‘Twakolebwa mu Ngeri ya Kyewuunyo’
“Nnakolebwa mu ngeri ya ntiisa, era ya kyewuunyo.”—ZABBULI 139:14, NW.
1. Lwaki abantu bangi bakkiriza nti waliwo eyatonda ebintu ebyewuunyisa ebiri mu nsi?
ENSI ejjudde ebitonde ebyewuunyisa. Byajja bitya okubaawo? Abamu balowooza nti okubeerawo kwabyo tekulina kakwate na Mutonzi ow’amagezi. Abalala bagamba nti bwe tutakkiririza mu Mutonzi tetusobola kutegeera ngeri butonde gye byajjawo. Bagamba nti ebitonde ebiri mu nsi biwuniikiriza, bingi nnyo era oyinza n’okugamba nti byewuunyisa nnyo okuba nti byajjawo mu butanwa. Abantu bangi, nga mw’otwalidde ne bannasayansi abamu, bagamba nti waliwo obukakafu obulaga nti eriyo omuntu ow’amagezi, era alina amaanyi n’okwagala, eyatonda ebintu byonna.a
2. Kiki ekyaleetera Dawudi okutendereza Yakuwa?
2 Kabaka Dawudi owa Isiraeri ey’edda yali akimanyi nti Omutonzi agwanira okutenderezebwa olw’ebitonde Bye ebyewuunyisa. Wadde nga Dawudi we yabeererawo enkulaakulana mu bya sayansi teyali nga bwe kiri leero, yakitegeera nti ebintu ebyewuunyisa ebyali bimwetoolodde byakolebwa Katonda. Okufumiitiriza obufumiitiriza ku ngeri gye yakolebwamu kyokka kyaleetera Dawudi okuwuniikirira olw’engeri Katonda gye yatondamu ebintu. Yawandiika nti: “Nnaakwebazanga; kubanga nnakolebwa mu ngeri ya ntiisa, era ya kyewuunyo: emirimu gyo gya kitalo; n’ekyo emmeeme yange ekimanyidde ddala.”—Zabbuli 139:14, NW.
3, 4. Lwaki kikulu buli omu ku ffe okufumiitiriza ennyo ku bintu Yakuwa bye yatonda?
3 Dawudi okutuuka okuwulira bw’atyo kyava ku kuba nti yali afumiitiriza nnyo. Leero, ebiyigirizibwa mu masomero n’ebifulumizibwa ku mikutu gy’eby’empuliziganya bijjudde endowooza enkyamu ezikwata ku ngeri omuntu gye yajja okubaawo. Naffe okusobola okuba n’okukkiriza ng’okwa Dawudi tuteekwa okufumiitiriza ennyo. Tetuyinza kumala gakkiriza kintu olw’okuba n’abalala bakikkiriza, naddala ku nsonga enkulu gamba ng’eyo ekwata ku kuba nti waliwo Omutonzi w’ebintu byonna.
4 Ate era, bwe tufumiitiriza ku bintu Yakuwa bye yatonda tweyongera okumwagala n’okunyweza obwesige bwaffe mu ebyo by’asuubiza okubaawo. Kino kituleetera okwagala okweyongera okumanya Yakuwa n’okumuweereza. N’olwekyo, ka tulabe engeri sayansi leero gy’akakasizzaamu ebigambo bya Dawudi nti ‘twakolebwa mu ngeri eyewuunyisa.’
Engeri y’Ekyewuunyo gye Tukulamu
5, 6. (a) Obulamu bwa buli omu ku ffe bwatandika butya? (b) Ensigo zaffe zikola mulimu ki?
5 “Ggwe watonda ensigo zange: wambikkako mu lubuto lwa mmange.” (Zabbuli 139:13, NW) Obulamu bwa buli omu ku ffe bwatandikira mu lubuto lwa nnyina ng’akatoffaali akatono ennyo akatenkana katonnyeze akali ku nkomerero ya sentensi eno. Akatoffaali ako akasirikitu kaali kajjudde ebintu bingi era si byangu kutegeera! Kaakula mangu nnyo. Wagenda okuweza emyezi ebiri mu lubuto, ng’ebitundu byo ebikulu eby’omubiri bimaze okukolebwa. Mu bino mwe mwali ensigo zo. Bwe wazaalibwa ensigo zo zaali zisobola okusengejja omusaayi gwo—okuggyamu obukyafu n’amazzi agateetagisa ne zirekamu ebintu eby’omugaso. Ensigo zo ebbiri bwe ziba ennamu obulungi, zisobola okusengejja amazzi agali mu musaayi gwo—lita nga ttaano mu muntu omukulu—buli ddakiika 45!
