Sanyukira mu Bulamu obw’Okutya Yakuwa
“Mutyenga Mukama, mmwe abatukuvu be: kubanga tebabulwa kintu abamutya.”—ZABBULI 34:9.
1, 2. (a) Kiki Kristendomu ky’eyigiriza ku kutya Katonda? (b) Bibuuzo ki bye tugenda okwekenneenya ?
ABABUULIZI mu Kristendomu bayigiriza abantu nti Katonda abonereza aboonoonyi abatamutya mu muliro ogutazikira. Enjigiriza eno ekontana n’ekyo Baibuli ky’eyigiriza ku Yakuwa, Katonda ow’okwagala era ow’obwenkanya. (Olubereberye 3:19; Ekyamateeka 32:4; Abaruumi 6:23; 1 Yokaana 4:8) Ate ababuulizi ba Kristendomu abalala bo eky’okutya Katonda tebakyogerako n’akatono. Wabula bayigiriza nti Katonda akkiriza kumpi buli omu k’abe wa mpisa ki. Kino nakyo si kituufu okusinziira ku Baibuli.—Abaggalatiya 5:19-21.
2 Mu butuufu Baibuli etukubiriza okutya Katonda. (Okubikkulirwa 14:7) Naye kino kirina ebibuuzo bye kireetaawo. Lwaki Katonda ow’okwagala ayagala tumutye? Ayagala tumutye mu ngeri ki? Okutya Katonda kutuganyula kutya? Ka tufune eby’okuddamu mu bibuuzo bino nga bwe tweyongera okwekenneenya Zabbuli eya 34.
Lwaki Tulina Okutya Katonda
3. (a) Ekiragiro eky’okutya Katonda gwe okitwala otya? (b) Lwaki abo abatya Yakuwa baba basanyufu?
3 Olw’okuba ye Mutonzi era Omufuzi w’Obutonde Bwonna, Yakuwa agwanidde okutiibwa. (1 Peetero 2:17) Naye kuno si kwe kutya ng’okwandibaddewo singa Katonda yali mukambwe. Wabula kitegeeza kuwa Yakuwa ekitiibwa eky’ensusso ekimugwanira. Kitwaliramu n’okutya okumunyiiza. Omuntu okutya Katonda kimuleetera okuwulira obulungi so si kumunakuwaza. Yakuwa, “Katonda omusanyufu,” ayagala abantu be yatonda banyumirwe obulamu. (1 Timoseewo 1:11) Naye kino okusoboka, tulina okweyisa mu ngeri etuukana n’emitindo gye. Kitegeeza nti abantu bangi baba balina okukyusa engeri gye beeyisamu. Abo bonna abakola ekyukakyuka mu bulamu bwabwe bakkiriziganya n’ebigambo bya Dawudi bino: “Mulege mutegeere Mukama nga mulungi: aweereddwa omukisa oyo amwesiga. Mutyenga Mukama, mmwe abatukuvu be: kubanga tebabulwa kintu abamutya.” (Zabbuli 34:8, 9) Olw’okuba balina enkolagana ennungi ne Katonda tewali kintu kivaamu miganyulo gya lubeerera kye batalina.
4. Dawudi ne Yesu bombi baali bakakafu ku ki?
4 Weetegereze nti Dawudi yawa basajja be ekitiibwa ng’abayita “abatukuvu.” Baali ba mu ggwanga lya Katonda ettukuvu. Ate era baateeka obulamu bwabwe mu kabi basobole okuwagira Dawudi. Wadde nga baali badduka Kabaka Sawulo, Dawudi yali mukakafu nti Yakuwa yandibawadde bye beetaaga. Yawandiika bw’ati: “Obwana bw’empologoma bubulwa ne bulumwa enjala: naye abanoonya Mukama tebaabulwenga kintu kirungi kyonna.” (Zabbuli 34:10) Yesu naye yakakasa abagoberezi be mu ngeri y’emu.—Matayo 6:33.
5. (a) Bangi ku bagoberezi ba Yesu baali bantu ba ngeri ki? (b) Yesu yawa magezi ki ku nsonga y’okutya?
