Weesige Omwoyo gwa Katonda ng’Oyolekaganye n’Enkyukakyuka Ezibaawo mu Bulamu
‘Fubanga okusiimibwa mu maaso ga Katonda.’—2 TIMOSEEWO 2:15.
1. Nkyukakyuka ki eziyinza okubaako kye zikola ku mbeera yaffe ey’eby’omwoyo?
ENSI gye tulimu ekyukakyuka buli kiseera. Tulaba okukulaakulana kwa maanyi nnyo mu bya tekinologiya ne mu bya sayansi, kyokka ate mu kiseera kye kimu waliwo okuddirira okw’amaanyi ennyo mu by’empisa. Nga bwe twalaba mu kitundu ekyayita, Abakristaayo balina okuziyiza omwoyo gw’ensi ogutava eri Katonda. Kyokka, ng’ensi bw’ekyukakyuka, naffe tukyukakyuka mu ngeri nnyingi. Tuva mu myaka egy’obuto ne tukula. Tuyinza okufuna oba okufiirwa eby’obugagga, okufuna oba okuwona obulwadde, okufuna oba okufiirwa ab’emikwano. Enkyukakyuka nnyingi ng’ezo tetusobola kuzikugira kubaawo, era ziyinza okubaako eky’amaanyi kye zikola ku mbeera yaffe ey’eby’omwoyo.
2. Nkyukakyuka ki Dawudi ze yayitamu mu bulamu bwe?
2 Bantu batono nnyo abaali boolekaganyeeko n’enkyukakyuka ez’amaanyi ennyo mu bulamu bwabwe ng’ezo Dawudi, mutabani wa Yese ze yayitamu. Dawudi yafuna enkyukakyuka ey’amaanyi mu bulamu bwe kubanga yali musumba atamanyiddwa naye n’afuuka omuntu omwatiikirivu ennyo mu ggwanga. Oluvannyuma yafuuka emmomboze nga kabaka eyamukwatirwa obuggya amuyigga ng’ensolo. Oluvannyuma lw’ekyo, Dawudi yafuuka kabaka era n’awangula entalo nnyingi. Yayolekagana n’embeera enzibu ennyo olw’ekibi eky’amaanyi kye yakola. Yafuna emitawaana egy’amaanyi mu maka ge. Yafuna obugagga, yakaddiwa, era n’afuna ebizibu ebireetebwa obukadde. Kyokka, wadde nga yayolekagana n’enkyukakyuka nnyingi mu bulamu bwe, Dawudi yayoleka obwesige bwe yalina mu Yakuwa n’omwoyo gwe obulamu bwe bwonna. Yakola kyonna ky’asobola ‘okusiimibwa Katonda,’ era Katonda yamuwa emikisa mingi. (2 Timoseewo 2:15) Wadde ng’embeera zaffe zaawukana ku za Dawudi, tusobola okuyigira ku ngeri gye yakola ku bizibu bye yafuna mu bulamu bwe. Ekyokulabirako kye yassaawo kisobola okutuyamba okutegeera engeri gye tusobola okweyongera okufuna obuyambi bw’omwoyo gwa Katonda nga twolekaganye n’enkyukakyuka mu bulamu bwaffe.
Obuwombeefu bwa Dawudi—Kyakulabirako Kirungi
3, 4. Dawudi eyali omusumba atamanyiddwa yajja atya okubeera omuntu omwatiikirivu mu ggwanga lyonna?
3 Ng’akyali muvubuka, Dawudi teyali mwatiikirivu wadde n’eri baganda be bennyini. Nnabbi Samwiri bwe yajja e Besirekemu, Kitaawe wa Dawudi yamulagako batabani be musanvu bokka ku batabani be omunaana be yalina. Dawudi, mutabani we eyali asembayo obuto, gwe baali balekedde omulimu gw’okulunda endiga. Wadde kyali kityo, Yakuwa yali alonze Dawudi okubeera kabaka wa Isiraeri mu biseera eby’omu maaso. Dawudi yayitibwayo ku ttale. Baibuli egamba: “Samwiri n’alyoka addira ejjembe ery’amafuta, n’amufukako amafuta wakati mu baganda be: omwoyo gwa Mukama ne gujja ku Dawudi n’amaanyi okuva ku lunaku olwo n’okweyongerayo.” (1 Samwiri 16:12, 13) Dawudi yeesiga omwoyo ogwo obulamu bwe bwonna.