6 Ensigo zo era ziyamba okukuma omunnyo mu musaayi gwo n’emisinde omusaayi kwe gutambulira mu kigero ekyetaagisa. Zikola n’ebintu ebirala ebikulu bingi gamba ng’okukyusa vitamini D n’esobola okuyamba amagumba okukula era zikola erythropoietin hormone, eyamba obutoffaali obumyufu okukolerwa mu magumba go. Tekyewuunyisa nti ensigo zibadde ziyitibwa “omutabuzi w’eddagala omukulu ow’omu mubiri”!b
7, 8. (a) Nnyonnyola ekibaawo ng’omwana akyali mu lubuto. (b) Mu ngeri ki omwana atannazaalibwa ‘gy’atondebwa wansi mu bitundu by’ensi’?
7 “Amagumba gange tegaakisibwa gy’oli nga nkolebwa mu kyama, era nga ntondebwa mu bitundu ebisembayo wansi mu nsi.” (Zabbuli 139:15, NW) Akatoffaali akaasooka keegabizaamu, era n’obutoffaali obupya nabwo ne bugenda nga bwegabizaamu. Mu bbanga ttono obutoffaali buno bwatandika okweyawulamu, ng’obumu bukola ebinywa, obulala obusimu, obulala olususu, n’ebirala bingi. Obutoffaali obw’ekika ekimu bwegatta wamu ne bubaako ekitundu ky’omubiri kye bukola. Ng’ekyokulabirako, bwe wali waakamala wiiki ssatu mu lubuto, amagumba go gonna gaatandika okukolebwa. Wagenda okuweza wiiki musanvu era ng’oli inci ng’emu obuwanvu, era ng’amagumba gonna 206 g’olina mu bukulu gatandise okukolebwa, wadde nga gaali tegannaguma.
8 Ebintu bino byonna eby’ekyewuunyo byaliwo mu lubuto lwa maama wo nga tewali muntu yenna abiraba, nga gy’obeera nti biziikiddwa eyo wansi mu ttaka. Mazima ddala, waliwo bingi ebikwata ku ngeri gye twakolebwamu abantu bye batamanyi. Ng’ekyokulabirako, kiki ekyaleetera obutoffaali bwo okutandika okukola ebitundu eby’omubiri eby’enjawulo? Oboolyawo gye bujja sayansi alikizuula, naye nga Dawudi bw’ayongera okugamba, Omutonzi waffe—Yakuwa—ye bulijjo abadde akimanyi.
9, 10. Mu ngeri ki ebikwata ku bitundu by’omwana akyali mu lubuto gye “biwandiikibwa” mu “katabo” kya Katonda?
9“Amaaso go gaalaba omubiri gwange nga tegunnatuukirira, ne mu kitabo kyo ebitundu byange byonna ne biwandiikibwa. Ebyabumbibwanga buli lunaku, bwe byali nga tebinnabaawo n’ekimu.” (Zabbuli 139:16) Akatoffaali ko akaasooka kaalimu pulaani yonna ey’omubiri gwo nga bwe gwandifaananye. Ku pulaani eyo kwe wagenda okulira emyezi omwenda gye wamala mu lubuto era n’oluvannyuma emyaka egisukka mu 20. Mu kiseera kino, omubiri gwo gwayita mu mitendera mingi, nga gugenda gugoberera pulaani eyali mu katoffaali kali akasooka.
10 Olw’okuba Dawudi yali talina kyuma kizimbulukusa, yali talina ky’amanyi ku butoffaali. Naye yali akimanyi bulungi nti okukula kw’omubiri gwe kwali kwategekebwa dda. Dawudi ayinza okuba nga yali alina ky’amaanyi ku ngeri omwana gy’akula mu lubuto, bw’atyo n’aba ng’asobola okugamba nti omwana yagenda akulira ku pulaani eyali mu katoffaali akasooka. Mu lulimi olw’akabonero, yayogera ku pulaani eno ng’eyali ‘ewandiikiddwa’ mu “kitabo” kya Katonda.
