamu?
7 Bwe yava e Nobu, Dawudi yaddukira mu kitundu eky’ebugwanjuba wa Bufirisuuti ekiri mayiro nga 25 era n’asaba Kabaka Akisi ow’e Gaasi, e kibuga Goliyaasi mwe yali azaalibwa okumuwa obubuddamo. Dawudi ayinza okuba yalowooza nti Sawulo tasobola kumusuubira kwekweka mu kifo ng’ekyo. Kyokka mangu ddala abaweereza ba kabaka w’e Gaasi basobola okutegeera Dawudi. Dawudi bwe yawulira nti bamutegedde, “n’atya nnyo Akisi kabaka w’e Gaasi.”—1 Samwiri 21:10-12.
8. (a) Zabbuli 56 etubuulira ki ku bikwata ku ebyo Dawudi bye yayitamu ng’ali e Gaasi? (b) Dawudi yawonera atya awatono okuttibwa?
8 Oluvannyuma Abafirisuuti bakwata Dawudi. Kiyinza okuba nga kino kye kiseera Dawudi we yayiiyiza zabbuli bwe yasaba Yakuwa nti: “Oteeke amaziga gange mu kasumbi ko.” (Zabbuli 56:8) Mu ngeri eyo yalaga obwesige nti Yakuwa teyandimwerabidde mu mbeera enzibu gye yalimu naye yandimulabiridde era n’amukuuma. Dawudi era yasala amagezi okubuzaabuza kabaka w’Abafirisuuti nga yeefuula omulalu. Kabaka Akisi bwe yalaba ekyo, n’anenya abaweereza be olw’okumuleetera omusajja ‘agudde eddalu.’ Kya lwatu, Yakuwa yawagira akakodyo ka Dawudi ako. Dawudi baamugoba mu kibuga, oluvannyuma lw’okuwonera awatono okuttibwa nate.—1 Samwiri 21:13-15.
9, 10. Lwaki Dawudi yawandiika Zabbuli 34, era baani baayinza okuba nga yalina mu birowoozo nga agiwandiika?
9 Baibuli tetubuulira obanga abasajja ba Dawudi bali naye e Gaasi oba baasigala bamukuuma nga bali mu byalo bya Isiraeri ebiriraanyewo. Oba bwe kyali oba nedda, bwe baddamu okusisinkana bateekwa okuba nga baasanyuka nnyo bwe yabanyumiza engeri Yakuwa gye yali amununudde nate. Bino bye byasinziirwako okuwandiika Zabbuli 34, nga bwe kiragibwa mu bugambo obutono obuli waggulu waayo. Mu nnyiriri omusanvu ezisooka eza zabbuli eno, Dawudi atendereza Katonda olw’okumulokola era akubiriza abawagizi be okumwegattako mu kugulumiza Yakuwa ng’Omununuzi Omukulu ow’abantu Be.—Zabbuli 34:3, 4, 7.
10 Dawudi ne basajja be beekweka mu mpuku ya Adulamu eri mu nsozi za Isiraeri, mayiro nga kumi ebuvanjuba wa Gaasi. Ng’ali eyo, Abaisiraeri abaali beetamiddwa obufuzi bwa Kabaka Sawulo obubi, baatandika okumwegattako. (1 Samwiri 22:1, 2) Dawudi bwe yayiiya ebigambo bya Zabbuli 34:8-22, ayinza okuba nga yalowooza ku bantu abo. Naffe leero tujja kuganyulwa nnyo mu kukubaganya ebirowoozo ku ebyo ebiri mu nnyiriri eziri mu zabbuli eno ennungi ennyo.
Okutendereza Yakuwa Okitwala nga Kye Kisinga Obukulu nga Dawudi?
11, 12. Nsonga ki ezituleetera okutendereza Yakuwa buli kiseera?
11 “Neebazanga Mukama mu biro byonna: ettendo lye liri mu kamwa kange bulijjo.” (Zabbuli 34:1) Engeri gye yali emmomboze, Dawudi ateekwa okuba nga yalina eby’okulya bitono. Naye ng’ebigambo ebyo bwe biraga, yasigala nga mumalirivu okutendereza Yakuwa. Nga kino kyakulabirako kirungi nnyo gye tuli bwe tuba twolekagana n’ebizibu! Ka tube nga tuli ku ssomero, ku mulimu, nga tuli ne Bakristaayo banaffe, oba mu buweereza bwaffe, kye twandikulembezza kwe kutendereza Yakuwa. Lowooza ku nsonga ennyingi ze tulina ezituleetera okukola ekyo! Ng’ekyokulabirako, eby’okuvumbula ebiri mu butonde bwa Yakuwa tebiggwaayo ate nga bisanyusa. Era lowooza ku ky’akoze ng’ayitira mu kibiina kye wano ku nsi! Yakuwa alina bingi nnyo by’akoze ng’ayitira mu bantu be abeesigwa wadde nga tebatuukiridde. Bw’ogeraageranya emirimu gya Katonda n’ebyo abantu bye basobodde okukola, tokkiriziganya ne Dawudi eyawandiika nti: “Tewali afaanana nga ggwe mu bakatonda, ai Mukama; so tewali bikolwa ebiri ng’ebibyo”?—Zabbuli 86:8.