4 Mangu ddala omuvubuka oyo omusumba yali agenda okubeera omuntu ow’ettuttumu mu ggwanga lyonna. Yayitibwa okuweerezanga kabaka era n’okumukubira ennanga. Yatta Goliyaasi omulwanyi omuwagguufu eyali ow’entiisa ennyo era nga n’ab’abasajja abalwanyi ab’omu Isiraeri batya okumwaŋŋanga. Bwe yalondebwa okukulembera abasajja abalwanyi, Dawudi yalwanyisa Abafirisuuti era n’abawangula. Abantu baamwagala nnyo. Baayiiya ennyimba ezimutendereza. Eyali omuwi w’amagezi eri Kabaka Sawulo yagamba nti Dawudi yali “mukubi w’ennanga ow’amagezi, era omusajja ow’amaanyi omuzira, era omulwanyi, era omutegeevu okwogera, era omuntu omulungi.”—1 Samwiri 16:18; 17:23, 24, 45-51; 18:5-7.
5. Kiki ekyandisobodde okuleetera Dawudi okubeera ow’amalala, era tumanyi tutya nti teyali wa malala?
5 Kirabika Dawudi yalina byonna omuntu bye yandyagadde okuba nabyo, kwe kugamba, ettuttumu, endabika ennungi, obuvubuka, obusobozi bw’okwogera obulungi, obumanyirivu mu kukuba ennanga, obuzira, n’okusiimibwa Katonda. Ekimu ku ebyo kyandisobodde okumufuula ow’amalala, naye tekyali bwe kityo. Weetegereze engeri Dawudi gye yaddamu Kabaka Sawulo bwe yali amusuubiza okumuwa muwala we amuwase. N’obuwombeefu obwa nnamaddala, Dawudi yagamba: “Nze ani, n’obulamu bwange kiki, oba ennyumba ya kitange mu Isiraeri, nze okuba mukoddomi wa kabaka?” (1 Samwiri 18:18) Ng’ayogera ku lunyiriri olwo, omwekenneenya omu yagamba: “Dawudi kye yali ategeeza kyali nti, ka bibe bisaanyizo bye yali alina, oba ekitiibwa kye yalina mu bantu oba olunyiriri lw’obuzaale bwe, tewali na kimu ku ebyo kyali kimugwanyiza kitiibwa kya kubeera mukoddomi wa kabaka.”
6. Lwaki tulina okubeera abawombeefu?
6 Ekyaleetera Dawudi okuba omuwombeefu kwe kumanya nti Yakuwa wa waggulu nnyo okusinga abantu abatatuukiridde mu ngeri zonna. Dawudi kyamwewuunyisa nnyo okulaba nti Katonda afaayo ne ku bantu. (Zabbuli 144:3) Era Dawudi yali akimanyi nti, obukulu bwonna bwe yalina yabufuna lwa kuba nti Yakuwa yeetoowaza, n’amufaako, n’amulabirira era n’amukuuma. (Zabbuli 18:35) Ekyo nga kya kuyiga kirungi nnyo gye tuli! Ebitone bye tulina, bye tusobodde okukola, n’enkizo ze tulina tebirina kutuleetera kubeera ba malala. Omutume Pawulo yawandiika: “Olina ki ky’otaaweebwa? Naye okuweebwa bw’oba nga waweebwa, kiki ekikwenyumirizisa ng’ataaweebwa?” (1 Abakkolinso 4:7) Okusobola okufuna omwoyo gwa Katonda era n’okusiimibwa mu maaso ge, tulina okubeera abawombeefu.—Yakobo 4:6.