11. Twajja wa endabika yaffe ey’omubiri n’engeri endala?
11 Leero kimanyiddwa bulungi nti ebintu by’osikira okuva ku bazadde bo ne bajjajjaabo, gamba ng’obuwanvu, endabika y’omu maaso, langi y’amaaso n’enviiri, n’ebirala bingi, bisinziira ku gene eziri mu butoffaali. Buli kamu ku butoffaali bwo kalimu emitwalo n’emitwalo gya gene ezo, era buli gene eri ku kajegere akawanvu akayitibwa DNA (deoxyribonucleic acid). Ebiragiro omubiri gwo kwe gukulira ‘byawandiikibwa’ ku kajegere kali akayitibwa DNA. Buli mulundi obutoffaali bwo lwe bwegabizaamu ne bukola obutoffaali obupya oba okuzzaawo obwo obuba bukaddiye—DNA yo ewa obutoffaali obupya ebiragiro ebyo, osobole okusigala n’endabika yo era ng’oli mulamu. Nga kino kyakulabirako kirungi nnyo ekiraga nti Omutonzi waffe wa magezi era wa maanyi!
Ffe Ffekka Abasobola Okufumiitiriza
12. Kiki naddala ekifuula abantu okuba ab’enjawulo ku bisolo?
12 “Era n’ebirowoozo byo nga bya muwendo mungi gye ndi, ai Katonda! Bwe bigattibwa awamu, nga bingi! Bwe mba mbibaze, bisinga omusenyu omuwendo.” (Zabbuli 139:17, 18a) Ebisolo nabyo byakolebwa mu ngeri ey’ekyewuunyo, era ebimu bisobola okukola ebintu omuntu by’atasobola. Naye Katonda abantu yabawa amagezi mangi okusinga ge yawa ebisolo. Ekitabo ekimu ekya sayansi kigamba nti: “Wadde nga tulina bingi bye tufaanaganya n’ebisolo, ffe bitonde byokka ebisobola okulowooza n’okwogera.” “Era tuli ba njawulo olw’okuba twagala okumanya ebitukwatako: Emibiri gyaffe gyazimbibwa gitya? Twakolebwa tutya?” Bino bye bibuuzo ne Dawudi bye yeebuuza.
13. (a) Dawudi yasobola atya okufumiitiriza ku birowoozo bya Katonda? (b) Tusobola tutya okugoberera ekyokulabirako kya Dawudi?
13 Ekisingira ddala ennyo okutwawula ku bisolo kwe kuba nti tulina obusobozi obw’enjawulo obw’okufumiitiriza ku birowoozo bya Katonda.c Ekirabo kino kye kimu ku biraga nti twakolebwa “mu kifaananyi kya Katonda.” (Olubereberye 1:27, NW) Dawudi yeeyambisa nnyo ekirabo kino. Yafumiitiriza ku bukakafu obulaga nti waliwo Katonda era n’engeri ze ennungi ezeeyolekera mu bintu ebiri ku nsi. Dawudi era yalina ebitabo ebyasooka eby’Ebyawandiikibwa Ebitukuvu, Katonda mw’abikkulira ebimukwatako n’ebyo bye yakola. Ebyawandiikibwa ebyo ebyaluŋŋamizibwa byayamba Dawudi okuteegera endowooza ya Katonda, engeri ze, n’ekigendererwa kye. Okufumiitiriza ku Byawandiikibwa, ku butonde, ne ku nkolagana gye yalina ne Katonda kwaleetera Dawudi okutendereza Omutonzi we.