12 Okufaananako Dawudi, naffe tusikirizibwa okutendereza Yakuwa buli kiseera olw’emirimu gye egitageraageranyizika. Ate era tuli basanyufu okukimanya nti Obwakabaka bwa Katonda kati buli mu mikono gya Yesu Kristo, Omusika wa Dawudi ow’olubeerera. (Okubikkulirwa 11:15) Kino kitegeeza nti enkomerero y’embeera y’ebintu eno eri kumpi, era nti obulamu bw’abantu abasukka mu buwumbi mukaaga buli mu kabi. N’olwekyo, okusinga bwe kyali kibadde, kyetaagisa okubuulira abantu ku Bwakabaka bwa Katonda n’ebyo bye bunaakolera abantu, awamu n’okubayamba okutendereza Yakuwa awamu naffe. Mu butuufu tusaanidde okukozesa buli kakisa okukubiriza abalala okukkiriza “enjiri” ng’ekiseera tekinnayita.—Matayo 24:14.
13. (a) Ani Dawudi gwe yeenyumiririzaamu, era kino kyasikiriza bantu ba ngeri ki? (b) Kiki ekireetera abawombeefu okujja eri ekibiina Ekikristaayo leero?
13 “Emmeeme yange eneenyumirizanga mu Mukama: abawombeefu baliwulira, balisanyuka.” (Zabbuli 34:2) Wano Dawudi yali teyeenyumiriza mu ebyo bye yali atuuseeko. Ng’ekyokulabirako, teyeewaana olw’amagezi ge yasala okubuzaabuza kabaka w’e Gaasi. Yakitegeera nti Yakuwa ye yamukuuma ng’ali e Gaasi era nti ye yamuyamba okuwonawo. (Engero 21:1) N’olwekyo, Dawudi yeenyumiririza mu Yakuwa. Kino kyaleetera abantu abawombeefu okujja eri Yakuwa. Yesu naye yagulumiza erinnya lya Yakuwa, era kino kyaleetera abawombeefu okujja eri Yakuwa. Leero, abawombeefu okuva mu mawanga gonna bajja eri ekibiina ky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta ekikulemberwa Yesu. (Abakkolosaayi 1:18) Abawombeefu ng’abo bakwatibwako bwe bawulira abaweereza ba Katonda nga bagulumiza erinnya lye era bwe bategeera obubaka bw’omu Baibuli, nga bayambibwa omwoyo gwa Katonda omutukuvu.—Yokaana 6:44; Ebikolwa 16:14.
Enkuŋŋaana Zinyweza Okukkiriza Kwaffe
14. (a) Dawudi yali mumativu okutendereza Yakuwa ng’ali yekka? (b) Kyakulabirako ki Yesu kye yateekawo ku bikwata ku nkuŋŋaana z’okusinza?
14 “Mumukuze Mukama wamu nange, tugulumize erinnya lye fenna.” (Zabbuli 34:3) Dawudi teyali mumativu kutendereza Yakuwa ng’ali yekka. N’essanyu lingi yakubirizanga mikwano gye okumwegattako mu kutendereza erinnya lya Katonda. Mu ngeri y’emu Yesu Kristo, Dawudi Asinga Obukulu, yasanyukiranga okutendereza Yakuwa mu lujjudde—mu kuŋŋaaniro, ku mbaga ezaabanga mu yeekaalu ya Katonda e Yerusaalemi, era ne bwe yabanga awamu n’abagoberezi be. (Lukka 2:49; 4:16-19; 10:21; Yokaana 18:20) Nga nkizo y’amaanyi okugoberera ekyokulabirako kya Yesu mu kutendereza Yakuwa nga tukozesa buli kakisa konna ke tufuna nga tuli wamu ne basinza banaffe, okusingira ddala kati nga bwe ‘tulaba olunaku luli nga lunaatera okutuuka’!—Abaebbulaniya 10:24, 25.
15. (a) Dawudi bye yayitamu byayamba bitya abasajja be? (b) Tuganyulwa tutya bwe tubeerawo mu nkuŋŋaana?
15 “N[n]anoonya Mukama, n’anziramu, n’andokola mu kutya kwange kwonna.” (Zabbuli 34:4) Kino kyazzaamu nnyo Dawudi amaanyi. Ye nsonga lwaki yayongera n’agamba nti: “Omunaku ono yakoowoola, Mukama n’amuwulira, n’amulokola mu nnaku ze zonna.” (Zabbuli 34:6) Bwe tukuŋŋaana awamu ne bakkiriza banaffe tubazimba nga tubabuulira ku ngeri Yakuwa gy’atuyambyemu okugumira ebizibu. Kino kinyweza okukkiriza kwa bakkiriza bannaffe nga Dawudi bwe yanyweza okw’abo be yali nabo. Abasajja ba Dawudi “baamutunuulira [Yakuwa], ne balaba omusana [basanyuka, NW]: era amaaso gaabwe tegaakwatibwanga nsonyi emirembe gyonna.” (Zabbuli 34:5) Wadde nga baali badduka Kabaka Sawulo, tebaaswala. Baali bakakafu nti Dawudi alina obuwagizi bwa Katonda, era baasigala nga basanyufu. Mu ngeri y’emu, abo abaakatandika okuyiga Baibuli era n’Abakristaayo abaludde mu mazima beesiga Yakuwa okubayamba. Olw’okuba abayambye ne basobola okuvvuunuka ebizibu, essanyu lye balina liraga nti bamalirivu okusigala nga beesigwa.