“Temuwalananga Ggwanga”
7. Kakisa ki Dawudi ke yafuna okusobola okutta Kabaka Sawulo?
7 Wadde ng’ettuttumu Dawudi lye yalina teryamuleetera kuba na malala mu mutima gwe, lyaleetera Kabaka Sawulo, eyali aggiddwako omwoyo gwa Katonda okumukwatirwa obuggya n’ayagala okumutta. Wadde nga Dawudi yali takoze kikyamu kyonna, yalina okuddukira mu ddungu olw’okuba obulamu bwe bwali mu kabi. Lumu, Kabaka Sawulo bwe yali ayigga Dawudi, yayingira mu mpuku nga tamanyi nti Dawudi ne basajja be baali beekwese omwo. Basajja ba Dawudi baamukubiriza okukozesa akakisa ako akaalabika nga akaali kamuweereddwa Katonda okutta Sawulo. Kuba ekifaananyi nga bali mu kizikiza, bakuba Dawudi obwama nti: “Laba, olunaku Mukama lwe yakugambako nti Laba, ndikugabula omulabe wo mu mukono gwo era olimukola nga bw’olisiima.”—1 Samwiri 24:2-6.
8. Lwaki Dawudi teyawoolera ggwanga?
8 Dawudi yagaana okutuusa ku Sawulo akabi konna. Olw’okuba yalina okukkiriza n’obugumiikiriza, yali mumativu okuleka ensonga mu mikono gya Yakuwa. Nga kabaka amaze okuva mu mpuku, Dawudi yamukowoola ng’agamba: “Mukama asale omusango wakati wange naawe, Mukama akuwalaneko eggwanga lyange: naye omukono gwange teguliba ku ggwe.” (1 Samwiri 24:12) Wadde nga yamanya nti Sawulo yali mu bukyamu, Dawudi teyawoolera ggwanga; era teyayogera mu ngeri embi eri Sawulo wadde okumuvuma. Emirundi emirala mingi, Dawudi yeefuga n’atawoolera ggwanga. Mu kifo ky’okuwoolera eggwanga, yeesiga Yakuwa okutereeza ensonga.—1 Samwiri 25:32-34; 26:10, 11.
9. Lwaki tetusaanidde kuwalana ggwanga bwe tuba nga tuziyizibwa oba nga tuyigganyizibwa?
9 Okufaananako Dawudi, naawe oyinza okwesanga ng’oli mu mbeera enzibu. Oboolyawo oyinza okuba ng’oziyizibwa oba ng’oyigganyizibwa bayizi banno, bakozi banno, ab’omu maka oba abantu abalala abatali ba nzikiriza yo. Towoolera ggwanga. Lindirira Yakuwa, era musabe omwoyo gwe omutukuvu gukuyambe. Oboolyawo abantu abo abatali bakkiriza bajja kusikirizibwa empisa zo ennungi era nabo bafuuke abakkiriza. (1 Peetero 3:1) Ka kibe ki ekibaawo, beera mukakafu nti Yakuwa alaba embeera gy’olimu era ajja kubaako ky’akolawo mu kiseera ekituufu. Omutume Pawulo yawandiika: “Temuwalananga mwekka ggwanga, abaagalwa, naye waakiri musegulirenga obusungu: kubanga kyawandiikibwa nti Okuwalana kwange; nze ndisasula, bw’ayogera Mukama.”—Abaruumi 12:19.
‘Kkiriza Okukangavvulwa’