Ekizingirwa mu Kukkiriza
14. Lwaki tekitwetaagisa kumanya buli ekikwata ku Katonda okusobola okumukkiririzaamu?
14 Dawudi gye yakoma okufumiitiriza ku butonde n’Ebyawandiikibwa, gye yakoma okukiraba nti Katonda by’amanyi ne by’asobola okukola yali tasobola kubitegeera n’abimalayo. (Zabbuli 139:6) Ne ku ffe bwe kityo bwe kiri. Tetugenda kutegeera buli kikwata ku ebyo Katonda bye yatonda. (Omubuulizi 3:11; 8:17) Kyokka okuyitira mu Byawandiikibwa ne mu butonde, Katonda ‘ayolesezza’ ebimukwatako okusobozesa abanoonya amazima mu mulembe ogubaawo gwonna okuba n’okukkiriza okuliko obukakafu.—Abaruumi 1:19, 20; Abaebbulaniya 11:1, 3.
15. Waayo ekyokulabirako ekiraga akakwate akaliwo wakati w’okukkiriza n’enkolagana yaffe ne Katonda.
15 Okuba n’okukkiriza kisingawo ku kumanya obumanya nti obulamu n’ebitonde byonna birina okubaako omuntu ow’amagezi eyabiteekawo. Kizingiramu okwesiga Yakuwa Katonda—oyo ayagala tumumanye era tufune enkolagana ennungi naye. (Yakobo 4:8) Kino tuyinza okukigeraageranya ku bwesige omuntu bw’aba nabwo mu kitaawe amwagala ennyo. Singa wabaawo abuusabuusa obanga kitaawo asobola okukuyamba ng’olina ekizibu, oyinza okulemererwa okumumatiza nti kitaawo asobola okukikola. Kyokka, bw’oba omanyi nti kitaawo muntu mulungi era ng’abadde akuyamba okuva emabega, obeera mukakafu nti tajja kukulekerera. Mu ngeri y’emu, okutegeera Yakuwa nga tuyitira mu kwesomesa Ebyawandiikibwa, mu kufumiitiriza ku bitonde, ne mu kulaba engeri gy’atuyambamu nga tulina kye tumusabye kituleetera okumwesiga. Ate era kituleetera okwagala okweyongeranga okumumanya era n’okumutendereza n’omutima gwaffe gwonna emirembe gyonna. Ekyo kye kintu esingayo okuba ekirungi buli omu kyasobola okuluubirira.—Abaefeso 5:1, 2.
Noonya Obulagirizi bw’Omutonzi Waffe
16. Kiki kye tuyigira ku nkolagana ey’oku lusegere Dawudi gye yalina ne Yakuwa?
16 “Onkebere, ai Katonda, omanye omutima gwange: onkeme, omanye ebirowoozo byange: olabe [oba] ng’ekkubo lyonna ery’obubi liri mu nze, era onnuŋŋamyanga mu kkubo eritakoma.” (Zabbuli 139:23, 24) Dawudi yali kimanyi nti Yakuwa amumanyi bulungi nnyo—buli kye yalowoozanga, kye yayogeranga, oba kye yakolanga, Omutonzi we yali akimanyi. (Zabbuli 139:1-12; Abaebbulaniya 4:13) Kino kyaleetera Dawudi okuwulira nti talina ky’atya, ng’omwana omuto bw’awulira nga kitaawe amukutte ku mukono. Dawudi yali yeenyumiririza mu nkolagana ennungi gye yalina ne Yakuwa era ng’afuba nnyo okugikuuma ng’ayitira mu kusaba n’okufumiitiriza ku butonde. Mu butuufu, zabbuli za Dawudi ezisinga obungi—nga mwe muli ne Zabbuli 139—ssaala eziri mu ngeri y’ennyimba. Mu ngeri y’emu, naffe okufumiitiriza n’okusaba bituyamba okufuna enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa.
17. (a) Lwaki Dawudi yali ayagala Yakuwa akebere omutima gwe? (b) Ngeri gye tukozesa eddembe lyaffe ery’okwesalirawo ekwata etya ku bulamu bwaffe?