5 Bangi ku baawuliriza Yesu baali Bayudaaya abaavu era nga bantu ba wansi. N’olw’ekyo Yesu ‘yabasaasira, kubanga baali bakooye nnyo nga basaasaanye, ng’endiga ezitalina musumba.’ (Matayo 9:36) Abantu abali ng’abo bandisobodde batya okuba abamalirivu ne bagoberera Yesu? Kino okukikola baali balina okuyiga okutya Katonda, so si bantu. Yesu yagamba nti: “Temutyanga abo abatta omubiri, oluvannyuma abatalina kigambo kya kukola ekisingawo. Naye nnaabalabula gwe munaatyanga: mutyenga oyo, bw’amala okutta alina obuyinza okusuula mu Ggeyeena, weewaawo, mbagamba nti Oyo gwe muba mutyanga. Enkazaluggya ettaano tebazitundamu mapeesa abiri? Naye tewali n’emu ku zo eyeerabirwa mu maaso ga Katonda. Naye n’enviiri ez’oku mitwe gyammwe zibaliddwa zonna. Temutyanga: mmwe musinga enkazaluggya ennyingi.”—Lukka 12:4-7.
6. (a) Yesu yayogera ki ekigumizza ennyo Abakristaayo? (b) Lwaki ekyokulabirako kya Yesu eky’okutya Katonda kye kisingayo obulungi?
6 Abo abatya Yakuwa bwe bapikirizibwa abalabe baabwe okulekeraawo okuweereza Katonda, bajjukira okulabula kwa Yesu nti: “Buli alinjatulira mu maaso g’abantu, oyo Omwana w’omuntu naye alimwatulira mu maaso ga bamalayika ba Katonda; naye anneegaanira mu maaso g’abantu alyegaanirwa mu maaso ga bamalayika ba Katonda.” (Lukka 12:8, 9) Ebigambo ebyo bigumizza nnyo Abakristaayo, naddala mu nsi okusinza okw’amazima gye kuwereddwa. Abali ng’abo beeyongera okutendereza Yakuwa mu ngeri ey’amagezi mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo n’okubuulira. (Ebikolwa 5:29) Yesu yateekawo ekyokulabirako ekisingayo obulungi mu ‘kutya Katonda.’ (Abaebbulaniya 5:7) Yayogerwako bw’ati mu bunnabbi: “N’omwoyo gwa Mukama gulibeera ku ye, omwoyo . . . n’o[gw’o]kutya Mukama; n’okutya Mukama kw’alisanyukira.” (Isaaya11:2, 3) N’olwekyo, Yesu y’asaanidde okutuyigiriza okutya Katonda.
7. (a) Abakristaayo balaga batya nti bakola nga Dawudi bwe yakubiriza? (b) Abazadde bayinza batya okukoppa ekyokulabirako kya Dawudi ekirungi?
7 Abo bonna abagoberera ekyokulabirako kya Yesu era abagondera enjigiriza ze, baba bakola nga Dawudi bwe yakubiriza nga agamba nti: “Mujje, mmwe abaana abato, mumpulire: naabayigirizanga okutya Mukama.” (Zabbuli 34:11) Kyali kya bulijjo Dawudi okuyita basajja be “abaana abato” kubanga baali bamutwala ng’omukulembeze waabwe. Bw’atyo ne Dawudi yabayambanga mu by’omwoyo ne basobola okuba obumu era nga basiimibwa Katonda. Nga kino kyakulabirako kirungi eri abazadde Abakristaayo! Yakuwa abawadde obuyinza ku baana baabwe ‘okubaleranga mu kukangavvulanga ne mu kubuuliriranga kwa Mukama waffe.’ (Abaefeso 6:4) Abazadde bwe bakubaganya ebirowoozo ku bintu eby’omwoyo n’abaana baabwe buli lunaku n’okuyiga nabo Baibuli, baba babayamba okusanyukira mu bulamu obw’okutya Yakuwa.—Ekyamateeka 6:6, 7.