10. Dawudi yagwa atya mu kibi, era yagezaako atya okukikweka?
10 Emyaka egiwerako gyayitawo. Dawudi yafuuka kabaka omuganzi era ow’ettuttumu. Ebbanga lye yamala nga mwesigwa, awamu ne zabbuli ennungi ennyo ze yawandiika ng’atendereza Yakuwa, ziyinza okuwa ekifaananyi nti yali musajja eyali tayinza kugwa mu kibi kya maanyi. Naye, yagwa mu kibi eky’amaanyi. Lumu, kabaka ono bwe yali waggulu ku nnyumba ye, yalaba omukazi alabika obulungi ng’anaaba. Yabuuliriza ebimufaako. Ng’amaze okutegeera nti omukazi oyo ye Basuseba era nti omwami we Uliya yali mu lutalo, Dawudi yamutumya ne bamuleeta era ne yeebaka naye. Oluvannyuma yakizuula nti omukazi oyo yali afunye olubuto. Nga kino kyandiwaawaazizza abantu amatu bwe bandikitegedde! Mu Mateeka ga Musa, obwenzi gwali musango gwa maanyi nnyo. Kirabika kabaka yalowooza nti ekibi ekyo kyandisobodde okukwekebwa. N’olwekyo, yaweereza obubaka eri eggye, ng’alagira nti Uliya akomewo mu Yerusaalemi. Dawudi yali asuubira nti Uliya yali ajja kusula ne mukyala we ekiro, naye tekyali bwe kityo. Ng’amagezi gamwesibye, Dawudi yalagira Uliya addeyo mu lutalo era ng’amuwadde ebbaluwa okugitwalira Yowaabu omudduumizi w’amagye. Ebbaluwa yalimu ekiragiro nti Uliya ateekebwe mu kifo awali olutalo olw’amaanyi kimuviireko okuttibwa. Yowaabu yakkiriza, era Uliya yattibwa. Nga Basuseba amazeeko ekiseera eky’okukungubagira bba, Dawudi yamutwala n’abeera mukazi we.—2 Samwiri 11:1-27.
11. Kiki Nasani kye yategeeza Dawudi, era kiki Dawudi kye yakola?
11 Akakodyo ako kaalabika nga akaali kakoze wadde nga Dawudi yali akimanyi nti tewali kintu kyali kikwekeddwa mu maaso ga Yakuwa. (Abaebbulaniya 4:13) Emyezi gyayitawo, era omwana n’azaalibwa. Nasani yagenda eri Dawudi ng’atumiddwa Katonda. Nnabbi oyo yategeeza kabaka ku musajja omugagga eyalina endiga ennyingi kyokka n’atwala akaliga k’omusajja omwavu ke yalina kokka n’akatta. Ebintu ebyo Dawudi bwe yabiwulira, yalaba ng’ekikolwa ekyo tekyali kya bwenkanya n’akamu, kyokka teyakitegeererawo nti byalimu amakulu ameekusifu. Amangu ago Dawudi yasalira omusango omusajja oyo omugagga. Nga munyiivu nnyo, yagamba Nasani: “Omusajja eyakola ekyo asaanidde okufa”!—2 Samwiri 12:1-6.
12. Biki Yakuwa bye yagamba ebyali bigenda okutuuka ku Dawudi?
12 ‘Ggwe kennyini gwe musajja oyo!’ bw’atyo nnabbi bwe yagamba. Dawudi yali yeesalidde omusango. Awatali kubuusabuusa, obusungu Dawudi bwe yalina bwamuggwaako, ensonyi ne zimukwata era n’anakuwala nnyo. Ng’awunze, yawuliriza nga Nasani amutegeeza omusango Yakuwa gwe yali amusalidde ogutasumattukwa. Ebigambo ebyo byali tebiriimu kubudaabuda. Dawudi yali anyoomye ekigambo kya Yakuwa ng’akola ekibi. Dawudi teyatta Uliya na kitala? Ekitala tekyandivudde mu nnyumba ya Dawudi. Muka Uliya teyamweddiza mu nkiso? Ekintu ekibi ekyo kye kimu kyandimutuuseeko, naye si mu kyama, wabula mu lujjudde.—2 Samwiri 12:7-12.
13. Dawudi yakola ki bwe yakangavvulwa Yakuwa?
13 Ekirungi, Dawudi teyeegaana kibi kye. Teyaboggokera nnabbi Nasani. Teyanenya balala wadde okwekwasa obusongasonga olw’ekibi kye yali akoze. Bwe yategeezebwa ekibi kye, Dawudi yakikkiriza era n’agamba: ‘Nnyonoonye eri Yakuwa.’ (2 Samwiri 12:13) Zabbuli 51 eraga engeri gye yanakuwaliramu ekibi kye era ne yeenenyeza ddala. Yeegayirira Yakuwa: “Tongoba w’oli; so tonzi[gya]ko omwoyo gwo omutukuvu.” Era yali akimanyi nti olw’okuba Yakuwa musaasizi, tayinza kugaya “omutima ogumenyese era oguboneredde.” (Zabbuli 51:11, 17) Dawudi yeeyongera okwesiga omwoyo gwa Katonda. Wadde nga Yakuwa yakkiriza Dawudi okwolekagana n’ebyo ebyava mu kibi kye, yamusonyiwa.