17 Olw’okuba twakolebwa mu kifaananyi kya Katonda, tulina eddembe ery’okwesalirawo. Tuyinza okusalawo okukola ekirungi oba ekibi. Naye tuvunaanyizibwa olw’engeri gye tukozesaamu eddembe eryo. Dawudi yali tayagala kumubalira mu babi. (Zabbuli 139:19-22) Yayagala nnyo okwewala okukola ekintu kyonna ekyandimuleetedde ebizibu. Bwe kityo, bwe yafumiitiriza ku ky’okuba nti Yakuwa amanyi byonna, n’obuwombeefu Dawudi yasaba Katonda akebere omutima gwe era amuluŋŋamye mu kkubo ery’obulamu. Emitindo gya Katonda egy’empisa gikwata ku buli muntu; n’olwekyo, naffe twetaaga okusalawo mu ngeri ennungi. Yakuwa atukubiriza ffenna okumugondera. Bwe tukola bwe tutyo atusiima era kituviiramu emiganyulo mingi. (Yokaana 12:50; 1 Timoseewo 4:8) Bwe tutambula ne Yakuwa bulijjo kituyamba okusigala nga tuli bakkakkamu ne bwe tuba nga twolekaganye n’ebizibu eby’amaanyi.—Abafiripi 4:6, 7.
Goberera Omutonzi Waffe ow’Ekitalo!
18. Dawudi yagamba ki oluvannyuma lw’okufumiitiriza ennyo ku butonde?
18 Mu buvubuka bwe, Dawudi yateranga okubeera ku ttale ng’alunda endiga. Endiga zaakutamanga okulya omuddo, ye ng’amaaso agolekeza bwengula. Akawungeezi mu kizikiza, Dawudi yafumiitirizanga biri mu bwengula ne kye bimuyigiriza. Yawandiika nti “Eggulu lyogera ekitiibwa kya Katonda: n’ebbanga libuulira emirimu gy’emikono gye. Omusana gugamba ebigambo omusana, n’ekiro kiraga amagezi ekiro.” (Zabbuli 19:1, 2) Dawudi yakitegeera nti yali yeetaaga okunoonya n’okugoberera Oyo eyakola ebintu byonna ebyewuunyisa. Naffe twetaaga okukola kye kimu.
19. Biki abato n’abakulu bye bayinza kuyigira ku ngeri ‘ey’eky’ewuunyo gye baakolebwamu’?
19 Dawudi yateekawo ekyokulabirako mutabani we Sulemaani oluvannyuma kwe yasinziira okubuulirira abavubuka nti: “Ojjukiranga Omutonzi wo mu biro eby’obuvubuka bwo . . . Otyanga Katonda [ow’amazima], era okwata ebiragiro bye. Kubanga ekyo bye byonna ebigwanira omuntu.” (Omubuulizi 12:1, 13) Ng’omuvubuka, Dawudi yali amanyi bulungi nti ‘yakolebwa mu ngeri ya kyewuunyo.’ Okutambulira mu kumanya okwo kwamuyamba nnyo obulamu bwe bwonna. Singa naffe, abato n’abakulu, tutendereza era ne tuweerereza Omutonzi waffe ow’Ekitalo, obulamu bwaffe bujja kuba bulungi leero, ne mu biseera eby’omu maaso. Ng’eyogera kw’abo abalina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa era abatambulira mu makubo ge ag’obutuukirivu, Baibuli esuubiza nti: “Baliba nga bakyabala ebibala nga bakaddiye; balijjula amazzi, baligejja: balage nga Mukama mutuukirivu.” (Zabbuli 92:14, 15) Mazima ddala, emirembe gyonna, tujja kunyumirwa ebyo Omutonzi waffe bye yakola.
[Obugambo obuli wansi]
a Laba Awake! eya Jjuuni 22, 2004, eyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
b Era laba ekitundu “Ensigo Zo—Akasengejja k’Obulamu,” mu Awake! eya Agusito 8, 1997.
c Ebigambo bya Dawudi ebiri mu Zabbuli 139:18b biringa ebiraga nti ne bw’amala olunaku lulamba, okuva enkya okutuuka lwe yeebaka ng’abala ebirowoozo bya Yakuwa, azuukuka enkera ng’akyalina bingi eby’okubala.
Osobola Okunnyonnyola?
• Engeri omwana ali mu lubuto gy’akulamu eraga etya nti ‘twakolebwa mu ngeri ya kyewuunyo?
• Lwaki tusaanidde okufumiitiriza ku birowoozo bya Yakuwa?
• Okukkiriza kulina kakwate ki n’enkolagana yaffe ne Yakuwa?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 17]
Waliwo pulaani omwana ali mu lubuto kw’akulira
DNA
[Ensibuko y’ekifaananyi]
Unborn fetus: Lennart Nilsson