Okweyisa mu Ngeri Eraga Okutya Katonda
8, 9. (a) Lwaki obulamu obw’okutya Katonda busikiriza? (b) Okuziyiza olulimi kitwaliramu ki?
8 Nga bwe twalabye, okweyisa mu ngeri eraga okutya Yakuwa tekitegeeza nti tetuggya kuba basanyufu. Dawudi yabuuza nti: “Muntu ki ayagala obulamu, era eyeegomba ennaku (ennyingi), alyoke alabe obulungi?” (Zabbuli 34:12) Kya lwatu, okutya Yakuwa kye kisumuluzo ky’okuwangaala n’okuba n’obulamu obw’essanyu. Kyangu nnyo okugamba nti, “ntya Katonda.” Naye okukiraga mu bikolwa si kyangu. N’olwekyo, Dawudi annyonnyola engeri gye tuyinza okulagamu okutya Katonda.
9 “Ziyizanga olulimi lwo mu bubi, n’emimwa gyo obutoogeranga bukuusa.” (Zabbuli 34:13) Omutume Peetero yaluŋŋamizibwa okujuliza ekitundu kino ekya Zabbuli 34 oluvannyuma lw’okubuulirira Abakristaayo buli omu okuyisa munne ng’ow’oluganda. (1 Peetero 3:8-12) Okuziyiza olulimi lwaffe eri obubi kitegeeza okwewala okusaasaanya eŋŋambo. Mu kifo ky’ekyo, bwe tuba twogera n’abalala, tujja kufuba okubazimba. Ate era, tujja kufuba okulaba nti buli kye twogera kiba kya mazima.—Abaefeso 4:25, 29, 31; Yakobo 5:16.
10. (a) Okwewala obubi kitegeeza ki? (b) Okukola ebintu ebirungi kitwaliramu ki?
10 “Va mu bubi, okolenga obulungi; noonyanga emirembe, ogigobererenga.” (Zabbuli 34:14) Twewala ebintu Katonda by’akyawa gamba ng’obwenzi, obutamiivu, okulaba ebifaananyi eby’obukaba, obubbi, eby’obusamize, ettemu, n’okukozesa ebiragalalagala. Era twewala n’engeri ez’okwesanyusaamu ezikubiriza ebintu ebibi ng’ebyo. (Abaefeso 5:10-12) Mu kifo ky’ekyo, tukozesa ebiseera byaffe nga tukola ebintu ebirungi. Ekirungi ekisingayo kwe kwenyigiranga mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka n’okufuula abalala abayigirizwa basobole okufuna obulokozi. (Matayo 24:14; 28:19, 20) Mu birungi ebirala mwe muli okwetegekera enkuŋŋaana z’Ekikristaayo n’okuzibeeramu, okubaako kye tuwaayo okuwagira omulimu gw’ensi yonna, okulabirira Ebizimbe by’Obwakabaka, n’okuyamba Abakristaayo abali mu bwetaavu.
11. (a) Dawudi yassa atya mu nkola ebigambo bye ebikwata ku kukuuma emirembe? (b) Kiki ky’oyinza okukola okusobola ‘okugoberera emirembe’ mu kibiina?
11 Dawudi yateekawo ekyokulabirako ekirungi mu kuba ow’emirembe. Emirundi ebiri yafuna akakisa ak’okutta Sawulo. Ku mirundi gyombi yeewala okuyiwa omusaayi era oluvannyuma yayogera naye mu ngeri emuwa ekitiibwa ng’agezaako okuzzaawo emirembe. (1 Samwiri 24:8-11; 26:17-20) Kiki ekiyinza okukolebwa singa wabaawo embeera eyinza okutabangula emirembe gy’ekibiina? Tusaanidde ‘okunoonyanga emirembe n’okugigobereranga.’ N’olwekyo, singa tufuna obutategeeragana ne mukkiriza munnaffe, kiba kirungi ne tugoberera okubuulirira kwa Yesu nti: ‘Sooka omale okutabagana ne muganda wo.’ Olwo tusobola okugenda mu maaso n’okuweereza kwaffe.—Matayo 5:23, 24; Abaefeso 4:26.