14. Tulina kweyisa tutya Yakuwa bw’atukanguvvula?
14 Ffenna tetutuukiridde, era twonoona. (Abaruumi 3:23) Emirundi egimu tusobola okugwa mu kibi eky’amaanyi nga Dawudi. Nga taata omwagazi bw’akangavvula abaana be, ne Yakuwa bw’atyo bw’akangavvula abo abaagala okumuweereza. Kyokka, wadde ng’okukangavvula kuvaamu emiganyulo, tekiba kyangu okukukkiriza. Mu butuufu, ebiseera ebimu ‘kunakuwaza.’ (Abaebbulaniya 12:6, 11) Kyokka, singa ‘tukkiriza okukangavvulwa,’ enkolagana yaffe ne Yakuwa esobola okuddawo. (Engero 8:33) Okusobola okweyongera okufuna omwoyo gwa Yakuwa, tulina okukkiriza okukangavvulwa era ne tufuba okusigala nga tusiimibwa Katonda.
Teweesiga Bugagga Butali bwa Lubeerera
15. (a) Abantu abamu bakozesa batya obugagga bwabwe? (b) Dawudi yayagala kukozesa atya obugagga bwe?
15 Tewaliiwo kiraga nti Dawudi yava mu maka amaatiikirivu oba amagagga. Kyokka, mu kiseera ky’obufuzi bwe, Dawudi yafuna obugagga bungi nnyo. Nga bw’oyinza okuba ng’okimanyi, bangi bakwekerera obugagga bwabwe era ne baagala okubwongerako mu ngeri ey’omululu oba okubukozesa nga beefaako bokka. Abalala bakozesa ssente zaabwe okwegulumiza. (Matayo 6:2) Dawudi si bw’atyo bwe yakozesa obugagga bwe. Yayagala nnyo okuwa Yakuwa ekitiibwa. Dawudi yakyoleka eri Nasani nti yali ayagala okuzimbira Yakuwa yeekaalu eneebangamu essanduuko ey’endagaano, mu kiseera ekyo eyali mu Yerusaalemi “munda w’ebitimbe.” Yakuwa yasanyukira ekyo Dawudi kye yali ayagala okukola kyokka n’amugamba okuyitira mu Nasani nti mutabani we Sulemaani ye yali ow’okuzimba yeekaalu eyo.—2 Samwiri 7:1, 2, 12, 13.
16. Nteekateeka ki Dawudi ze yakola ku bikwata ku kuzimba yeekaalu?
16 Dawudi yakuŋŋaanya ebintu eby’okukozesebwa mu mulimu ogwo ogw’amaanyi ogw’okuzimba. Dawudi yagamba bw’ati Sulemaani: “Ntegekedde ennyumba ya Mukama talanta eza zaabu kasiriivu ne talanta eza ffeeza kakadde; n’ebikomo n’ebyuma ebitapimika; kubanga bingi nnyo: era n’emiti n’amayinja ntegese; oyongereko ggwe.” Ku bugagga bwe, yawaayo talanta eza zaabu 3,000 n’eza ffeeza 7,000.a (1 Ebyomumirembe 22:14; 29:3, 4) Dawudi okuwaayo mu ngeri eyo, yali teyeeraga bwerazi naye kyali kyoleka okukkiriza n’okwewaayo kwe eri Yakuwa Katonda. Olw’okuba yali amanyi Ensibuko y’obugagga bwe, yagamba Yakuwa bw’ati: “Byonna biva gy’oli, era tukuwadde ku bibyo.” (1 Ebyomumirembe 29:14) Omutima omugabi Dawudi gwe yalina gwamuleetera okukola kyonna kye yali asobola okutumbula okusinza okw’amazima.
