Semberera Katonda
Okubudaabuda Abalina Emitima Egimenyese
OMUKYALA omu Omukristaayo abadde omwennyamivu okumala ebbanga ddene yagamba nti, ‘Yakuwa tayinza kunjagala.’ Ye yali akitwala nti Yakuwa ateekwa okuba ng’amuli wala. Ddala Yakuwa aba wala abasinza be abayinza okuba nga bennyamivu? Eky’okuddamu ekibudaabuda kisangibwa mu bigambo ebyaluŋŋamizibwa eby’omuwandiisi wa zabbuli Dawudi, ebiri mu Zabbuli 34:18.
Dawudi yali amanyi embeera omuweereza wa Yakuwa omwesigwa eyennyamidde ennyo gy’abeeramu. Bwe yali akyali muvubuka, Dawudi yaliko emmomboze, ng’anoonyezebwa kabaka Sawulo ow’obuggya eyali amaliridde okumutta. Dawudi yanoonya obubudamu mu kifo gye yali alowooza nti Sawulo tayinza kutuuka—ekibuga Gaasi, eky’abalabe Abafirisuuti. Naye oluvannyuma lw’okumanyibwa, Dawudi yawonera watono bwe yeefuula omulalu. Dawudi yagulumiza Yakuwa olw’okumuwonya, era ng’asinziira ku mbeera eyo gye yali ayiseemu yawandiika Zabbuli eya 34.
Dawudi naye yali alowooza nti Katonda ali wala abo ababa bennyamidde nga bawulira nti tebasaanira mu maaso ge era nti tabafaako? Dawudi yawandiika ng’agamba nti: ‘Yakuwa ali kumpi n’abo abalina omutima ogumenyese. Era awonya abalina omwoyo oguboneredde.’ (Olunyiriri 18) Kati ka tulabe engeri ebigambo ebyo gye bibudaabudamu era gye biwaamu essuubi.
‘Yakuwa ali kumpi.’ Ekitabo ekimu kigamba nti eno ‘y’engeri ey’okugamba nti Mukama afaayo, alaba buli ekigenda mu maaso, era bulijjo mwetegefu okuyamba n’okulokola abantu be.’ Kizzaamu amaanyi okukimanya nti Yakuwa afaayo nnyo ku bantu be. Alaba ebizibu byonna bye boolekagana nabyo mu ‘biseera bino ebizibu,’ era amanyi enneewulira zaabwe.—2 Timoseewo 3:1; Ebikolwa 17:27.
“Abo abalina omutima ogumenyese.” Mu buwangwa obumu, ebigambo “omutima ogumenyese” bikwataganyizibwa n’okwagala omuntu atakwagala. Naye omwekenneenya omu agamba nti ebigambo ebyo eby’omuwandiisi wa zabbuli bitegeeza “okuba mu nnaku ey’amaanyi.” Yee, n’abaweereza ba Katonda abeesigwa ebiseera ebimu bayinza okufuna ebizibu eby’amaanyi ebimenya emitima gyabwe.
“Abalina omwoyo oguboneredde.” Ababa baweddemu amaanyi bayinza okuwulira nti tebakyali ba mugaso era oluusi baggweramu ddala essuubi. Akatabo akamu abavvuunuzi ba Bayibuli ke bakozesa kagamba nti ebigambo ebyo biyinza okutegeeza “abo abatalina kintu kyonna kirungi kye basuubira.”
Yakuwa atwala atya abo abalina ‘omutima ogumenyese n’omwoyo oguboneredde’? Ababeera wala, ng’akitwala nti tebasaanira kwagala kwe na kufiibwako? Nedda, si bwe kityo bwe kiri! Ng’omuzadde ayagala omwana we bw’amusitula era n’amubudaabuda ng’abadde akaaba, Yakuwa ali kumpi n’abasinza be abamukaabirira abayambe. Ayagala nnyo okubudaabuda emitima gyabwe egimenyese era egiboneredde. Asobola okubawa amagezi n’amaanyi ge beetaaga okwaŋŋanga ebigezo byonna bye bayinza okwolekagana nabyo.—2 Abakkolinso 4:7; Yakobo 1:5.
Lwaki tofuba kumanya engeri gy’oyinza okwongera okusemberera Yakuwa? Katonda ono ow’obusaasizi asuubiza nti “Ntuula . . . wamu n’oyo alina omwoyo oguboneredde omukkakkamu, okulamya omwoyo gw’abakkakkamu, n’okulamya omutima gw’abo ababoneredde.”—Isaaya 57:15.