Okutya Katonda Kuvaamu Emiganyulo Mingi
12, 13. (a) Miganyulo ki abo abatya Katonda gye bafuna kati? (b) Mpeera ki abasinza abeesigwa gye banaatera okufuna?
12 “Amaaso ga Mukama galaba abatuukirivu, n’amatu ge gawulira okukaaba kwabwe.” (Zabbuli 34:15) Engeri Katonda gye yayambamu Dawudi eraga obutuufu bw’ebigambo ebyo. Leero, tuli basanyufu nnyo era tuwulira emirembe olw’okuba tukimanyi nti Yakuwa atukuuma. Tuli bakakafu nti ajja kutuyamba mu kizibu kyonna ka kibe kya maanyi kitya. Tukimanyi nti mangu ddala Googi ow’e Magoogi ajja kulumba abasinza ab’amazima bonna era nti “olunaku lwa Mukama olw’entiisa” luli kumpi. (Yoweeri 2:11, 31; Ezeekyeri 38:14-18, 21-23) Ka tube nga tunaayolekagana na mbeera ki mu kiseera ekyo, tujja kulaba obutuufu bw’ebigambo bya Dawudi ebigamba nti: “Baakoowoola, Mukama n’awulira, n’abalokola mu nnaku zaabwe zonna.”—Zabbuli 34:17.
13 Nga kiriba kya ssanyu nnyo mu kiseera ekyo okulaba nga Yakuwa agulumiza erinnya lye! Tujja kumuwa ekitiibwa okusinga ne bwe kyali kibadde, era abalabe be bonna bajja kuzikirizibwa. “Obwenyi bwa Mukama buba ku abo abakola obubi, amalemu okujjukirwa kwabwe mu nsi.” (Zabbuli 34:16) Ng’eriba nkizo ya maanyi nnyo okuwonyezebwawo ne tuyingira mu nsi ya Katonda empya ey’obutuukirivu!
Ebisuubizo Ebituyamba Okugumiikiriza
14. Kiki ekinaatuyamba okugumiikiriza wadde nga tulina ebizibu?
14 Okusobola okweyongera okugondera Yakuwa mu nsi ennyonoonefu era eteriimu mpisa kyetaagisa obugumiikiriza. Okutya Katonda kukulu nnyo omuntu bw’aba ow’okuyiga obuwulize. Olw’okuba ebiseera bino bibi nnyo, abaweereza ba Yakuwa abamu bafuna ebizibu eby’amaanyi ebibaleetera okwennyamira. Naye, basobola okuba abakakafu ddala nti singa beesiga Yakuwa, ajja kubayamba okubigumira. Ebigambo bya Dawudi bino bibudaabuda nnyo: “Mukama ali kumpi n’abo abalina omutima ogumenyese. Era awonya abalina omwoyo oguboneredde.” (Zabbuli 34:18) Dawudi era yagamba: “Ebibonoobono eby’omutuukirivu bye bingi: naye Mukama amulokola mu byonna.” (Zabbuli 34:19) Ne bwe tutuukibwako ebizibu ebyenkana wa, Yakuwa asobola okutununula.
15, 16. (a) Kiki Dawudi kye yamanya nga yakamala okuwandiika Zabbuli 34? (b) Kiki ekinaatuyamba okugumiikiriza okugezesebwa?
15 Dawudi bwe yali yaakamala okuwandiika Zabbuli 34, yawulira nti Sawulo yali asse abantu b’omu kibuga Nobu ne bakabona abasinga obungi. Kino kiteekwa okuba nga kyamuluma nnyo olw’okuba nti Sawulo okukola bw’atyo kyava ku kuba nti Dawudi yali ayitiddeko mu Nobu! (1 Samwiri 22:13, 18-21) Awatali kubuusabuusa, Dawudi yasaba Yakuwa okumuyamba, era yafuna okubudaabudibwa olw’essuubi ly’okuzuukira “kw’abatuukirivu.”—Ebikolwa 24:15.