17. Okubuulirira okuli mu 1 Timoseewo 6:17-19 kukwata kutya ku bagagga n’abaavu?
17 Mu ngeri y’emu, ka naffe tukozese ebintu bye tulina okukola emirimu emirungi. Mu kifo ky’okunoonya eby’obugagga, ekyandisinze obulungi kwe kufuba okulaba nti tusiimibwa Katonda era ng’ekyo kye kyoleka amagezi aga nnamaddala era kye kireeta essanyu. Pawulo yawandiika: “Okuutirenga abagagga ab’omu mirembe gya kaakano obuteegulumizanga, newakubadde okwesiga obugagga obutali bwa lubeerera, wabula Katonda, atuwa byonna olw’obugagga tulyoke twesanyusenga n’ebyo; bakolenga obulungi, babeerenga abagagga mu bikolwa ebirungi, babeerenga bagabi, bassenga kimu; nga beeterekera eky’okuyimako ekirungi olw’ebiro ebigenda okujja, balyoke banywezenga obulamu ddala ddala.” (1 Timoseewo 6:17-19) Ka tubeere nga tuli mu mbeera ki ey’eby’enfuna, ka twesige omwoyo gwa Katonda era tutambulire mu bulamu obunaatusobozesa okubeera “abagagga eri Katonda.” (Lukka 12:21) Eky’omuwendo ekisingayo kwe kuba nti tusiimibwa Kitaffe ow’omu ggulu.
Fubanga Okulaba nti Osiimibwa Katonda
18. Mu ngeri ki Dawudi gye yateerawo Abakristaayo ekyokulabirako ekirungi?
18 Mu bulamu bwe bwonna, Dawudi yayagala okusiimibwa Yakuwa. Mu luyimba yagamba: “Onsaasire, ai Katonda, onsaasire; kubanga emmeeme yange yeeyuna ggwe.” (Zabbuli 57:1) Obwesige bwe yalina mu Yakuwa tebwali bwa bwereere. Dawudi “yawangaala ennaku nnyingi.” (1 Ebyomumirembe 23:1) Wadde nga Dawudi yakola ebibi eby’amaanyi, ajjukirwa ng’omu ku bajulirwa ba Yakuwa abaayoleka okukkiriza okw’amaanyi ennyo.—Abaebbulaniya 11:32.
19. Tusobola tutya okusiimibwa Katonda?
19 Bw’oba ng’oyolekagana n’enkyukakyuka mu bulamu bwo, jjukira nti nga Yakuwa bwe yalabirira, n’agumya era n’akangavvula Dawudi, asobola okukukolera kye kimu leero. Okufaananako Dawudi, omutume Pawulo yayolekagana n’enkyukakyuka nnyingi mu bulamu bwe. Kyokka, naye yasigala nga mwesigwa olw’okwesiga omwoyo gwa Katonda. Yawandiika: “Nnyinzizza byonna mu oyo ampa amaanyi.” (Abafiripi 4:12, 13) Singa twesiga Yakuwa, ajja kutuyamba okutuuka ku buwanguzi. Ayagala tutuuke ku buwanguzi. Singa tumuwuliriza era ne tunyweza enkolagana yaffe naye, ajja kutuwa amaanyi tusobole okukola by’ayagala. Era singa tweyongera okwesiga omwoyo gwa Katonda, tujja kusobola ‘okusiimibwa Katonda’ kaakano era n’emirembe gyonna.—2 Timoseewo 2:15.
[Obugambo obuli wansi]
a Ebintu Dawudi bye yawaayo, leero bibalirirwamu doola z’Amerika 1,200,000,000.
Wandizzeemu Otya?
• Tusobola tutya okwewala amalala?
• Lwaki tetulina kuwoolera ggwanga?
• Twanditunuulidde tutya okukangavvulwa?
• Lwaki tusaanidde kwesiga Katonda so si bugagga?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 28]
Dawudi yeesiga omwoyo gwa Katonda era n’afuba okusiimibwa Katonda. Naawe bw’otyo bw’okola?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 30]
“Byonna biva gy’oli, era tukuwadde ku bibyo”