Siima Obuyambi bwa Bamalayika
16. Yakuwa akozesezza atya bamalayika be okutuyamba nga tuli mu bizibu?
16 “Malayika wa Mukama asiisira okwetooloola abo abamutya, n’abalokola.” (Zabbuli 34:7) Dawudi teyalowooza nti Yakuwa asobola kununula ye yekka. Kyo kituufu nti Dawudi yali afukiddwako amafuta okuba kabaka ajja okufuga Isiraeri; naye yali akimanya nti Yakuwa akozesa bamalayika be okukuuma abaweereza be, ka babe n’obuvunaanyizibwa oba nedda. Mu biseera byaffe, abasinza ab’amazima nabo bafunye obukuumi bwa Yakuwa. Mu Bugirimaani ng’ekyafugibwa Abanazi, mu Angola, Malawi, Mozambique, ne mu nsi endala nnyingi, ab’obuyinza baafuba nnyo okumalawo Abajulirwa ba Yakuwa. Naye kaweefube ono yagwa butaka kubanga abantu ba Yakuwa mu nsi ezo beeyongera obungi era n’okutenderereza wamu erinnya lya Katonda. Lwaki? Kubanga Yakuwa akozesa bamalayika be abatukuvu okukuuma abantu be n’okubawa obulagirizi.—Abaebbulaniya 1:14.
17. Bamalayika ba Katonda batuyamba mu ngeri ki?
17 Okugatta ku ekyo, bamalayika ba Yakuwa bakola ekiba kyetaagisa okulaba nti abo abeesittaza abantu ba Yakuwa baggibwa mu kibiina. (Matayo 13:41; 18:6, 10) Wadde nga tuyinza obutakimanya, bamalayika batuggirawo enkonge ezitulemesa okuweereza Katonda, era batukuuma okulaba nti tewaba kintu kyonoona nkolagana yaffe ne Yakuwa. N’ekisinga obukulu, batuwa obulagirizi nga tulangirira “enjiri ey’emirembe n’emirembe” eri abantu bonna, ne mu bitundu gye kiri eky’akabi okubuulira. (Okubikkulirwa 14:6) Ebyokulabirako ebikakasa nti bamalayika batuyamba bitera okufulumira mu bitabo ebikubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.a Ebyokulabirako nga bino bingi nnyo ne kiba nti tebisobola kuba nti bibaawo ku bwabyo.
18. (a) Tulina kukola ki okusobola okufuna obuyambi bwa bamalayika? (b) Kiki kye tujja okwekenneenya mu kitundu ekinaddako?
18 Bwe tuba ab’okweyongera okufuna obulagirizi n’obukuumi bwa bamalayika, tulina okweyongera okugulumiza erinnya lya Yakuwa, ka tube nga tuziyizibwa. Jjukira nti malayika wa Katonda asiisira ‘okwetooloola abo abatya Yakuwa’ bokka. Kino kitegeeza ki? Okutya Katonda kye kiki, era tuyinza kukuyiga tutya? Lwaki Katonda ow’okwagala ayagala tumutye? Ebibuuzo bino bijja kwekenneenyezebwa mu kitundu ekinaddako.
[Obugambo obuli wansi]
a Laba ekitabo Jehovah’s Witnesses—Proclaimers of God’s Kingdom, olupapula 550; 2005 Yearbook of Jehovah’s Witnesses, olupapula 53-4; Watchtower eya Maaki 1, 2000, olupapula 5-6; eya Jjanwali 1, 1991, olupapula 27; n’eya Febwali 15, 1991, olupapula 26.
Wandizzeemu Otya?
• Dawudi yayolekagana na bizibu ki ng’akyali muvubuka?
• Okufaananako Dawudi, kiki kye tutwala nga kye kisinga obukulu?
• Twanditutte tutya enkuŋŋaana z’Ekikristaayo?
• Yakuwa atuyamba atya ng’akozesa bamalayika be?
[Mmaapu eri ku lupapula 25]
(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu magazini)
Laama
Gaasi
Zikulagi
Gibeya
Yerusaalemi
Adulamu
Keyira
Kebbulooni
Zifu
Koresi
Mawoni
Nobu
Besirekemu
Engedi
Kalumeeri
Ennyanja Ey’Omunnyo
[Ensibuko y’ekifaananyi]
Map: Based on maps copyrighted by Pictorial Archive (Near Eastern History) Est. and Survey of Israel
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]
Ne bwe yali emmomboze, Dawudi yatendereza erinnya lya Yakuwa