16 Naffe leero, essuubi ly’okuzuukira litunyweza. Tumanyi nti kyonna abalabe baffe kye bayinza okutukola kiba kya kaseera buseera. (Matayo 10:28) Dawudi yalina obukakafu bwe bumu bwe yagamba nti: “Akuuma amagumba [g’omutuukirivu] gonna: linnaago erimu terimenyeka.” (Zabbuli 34:20) Ebiri mu lunyiriri luno byatuukirizibwa ku Yesu. Wadde nga yattibwa mu ngeri ey’obukambwe, tewali ggumba lye n’erimu ‘eryamenyebwa.’ (Yokaana 19:36) Zabbuli 34:20 etukakasa nti okugezesebwa kwonna Abakristaayo abaafukibwako amafuta oba bannaabwe “[ab’]endiga endala” kwe boolekagana nakyo, tekujja kubaviirako kabi ka lubeerera. Mu ngeri ey’akabonero, amagumba gaabwe tegalimenyeka.—Yokaana 10:16.
17. Kiki ekinaatuuka ku abo abayigganya abantu ba Yakuwa?
17 Ku luuyi olulala, ababi mangu ddala bajja kukungula kye baasiga. “Obubi bulitta omubi: n’abo abakyawa omutuukirivu balisingibwa omusango.” (Zabbuli 34:21) Abo bonna abayigganya abantu ba Katonda, Yesu Kristo ajja ‘kubabonereza, nga abazikiriza emirembe n’emirembe.’—2 Abasessaloniika 1:9.
18. Ngeri ki ‘ab’ekibiina ekinene’ gye banunuddwamu kati, era kiki kye bajja okufuna mu biseera eby’omu maaso?
18 Zabbuli ya Dawudi emaliriza ng’etukakasa nti: “Mukama anunula emmeeme y’abaddu be: so tewali mu bo abamwesiga alisingibwa omusango.” (Zabbuli 34:22) Ng’obufuzi bwe obw’emyaka 40 bunaatera okuggwaako, Kabaka Dawudi yagamba: ‘Mukama yanunula emmeeme yange okugiggya mu kabi konna.’ (1 Bassekabaka 1:29) Okufaananako Dawudi, abo abatya Yakuwa bajja kusanyuka nnyo ng’ebizibu byonna biggiddwawo nga n’ebibi byabwe byonna bibasonyiyiddwa. Abasinga ku Bakristaayo abaafukibwako amafuta bamaze okufuna empeera yaabwe mu ggulu. “Ekibiina ekinene” okuva mu mawanga gonna kati beegatta ku baganda ba Yesu abakyasigaddewo mu kuweereza Katonda, n’olwekyo balina ennyimirira ennungi mu maaso ga Yakuwa. Kino kiri bwe kityo olw’okuba bakkiririza mu ssaddaaka y’ekinunulo ky’omusaayi gwa Yesu. Mu Bufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi, ssaddaaka eno ejja kubasobozesa okufuna obulamu obutuukiridde.—Okubikkulirwa 7:9, 14, 17; 21:3-5.
19. Kiki ‘ab’ekibiina ekinene’ kye bamaliridde okukola?
19 Lwaki ‘ab’ekibiina ekinene’ abasinza Katonda bajja kuweebwa emikisa gino? Kubanga bamaliridde okweyongera okutya Yakuwa n’okuba abawulize nga bamuweereza. Mu butuufu, okutya Yakuwa kuleetera obulamu bwaffe okuba obw’essanyu kati era kutuyamba ‘okunyweza obulamu obwannamaddala’ nga buno bwe bulamu obutaggwaawo mu nsi ya Katonda empya.—1 Timoseewo 6:12, 18, 19; Okubikkulirwa 15:3, 4.
Ojjukira?
• Lwaki kirungi okutya Katonda, era okumutya kitegeeza ki?
• Okutya Katonda kwandikutte kutya ku nneeyisa yaffe?
• Miganyulo ki egiri mu kutya Katonda?
• Bisuubizo ki ebituyamba okugumiikiriza?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]
Abo abatya Yakuwa baweereza mu ngeri ey’amagezi nga bawereddwa
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]
Ekirungi ekisingayo kye tusobola okukolera baliraanwa baffe kwe kubabuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka